|
Ekiddibwamu: Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuumenga | |
|
1. Okuva edda n'edda eryo lyonna Eryo eggwanga Buganda Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe Okwetoloola ensi yonna |
2. Abazira ennyo abatusooka Baalwana nnyo mu ntalo Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe Naffe tulyagalenga |
|
3. Ffe abaana ba leero ka tulwane Okukuza Buganda Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe Baafirira ensi yaffe |
4. Nze naayimba ntya ne sitenda Ssaabasajja Kabaka Asaanira afuge Obuganda bwonna Naffe nga tumwesiga |
|
5. Katonda omulungi ow'ekisa Otubeere Mukama Otubundugguleko emikisa gyo era Bbaffe omukuumenga |
Streaming RealAudio® Download .WAV file (.WAV 1.6 MB) Download compressed file (.ZIP 712 KB) |