Empandiika y'Oluganda Entongole
Bino Byasembebwa Olukiiko Olwatuula mu 1947 Okuteesa ku Mpandiika y'Oluganda n'Ennyunga y'Ebigambo.
Ebisooka
Ennukuta Ensirifu
Ennukuta Empeerezi
Enjogera
Okuyunga Ebigambo
Eby'okwekkaanya
EKITUNDU I: EMPANDIIKA
1. (a) Olukiiko luno lwanjula era lusemba empandiika eno empya ekwate ku mannya g'abantu era n'ag'ebifo.
1. (b) Kyanjulibwa nti amannya ag'ebifo go ganaawandiikibwa mu mpandiika eno empya luvannyuma lwa kuteesaganya ne Gavumenti.
2. Nga bwe kirowoozebwa nti kituufu okukozesa ennukuta emu olw'envuga y'eddoboozi emu yokka, kaakano wano kyekiva kyanjulwa nti "c" ye eba ekozesebwa mu kifo kya "cha."
Ebyokulabirako:
- kucoppa (to be exhausted)
- kuconcona (to break up in pieces)
- kucapala (to enjoy prosperity)
- kucwa (to escape)
Geraageranya: - ecuuma (ewunya) ne ekyuma.
3. Okusinziira ku nsonga eyo y'emu, kyekiva kigambibwa nti:
ye ntuufu okukozesebwa okusinga ng'.
[Olwokuba ennukuta eyo tetera kuba ku kompyuta, omuteesiteesi asazeewo nti egenda kuwandiikibwa nga ng' mu kiwandiiko kino! Weegendereze nti okuwandiika ng' oluusi kuva mu kuyunga akagambo nga ku bigambo ebitandika n'ennukuta empeerezi awatali kugenderera kutegeeza nnukuta eyo gye twogerako.]
Ebyokulabirako:
- kung'ang'ala (to whimper)
- kung'oong'a (to low)
- kung'oola (to sneer at).
4. Weewaawo, kyandibadde kituufu mu kugoberera obutuukamu okuwandiika ng' okugikulembeza "g" oba "k" (ng'g, ng'k) (gerageranya mb, ne mp), naye kaakano wano Olukiiko luno lusemba ennukuta zino ez'omu nnyindo ziwandiikibwe nga bwe kibadde: ng, nk, walyoke waleme kujjawo kwawukana n'ennimi endala nga Olunyoro: kubanga mu lwo envuga eya ng' teriimu.
5. Okwawukanako (kyewaggula) ku tteeka ery'okuwandiika ennukuta emu olw'envuga y'eddoboozi emu (laba Na. 2) kujja kukolebwa ku nnukuta bbiri zino "ny" eziwandiikibwa awamu ssonga zitegeeza envuga y'eddoboozi emu yokka (lwa kubanga tewannaba kufunibwawo kabonero olw'envuga eyo eyatulirwa ku kibuno ne mu nnyindo (mu Lungereza ekiyitibwa palata nasal)
Ekyokulabirako: - kunyanyamuka (to wake with difficulty).
6. Ennukuta "r" esaana kuwandiikibwa luvannyuma lwa "e" ne "i" mu kigambo. Awalala wonna "l" esaana okukozesebwa.
Ebyokulabirako:
- erinnya (name)
- simanyi linnya (I do not know the name).
7. Kyanjulwa nti ennukuta ensirifu (consonants) empanvu era enzigumivu zisaana zoolekebwe nga zo zennyini ziwandiikibwa mu miko ebiri (kinnabbirye): pp, bb, tt, dd, jj, kk, gg, ff, vv, ss, zz, mm, nn, cc, ne ng' [eri ennukuta ey'omunnyindo etali ku kompyuta].
8. Mu nsonga ya "ny", ennukuta esooka yokka ye yeetaaga okuwandiika emirundi ebiri.
Ekyokulabirako: - Kunnyonnyola (to explain).
9. Kyanjulwa nti okuwandiika mu ngeri eno kikusaanira kugobererwe buli kiseera: kwe kugamba nti newaakubadde ebigambo bya Luganda oba ensibuko yaabyo nng'enyi; oba birina binnaabyo eby'ennukuta emu bwe biyinza okutabulwatabulwa oba tebirina. Etteeka lino likwata ku nnukuta ezisooka mu kigambo.
Ekigambo ekikulu ekisaana okwetegerezebwa kiikino: Emirundi egimu ennukuta zino (ez'emiko ebiri) tezaatulwa, n'olw'ensonga eyo tezisaana ziwandiikibwe.
Ekyokulabirako: - atta (he kills); naye nzita; anzita (he kills me)
- ekkubo (path); naye amakubo (paths).
Ebirimu
10. Kyanjulwa nti obuwanvu bw'ennukuta empeerezi [oba enjatuza] kirungi bwolekebwe (nga bwe kigenda okunnyonnyolwa) nga ziwandiikibwa mu miko ebiri (kinnabbirye): kwe kugamba nti: aa, ee, ii, oo, uu. Ennyinyonnyola eyo eyogeddwako ey'okuwandiikamu empeerezi ye eno:-
11. Obuwanvu bw'empeerezi tebusaana kwolekebwa, mu mpandiika eya bulijjo, empeerezi eyo bw'ekulembera initial oba bw'esemba final mu kigambo, oba bw'ekulemberwa apostrophe[1].
Ebyokulabirako: - ekyo,
- ate,
- n'ekyo,
- ow'omuntu.
Ebyawukana n'etteeka lino (kyewaggula): - yee, n'ebirala ebikifaanana.
12. Obuwanvu bw'empeerezi tebusaana kwolekwa BW'EKULEMBERA ennukuta ez'omu nnyindo nga zeegasse mu ngeri eno: mp, mb, nt, nd, nc, nj, nk, ng, nf, nv, ns, nz, kubanga empeerezi EKULEMBERA bw'egatta okwo bulijjo eba mpanvu.
Ebyokulabirako: - obumpi, akambe, omuntu, kulinda, kuconcona, ennyanja, kukonkona, kubanga, mafunfugu, muwanvu, wansi, mulenzi.
13. Obuwanvu bw'empeerezi tebusaana kwolekebwa OLUVANNYUMA lw'ennukuta "w" oba "y" nga zeegasse ne zinnaazo mu ngeri eno: pw, bw, tw, dw, cw, jw, kw, gw, sw, nw, nyw, ng' [ennukuta yaffe enng'anda etali ku kompyuta], mw, lw, rw, py, by, ty, dy, ky, gy, my, ry; kubanga empeerezi EDDIRIRA okwegatta okwo eba mpanvu mu kigambo wakati era eba nnyimpi ku nkomerero yaakyo.
Ebyokulabirako: - mpanyi, bwabwe, kutwala, eddwaliro, cwacwana, majwanjwa, kukwata, kugwenyuka, kuswala, mwana, kulwana, erwana, mpyoke, byalo, tyetyemuka, kudyeka, mukyala, gyagyo, myufu, lyato, eryato.
Ebitakkiriziganya na tteeka lino (kyewaggula) biri ku Na. 15.
14. Olw'okweyambisa ennukuta ebbiri "ny" ssonga ziraga nvuga ya ddoboozi emu yokka (palatal nasal), okwegatta kw'ennukuta "n" ne "y" kwo kusaana kulagwe mu ngeri eno nÿ.
Ekyokulabirako: - okunÿagumba (to take long strides)
Era wekkaanye kino "nyw" kiraga nvuga ya ddoboozi eya "palatal nasal" nga yeegasse ne "w" -laba: kunywa.
15. Kyewaggula (oba ebyawukana) ku Na. 13: Kubanga empeerezi ejja OLUVANNYUMA lwa "ggw" ne "ggy" etera kuba nnyimpi mu kigambo wakati envuga y'eddoboozi empanvu esaana eyolekwe buli lw'ebeerawo.
Okutuusa kaakano obuwanvu bwakavumbulibwa mu bigambo bino:
- eggwoolezo (customs house),
eggwaatiro (peeling place)
eggwiiso (good luck),
eggwaala (musical instrument)
eggwaabi (hashish pipe),
eggwaawaatiro (big wing)
kuggweerera (melt out),
kuggwaamu (get finished)
kiggyaamu (fairly new).
Bigeraageranye ne:
- eggwolezo (court house)
kiggyamu (it takes out)
ebirina empeerezi ennyimpi.
16. Okuggyako ebyo ebinnyonnyoddwa engulu, mu nsonga endala zonna ezisigaddewo ez'envuga empanvu ey'eddoboozi ku nnukuta empeerezi nga eri wakati mu kigambo, obuwanvu obwo kibusaanira okwolekebwa BULI KISEERA (mu ngeri ekwatiddwako mu kitundu 10), newaakubadde ekigambo ekyo kirina kinnaakyo eky'empeerezi ennyimpi bwe kiba kiyinza okutabulwatabulwa oba tekirina.
WEETEGEREZE kino nti etteeka lino likwata ku nnukuta zino "w" ne "y" nga buli emu eyimiridde yokka, era ne ku nnukuta zino "ny".
Ebyokulabirako: - wuula, yuuya, nyiiza
Bigeraageranye ne: - wulira, yuza, nyiza
17. Kino kisaana kyekkaanyizibwe nti "yi" ne "wu" tezisaana kukozesebwa luvannyuma lwa nnukuta ensirifu (consonant) olw'okulaga ekikolo oba ensibuko:-
omuti (tree) omuti (coward) sso si omutyi.
Enjatula y'ebigambo ebyo byombiriri efaanana.
kuliika (si kulyika) nga kiva mu "lya". Kino kigeraageranye ne "kuliika" (okusasuza) bwe kifaananya enjatula (kyokka byawukana mu njogera).
Ebirimu
18. Enkola eno, kwe kugamba nti ey'empandiika eyogerwako muno, tesuubirwa kukwata ku kigambo ky'okwoleka enjogera (okulinnyuka n'okukka kw'eddoboozi) mu mpandiika eya bulijjo, naye tulengera omugaso gw'ekigambo kino mu bitabo ebiyitibwa dictionaries.
Engeri ebbiri ezikozesebwa aba International African Institute kaakano ze twanjula okukozesebwa buli lwe kinaabanga kyetaagibwa:-
(i) Engeri y'obusittale nga bwolekebwa oluvannyuma lw'ekigambo nga wano: - kugula = _ --
- kulaba = --_
Enkola eno ya mugaso nnyo eri omulimu gwa dictionaries.
(ii) Engeri y'obubonero nga bwolekebwa ku mpeerezi nga wano:
- à = kukka kwa ddoboozi;
- a = (eteriiko kabonero) ddoboozi lya wakati;
- aá = kulinnyuka kwa ddoboozi (eggwanvu);
- â= kugwa kwa ddoboozi (erimpi);
Enkola eno ya mugaso nnyo eri omulimu gwa ggulaama. Labira ku bino:
- kubala (to count), kubàla (kuleeta bibala)
- gaágo (gali awo), gago (ggwe nnyinigo).
Ebirimu
Verbs[2] - Obugambo obuzikulembera
A. MU MAASO G'EKIKOLO KYAZO
19. "ndi". Kyanjulwa nti "ndi" kasaana kalowoozebwe nga tense prefix, bwe katyo kayungibwe:
- nandigenze
- twandigenze
- sandigenze
- tetwandigenze
- wandigenze
- mwandigenze
- tewandigenze
- temwandigenze
- yandigenze
- bandigenze
- teyandigenze
- tebandigenze
20. "ka". Kyanjulwa nti "ka" nako kalowoozebwe nti tense prefix era nako kayungibwe:
- ........naakajja, etc.
21. "ga". Kyanjulwa nti "ga" kasaana kayungibwe ku kikolo kya verb eddirira:
- mmaze gakikola,
- tumaze gakikola,
- kimala galya.
22. "jja". Kyanjulwa nti "jja" kalowoozebwe nti auxiliary verb (verb ennyambi), bwe katyo kayungibwe:-
- n(ni)ja kugenda
- sijja kugenda
- ojja kugenda
- tojja kugenda
- ajja kugenda
- tajja kugenda, n'ebirala.
Obugambo obukulembera[3]
B. MU MAASO GA SUBJECT PREFIX
23. "ne". Kyanjulwa nti "ne" kasaana kawandiikibwe kokka nga kakulembedde ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo ekyo bwe kisookako empeerezi:
Ebyokulabirako: - ne ndaba
- n'olaba
- n'alaba
- ne tulaba
- ne mulaba
- ne balaba
- (mmaze) ne sigenda
- n'otagenda
- ne tutagenda
24. "nga". Kyanjulwa nti "nga" kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb era apostrophe yeeyambisibwe ebikolo bwe bisookako empeerezi:
Ebyokulabirako: - nga ndaba
- nga siraba
- ng'olaba
- nga tolaba
- ng'alaba nga talaba
- nga tulaba
- nga tetulaba
- nga mulaba
- nga temulaba
- nga balaba
- nga tebalaba
25. "ka". Kyanjulwa nti "ka" kasaana kawandiikibwe kokka bwe kakulembera ebikolo bya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwekisookako empeerezi:-
Ebyokulabirako: - ka ndabe
- k'olabe
- ka tulabe
- k'alabe
- ka mulabe
- k'ojje olabe
- ka balabe
- k'ajje alabe
- ka nzije ndabe, etc.
26. "kye". Kyanjulwa nti "kye" kasaana kayungibwe ku verb gye kakulembedde (awatali kweyambisa apostrophe):-
Ebyokulabirako: - kyenva nzija
- kyenje njije
- kyajje ajje
- kyetujje tujje
- kyemujje mujje
- kyebajje bajje
27. Object Relative. Kyanjulwa nti object relative (era ne relative y'ekifo n'ekiseera) byawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:-
Ebyokulabirako: - kye ndaba
- ky'olaba
- ky'alaba
- kye tulaba
- kye mulaba
- kye balaba.
- ku lunaku kwe ndituukira
- ku lunaku kw'olituukira
- ku lunaku kw'alituukira
- ku lunaku lw'alituukirako
28. Copula[4]. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulwe okuva ku kikolo kya verb, era apostrophe yeeyambisibwe ekikolo bwe kisookako empeerezi:
Ebyokulabirako:
- (ekiso) kye kisala (the knife it is which cuts)
- (abasajja) be bagenda (the men it is who go)
- bwe ntyo
- bwe tutyo
- bwe mutyo
- bwe batyo
- gye ndi (here I am)
- gye tuli
- gy'oli
- gy'ali
- gye muli
- gye bali.
A. Verbs - obugambo obuziddirira[5]
29. "nga". Kyanjulwa nti akagambo kano kasaana kayungibwe ku verb ekakulembera (awatali kweyambisa apostrophe):
Ebyokulabirako: - tugendanga
- nninga (I am as though
- olinga
- tulinga
- mulinga
- balinga
30.Kyanjulwa nti "nga" ekungiriza ereme kuyungibwa ku kigambo kyonna ekiba kigiddiridde (oba ky'eba ekulembedde):-
Ebyokulabirako: nga ndabye! - nga tulabye!
- nga olabye!
- nga mulabye!
- nga alabye!
- nga balabye!
B. verbs - Obugambo obuziddirira
31. "yo", "wo", "ko", "mu". Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku verb gye buddirira, era obuwanvu bw'empeerezi tebusaana kwerabirwa:-
Ebyokulabirako: - taliiyo,
- nvaawo,
- nfumbako,
- tetwalimu.
Kino kikwata ne ku bigambo ebiva mu verb:-
Ebyokulabirako: - ndabirwamu (mirror)
- ekyokulabirako (example).
WEETEGEREZE: Tekyetaaga kwoleka buwanvu bwa mpeerezi obusisinkanibwa nga ennukuta "w" ne "y" zeegasse ne zinnaazo endala (consonants). Laba etteeka Na. 13.
32. "wa? ", "ki? ". Kyanjulwa nti obugambo buno tebusaana kuyungibwa ku verb gye buddirira:-
Ebyokulabirako: - ogenda wa?
- olya ki?
- ogenze wa?
- olidde ki?
- kiri wa (kiri ludda wa?)
Ekyawukanako (kyewaggula): - "kiruwa" n'ebikifaanana, bwe kiba kye kikozesebbwa mu kifo kya "kiri wa" n'ebikifaanana.
NOUNS[6] - Obugambo obuzikulembera
A. EBIGAMBO
33. Noun qualifiers (ebigambo ebitegeeza noun) nga "bino", "bonna", n'ebirala bwe biba bigikulembedde, bisaana biwandiikibwe byokka:
Ebyokulabirako: - bino ebintu
- bali abantu
- bonna abasajja.
34. Era kyanjulwa nti "buli", "nguli", "wali", ne "wasiga" n'ebirala ebibifaanana, bisaana byawulwe okuva ku bigambo bye bikulembera:-
Ebyokulabirako: - nguli Zimbe
- buli muntu
- buli w'olaba
- buli kanaku
- buli wantu
- buli kiro
- buli ngeri (yonna).
B. OBUGAMBO (PARTICLES)
35. Locatives "e", "wa", "ku", "mu". Kyanjulwa nti locatives mu ngeri eya bulijjo buwandiikibwe nga bwawuddwa ku bigambo bye bukulembera:
Ebyokulabirako:
- e Kampala
- e Buganda
- ku Mpigi
- mu eno
- mu nnyumba
- kino kikwata ku buli muntu
- kino kikwata ku buli musajja
- ku bino ebintu ......
- ku ffe, ku bo, mu ffe, mu bo.
- w'eno, w'eri
Ebyawukanako (kyewaggula):
e - ewaffe
- ewaakyo
- ewammwe
- engulu
- ewaabakyo
- emabega
- emmanga
- ebweru
- ennyuma
- emugga
wa - waggulu
- wabbali
- wamberi
- walala
- emabega (wange)
ku - kubbali
- kungulu
- kuli
- kuno
mu - muno
- mumpi
- (munda) mugazi
36. Genitive. Kyanjulwa nti genitive, mu ngeri eya bulijjo, esaana eyawulibwenga okuva ku kigambo ky'ekulembera, era apostrophe yeeyambisibwe ekigambo bwe kitandika n'empeerezi:-
Ebyokulabirako:
Obwannannyini:-
- ebintu bya Petero
- abaana ba Katikkiro
- omwana w'omuntu
- mwana wa muntu
- ebintu bya buli muntu
- ebya Petero
- aba Katikkiro
- w'omuntu
- olw'omulimu.
Nga Adjective[7]:-
- (omuntu) ow'ekyeewuunyo
- (omuntu) ow'obusungu
- (omuntu) ow'obulungi
- (omuntu) ow'endali
- (omuntu) ow'essanyu
- (omuntu) ow'ennaku
- (omuntu) ow'ebbango
- (omuntu) ow'ettima
- (omuntu) ow'engalo
- (oluggi) olw'omuti
- (ettaka) ery'enjazi
- (engoye) ez'ekirangira
- (muntu) wa kyewuunyo
- (muntu) wa busungu
- (ttaka) lya njazi
- (muntu) wa ngalo
- (muntu) wa kabi
- (muntu) wa lugono
- (muntu) wa ddalu
- (muntu) wa nge (sullen)
- (muntu) wa kacca
Nga ekulembedde verb:
- olw'okujjukira,
- amazzi ag'okunaaba,
- lwa kujooga (for bullying) n'ebirala.
Nga eri wamu n'ebyokubala:-
- eky'olubereberye,
- eky'okubiri, n'ebirala.
Nga eri ne Adverb[8]:-
- lwa kubanga,
- kya nsonga,
- kya mazima (it is true),
- kya ddala (it is so),
- kya bwereere (it is gratis; it is superfluous),
- kya mukisa (fortunately, it is luck),
- lwa kisa (out of kindness),
- olw'ekisa,
- lwa bulungi,
- lwa kitiibwa.
Ebibyawukanako (kyewaggula):
AMANNYA (Proper[9] ne Common[10])
- Obwakabaka
- Oweekitiibwa
- Owoomuluka
- Owessaza
- Oweggombolola
- obwannannyini
- obwetoowaze
- ekyennyanja
- ebyendya
- ekyendya
- ekyemisana
- ekyeggulo
- ekyekiro
Kino kikwata ne ku ngeri egaana:
- sirabye Waakitiibwa,
- siridde kyakiro.
Nga eri ne Pronouns[11]:-
- kyange, etc.
- ekyaboffe,
- abaaboffe;
- ekyabommwe,
- abaabommwe
- ekyaboobwe,
- abaaboobwe.
Nouns ezimu eziva mu verbs:
Ebyokulabirako: - ebyokulya, ebyokunywa, ebyokunaaba.
Ennaku za sabbiiti (wiiki):
- Olwokusooka, Lwakusooka
- Olwokubiri, Lwakubiri
- Olwokusatu, Lwakusatu
- Olwokuna, Lwakuna
- Olwokutaano, Lwakutaano
- Olwomukaaga, Lwamukaaga.
Adverbs ezimu:
- Olwekyo, lwaki, newankubadde (newaakubadde), oboolyawo.
37. Genitive ne Locative. Kyanjulwa nti genitive nayo ewandiikibwe yokka (ne apostrophe buli we yeetaagirwa), bw'ekulembera locative:-
- e
bw'e Buganda, ow'ewaffe, ow'emabega, ow'ewala, ow'eggulu.
- wa
ekya wansi, ekya waggulu, ekya wali, owa wamberi,
owa waggulu, ow'awo.
- ku
ez'oku nsozi, ab'oku mwanjo, NAYE eby'okungulu.
- mu
ab'omu nsi, ez'omu nnyanja, ab'omu maaso, ow'omunda.
38. "ne", "na". Kyanjulwa nti "ne" ne "na" bwawulibwe okuva ku kigambo kye bukulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-
- ne Yokaana, n'omuntu, n'abantu, na muntu, na bantu, n'akatono, n'akamu.
Ebiyawukanako (kyewaggula):-
- naye, nabo, munnakampala, etc.,
naddala, nagunogujwa, nazikuno, nakuno, nandiki (nantiki), sinakindi.
39. "nga". Kyanjulwa nti "nga" kasaana kwawulibwa okuva ku kigambo kye kakulembera (apostrophe yeeyambisibwe we yeetaagirwa):-
- nga Yokaana, nga bo, nga kkumi, ng'abantu, ng'abiri.
40. "kye". Kyanjulwa nti "kye" kisaana kigattibwe mu kyenkana.
41. Copula. Kyanjulwa nti copula esaana eyawulibwe okuva ku noun gy'ekulembera:-
- kye kintu, bye bintu, ye muntu, be basajja, kye kimu, kye kiikyo, bye biibyo, etc.
- ye nze, ye ggwe, ye ye, be baffe, be bammwe, be (baa) bo.
Ebikyawukanako (kyewaggula):-
- kyekiikyo (certainly)
- weewaawo (perhaps).
NOUNS: obugambo obuziddirira
42. Obwannannyini obwa 1st ne 2nd person. Kyanjulwa nti obwannannyini mu 1st ne 2nd person busaana bwawulwe:-
- abako bo, abako be, abantu bo, abantu be.
43. Obwannannyini obulala - ne "ki". Kyanjulwa nti obwannannyini obulala ne "ki" nabwo busaana bwawulwe.
44. "yo", "wo", "ko", "mu". Kyanjulwa nti obugambo buno busaana kuyungibwa ku nouns ne adjectives bwe ziddirira:-
- kibiibiimu (fairly bad), bulungiko (fairly good).
45. ne 46. Ebigambo ebigattiikirize. Kyanjulwa nti ebigambo eby'engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-
- ebigambo: mulundante, magulumpaali, mulyammamba, etc.
- amannya: Kitikyamuwogo, Nnyamayaalwo, Aliddeki, Nnyanjeradde, Kalyabulo, etc.
47. Ebigambo ebiddirinng'ana. Kyanjulwa nti ebigambo eby'engeri eno bisaana kuwandiikibwa nga biri wamu:-
- okukubaakuba,
- okumagamaga,
- okumenyaamenya,
- okutwalatwala,
- okusambasamba,
- okumaalamaala,
- okufuulafuula, etc.
48. Amannya gano wammanga gakkirizibbwa okukozesebwanga:-
- Obubonero bwonna obukozesebwa mu kuwandiika (punctuation marks) busigazza amannya g'Olungereza[12]. Enkozesa yaabwo erikakasibwa Akakiiko ak'olubeerera akajja okulondebwa oluvannyuma[13].
49. Kyanjulwa okuwandiikibwanga Olwassande (Lwassande) mu kifo kya Sunday. Olw'ennaku endala eza sabbiiti (wiiki) laba Na. 36.
1. Mu Luganda akabonero kano (') kayitibwa Akasukkize.
2. Mu Luganda zino ziyitibwa nnakayogeza oba bikolwa mu Luganda.
3. Mu Luganda obugambo buno buyitibwa obuwakatirwa obukulembera.
4. Mu Luganda akagambo kano kayitibwa Nnakasiba.
5. Mu Luganda buyitibwa obuwakatirwa obuddirira nnakayogeza.
6. Mu Luganda ziyitibwa mannya.
7. Mu Luganda eno eyitibwa Nnakongezalinnya.
8. Mu Luganda eno eyitibwa Nnakongezakikolwa.
9. Mu Luganda gano gayitibwa Amannya ag'enkalakkalira.
10. Gano mu Luganda gayitibwa Amannya aga lukale
11. Mu Luganda zino ziyitibwa Nnakasigirwa:
12. Obubonero obwo kati bulina amannya gano mu Luganda: - Fullstop = akafundikizi;
- comma = akawummuza;
- quesion mark = akabuuza;
- exclamation mark = akeewuunyi oba akakungirizi;
- colon = kanjuzi;
- semi colon = kamenyi;
- apostrophe = akasukkize;
- asterik = akazimirizo;
- dash = akasale;
- slash = akasaze;
- quotation/inverted commas = obuwummuza obusulike;
- brackets = obukomera;
- addition mark = akagatta;
- subtraction mark = akaawula/akatoolako;
- division mark = akagabi.
13. Tekikakasibwa oba akakiiko ako kaalondebwa oba nti kaakola omulimu gwako.
Return To: | Top Of This Page | Ebirimu | Luganda Primer | Buganda Home Page |