Olunaku luno lukulu nnyo era lwa byafaayo, ssi mu Buganda yokka wabula ne mu Uganda yonna.
Okutuuka mu 1966, Uganda yonna yali mu ddembe nga ntebenkevu nga temuli ntalo, ng'ekulaakulana, era ng'abantu bali mu kwesiima ne mu ddembe. Naye okuva essasi erisooka bwe lyatulisibwa ku Wankaaki w'Olubiri wano wetuli mu mwezi gwa May 1966, Uganda teddangamu kufuna mirembe gituukiridde.
Okuva mu kiseera ekyo okutuuka ku lunaku luno olwa leero, tewabangawo kitundu kya Uganda n'ekimu ekitabangamu kulwanagana.
Oluvannyuma lw'essasi eryo eryasookera wano ku Wankaaki, ensi yaffe yayingiramu road blocks, n'eyingiramu emmundu, n'eyingiramu ebya gavumenti okunyaga ebintu by'abantu, n'eyingiramu omululu n'okulya enguzi, n'eyingiramu abantu obutaagala kukola, n'eyingiramu enguudo okwonooneka, amakolero okufa, okulekera awo okuzimba amalwaliro n'amasomero amapya, empisa embi, ne tutandika okufuna abayaaye n'abaana ab'okunguudo, n'obukyayi obw'okweyawulayawula mu mawanga n'ebirala bingi.
Nsaba nti ng'ebikolwa ebyo byonna bwe byatandikira wano ku Wankaaki w'Olubiri, ekikolwa ssebo President kyogenda okukola olwa leero eky'okuzza Olubiri, kitandikewo essuula empya mu Uganda.
Okuva lwa leero tusonyiwagane. Okuva olwa leero ffenna tutandike okukolera awamu nga tuli bumu.
Wano njagala okwebaza abantu b'omu Buganda mwenna okusalawo okuyita mu kuteesa okufuna bye twetaaga. Wewaawo mmanyi nti waliwo bingi ebikyatuluma. Era mbeebaza okukuuma emirembe, n'okugumiikiriza nga bwembagambye emirundi mingi. Ebimu ku bituluma ne bye tusuubira, Katikkiro abyogeddeko. Nkukakasa nti tujja kubifuna nga tuyita mu kuteesa.
Mmanyi nti abantu mu Buganda ne mu bitundu ebimu ebya Uganda balina ebizibu ebirala bingi. Ebikulu mu bino bwe bwavu, obutaba na masomero gamala n'obutabaawo malwaliro.
Nga tusaba gavumenti yaffe okutuyamba ku bizibu bino, naffe ffenyini tusanye okwetunulamu okulaba biki bye tuyinza okwekolera.
Tusaanidde okwebuuza lwaki tetukyalina mmere etumala, netubeera nga tugigya walala; tusanye okwebuuza lwaki tetukyasobola kwezimbira masomero gaffe ku bwaffe nga bwe kyabanga; lwaki tetukyalima nguudo ku musingi gwa bulungi bwa nsi, n'ebirala bingi ebiringa ebyo.
Ng'ogyeko obwavu, nze ndaba nti emu ku nsonga ezireese bino kwe kuba nti tewali bakubiriza bantu eyo mu byalo okukola nga bwe kyabanga mu myaka gy'enkaaga.
Abakulembeze baffe aba LCs bakoze omulimu mulungi, naye balina emirimu mingi nnyo. Bwekityo tekiba kya bwenkanya okusuubira nti bajja kukola buli kimu.
Edda Kabaka yalondanga abantu, bangi ku bo ku musingi gw'obwa nnakyewa, okukubiriza abantu okulongoosa enguudo, okusimba pasikalamu, okugogola enzizi, okukakasa nti abaana bagemeddwa, okukakasa nti buli muntu alina omusiri gwa pamba n'emmere emumala. Bayambanga n'okulaba nti buli kitundu kirina essomero abaana we basobola okutuuka. Baakakasanga nti abaana ku buli kyalo baliisibwa bulungi ate bakuzibwa nga ba mpisa nnungi.
Kyalinga kyangu okumanya ababbi ku kyalo era nga kizibu mu kyalo okwekwekayo abazzi b'emisango.
Ababaka ba Kabaka bano, abaalingawo okuva ku Ssekabaka Ttembo, bwe bagyibwawo mu 1966, abaddawo obuvunanyizibwa buno tebaabussaako nnyo mulaka era bwekityo ne tugenda nga tuddirira.
Olw'ensonga eyo, twasalawo okuzzaawo ababaka ba Kabaka bano mu bitundu mu ngeri y'obwannakyewa okuva ku masaza okutuukira ddala wansi ku batongole bayambeko ku bakulembeze baffe aba LCs okukubiriza abantu okuzzaawo omwoyo gw'okwekolera n'okwekulaakulanya. Okubeera n'empisa ennungi, awamu n'okukuza abaana baffe mu mpisa ennungi ez'obuntubulamu.
Nga mmaze okwebaza abantu baffe mu Buganda okukuuma emirembe ate njagala okubeebaza okuba n'omutima ogwaniriza era n'ogukwana abantu bonna.
Abantu bangi mu nsi ezitali zimu nga ne Uganda mwogitwalidde tebaagala era oluusi tebakkiriza bantu batali baggwanga lyabwe kutuula mu bitundu byabwe ate n'ebitundu ebimu tekisoboka kufuna wadde ekibanja. Naye okuva edda n'edda Buganda ekkiriza buli muntu yenna okugituulamu mu ddembe naddala kasita assa ekitiibwa mu mpisa z'abantu baaba asenzeemu. Wano njagala okusaba abantu bonna abali mu Buganda era n'Abaganda abatudde mu bitundu ebirala, okugezaako okutegeera n'okussa ekitiibwa mu mpisa z'obuwangwa yonna gye baba batudde.
Njagala njogereko ku nsonga y'ettaka. Okuva edda n'edda mu Buganda Kabaka ye Ssaabataka era ng'ayita mu bataka okutuuka ku bantube.
Ekyamutuumisa Ssaabataka era ensonga eteekesa ekitiibwa mu bataka bwe bukulu okuva edda n'edda Abaganda bwe bateeka ku ttaka. Obukulu bw'ettaka obulala bulabikira mu kitiibwa abantu kye bassa ku butaka bwabwe.
N'olwekyo nkubiriza Abaganda nate baleme kutunda kwemalako ttaka, kubanga awatali ttaka tewali Buganda. Ettaka lino bajjajjaffe lye baalwanirira muyige okulikozesa obulungi musobole okwekulaakulanya, naye temulitunda kulyemalako.
Olw'obukulu bw'ettaka, nnandisabye nti abakulembeze baffe bwe muba muteesa ku tteeka ly'ettaka, mumanye nti ettaka kkulu nnyo mu Buganda. N'olwekyo ensonga eno mugikwate n'obwegendereza era mwebuuze ku bantu bonna be kikwatako. Etteeka bwerinakolebwa nga tewamaze kubaawo kubuuliriza kumala na kukkaanya ku nsonga eno enkulu bweti (consesus), kiyinza okuleeta ebizibu.
Olubiri lwetaaga okulukolako omulimu munene. Mu ngeri y'emu ne Buganda yonna yetaaga okugikolako omulimu munene okuzzibwawo, naddala ebitundu ebyataagulwataagulwa entalo. Njagala okulaba engeri gye tuyambamu gavumenti y'e Mmengo n'ebitongole byetaddewo okukulaakulanya n'okuyamba abantu. Gavumenti y'e Mmengo ekoze emirimu mingi egy'okukulaakulanya abantu. Ebintu nga Radio CBS, olupapula lw'amawulire Njuba Times olutandise olwa leero, ebitongole nga Buganda Investments and Commercial Undertakings Limited (BICUL), Buganda Cultural and Development Foundation (BUCADEF), obulwariro (clinics) obutandise okuzimbibwa n'ebirala byonna by'ekola awatali nsimbi, nze ku lwange bindaze nti eraze obuvunaayizibwa obumala n'okulaga nti ekolerera okukulaakulana kw'abantu.
Awonno yandibadde yetaagayo omutemwa gw'ensimbi ogw'enkalakkalira okuva mu Gavumenti yaffe eya wakati okugidduukirira esobole okutuukiriza emirimu gino.
Waliwo ensonga endala gye njagala okwogerako. Waliwo endowooza nti abantu tebasaanye kukolera oba keweereza bitundi byabwe, naddala mu Gavementi nga ey'e Mmengo.
Nsaba abantu ba Uganda bamanye nti omuntu bwayamba n'okukolerera ekitundukye, tekitegeeza nti tayagala Uganda, tekitegeeza nti aba ayagala kutabulatabula Uganda oba okugyawulayawula. Amaanyi ga Uganda ey'awamu gava mu maanyi g'ebitundu byayo eby'enjawulo.
Ekyokulabirako, Buganda erimu ebika eby'enjawulo. Omuntu okwagala ennyo ekikakye n'okukyenyumiririzaamu tekimugaana kwagala ggwanga lye erya Buganda. Mu ngeri y'emu omuntu okwagala okukolerera oba okuweereza Buganda tekimugaana kwagala Uganda, era tekisaanye kulowoozesa balala nti omuntu oyo alaba kumpi oba ayagala kwawulayawula mu bantu. Endowooza eyo esanye ekome.
Ensi nnyingi kati zitandise okukiraba nti amaanyi n'obutebenkevu bw'ensi ezo biva mu kunyweza na kukkiriza ebitundu byazo eby'enjawulo okuyamba ku gavumenti eya wakati ku by'okwekulaakulanya.
Eky'okulabirako ekyakabaawo kiri mu Bungereza. Oluvannyuma lw'emyaka kumpi ebikumi bina (400), ng'ensonga za Scotland zonna zikolwako kuva London, mu mwaka guno kyasaliddwawo nti olw'obutebenkevu n'okuyamba Gavumenti ya Bungereza eya wakati ku mirimu gyayo, Scotland ne Wales zeetongole zibeere zokka mu nsonga ezimu era zibeere n'enkiiko ezaazo zisobole okuyamba ku Gavumenti eya wakati mu kukulaakulanya abantu. Ensi endala nnyingi ezitandise okulaba ensonga eno.
Nze ndowooza nti Gavumenti y'e Mmengo erina engeri nnyingi nnyo gyeyinza okuyambamu Gavumenti eya wakati mu kukulaakulanya abantu baffe, era y'ensonga lwaki ffenna tusaanye okugiyamba.
Njagala okwebaza ennyo Owek. President olw'okuddiza Buganda Olubiri lwayo, n'olw'ebirungi ebirala by'akoledde ensi yaffe Uganda. Okuzza Olubiri kijja kwongera okunyiga Abaganda ebiwundu n'okwongera okubakakasa nti Gavumenti ya NRM by'esuubiza ebituukiriza n'okubawa essuubi nti n'ebikyaliyo ejja kubituddiza.
Mwebale kujja bangi bwe mutyo ku mukolo guno.
Mukama abakuume.
Ronald Muwenda Mutebi II
Kabaka wa Buganda