The Mutima (Heart) Clan


About the Mutima Clan

Secondary Totem:(Akabbiro)

Mawuggwe (Lungs)

Head Of Clan:(Ow'Akasolya)

Kakeeto

Clan Seat:(Obutaka)

Bbaale, Buddu

Clan Motto:(Omubala)

Kifa ennyanja, omuvubi y'abika.

 

EBIRIMU

·        Ennyanjula

·        Abakulembeze mu kika ky’omutima

·        Bannamugera nga bwe baddiringana

·        Bannamugera okuva mu mituba mukaaga.

·        Enyiriri mu mituba /masiga

·        Essiga ly’abakundi mu kika ky’omutima

·        Obutaka bw’ab’omutima.

ENNYANJULA:

 

Mu katabo kano omu ku bakulu b’ekika ky’omutima awandiise era  n’asengeka ebirowoozo bye ng’ayagala abo bonna abettanira  okumanya eby’obuwangwa n’enono babyesimereko. Alaze ebitonotono ebiyinza okuyamba abeddira  Omutima okumanya ba jjajja baabwe gyebasibuka ne we batuuse kaakati.

 

 


CHAPTER 1

 

OMUKULU WAAKYO AYITIBWA NAMUGERA

 

1. Q.    Ddala Namugera yali Kabaka?

 

A.        Yee yali Kabaka.  Namulondo ye yali Buddo.  Katikkiro we yali ayitibwa Bemba.  Katikkiro ono yali mukambwe nnyo.  Yatta abantu okutuuka lwe beetamwa, ne beekubira enduulu.  Baayita omu ku balangira, eyalina amaanyi, Omulangira yajja ennyago ne zikekera.

 

Kabaka Namugera baamutemyako nti Omulangira azze bukula, eggye lyo alimalawo.

 

Namugera yakwatamu byanguwa ng’akkirira Munyonyo.  Ng’akwata erimu ku maato g’empungu ya Kabaka ne bagandabe abaasobola okugya mu lyaato (empingu ya- Kabaka).  Abataagendera mu Mpingu, baakwata lya lukalu.  Abaakwata ery’olukalu beeyawulamu ebibinja bibiri:

Abatonotono baakwata ly’e Bulemeezi, abasinga baddukira Buddu ne ku lusozi oluyitibwa Lusiba mu Ggomba.  Bano lwakwebuzaabuza ne beeyita Abasaggi abaava e Bunyoto.  Ne batandika n’okwetuuma erinnya “LUSIBA” ne “NALUSIBA”.  Eyo gye baava mpolampola ne basaasaana mu Buddu.

 

CHAPTER II

 

            Namugera Kabaka omunaanule bwe yawulira nti bagandabe abaayita olukalu batuuse e Butale-Buwunga, n’alagira basigale awo kumpi ne baganda baabwe abaali e Nakiyaga, Kasozi, Kafuluma ne Kyabbogo (Narozali).

           

            Awo Abasaggi abaali boolekedde ery’e Bbaale beegatte ku mukulu waabe Namugera.  Yabategeeza (Namugera) ng e Bbaale bwe wali awafunda.

 

            Abasaggi baasigala e Butale ne libeera ESSIGA LYABWE nga lyamuliraano  n’amasiga amalala.

 

COMMENT:   Amasiga gano okubeera amangi ate nga gamuliraano, kabonero akategeeza nti omulabe agezaako okulumba essiga erimu, aba akiguddeko.

 

EBYABAAWO NG’ENSI ETEREDDE:

 

            Mu mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, omusajja omusaggi ng’ava mu BASAGGI abaddukira e Bulemeezi, Ssekabaka Daudi Chwa II n’amugonnomolako obwaami obw’okukuuma “ENKULUZE” y’Obwakabaka bw’e Buganda.  Omusajja oyo nga ye Waliggo.

 

            Waligo ng’ali Mmengo ku bukulu bw’Eggwanika ly’Obuganda, yateeseganya ne mugandawe Omusaggi, Daudi Bakiika-Nakirembeka, bawambe obwa Namugera (obusika) e Bbaale-kuba abasika ba Namugera, bantu baavu era ssi bayigirize kimala.

            Daudi Bakiika Nakirembeka ng’afunye obuwagizi bwa Waligo, yabissaamu engatto, ne yessa mu lukiiko lwa Namugera e Bbaale.  Yawaaba omusango.

 

            Yeeyanjula nga bw’ali Omulangira era nga mukulu w’oyo gwe babadde bayita Namugera (nga Ye Gatunulajjo)-  “Obukulu obwo obwa Namugera e Bbaale, bwange (-Daudi Bakiika Nakirembeka).

 

            Weesomere omusango gwa Daudi Bakiika Nakirembeeka-Empozesa yaagwo  n’ensala  mu lukiiko lw’e Mmengo olwa Ssekabaka Daudi Chwa II.

 

 

ENSALA Y’OMUSANGO GW’EKIKA KY’OMUTIMA DAUDI BAKIIKA NAKIREMBEKA GW’AWAWAABIRA NAMUGERA KAAKETO GATUNULAJJO.

 

Tumaze okukebera n’okwekkaanya, ne tusala omusango negusinga omuwaabi Daudi Bakiika Nakirembeka – kyeguva gumusinga:-

 

1.                  Kubanga mu mwaka 1926 yawoza Bulangira. Era mu mwaka ogwo n’atabagana n’olukiiko kw’Ekika ky’O mutima n’amenya obulangira bwe yali awoza.

 

2.                  Olukiiko lw’Ekika lwamulagira okuleeta ab’Amasiga ne Namugera  Kakeeto okuleeta agage.  Abadde tanagaleeta (amasiga) ate n’ajja awaaba mu Lukiiko lwa Kabaka nti nze Mukulu w’Ekika ky’Omutima ng’awawaabira Namugera Kakeeto Gatunulajjo.

 

3.                  Olukiiko lwa Kabaka nerulagira okuzza omusango guno mu Lukiiko lw’Ekika.

 

4.                  Obwa jjajja bw’Ekika bweyawawaabirira nti nze Jjajja w’Ekika.  Olukiiko bwerumubuuzizza nga bwali jjajja w’Ekika ky’Omutima bumubuze.

 

5.                  Bw’olaba mu masiga ge gonna naye erya Namugera gw’ayita omwana we talyogerako; ensikirano yalyo ng’amalala bw’agogerako ensikirano yaago, so nga Namugera mu mpoza ye amwoogerako nga bw’ali omwana we.

 

6.                  Ate Namugera gwabadde ayogerako mu mpoza ye nti mwana wange ate agamba nti ssi mwana wange ye wa Nyonyi wa Mbazira.

 

7.                  Bw’olaba era mu kibuuuzo No. 23 agamba nti munnange alina Akasolya akake nange nina Akasolya akange, sikyalina Namugera Kakeeto Gatunulajjo kyemmuvunaana,

 

Kale nno mu nsonga ezo mwetusinzidde okusala omusango okumusinga Daudi Bakiika Nakirembeka, netumulagira okutabagana awamu ne Namugera Kakeeto Omukulu w’Ekika ky’Omutima; kubanga omuziro guli gumu.

 

Ne tumubuuza nti ojulira Olukiiko Olukulu olwa Ssabasajja Kabaka? 

Okuddamu kwe nti njulira.

Ataddeko omukono gwe,

 Daudi Bakiika, Nakirembeka.

 

Ffe abasaze omusango guno:-

1.         Petro Kasikisa Mutuba I, Buyaga, Omubaka w’Olukiiko Lwa  Kabaka.

2.         Yoanna Aligaweesa  Musaale we Kabula

3.                  Zeverio Musajjawaza

4.                  Yokana M. Katera

5.                  Bulazi Ntangamalala

6.                  Adulufu Balaba

7.                  Batimayo Malekane

 

Omusango gwamusinga, n’akakasibwa mu ssiga ery’e Butale-Buwunga.

 

Okusinziira ku musango ogwo, ogwaali guleese akatabuko mu kika ky’Omutima, Ssekabaka Daudi Chwa, n’awa ab’Ekika-ky’Omutima amagezi bave ku by’okulondanga Namugera mu mituba nga bwe babadde bakola, naye obwa Namugera bubeere bwa nsikirano, i.e.Omwana omulenzi amusikidde nga y’abeera Namugera Kasekende.

 

Okusinziira ku biriwo kati mu kika ky’Omutima i.e. Omukulu w’Ekika okulwaala ate mutabaniwe nga tayagala kusikira kitaawe mu bukulu obwa Namugera, olw’okuba nti waliwo abantu ababukaayanira.  Obudde butuuse Ekika kidde ku nkola  ya bajjajjaffe mu mituba omukaaga (6).  Buli mutuba nga gussaawo omuntu omu omusengejje.  Mu babaka abo omukaaga (6) eyasinzanga banne obululu nga y’atwala obwa Namugera Kasekende.

 

CHAPTER III

 

Emituba etaano (5) egiwanguddwa, nga sigiyomba, nga gisigala mu ddembe, nga girinda bulinzi ku lulonda oluliddako (Bajjajjaffe balina Democracy ow’ekika ekya waggulu).  Ekika ky’Omutima bwe kinadda ku nkola eyasooka, Bajjajjaffe gye bassaawo olw’obulungi bw’Ekika n’eddembe, banaaba bakoze kikulu nnyo okumalawo omuvuyo n’enkayana zonna ezandizzeewo, ezaawulayawula mu baana ab’enda emu.

 

CHAPTER IV

 

KABAKA Namugera yafunira atya ab’Ekika ky’Omutima obutaka e Bbaale Buyaga mu Ggombolola y’e Kyannamukaaka?

Byajja bwe biti:

Nga bali mu nnyanja, baasalawo okuddukira mu bizinga by’e Ssese.  Bwe bagoba e Ssese, ne balaba nga bali mu kabi kanene, singa omulabe waabwe anaabazingiriza ku bizinga, ajja ku batta abamalewo, ne bakyuusa badde ku lukalu.  Kwe kuvuga ne bagoba e Bbaale, awali empuku ennene nga basobola okulengera wonna mu bwengula bw’ennyanja- Ate waggulu w’empuku nga weetadde bulungi.  Ku njuyi zombi omulabe gy’ayinza okufuluma nga balabayo bulungi.  Kabaka Namugera omunaanule yabeera mu kifo ekyo okumala ekiseera kinene nga talaba amulumba- Omulangira bwe yamala okuwamba Namulondo ya Namugera eby’okuwondera Namugera n’abivaako.

 

CHAPTER V

 

Bbaale kyali kifo kifunda nga baganda ba Namugera, sibakyasobola kugyaawo.  Namugera kwe kusaba bagandabe bagende basenge mu bitundu ebitali walannyo ne Bbaale, ye asigale n’abaanabe e Bbaale.

 

Baganda ba Namugera baawulira bulungi mukulu waabwe ky’abalagidde okukola.  Kati ge  Masiga g’osanga:

 

1.                  e Kyabbogo (Lujaaganya)

2.                  e Kyamuyimbwa (kasegu)

3.                  e Nakiyaga (Byuma)

4.                  e Namwanzi (Lunamunyu)

5.                  e Kasozi (Kanywanyi)

6.                  e Bulonge (Lugaaju)

7.                  e Nkuke (Nattuuma)

8.                  e Kafuluma (Luswata)

9.                  e Nabugabo-Bbaale (wanaana)

10.             e Butale (Lukaaga)

11.             e Mabowa (Omukundi)

12.             e Minyinya (Ddungu)

13.             e Ssanje (Ndawula)

14.             e Bugonzi (Yombo)

15.             e Butale II (Nakirembeka)

 

 

Ate abaana ba Namugera abaasigala e Bbaale gy’emituba gino: -

1.         Bwanika                     Bugayi                                    Kubbale                      Kubutaka

2.         Mayiga                       Bulegeya                    Kubbale                      Kubutaka

3.         Kirangwa                    Buwesi                       Kubbale                      Kubutaka

4.         Mukasa                      Mbowa                       Kubbale                      Kubutaka

5.         Musoke                      Bwoga                                    Kubbale                      Kubutaka

6.         Kakeeto Abbulibwa  Misenyi                       Kubbale                      Kubutaka

 

 

 

CHAPTER VI

 

Namugera bwe baagoba e Bbaale ne bagandabe, baasangako omutaka ey’eddira Engeye, nga y’avubira Pokino eby’ennyanja (mbu ye Pokino n’abitwaliranga omu ku BAMBEJJA.)  Omuvubi wa Pokino baamuyisa bulungi; n’ayongera okukola ogw’okuvuba.

 

Kabaka Namugera ne bagandabe baali ssi bayinza kukola mulimo gwa Kikopi-Abawandiisi abamu ab’omulembe guno baabulwa abalungamya, kwe kuwandiika nga bagamba nti ab’Ekika ky’Omutima omulimo ku Kabaka w’e Buganda ggwaali gwa kuvubira mumbejja eby’enyanja.

Kabaka Namugera omunaanule n’abalangirabe bandyefeebezza batya okudda mu kuvubira awambye Namulondo yaabwe?

 

Omutaka eyavubiranga Pokino, ekibanjakye kya nsikirano n’okutuusa kati, ab’Engeye bakimanyi nga kyabwe era mweebali nnyo.

 

CHAPTER  VII

 

ERYATO ERY’EMPINGU NAMUGERA MWEYAJJIRA OKUGOBA E BBAALE LYALAGAWA?

 

Tota mabi! Abavubuka abanyumirwa ebyafaayo by’ekifo kino beetegefu okufuna “Ba excavators” bajje bazuule eryato lino.  Ennyanja bwe yajjula n’eribikka omusenyu.

 

Guno omulimo gwandibadde gukolebwa mangu awatali kulinda “Lease” kuyitamu.

 

Mu maaso g’ejjinja eddene kati eryabikkibwa omujjuzi gw’ennyanja Nalubaale, eryato eryo we lyagoba.  Awandiika bino, n’aloba eky’ennyanja kye bayita “ENZEERE”, nga nnyimiridde ku jjinja eryo.  Lino ejjinja lye liyitibwa “BWANIKA” lyelyabbulwaamu “Akasozi Bwanika, akali e Naggalabi, abalwanyi ba Kabaka Namugera bawangulirwa awo.  Engalabi zasesebbuka nnyo.  Ku linnya erya Bwanika ne kugenderako erya Naggalabi.  Anti kwali kwekulisa kuwona Kabaka omukambwe (Namugera), eyalina Katikkiro eyatta abantu okukamala.

 

CHAPTER VIII

 

BIKI EBYABAAWO NG’OMUNGEREZA AMAZE OKUWAMBA UGANDA N’OBUGANDA BWONNA?

 

Endwadde eyammongoota (Sleeping – sickness) ereetebwa ebivu, yava e Ssese n’erumba olukalu, bajjajjaffe gyebaali beekweese.  Omungereza okuwonya obulamu bwabwe, n’alagira abantu bonna okwaamuka ebitundu ebyo byonna ebyaali birumbiddwa Mongoota nga ne Bbale ekya Namugera okuzingiddemu.  Omungereza y’alagira abantu beeyongera munda mailo ssatu (3) okuva ku nnyanja.  Jjajjaffe Namugera  n’abaanabe ne beewogoma mu bagandabe abaali ewalako n’ennyanja, e Mitemula.

 

Baabeera eyo okutuusa Omungereza endwadde ya Mongoota lwe yagimala amaanyi.  N’abalagira okuddayo mu bibanja byabwe bye yali abagobyemu.

 

Abatono baatandika okuddayo okukandula ebyali ebibanja byabwe.  Mw’abo abaddayo amangu mwe mwali taata wange, ADULFU BASAJJABALABA MAYIGA, Katikkiro wa Namugera, ow’ensibo akuuma obutaka bw’e Bbaale.

 

Namugera eyali atadde Entebeye e Mitemula, awo w’ali kaakano yajja n’akandula ekibanjakye n’embugaye.  Ono nga ye Namugera Mawaggali.  Obulamu bwe bwagonda, najjibwa e Mitemula, n’aleetebwa e Bbaale.  Era e Bbaale gye yafiira, n’aziikibwa awo mu mbugaye ne mukyaalawe era awo weyaziikibwa, n’abaaba be bonna baziikibwa awo.  Mutabani we Gatunula-(omusikawe) bwe yafa omulambo gwe gwaleetebwa e Bbaale ne guziikibwa kumpi ne Kitaawe (Namugera).  Omwana omu omulenzi eyali ayitibwa Sebastine ye yaziikibwa e Mitemula, mu kibanja kitaawe Namugera kye yali amuwadde, gye baayitanga mu nzo”.

 

CHAPTER IX

 

Ekituufu Namugera Mawaggali yalina amaka abiri (2), naye ng’amaka amakulu omuli embugaye, ge g’e Bbaale.

 

Bino ebitonotono bye mpandiise, bikuyambe okumanya ensibuko ya Bajjajja gye baava ne gye bali okutuusa kati.

 

Okwongereza kw’ebyo, bajjajjaffe mu kudda e Bbaale, baali balowooza nti bazzeeyo e Bbaale mu “BUTAKA BWABWE era mu TTAKA LYABWE”! Kazzi nga Gavumenti ebatwala ng’abasenze ab’ebibanja ku ttaka lyayo, lye yamala okweddiza.

 

 Byaba bwe bityo, kuba Ow’ekitiibwa SA MUGWANYA ne banne abaali bakuuma Obwakabaka bwa Buganda baagaana okuwa Bajjajjaffe ekyapa ng’omukulu w’Amatwale bwe yali abalagidde.

 

SA Mugwanya ne banne baleeta ensonga nti Kabaka (Chwa II) akyali muto, bw’alituuka okuramulira OBUGANDA, n’asanga ng’ettaka lye tuligabidde ABATAKA, ojja kutunyiigira.

 

Oluvannyuma Bajjajjaffe ne Bakitaffe bwe baamanya nti ettaka ly’e Bbaale lyonna gavumenti yalitwalira ddala, ne bawawaabira Gavumenti mu mbuga ez’amateeka.

 

Omusango sigwagenda wala.  Omulamuzi yabasaba baleete ekyapa kwe baafunira ettaka eryo.  Baali sibalinaawo kyapa yadde ebiwandiiko ebibawa obwannannyini ku ttaka eryo.  Omulamuzi omusango gwabwe n’agugoba.

 

CHAPTER X

 

Olukiiko lw’ekika lwatuula bukubirire, ne lusalawo Ekika kigule Mailo awantu wonna.

 

Eyatumibwa okugula Mailo ye jjajjaffe ZAVERIO (Zabye).  Musajjaawaza e Kisunku.  Zabye ku bwangu n’agizuula e KASANKALA, e Kooki, Rakai.

 

Yakomyawo amawulire ag’essanyu n’asaba olukiiko olwamutuma, lumuwe ssente asasule nannyini yiika ezo olukaaga n’okusoba.

 

Bajjajjaffe ne bakitaffe ssente zababula!

 

Zabye kye yakola kwe kuva mu ssenteze n’asasula nannyini ttaka ne biggwa.

 

Okuva olwo etteka ne libeera lirye n’abaanabe abalimusikira.  Abavubuka mpozzi n’abantu abakulu, abatamanyi be bawoza nti Zabye yabba ettaka ly’Ekika.  Ekika kye kyalemwa okusasula.

 

Ku yiika ezo yatoolako yiika kkumi (ac. 10) n’aziwa Eklezia ng’akyali mulamu, ng’ayagala mu ttaka lye bazimbemu Eklezia ya Katonda.

 

Akola ku ttaka ly’Eklezia y’akyalemeddwa okugenda okupima yiika ezo, n’okufuna ekyapa- Anti Administrator w’ebintu bya Zabye w’ali, ye Dominico Ssebbowa, e Kisunku-Kalisizo.

 

N.B.     Kyava ku ki “Namugera Kasekende okwongerwako eryo “Kakeeto”? Abaana abato batuunmangana amannya nga balabira ku munnaabwe nga bwe yeeyisa.

 

“Namugera” yali ayagala nnyo katabanike akaamusikira.  Buli gye yagendanga (Namugera) nga katabanike ako ke kambalira akaliba oba enkeeto Namugera kwe yatuulanga.

 

Erinnya erya Kakeeto lyakala ku mwana munnaabwe, ne bwe yalya obwa Namugera nga bongerako erya “Kakeeto”.

“NAMUGERA K. Kakeeto”. Erya Kakeeto ssi linnya lya “Bangeye”.

 

 

ABAKULEMBEZE MU KIKA KY’OMUTIMA

 

 

 

OBUKULU

ERINYA

OMUTUBA/ESSIGA

ENDAGIRIRO

1.

Namugera Kakeeto (47)

Nicodemo Kasekende

Kakeeto Abbulibwa

077-891244

2.

Katikkiro

Oweek.Vincent Bbaale Mugera

Ndawula

077-418188

3.

Dep. Katikkiro (1)

Ssalongo Andrew Kaggwa

Mayiga

077-407678

4.

Dep. Katikkiro(2)

Michael Bwanika

Ddungu

077-602461

5.

Dep. Katikkiro(3) Masaka

George Mayanja

Luswaata

 

6.

Omuwandiisi

Hajji Mohammad Bbaale

Mukasa

Lukyamu Bulemeezi

7.

Omuwanika

Henry Kyasanku

Luwaata

077/230756

8.

Ow’abavubuka

John Luberenga

Luswaata

071-429555

9.

Ow’abakyaala

Maria Ssennyonjo

Mayiga

071-435117

10.

Ow’emizannyo

Matia Bbaale

 

077-416195

11.

Munnamateeka

Gerald M. Ssensuwa

Musoke

075-501016

12.

Omukunzi w’abantu

Yosamu Mukasa

Mukasa

N0. 33 Nakasero

13.

Omubaka mu Kyaggwe

Dona Mukasa

 

Kyeteme

14.

Omubaka mu Kyaggwe

Christopher Musisi

Yombo

Mukono

15.

Omubaka mu Bulemeezi

Yisa Kirwana

Mukasa

Lukyamu

16.

Omubaka mu Bulemeezi

Bwanika Bbaale

 

Katikamu

17.

Omubaka e Busunju

G.N. Lukwata

 

Nakaziba

18.

Omubaka e Ssingo

Kigayaaza

Lujaganya

Naama

19.

Omubaka e Mpigi

Issaka

 

077-401555

20.

Ow’ebyobuwangwa

Matia Mujuzi

Luswaata

075-645026

 

 

BANNAMUGERA NGA BWE BADDIRINGANA.

 

 

 

NAMUGERA

EKIFO

TAATA WE

1.

Kakeeto Namugera

E Bbaale

Namugera

2.

Kakeeto Mayiga

E Bbaale

Namugera

3.

Bwanika

E Bugayi

Seremba

4.

Mukasa

E Mbowa

Mayiga

5.

Mukasa

E Mbowa

Mayiga

6.

Kayirembo

E Misenyi

Kakeeto

7.

Musoke

E Bwoga

Bwanika

8.

Namunobe

E Buwesi

Kirangwa

9.

Njulungu

E Mbowa

Mukasa

10.

Lusambya

E Bugayi

Bwanika

11.

Kasero

E Bulegeya

Mukasa

12.

Namugera

E Buwesi

Namunobe

13.

Bwegombe

E Bwoga

Mukasa

14.

Kalinzi

E Misenyi

Kayirembo

15.

Katongole

E Mbowa

Njulungu

16.

Mayika

E Bugayi

Lusambya

17.

Kannambubi

E Buwesi

Namugera

18.

Rukaaka

E Bwoga

Bwegombe

19.

Mandwambi

E Bwoga

Bwegombe

20.

Bbaale

E Misenyi

Kalinzi

21.

Kabiswa

E Mbowa

Katongole

22.

Bachwengo

E Bugayi

Mayiga

23.

Ssiyomba

E Bulegeya

Kannambubi

24.

Nsiko

E Buwesi

Rukaaka

25.

Kanuwa

E Bwoga

Bbaale

26.

Kabikaye

E Misenyi

Kabiswa

27.

Komungabo

E Mbowa

Ssiyomba

28.

Kanyamayiswa

E Bulegeyi

Bachwengo

29.

Bwanika

E Bugayi

Kabikaye

30.

Katigye

E Misenyi

Nsiko

31.

Musoke

E Buwesi

Kanuwa

32.

Kesero

E Bwoga

Komungabo