Alipoota y'Ekitongole ky'Ebyenjigiriza ey'Omwaka 2000 Eri Katikkiro.

a) Ennyanjula

"Mukama wange nkulamusizza nnyo. Ku lw'abakozi b'Ekitongole ky'Eby'enjigiriza ne kulwange, ntuusa okusiima kwaffe gy'oli olw'omulimu ogw'ettendo gw'okolera Obwakabaka bwa Buganda. Ekitongole kino, ssebo, kye kivunaanyizibwa ku nsonga ezikwata ku by'enjigiriza n'emizannyo mu Bwakabaka bwa Buganda. Kati emyaka esatu okuva lwe nnakwasibwa emirimu gy'ekitongole kino, Twagezaako okutema empenda ez'okuyitimusa eby'ensoma mu Buganda, nga mu kino, twayagala abaana ba Buganda bangi ddala bafune omukisa okusomako, kino kisobozese Buganda y'enkya okuvuganya mu katale k'emirimu, ate n'okusobola okwetonderawo egyabwe; anti ensi yonna kino kati ky'eyaayanira.

b) Ebyategekebwa Okukolwa Mu Mwaka 2000

Ekitongole kino kyategeka okukola emirimu egy'enjawulo mu mwaka guno era nga mu egyo mwe mwali gino wammanga.

  1. Okuzimba n'okumaliriza ekizimbe ekiriko ebibiina ne ofiisi ku ssomero lyaffe eriri e Bbowa.
  2. Okuweerera abaana ba Buganda lukumi (1000) mu masomero ag'enjawulo ku mitendera gyonna, (Primary, Secondary ne Tertiary).
  3. Okukkirizisa akakiiko akafuzi aka Buganda, amasomero ga Buganda gaddukanyizibwe abantu ssekinnoomu (private proprietors), nga bano baliko ensimbi eziva mu masomero ago; kino kisobozese ekitongole kyaffe okufuna ensimbi ez'okuddukanya emirimu gyakyo.
  4. Okuyamba nga bwe kiba kisobose amasomero gaffe okufuna ebikozesebwa.
  5. Okuwa Katikkiro amagezi ku nsonga ezeekuusa ku by'enjigiriza nga bwe kiba kisobose.
  6. Twalowooza ku ky'okutandika okuzimba essomero ly'Obwakabaka mu bizinga by'e Buvuma, ne mu ssaza ly'e Busiro (Namayumba),
  7. Okulongoosa essomero lya Primary e Kakoola mu Bulemeezi.
  8. Okudduukirira amasomero mu Buganda nga tugawa obuyambi obw'enjawulo okusinziira ku busobozi bwaffe.
  9. Okunyweza n'okumaliriza enteekateeka zaffe eza 2000

c) Bye Tusobodde Okukola

Mukama wange, mu mwaka guno tusodde okukola bino wammanga:

Sikaala

Ekitongole kino nga kiyita mu nsawo ya Ssabasajja ey'ebyenjigiriza (Kabaka's Education Fund) kiweeredde abaana 1,068; nga ku bano, 330 bali mu primary, 707 bali mu secondary ate 31 bali mu matendekero agaawaggulu (tertiary). Abaana baffe basatu balamba baatikkirwa amadiguli ag'enjawulo omwaka guno okuva mu matendekero agatali gamu, nga muno mulimu Allan Shem Kirumira eyafuna diguli ma mateeka (LLB) okuva mu Makerere University, n'abalala babiri okuva mu Christian University e Mukono ate ne Ndejje University.

Okuzimba Amasomero

Okujjumbiza Abaganda Okusomesa Abaana

Kino Mukama wange tukikoze, nga twongereza ku kukunga abantu mu masaza kwe twakola mu mwaka oguwedde. Ekitongole nate kiteeseteese okuteekawo obukiiko obukola ku by'enjigiriza mu buli ssaza (Ssaza Education Committee), nga buno bwe bunavunanyizibwanga ku by'enjigiriza (ku musinji gwa Buganda) mu bitundu ebyo. Era ku nsonga eyo, twetabye mu mikolo egiwerera ddala 58, mu mwaka guno, nga gino gyetabiddwamu ba minisita ababeezi ne ba Education Comissioners ba Buganda. Kino kyongedde amaanyi mu masomero ne mu bantu ba Buganda, ku nsonga z'okuweerera abaana.

Okudduukirira Amasomero

Ekitongole kino kidduukiridde amasomero agawerako wonna mu Buganda nga kigafunira ebikozesebwa. Omwaka guno, tugabye ebyuma bi kalimagezi (kompyuta) ebiwerera ddala 30 nga bino biweereddwa amasomero agawagidde ennyo Obwakabaka nga gabuwa ebifo ebyereere biteekebwemu abaana ba Kabaka abateesobola mu by'ensimbi.

Nate ekitongole kino kiwagidde amasomero mangi nga kigagabira ebitabo ebiwandiikwamu, ebisomerwamu (text books) entebe, awamu n'ensimbi enkalu; eziwerera ddala 7,800,000/=

Amasomero g'e Kakoola mu Mawokota n'e Mulajje mu Bulemeezi twasobola okugasiiga langi gonna ate ne tutandika n'ekizimbe eky'abasomesa e Kakoola nga tukolera wamu n'abantu b'omukitundu ku musingi ogwa Bulungi Bwansi.

Ekitongole era ky'enyigidde mu mulimu omulala ogw'okuddukanya essomero eddala elizimbiddwa ku musingi gw'Obwakabaka nga essomero lino lizimbiddwa mu Kyaggwe, era nga liyitibwa Seeta High School. Essomero lino libaddewo kati okumala emyaka esatu, naye nga omwaka guno ekitongole kino lwe kiriwomyemu omutwe.

Ofiisi

Ekitongole kino kyasobola okufuna ofiisi enneneko, era nga kati kiri mu bisenge ebyalimu BUCADEF ku mwaliiro ogw'okusatu wano ku Bulange. Ebisenge bino binene bulungi era bijja kusobozesa emirimu gy'ekitongole kino okugenda obukwakku.

d) Ebizibu Ebisangiddwa

Akalulu k'Okusonda Ensimbi

Nga bwe wamanyaako, ekitongole kino kyalina entegeka ey'okukola akalulu ak'ekika kya "takula ofune" nga kano kaagendererwamu kufuna nsimbi ez'okuddukanya emirimu gy'ekitongole. Kyokka olw'obutaba na ssente zeetaagisa kutandikirako, tetusobodde kukakola. Wabula tusuubira okukategeka omwaga ogujja (2001), era ssebo ku nsonga eno, tusaba akalulu kano kateekebwe ku lukalala lw'ebinaakolebwa omwaka ogujja.

Okuddukanya Amasomero ga Buganda.

Nga bwe kyali kikkiriziganyiddwaako mu kakiiko akafuzi, amasomero ga Buganda gaali gajja kuddukanyizibwa abantu ssekinnoomu (private proprietors) nga mu kino twali tunoonya okufuna abantu abalina obumanyirivu mu kuddukanya amasomero bagatuddukanyize, nga bwe batuwaayo ensimbi eziba zikkiriziganyiziddwaako buli lusoma. Ensimbi zino twagala ze tuba tukozesa okutegeka akalulu kaffe. Naye okutuusa kati tetunnafuna bulungi bantu balina bumanyirivu bwe twetaaga, ate abo abalabise tetwekakasa oba balina omutima ogwagala okuweereza Buganda; abandi baagala kutuwa busente mpawebwaga! N'olw'ensonga eyo, amasomero ago gakyali mu mikono gyaffe.

Emitemwa gy'Ebika

Mukama wange nga bw'okimanyiiko, buli kika wano mu Buganda kyasalirwa omutemwa gwa shs 100,000 (emitwalo kkumi) buli mwaka nga essente zino za kuyamba ku mirimu gya Kabaka's Education Fund. Kya nnaku okukutegeeza ssebo nti ebika byaffe tebijjumbidde nnyo nsonga eno, era omwaka guno ebika 14 byokka bye bituukirizza omutemwa gwabyo.

Abasabye Okuyambibwako Okuva mu KEF

Mukama wange omwaka guno tufunye abasabye okuyambibwako abawerera ddala 3,500 era nga okusinziira ku mbalirira ey'amangu, kyetaagisa shs 3,450,000,000/=!

Ensimbi

Nga bwe wakimanyako, Ssabasajja yasiima abaana baweererwe ensawo ya Kabaka's Education Fund, kyokka nga abaana bano bangi era beetaagisa ssente nkumu ddala. Olw'obufunda bw'ensawo eyo tufunye obuzibu okubongerayo okusoma

Bye Tutegese Okukola mu Mwaka 2001

  1. Okutegeka akalulu aka takula ofune nga ka kusonderako nsimbi ez'okuddukanya emirimu gy'ekitongole kyaffe. Olukusa olukola akalulu kano twalufuna era ssebo nkuweerezzaako koppi.
  2. Tuteeseteese okumaliriza ekizimbe e Bbowa ku ssomero, ate n'ekizimbe ku ssomero lya Lubiri Nabagereka.
  3. Tusuubira okufuna abantu ssekinnoomu abayinza okuddukanya amasomero gaffe ate nga balina omutima ogwagala Obwakaba. Twandyagadde omwaka guno gugende okuggwako nga abantu bano bafuniddwa.
  4. Tulina entegeka nnyingi oz'okutusobozesa okufuna ensimbi ez'okuddukanya emirimu gyaffe nga muno mulimu n'okukwataganya enkola zaffe n'emikwano gyaffe egiri ebunaayira (abroad). Mu kiseera kino tuli mu kutegeka 'working paper' gye tunaagoberera mu kitongole kino nga eno tujja kugiweereza mikwano gyaffe abali mu mawanga ag'enjawulo. Twagala okubalaga engeri gye bayinza okukulaakulanya eby'enjigiriza mu Buganda ate nga bafunamu ensimbi (possibility of investing in education in Buganda).
  5. Tuteeseteese okwongera okunyweza programmes zaffe ezibadde zikyagenda mu maaso zonna.
  6. Tujja kwongera okuzimba ekirowoozo ky'okuyanba abaana ba kateyamba ate n'abantu abakulu abatamanyi kusoma na kuwandiika.

Mmaliriza nga nnyongera okukwebaza byonna by'okolera Obuganda. Nkwagaliza Amazaalibwa ag'essanyu, n'Omwaka omuggya ogujjudde ebibala ebirungi."


Retun To: | Main News Page | Window on Mmengo | Buganda Home Page |