Agafa e Mmengo, 19 Gatonnya, 2001.

Katikkiro Atangaazizza ku by'Okulonda

Mu kaseera kano nga Yuganda eri mu keeterekerero k'okulonda abakulembeze b'eggwanga, wabaddewo okwemulugunya olw'abakungu ba Ssaabasajja okwetaba mu by'obufuzi. Abamu ku baminista n'abakungu ba Ssaabasajja, balaze obuwagizi bwaabwe ku beesimbyeewo mu lwokaano luno. Kino buli omu abadde akitaputa bubwe era ng'abamu bagamba nti Mmengo emaze okulaga oludda lw'ewagira nga ne bwe kityo eyingizza abafuzi ab'ensikirano mu by'obufuzi. Kino, abantu ba Buganda babadde bakiraba nga ekikolwa ekimenya akawaayiro mu Ssemateeka wa Yuganda akazzaawo obufuzi obw'ensikirano akagaana abafuzi ab'engeri eno okwetaba mu by'obufuzi. Ofiisi ya Katikkiro ky'evudde etangaaza ku nsonga eyo bweti:

"Kabaka wa Buganda, Kabaka wa bantu bonna abali mu Buganda. Olw'ensonga eyo, ofiisi ya Katikkiro eyagala okwongera okutangaaza nti Ssabasajja Kabaka ne gavumenti ye, tebalina ludda lwe bawagira oba lwe batawagira mu by'obufuzi ebiriwo mu kaco kano ak'okulonda omukulembeze wa Yuganda. Mu ngeri y'emu, gavumenti ya Kabaka tesuubira bakungu baayo abali wano e Mmengo n'abali awalala wonna, okuyimbirira mu lujjudde, omuntu yenna eyesimbyeewo mu kulonda kuno.

Wewaawo, Gavumenti ya Kabaka emanyi bulungi nti okusinziira ku Ssemateeka wa Yuganda, buli munnayuganda alina eddembe okwenyigira mu by'obufuzi ng'agoberera engeri yonna gy'aba alonzeewo. Ku lw'ensonga eyo, abakungu bonna mu gavumenti ya Kabaka, abaagala okwenyigira mu lujjudde, mu kulonda okuliwo, nga balina omuntu oba abantu be bawagira, basaana bamanye bulungi kye bakola; era abantu abanaakola batyo, bajja kulowoozebwa ng'abagenze mu kuwummula okuva ku mirimu gyabwe mu Gavumenti ya Kabaka okutuusa okulondebwa kwa President lwe kunnaggwa."

Narozari Yajaguzza Okuweza Emyaka 100

Ssabasajja Kabaka yeetabye mu kujaguza nga Ekerezia y'e Narozari eweza emyaka 100 kasokedde etandikibwawo mu Ssaza ly'e Buddu.

Ssaabasajja yagambye nti ebibala by'abaminsani bikuze era n'asiima nnyo abaminsani abaasooka ne bannadiini olw'okusomesa ediini n'amagezi; awamu n'okuzimba amasomero n'amalwaliro. Ssabasajja yakubirizza abantu bonna abafunye omukisa okusomera mu Narozari okuteeka mu nkola ebibasomesebwa. Yagambye nti Buddu yali ku mwanjo mu by'enjigiriza n'enkulaakulana, n'olwekyo ettutumu eryo lisaanye lizzibweewo. Yeebazizza nnyo bonna ab'enyigidde mu Bulungi Bwansi, n'asaba abantu ba Buganda bonna okujjumbira ennyo enkola eno kubanga ye yatuusa Buganda we yali nga tennataagulwataagulwa.

Mu kwogera kwe, Katikkiro wa Buganda Ow'ek. Mulwannyammuli Ssemwogerere, yagambye nti kizzaamu amaanyi okulaba nga Ekerezia yazimbibwa ku musingi gwa Bulungi Bwansi. Yakubirizza abantu bajjumbire okugula 'Certificates' era n'emirimu gya Bulungi Bwansi. Yanyonyodde nti eddiini wezajjira mu Buganda, kati emyaka gisoba mu 100 emabega. Bwatyo n'agamba nti, "Kati eddiini zino zikuze. Oba nga eddiini zikuze, kisaanidde n'eby'obufuzi bikule, abantu befugire mu mirembe. Buli mukulembeze mu kiti kye, asaanye akulembeze Kabaka eyaleeta eddiini n'abawa n'ettaka bonna kwe beegazaanyiza". Bwatyo Katikkiro bwe yategeezezza.

Ssabasajja Kabaka Yagguddewo Emipiira gy'Ebika

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yagguddewo empaka z'Emipiira gy'Ebika nga 31/12/2000 mu kisaawe e Nakivubo. Ab'Ekkobe n'ab'Effumbe be bagguddewo emipiira gino, era okugenda okukakkana nga ab'Ekkobe bakubiddwa goolo 2 ku bwereere.

Nga bulijjo, Ebika byonna 52 ebya Buganda bye byayisizza ekivvulu mu maaso g'Omutanda nga ku byo ebika 36 bye bigenda okubeera mu nsiike z'omupiira. Empaka zino zategekeddwa Bika Football Committee, wansi w'ekitongole kya Ssabasajja eky'Eby'enjigiriza n'Emizanyo. Ekika ekinaaba kinywedde mu binnaakyo akendo, kya kwewangulira engabo ennene ennyo ne seddume w'ente.

Engabo ewakanirwa ku mulundi guno, mpya ttukku. Enkadde ebadde ewakanirwa okuva empaka z'emipiira gy'ebika lwe zatandikibwawo mu 1950, yatwaliba ab'Olugave oluvannyuma lw'okugiwangula emirundi esatu egy'omuddiring'anwa. Engabo eno yaweebwayo Ssekabaka Muteesa II ewakanirwenga ebika by'Abaganda. Olw'okubanga engabo eyo ya byafaayo, Omutaka Ndugwa, Omukulu w'ekika ky'olugave, ateekateeka okuzzaayo engabo eno ewa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ekuumirwe mu kisenge ky'ebyafaayo ebikulu, Katikkiro wa Buganda ky'asuubira okuteekawo mu bbanga eritali lya wala.

Ekigendererwa mu mpaka z'emipiira zino, kwe kwongera okutabaganya abantu, okubamanyisa ebika byaabwe n'okubibaagazisa.

Okutongoza Ekyuma ky'Amazzi

Ekyuma ekipika amazzi ekyazimbibwa Obwakabaka bwa Buganda nga kikolera ku maanyi g'enjuba, kyagguddwawo e Nakaseke ku Gombolola. Omukolo guno gwakoleddwa Pulezidenti wa Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni, nga 17/12/2000.

Omukolo guno, kibala ekyava mu nkolagana ennungi wakati wa Gavumenti ya Ssabasajja n'ekitongole ekimu mu Amerika ekiyitibwa "Moving Water Industries" ekiri mu Florida mu USA. Okutuuka ku kuganyulwa kuno, Owek. Kaddu Kiberu, Minista wa Ssabasajja ow'Amasanyalaze n'Amazzi ye yawoma omutwe mu nteeseganya n'ab'ekitongole ekyo eky'Abamerika.

Owek. Kaaya Kavuma, Omumyuka wa Ssentebe w'Akakiiko Akafuzi aka Buganda, era nga ye yakiikiridde Kamalabyonna wa Buganda ku mukolo guno, yategeezezza Pulezidenti nti Buganda erina ebintu by'eyagala, nga federo n'ettaka. Yagambye nti ssinga Buganda yaweebwa federo, ssinga ne Yuganda yonna emasamasa. "Ate oba tukola kati nga tetulina wetuggya, naye watya nga tulina wetutetenkanyiza? Buganda edda nga erina federo, yasobola okukola ebintu bingi nga n'ebimu tebyongerwangako. Kino kiraga amaanyi ga Buganda n'okumalirira kwaayo mu by'enkulaakulana."

Ku mukolo gwe gumu, abantu bangi baawagidde Obwakabaka nga bagula "Certificates". Omugenyi omukulu, Pulezidenti Museveni, yaguze 'certificate' ya Shs.10m/=. Ate yye eyakiikiridde Omubaka wa America mu Yuganda, Omw. Don Brown yaguze certificate ya Shs.30,000/=. Minisita Omuyambi ow'Amazzi mu Gavumenti eya wakati, Hon. Maria Mutagamba yaguze ya Shs.100,000/= era ne Hon. Syda Bbumba Minisita w'Amasanyalaze naagula ya Shs.100,000/=. Mu bangi abaabaddewo mwe mwabadde, ne Baminisita n'Abakungu ba Ssabasajja abawerera ddala.

Omutaka Kayiira Yakubirizza Abaganda Okunywerera ku Byaffe

Omutaka Kayiira Gajuule, Minisita wa Omuto ow'Eby'obuwangwa n'ennono mu Bwakabaka, akubirizza Abaganda obutakyamuukirira na kukozesebwa bannabyabufuzi mu kunoonya obululu okubindabinda kubanga abamu basuubiza nga tebajja kutuukiriza. Yabasabye okunyweerera ku federo n'ensonga za Buganda omuli ettaka nti era oyo eyesimbyeewo bwaba alaze amakubo amalambulukufu Buganda mwenaayita okufuna ebintu ebyo, Obuganda gwe buba bunywererako.

Okwogera bino, Omutaka Kayiira yabadde ku mukolo ogw'okwaabya olumbe lw'Omugenzi Sentamu, kitaawe wa Hon. Andrew Sengooba eyali omukiise wa Rakai mu Lukiiko lwa Buganda. Omukolo gwabadde mu Rakai District ku Lwomukaaga nga 6/12/2000.

Omutaka Kiyiira yawadde eky'okulabirako ekya Hon. Sekandi ng'ono ye Mumyuka wa Sipiika w'Olukiiko lw'eggwanga olukulu (palamenti), gwe yagambye nti awagira nnyo ensonga zonna eza Buganda n'asaba ne bannabyabufuzi abalala batwale eky'okulabirako ekyo, baleme kutiiririra Buganda nga batuuse ku lyengedde. Yakubirizza abantu ba Buganda okubeera obumu n'okuyambagana, okunyweeza endyo zaabwe, naddala mu nsikirano z'obusika. Yabasabye ku nsonga eyo bagoberere bajjajjaffe mu busika; olwo obumu n'okwagalana mu bika byaffe bijja kuddawo nga bwe byalinga edda. Kino kijja kusobozesa ebika byaffe okukomya ensowole ezibirimu.

Omukolo guno gwetabiddwamu ne Baminisita ba Ssabasajja abalala awamu ne Baminisita okuva mu gavumenti eya wakati.

Katikkiro Alambula Amasiro g'e Kasubi

Ku Lwokusatu nga Gatonnya 17, 2001 Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere yalambudde Amasiro g'e Kasubi. Yawerekeddwako Minisita avunaanyizibwa ku by'amasiro, Owek. Peter Mulira, n'abakungu abalala.

Nga atuuse ku masiro, Katikkiro yayanirizibbwa Ssentebe w'akakiiko akalabiria omulimu gw'okuddaabiriza Amasiro era nga ye Muwanika wa Buganda, Owek. J.B. Walusimbi ne banne bwe bali ku Kakiiko ako: Ow'ek. Ssewava Sserubiri, Ow'ek. Tofiri Malokweze (Kaggo), ne Katikkiro w'e Kasubi, Ssalongo Mulumba. Kamalabyonna ekyamututte e Kasubi, kwe kwerabirako ye kennyini omulimu ogw'okuddaabiriza amasiro gano we gutuuse.

Katikkiro yalambuziddwa munda n'ebweru wa Muzibu Azaala Mpanga. Yalambudde abantu abali ku mirimu egitali gimu, naye nga gya bukugu, egy'okuteekateeka ebintu ebikozesebwa okuddaabiriza amasiro. Mu mirimu egyabadde gikolebwa, mwe muli okuwawula n'okusongala emmuli, okusunsula n'okusiba obuyole bw'essubi, okutaggulula n'okulanga ebinsambwe, okuyubuluza amavuuvuume, n'emirimu emirala. Bino wammanga Katikkiro byeyazudde:

a. Omulimu gw'okuddaabiriza Amasiro munene nnyo okusinga bwe kyali kirowoozebwa.

b. Kyetaagisa ebintu eby'okukozesa bingi nnyo.

c. Obudde bwe twewa okumalirizaamu omulimu gw'Amasiro buyinza obutamala okujjako nga Obuganda bwekembye nnyo.

d. Kyetaagisa omuwendo gw'abakozi bennyini gweyongere obungi; abalina obumanyirivu beegatte ku bano abaliwo, ate abatabulina batendekebwe.

Bwatyo Katikkiro yakubirizza Obuganda bwongere nnyo amaanyi mu kaweefube w'okuddaabiriza amasiro gasobole okumalirizibwa mu kiseera ekyagerekebwa. Katikkiro akowoodde Obuganda bwati:

1. Okwongera okuleeta ebyetaagibwa okukozesebwa: essubi, emmuli, ensambya, ebinsabmbwe, enkulu, obukindukindu n'ebirala.

2. Okweyongera okuleeta ensimbi ezeetaagibwa okutambuza ebikozesebwa eby'ogeddwako okubijja mu byalo okubireeta e Kasubi.

3. Okwongera ku bungi bw'abakozi kubanga abaliwo kati batono ddala ate ng'omulimu gukolebwa mu ngeri ya bwegendereza nnyo.

4. Abayizi b'omu masomero, bayitibwe bajje batendekebwe mu mirimu gino ate nga bwe beetaba ne mu kuddaabiriza amasiro.

Katikkiro yebazizza nnyo Ssentebe n'akakiiko ke, baminisita, n'abakozi abalala beyasanze e Kasubi olw'omulimu omunene ate omulungi gwe bakoze era gwe bakyakola. Mu ngeri ey'enjawulo, yasiimye Obuganda okumwanukula ne buleeta ebikozesebwa n'essente. Yasiimye bwongerwa.

Yebazizza abakozi olw'okuwaayo amaanyi n'amagezi gaabwe okukola omulimu ogwo. Yayongedde era ne yeebaza ab'amawulire, be yayogeddeko nti, we batali omulanga gwe tegwalituuse mu bantu ba Ssabasajja. Ng'amaliriza, yategeezezza ababaddewo nti olw'ettuttumu Kasubi lyalina, abagenyi abajja mu Yuganda batera okwagala okukyalira Amasiro ga Buganda era Vice President wa China yabadde asuubirwa okukyalako e Kasubi mu nnaku ntono ezijja.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |