Agafa
e Mmengo - February 2002
Katikkiro Atongozza Akakiiko K’amatikkira 2002
Katikkiro
wa Buganda Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere, alonze akakiiko akanaateekateeka
amatikkira ga Ssabasajja Kaaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi
ogw’omwenda, aganaakwatirwa mu Lubiri e Mengo.
Bwe
yabadde atongoza akakiiko kano akaliko abantu 31 mu Bulange, e Mengo, olunaku
Lw’okubiri nga 5/02/2002, Katikkiro yagambye nti newannkubadde nga kyali
kisaliddwawo amatikkira okutegekerwa nga mu masaza gonna mu Buganda, mu ngeri
ey’ebisanja, asazeewo ag’omulundi guno (2002) gakomezebwewo e Mengo, kisobozese
Obuganda okumaliriza Twekobe.
Yasabye
abeetema okudduukirira omulimu gw’okumaliriza Twekobe, naddala Pulezidenti
Yoweri Museveni, okutuukiriza obweyamo bwabwe, kisobozese omulimu okugenda
obukwakku.
Kyasalibwawo
era nti ku mulundi guno, Abataka Abakulu b’Obusolya be baba beenyigira
obutereevu mu mikolo gy’amatikkira.
Akakiiko
kano, kakukulirwa Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku kuddaabiriza embiri,
era nga ye Katikkiro w’Ekika ky’Engonge, Owek. Jolly Lutaaya ng’amyukibwa Owek.
Kaddu Kiberu, era ono yeyaweereddwa n’ogw’ obuwanika. Abataka abalala be:
Omutaka Kayiira, Omutaka Kayita, Omutaka Ndugwa, Omutaka Mbaziira Omutaka
Kyeyune Bugingo, Omutaka Kaliika n’abalala.
Yagambye
nti kafuuse kalombolombo, buli matikkira okubaako omwoleso, kubanga gwa mugaso
nnyo eri enkulaakulana y'abantu baffe. N'olwekyo ne ku mulundi guno, wajja
kubaawo omwoleso nga gukulirwa Eng. H.R. Kibuuka.
Abalala
abali ku Kakiiko, mwe muli Owek. J.C. Muyingo, Hon. Tim Lwanga akulira Ababaka
mu Parliament abava mu Buganda, Mayor J. Sebaana Kizito, Ababaka mu Lukiiko
lw’Eggwanga - Margaret Zziwa ne Tom Kayongo ne Ssentebe w ’e Gombolola y’e
Lubaga Omw. Justin Ssendikaddiwa, n’abalala.
Katikkiro Wa Buganda Asisinkana Ne Bakatikkiro Okuva Mu Bitundu
Bya Uganda Ebirimu Abafuzi Ab’ensikirano
Ku
lunaku Lwokutaano nga 15/02/2002, Katikkiro Mulwanyammuli yasisinkana
Bakatikkiro banne abava mu bitundu bya Uganda ebirala ebirimu obufuzi obw’
ensikirano. Bakatikkiro abeetaba mu nsisinkano eno be: Owek. Nyabongo Rakijuma
– Omuhikirwa wa Toro, Owek. Kagoro Byenkaya – Katikiro wa Bunyoro, Owek. Eng.
Dan Batuwa – Katikkiro wa Busoga, Owek. Prof. J. Opolot – Ekirigi wa Teso
Cultural Union. N’abamu ku Baminisita b’omu Bwakabaka obwogeddwako, nabo
beetaba mu nsisinkano eno.
Okuteesa
kwonna kwabadde mu Luzungu era kuno mu bujjuvu, kwe kwabadde okwogera kw’Owek.
Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere:
“My
Colleagues the
·
Omuhikirwa of Tooro -
Owek. W.S.K. Nyabongo Rwakijuma,
·
Katikkiro of Bunyoro -
Owek. Kagoro Byenkya,
·
Katuukiro of Busoga –
Owek. Eng. Dan Batuwa,
·
Ekirigi of Teso Cultural
Union - Owek. Prof. J. Opolot,
·
Jago of Tyeng Adhola -
Owek. Rogers Jassa Kwelo,
·
Guest Ministers &
Ministers from the Kingdom of Buganda,
·
Distinguished Guests,
Ladies and Gentlemen.
I
am greatly honoured and privileged to welcome you, distinguished members of our
family. The family as you may observe, has, in today’s meeting, additional
members. We have in the past been meeting as a family of four, but we are now
joined by our brothers from Teso Cultural Union, and Tyeng Adhola. May I take
this opportunity, on behalf of this group, to extend our warm congratulations
to the Emorimor Papa Iteso, and the Adhola, on the recognition by Government, of
your regions, as distinctive Cultural Institutions. We also extend a very warm
welcome to Prof. J. Opolot, the Ekirigi of Teso Cultural Union, and Hon. Rogers
Jassa Kwelo, the Jago of Tyeng Adhola, to our fold. Let me also take this
opportunity to congratulate Katukiro of Busoga on the successful preparation
and conclusion of the Kyabazinga Day at Bugembe.
At
this juncture, allow me to introduce to you members of my team from the Kingdom
of Buganda. Before I proceed, I would like to bring to you greetings from
Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, who is very much aware of your
presence. You may recall that today’s meeting has come about as a kind of
follow-up, on the meeting we had with the 1st Deputy Prime Minister and
Minister of Internal Affairs, Hon Eriya Kategaya on 28th/Jan/ 2002. At that
meeting, we talked about the concern of Government on the security of our
Cultural Leaders. We then agreed to continue discussions on our own, on
modalities of how provision of protection to our Cultural Leaders should be
made.
I
am happy to report that on 29th January, 2002, by coincidence, I had a meeting
with the Omuhikirwa of Tooro, Owekitinisa W. S. Nyabongo Rwakijuma, with whom
we agreed to put a request to this meeting, that our discussion goes beyond the
subject of protection of our leaders, to cover areas of primary concern. We
thought about the following pertinent issues;-
i) The need to have a common approach on topical issues such as
Federalism.
The
idea of a Federal System of Governance must be emphatically sold outside the
Kingdom areas. However, I must say that I was greatly encouraged by the Vice
President’s Speech, on the occasion of the Kyabazinga Day held at Bugembe in
regard to the position of Cultural Leaders.
ii) The status of Traditional Leaders
Government
must be made to recognize the importance of Cultural Institutions. Traditional
Leaders command great respect of the people. These Leaders play a very big role
in mobilising people for development; it is therefore imperative that the
partnership between Government and the Cultural Institutions be genuinely and
practically recognized.
iii) The need for Government to finance Cultural Institutions.
Cultural
Leaders, through their people, contribute enormously to the Government Revenue.
However, there is no corresponding and/or stipulated budgetary provision for
these Institutions for sustenance and enabling them to play their role
effectively.
iv) The need to define the position, role and relationship of
Cultural Leaders with Government.
Currently
this relationship with Government is unclear.
v) The need to have meetings of the Executive Leaders on a regular
basis.
The
need to have meetings of the Cultural Leaders on a regular basis need not be
over emphasized. Before 1967, meetings of Traditional Leaders were held
regularly. The Kings always met to review development in their Kingdom areas. I
have to stress that the Kingdoms’ pre–1967 development credentials, were there
for everyone to see. Schools, Hospitals, Bulungibwansi projects, etc. were a
common site. By reviving these meetings, therefore, we shall be embarking on
the long journey to trace the lost glory and treasure, endowed in the Cultural
Institutions.
vi) The need to draw out strategies for achievement of the
objectives.
One
of the strategies would be to address the NRM Secretariat on topical issues
with concrete proposals. The Omuhikirwa and I were of the view that in addition
to the question of the protection of our Leaders, the meeting could focus
attention on the following issues:
o
Position, role and
relationship of the Cultural Institutions with Government Financing of Cultural
Institutions.
o
Federal system of
Government
Feel
free to add or subtract. As a first meeting, I thought these are the minimum
programme.
In
conclusion, I would like to thank you once again for having spared your
precious time to come. Your coming is truly a manifestation of the strong
vision you have in reviving the cultural values and the urge to spearhead
development of our Traditional Institutions. I wish you good deliberations.”
Ensonga
zonna nga bamaze okuzikubaganyako ebirowoozo, baalonzeewo akakiiko ak’okukola
alipoota enzijuvu erisomebwa mu lutuula lwabwe luliddirira nga 22nd March 2002.
Bano
be Bamemba b’Akakiiko ako:
1.
Owek. Nyabongo Rakijuma,
Omuhikirwa wa Toro - Chairman
2.
Owek. Martin Musumba,
Deputy Katukiro wa wa Busoga - Vice Chairman
3.
Owek. Phillip Winyi –
Memba
4.
Owek. Apollo Makubuya –
Memba.
Olutuula Lw’akakiiko Akafuzi
Akakiiko
Akafuzi (Cabinet) kaatudde ku Lwokuna nga 7 February 2002 mu kisenge
ekiteesezebwamu wano mu Bulange. Bino bye byabadde ku agenda:
1.
Essala
2.
Okwogera kwa Katikkiro
3.
Ebiva mu kwogera kwa
Katikkiro
4.
Enteekateeka z’Akakiiko
Akekkenneenya Ssemateeka (Constitutional Review Commission) weetuuse - Owek.
J.W. Katende.
5.
Alipoota ku Buganda
Kingdom Development Strategy (BKDS) - Owek. Leo Kibirango
6.
Enteekateeka empya ku
ntunda ya Certificates za Buganda - Owek. J.B. Walusimbi
7.
Ekiwandiiko kya Ministry
y’Eby’enjigiriza n’Emizannyo ku nkola (Policy) ey’ekisaawe ky’e Wankulukuku -
Owek. J.C. Muyingo
8.
Alipoota ku nteekateeka
z’Amatikkira ag’omulundi ogw’omwenda. - Owek. Jolly Lutaaya
9.
Alipoota ku
"Ekitoobero Mulongooti" - Owek. Godfrey Kaaya Kavuma
10. Okuteekateeka Olukiiko lwa Buganda - Owek. Robert B.K. Sebunnya.
Nga
‘agenda’ bw’eraga Owek. Katikkiro yayogera eri ba Memba b’Akakiiko
Akafuzi era mu bujjuvu kuno kwe kwali okwogera kwe:
1. Ennyanjula.
(a)
Okwaniriza Abakiise: Mbaanirizza nate bakiise bannange.
(b)
Eby’okutesaako: Tujja kuteesa ku nteekateeka z’Akakiiko akeekenneenya
Ssemateeka we zituuse; Alipoota ku BKDS; Enteekateeka empya ku ntunda ya
‘Certificates’; Ekiwandiiko kya Ministry ye by’Enjigiriza n’Emizannyo ku nkola
(policy) ey’ekisaawe ky’e Wankulukuku. Tujja kwogera ku nteekateeka
z’Amatikkira, tufune ne Alipoota ku ‘Ekitoobero Mulongooti’ era tuteeketeeke
n’Olukiiko lwa Buganda lwe tusuubira okutuula amangu.
2. Ssaabasajja Kabaka
Ssaabasajja
Kabaka gyali ateredde ntende mu Lubiri lwe.
a)
Okulambula kwa
Ssaabasajja
(i)
Ku lunaku lwa Sande nga
27/01/2002, Ssaabasajja Kabaka yatandika okulambula mu Ssingo era nga ku lunaku
olwo, yeetaba mu kusinza n’omukolo ogw’okutikkira Omulabirizi omupya
ow’Obulabirizi bw’e Mityana, Dustan Kopoliano Bukenya. Ssaabasajja
yawerekerwako Katikkiro wa Buganda, Minisita Nuwa Nyanzi n’Abakungu ba Ssaabasajja
abalala bangi.
(ii)
Ku Sande akawungeezi,
Ssaabasajja yasisinkana ba Memba ba Palimenti abava mu Ssingo ne bogera ku
nsonga ezikwata ku kitundu kyabwe.
(iii)
Enkeera ku lunaku lwa
Bbalaza, Ssabasajja yalambula ku Bishop Joseph Mukwaya owa Kiyinda Mityana
anaatera okuwummula. Bishop Mukwaya ennaku zino mukosefukosefu.
(iv)
Ng’akomyewo mu Lubiri
lwe, Ssaabasajja yasisinkana n’Abakulembeze b’omu Ssingo kinnomu, nga mu bo mwe
mwali; Ba Ssentebe ba zi ‘Districts’ - Mubende ne Kiboga, era n’asisinkana
Abaami ab’Amagombolola ab’omu Ssingo nga baakulemberwa Mukwenda Owek. Stanley
Kijjambu. Ssabasajja era yayogerako eri abavubuka bangi nnyo abajja
okumwaniriza n’okumulabako, n’abakubiriza okunyiikirira ennyo buli kye baba
bakola. Abavubuka bano baagula ‘Certificates’ zonna ezaaliwo ne bazimalawo.
(v)
Ku lunaku Lwokubiri nga
29-02-2002, Ssaabasajja Kabaka yalambula egimu ku mirimu egy’okwekulaakulanya
mu Ssaza eryo. Mukwenda ye yalambuza Omutanda nga awerekerwako ba Minisita,
Abebitiibwa Kamala Kannamuwangi, Lutaaya Mukomazi n’Omutaka Kayita Musoke. Mu
kulambula Ssaabasajja yayogera eri abantube. Mu bifo bye yalambula nga muno mwe
mwali; a) Mityana Metal Works b) Omwalo gw’e Katiko ku nnyanja Wamala. c)
Project ya bio-gas, d) Yalambuzibwa ennimiro n’amalundiro, era n’alambula
omulimi omukukuutivu Omulongo Kizza. Saabaajja yasiima nnyo emirimu egikolebwa.
b)
Okukyaza Hon.
Boris Johnson, MP Ku lunaku
Lwokuna nga 24-1-2002 Ssaabasajja Kabaka yakyaza omu ku mikwano gye ennyo Hon.
Boris Johnson, Memba wa palamenti ya Bungereza. Omutanda n’Omugenyi we
banyumiza ddala emboozi n’egwa amakerenda.
3. Ofeesi Ya Katikkiro
Abagenyi ba Katikkiro
(i)
Ku lunaku Lwokubiri nga
29-01-2002 Katikkiro yakyaza Omuhikirwa wa Toro Owekitiinisa W.S.K. Nyabongo
Rwakijuma. Owekitiinisa, yawerekerwako Abebitiibwa Charles Bwango, Minisita w’
Enkolagana z’Obwakabaka ne Phillip Raboni Winyi Minisita w’Ebyamawulire era nga
ye Njogeziyogezi y’Obwakabaka bwa Toro. Katikkiro n’Omugenyi we baayogera ku
bintu bingi ebikwata ku Bwakabaka bwombi era ne boogera ne ku lukiiko lwa ba Katikkiro
oluteekebwateekebwa okubaawo nga Feb. 15, 2002. Olukiiko luno lujja kuzingiramu
neba ‘Katikkiro’ abebitundu eby’Obuwangwa (Cultural Leaders), ebyakatondebwawo.
(ii)
Ku lunaku Lwokubiri nga
05/02/2002 Katikkiro yakola omukolo ogw’okutongoza akakiiko akanaategeka
emikolo gy’Amatikkira ag’Omulundi ogw’omwenda. Omukolo guno gwali mu kisenge
kino. Gwetabwamu abantu abakulu bangi okuva mu Bwakabaka, omwo nga mwe muli
Abataka, ba Minisita, ba MPs, Ssentebe wa LC 3 Lubaga n’abalala. Amannya ga ba
Memba b’Akakiiko kano akakulirwa owek. Jolly Lutaaya, nnamala dda
okugabategeeza.
(iii)
Olunaku lwa jjo, ku
Lwokusatu, Katikkiro yakyaza Inspector General wa Police ya Uganda, Major
General Katumba Wamala. Katikkiro n’omugenyi we banyumya ku bintu bingi
ebikwata ku Ggwanga.
(iv)
Ku lunaku Lwokutaano nga
01 Feb, 2002 Katikkiro yaggulawo olukung’aana lw’ ekibiina ky’abasawo
ekimanyidwa nga: ‘Association of Physicians of Uganda’ olwatuula mu ttendekero
ly’abasawo e Nsambya. Katikkiro yawerekerwako Owek. Robert Sebunnya, ne Dr.
Josephine Nambooze Kiggundu. Omulamwa gw’olukung’aana olwo, gwali ku bulwadde
bwa Sukaali (Diabetes Melitus) n’engeri y’okubujjanjabamu mu kaco kano.
Katikkiro yayanirizibwa Professor Otim ne Dr. Kigonya.
Katikkiro Yayozaayozezza Mayor Ssebaana Kizito
Gyebuvuddeko
katono, wabaddewo vvaawo mpitewo w’okunoonya obululu okwa ba Ssentebe ba zi
LCs. Wano mu Kampala kibadde kissakinegula Mayor Ssebaana Kizito ne munne
Omulongo Wasswa Ziritwawula nga banoonya obululu okusobola okutwala obwa Mayor
bw’ekibuga Kampala; era okugenda okukakkana nga Ssebaana bannakampala bamulonze
okuddamu okubakulembera nga Mayor w’e Kibuga (Kampala City Council).
Kamalabyonna yamuyozaayozezza bwati:
“February
19, 2002
Owek.
John Sebaana Kizito MAYOR WA KAMPALA.
OBUBAKA
OBW’OKUYOZAAYOZA
Twasanyuse
nnyo bwe twawulidde amawulire ag’okulondebwa kwo okuba Mayor wa Kampala nga
kino kisanja kyakubiri.
Nkusaba
okkirize obubaka buno okuva eri Akakiiko Akafuzi, Olukiiko lwa Buganda lwoliko
nga memba, okuva gyendi, Omukyala n’Abomu maka gange, nga bukuyozaayoza nnyo
nnyini, Ssebo Mayor, n’Abomu maka go olw’obuwanguzi obw’ amaanyi
obukutuusiddwako abantu be Kampala.
Kampala
District mwe muli ebitebe ebikulu eby’obuwangwa eby’Obwakabaka bwa Buganda,
n’olwekyo okusinziira kubisuubizo byo, amazima n’obwesigwa bwo mu mirimu gyo,
ffe ng’abatuuze, mu bitundu bino, era n’abantu abasinga mu Kampala nga bamaze
okkulozaako, obamatizza nti ggwe osobola okubakulembera era n’okubalabirira
obulungi mu kiseera kino.
Nze
nga Kamalabyonna akulembera Obuganda nga nsinziira ku kitebe ekikulu nakyo
ekiri mu kitundu ky’okulembera, nja kukuwagira mu buli ngeri esoboka
okukulaakulanya emirimu n’embeera z’abantu abaffe.
Twebaza
Mukama akusobozesezza okuyita mu biseera bino ebibadde ebya kanayokyani, era
twongera okukusabira n’okukwagaliza obukulembeze n’obulamu obulungi mu
buvunaanyizibwa obuziddwa obuggya.
Mukama
Akukuume".
Ba
Ssentebe ba zi Districts abalala Owek. Katikkiro beyayozaayozezza mwe muli:-
Omw.
Vincent Bamulangaki Ssempijja, eyazzibbwa ku bwa Ssentebe bwa Masaka District;
Major Kakooza Joseph, Ssentebe Mubende District; Omw. Daniel Kikoola, eyaziddwa
ku bwa Ssentebe LC V Kalangala District; Omw. Ian Kyeyune, eyaziddwa ku bwa
Ssentebe LC V, Wakiso; Omw. Christopher Bagonza, Ssentebe LC V Nakasongola;
Omw. Nkugwa Kizito Siraj, Kiboga District; Eng. Steven Dagada, Kayunga; Haji
Abdul Nadduli, Luweero; Omw. Herman Ssentongo, Ssembabule District; Omw. Kabega
Badru, Mpigi District; Omw. Ssemakula Vincent, Rakai District.
Ate
era yayozaayozezza ne bano:
Omw. John Tebyasa Matovu, eyazziddwa ku bwa
Mayor Masaka Town Council; Haji Nassib Kibirige Takuba, Ssentebe LC III Kawempe
Division; Omw. Charles Sserunjogi, Ssentebe LC III, Central Division; Omw.
Justin Ssendikaddiwa, Lubaga Division; Omw. Deo Kijjambu, Makindye; Omw. Protozio
Kintu, Nakawa Division.
Katikkiro
era ateekateeka okuyozaayoza ba Ssentebe b'Amagombolola abalondeddwa wonna mu Buganda.