Agafa e Mmengo, 2 Mukutulansanja, 2001.
Omuwanika wa Buganda, Owek. J.B. Walusimbi ayanjulidde Kamalabyonna wa Buganda alipoota evudde mu kutunda Certificate okuviira ddala mu mwezi gwa Mugulansigo (Ogwokusatu) 2000 okutuukira ddala mu Ntenvu (Ogwekkuminebiri) 2000.
Yategeezezza nti yali abaliridde kufuna 50m/=. Kya ssanyu nnyo okulaba nga zisusseemu ne ziwera 66,307,000/=. Ku Certificate 25,908 ezaawebwayo, 6,569 ze zaatundibwa. Ku ssente ezivaaamu 1/3 za kugenda mu nsawo ya Kabaka ey'eby'enjigiriza (KEF). Ku mukolo gwe gumu, Omuwanika kwe yakwasirizza Minisita w'Ebyenjigiriza n'Emizanyo ceeke ya 20m/=
Obutafaanana na Certificate ezakolebwa omwaka oguwedde ezaali zifaanagana, omwaka guno Certificate zaawukana mu ndabika okusinziira ku miwendo (okuva ku 3000 okutuuka ku 10m). Zirina envumbo awali omukono gw'omuwanika.
Kinajjukirwa nti enkola ey'okutunda Certificate yatongozebwa Katikkiro nga 31.3.2000 era nga kw'olwo abaami ab'amasaza lwe baakwasibwa omulimu gw'okuzitunda mu masaza gaabwe. Enkola eno yateekebwaawo oluvanyuma lw'abantu ba Buganda okusaba wateekebwewo amakubo omunaayitibwanga okuwagira Obwakabaka.
Omuwanika yanyonyodde nti mu Buganda bingi ebyetaaga okukolebwako. Singa ku bantu obukadde obutaano n'okusoba abali mu Buganda kuvaako akakadde kamu ne bagula Certificate za nkumi ssatu bulu omu, kyandisobozesezza okuweerera abaana ba Buganda abatalina busobozi, okukola emirimu gya Bulungi Bwansi, okumaliriza ebizimbe, n'ebirala bingi. Waliwo Certificates ezikoleddwa ezigenda okuweerezebwa mu mawanga ag'ebweru nga:- Amerika, Bungereza, Sweden ne Kenya era nga zonna ziri mu sente ez'ensi eyo mwe zigenda.
Minisita w'Ebyenjigiriza n'Emizanyo, Owek. J.C. Muyingo yeebazizza nyo obuyambi obwaweereddwayo. Yategeezezza nti obwetaavu bweyongedde obw'abaana abatalina busobozi naye nga obusobozi bugenda bukendeera.
Yannyonnyodde nti kati abaana abalondeddwamu bali 4050. Bano beetaaga Biliyoni 3 mu emitwalo 45 Ku bo, abaana 1817 kye yayise ekitundu A, be bagenda okuweebwa sente ku Monday. 700 ba Primary, 1077 ba Secondary ate 40 ba Tertiary. Bonna okuweererwa beetaaga 663m. Yategeezezza nti kati omuwendo gweyongedde n'abaana 749 okuva ku baweererwa omwaka oguwedde. Yeebazizza amasomero agawaddeyo ebifo naddala agali mu Buganda nga:
Yakubye omulanga buli alina essomero atwale eky'okulabirako ekyo. Mu ngeri ey'enjawulo, yeebazizza amakampuni agaddukiridde naddala Eng. Kaga & Co. abawaayo 200,000/= buli mwezi, Ntake Bakery bawaayo 300,000/= buli mwezi. Aba Mpigi District baawaddeyo siringi obukadde bubiri. Akakadde kamu ka kuddaabiriza masiro, ate akalala kagende mu nsawo ya Kabaka ey'eby'enjigiriza. Yasiimyenyo abataka abakulu ab'obusolya abalafuubanye okwagazisa abaana ennono n'ebika byaabwe kko n'okubaagazisa okusoma.
Ku nsonga eyasalibwaawo nti buli kika kisuulenga ejjamba erye 100,000/= mu nsawo ya Kabaka ey'eby'Enjigiriza, ab'ebika eky'Ekinyomo n'eky'Engabi byokka bye biwaddeko. Yasabye buli muntu ayongere amaanyi mu nsonga eyo.
Kamalabyonna yeebazizza nyo Omuwanika olw'omulimu omunene gw'abaddeko. Yeebazizza abaami ab'amasaza, ab'amagombolola, aba Bulungi Bwansi, amakampuni, amasomero, obukiiko bw'ebitundu (District Councils) n'Obuganda bwonna olw'okuwagira Obwakabaka nga bagula certificates. Zino ze zi certificates nga bwe zizze zigulibwa:
|
Certificate Ezawebwayo |
Certificate Ezatundibwa |
Ssente Ezavaamu (Shs) |
|
|
Eggwanika lya Buganda/ Bulungi Bwansi |
8,454 |
3,544 |
42,503,000 |
|
Buddu |
1,550 |
281 |
1,922,00 |
|
Bugerere |
939 |
107 |
568,000 |
|
Bulemeezi |
1,538 |
268 |
1,937,000 |
|
Buluuli |
560 |
37 |
165,000 |
|
Busiro |
1,309 |
283 |
1,553,000 |
|
Busujju |
684 |
100 |
521,000 |
|
Butambala |
560 |
59 |
1,366,000 |
|
Buvuma |
560 |
52 |
231,00 |
|
Buweekula |
560 |
50 |
265,000 |
|
Gomba |
560 |
96 |
457,000 |
|
Kabula |
540 |
74 |
324,000 |
|
Kampala |
379 |
26 |
158,000 |
|
Kooki |
837 |
47 |
198,000 |
|
Kyaddondo |
2,284 |
560 |
7,175,000 |
|
Kyaggwe |
1,170 |
378 |
3,267,000 |
|
Mawogola |
760 |
146 |
774,000 |
|
Mawokota |
660 |
48 |
270,000 |
|
Ssese |
934 |
145 |
1,526,000 |
|
Ssingo |
720 |
254 |
1,068,000 |
|
Busoga (Ganda) |
350 |
14 |
59,000 |
|
Omugatte |
25,908 |
6,569 |
66,307,000 |
" Obwavu obuyitiridde abantu ba Buganda bwe balimu, bwandikosa obuwangwa n'empisa zaffe zetwenyumirizaamu. Obulombolombo n'ennono bigenda biviibwaako olw'obwavu. Buvunaanyizibwa bwa Bataka b'Obusolya okukunga bazzukulu baabwe bateme empenda ez'okulwanyisa obwavu."
Bwatyo Ssabasajja Kabaka wa Buganda bwe yalabudde, bwe yabadde ayogera eri ab'ekika ky'engabi ku mukolo ogw'okulanya mu lubiri e Bbanda nga 20.1.2001. Yagambye nti ebika bwe binaatandikawo enkola ey'okweyimirizaawo olwo n'abazzukulu banagenda bayiga mpolampola okweyimirizaawo ne bwe lityo eggwanga lyonna lijja kkulaakulana.
Ng'ogyeeko okukosa eby'obuwangwa, obwavu busibukako ebintu ebirala ebibi bingi omuli endwadde, endya mbi, obuseegu, obumenyi bw'amateeka obukudde ejjembe, n'emize emirala mingi.
Ssabasajja yajjukizza nga ebbanga bwe liweze nga abantu ba Buganda bakubirizibwa okweyambisa eby'obuwangwa okuleetawo enkulaakulana wano mu Buganda ne Yuganda okutwalira awamu. Ebika bigatta bulungi abantu ba Buganda awatali kubasosolamu. Mu kwegatta kuno ebika bifuniramu amaanyi n'obusobozi bungi ebiyinza okweyambisibwa mu kulongoosa embeera embi ennyo ey'obwavu abantu gye balimu mu kiseera kino.
Kabaka yasiimyenyo ab'ekika ky'engabi olw'okwewaayo okutandikawo enkola enebasobozesa okufunayo ku ssente mu kika kyaabwe. Yagambye nti ajja kwongera okwetegereza obulungi ensonga z'obukulu bw'ebika n'embuga ya Kisekwa era n'asiima nnyo ebirowoozo bye baamuwadde ku nsonga ezo.
Ab'ekika ky'engabi baasudde ejjamba mu ggwanika ly'enkuluze lya 1,200,000/= mu nsawo ya Kabaka ey'eby'enjigiriza. Ssabasajja yasiimyenyo obuwagizi n'amakula agaamuweereddwa.
Yye Minista avunaanyizibwa ku kulanya kw'ebika bya Buganda, Owek. Mustafa Mutyaba yeeyongedde n'akubiriza ebika n'endyo ez'enjawulo okumutuukirira ku nsonga z'okulanya eri Beene.
Katikkiro Asisinkana Abataka b'Obusolya
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere, yasisinkanye abataka b'obusolya ne bakatikkiro baabwe nga bali wamu ne ba Commissioners b'eby'enjigiriza, ba memba ba Bika Football Committee, n'aba Buganda Sports council. Ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo, ku Lwokuna nga 25.1.2001 nga batema empenda ez'okuzzaawo ettutumu ly'emipiira gy'ebika bya Baganda erigenda lisereba.
Olukungaana luno lwaddiride okwemulugunya okuva eri Kabaka olw'obujjumbize obw'omunaganwa obwaali ku mukolo ogw'okuggulawo emipiira gino nga 30/12/2000. Katikkiro yagambye nti kya kunyolwa okulaba nga emipiira gy'ebika gisereba kubanga giyamba nnyo okukunga Obuganda. Kye yavudde akubiriza abakulu abataka ab'obusolya okwenyigira obutereeve mu nsonga eyo era bakozese obuyinza Katonda bwe yabakwaasa ku bazzukulu baabwe mu bigambo, mu bikolwa ne mubuwangwa, bamanye era bawagire emipiira gy'ebika.
Olw'ensonga eno enkulu, Katikkiro yawaddeyo ekikopo ekyamuweebwa Abaganda abali mu Sweden, kiwakanirwe. Ekikopo kino kyamuweebwa mu kusiima engeri gy'akuttemu Obuganda. Katikkiro ekikopo yakikwasizza ekitongole ky'ebyenjigiriza n'emizanyo. Ekitongole kino kye kijja okulonda omuzanyo n'eddaala ekikopo kwe kinaagabirwa. Yasiimye nyo ekitongole kya Kabaka eky'ebyenjigiriza n'emizanyo olw'okugunjaawo enkola eyokutandikira emizanyo mu masomero ne ku magombolola, okusobola okunoonya n'okutumbula talanta z'abakyaali abato.
Kamalabyonna yakubirizza bannabyabufuzi okutwala eky'okulabirako eky'emipiira gy'ebika kwe baba baddukanyiza eby'obufuzi bya Yuganda. "Mu mipiira gy'ebika ffena tuvuganya kuwangula naye era gwe bawangudde n'oyo awangudde basigala bakkaanya nga ab'oluganda. Omutima bwe gutyo gwe gusaanye okuddukanyizibwako eby'obufuzi. Tusooka kubeera bannayuganda nga tetunnafuuka kirala kyonna", bwatyo bwe yakubirizza.
Yye Minisita w'eby'engigiriza n'emizanyo, Owek. J.C. Muyingo, yategeezezza nti waliwo entegeka okulaba nga emipiira gy'ebika gyeyongera mu maaso mu mwaka gwonna sso ssi kubeerangawo mu January na December nga bwe kibadde. Empaka zijja kutandikiranga mu Miruka, Magombolola zigende nga zeyongera waggulu okutuuka ku muwanguzi. Mu mizanyo nemu bika, Buganda mwejja okuyita okuvvuunuka ebizibu by'erimu nga obwavu, obuseegu n'enjawukana.
Ku nsonga y'okuzzaawo ettutumu mu mipiira gy'ebika, Minisita yategeezezza nti abaana n'abakyala bandiyingiriddenga bwereere, Omukyala kyangu okwagazisa bba, ky'ayagala. Abakyala bwe banajja n'abaami wamu n'abaana baabwe, olwo Obuganda bwonna bujja kusobola okubeerawo mu maaso ga Ssabasajja mu kabonero ak'obumu.
Minista wa State ow'eby'emizanyo Owek. Semugabi Bakyayita yagambye nti ensonga ezavaako emipiira gy'omulundi guno obutajjumbira mwe muli:-
Ebyo nga biri bityo, bazzukulu ba Muteesaasira ab'ekika ky'engo be baalinye ebika ebirala ku nfeete mu mipiira gy'ebika bya BYuganda, bwe baakubye bazzukulu ba Walusimbi, ab'ekika ky'effumbe, ggoolo 2 ku bwereere. Bwe batyo ab'ekika ky'engo be bawanguzi b'engabo ey'omwaka guno.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde engabo eno yawangulwa ba Lugave: ab'engonge be bataalabya ku njuba bwe baabakuba goolo, 3 ku bwereere.
Ebika byonna byayisizza ekivvulu mu maaso g'Omutanda oluvanyuma Ssabasajja n'akwasa abawanguzi engabo yaabwe. Obutafaanana na mirundi giri omupiira guno gwayuugumizza Nakivubo olwannamungi w'omuntu eyabaddeyo. Namunswa yasanyuse bya nsusso okulaba nga Obuganda buladde.
Ekitongole ky'eby'enjigiriza n'emizanyo kyatandikawo empaka z'emisinde mu bika nga ebika 18 bye byeetabyeemu. Abakungu mu Kitongole ekyo bategeezezza nti empaka eziwakanirwa mu masomero mu mupiira ogw'ebigere n'engalo zigenda kutandika ku lusoma luno olusooka. Yeebazizza nyo abakulu b'amasomero, abaami ba Ssabasajja ab'amagombolola n'abamasaza olw'okukubiriza empaka ezo mu masomero mu bitundu byaabwe. Amasomero mu Buganda yonna gakubiriziddwa okwetaba mu mpaka zino. Abaana bayigiramu empisa ennungi wamu n'okutegekeramu obulamu bwaabwe obw'omumaaso nga bazuula n'okutumbula talanta zaabwe. Ekitongole kimalirivu okulera awamu n'okuyamba amasomero ago aganeewaayo okukolagana nakyo mu bintu byonna nga bwe bitegekeddwa.
Okukyaaza Omumyuuka wa President wa China
Omumyuuka wa President wa China, Omw. Hugh Tao yakyaddeko mu Twekobe mu Lubiri e Mmengo. Omw. Hugh Tao, eyabadde amaze ennaku 4 ku bugenyi mu Yuganda, Katikkiro yamuyitiddeyitiddemu ku bulombolombo n'ebyafaayo by'olubiri ne Buganda. Katikkiro yagambye nti olw'obukulu bw'olubiri mu bwakabaka, abantu bangi okuva e Buule n'e Bweeya bajja okululambula.
Omugenyi yabadde ne Mukyala we n'omubaka wa China mu Yuganda. Okumusisinkana, Katikkiro yabade n'Owek. Jolly Lutaaya ne baminisita abalala bangi.
Abakyala ba Buganda Religious Women's Association (BUREWOA)
Abakyaala abeegattira mu kibiina ekiyitibwa Buganda Religious Women's Association beeyanjudde ewa Katikkiro ne basaba okuwagirwa mu bye bakola n'enkolagana ennungi eya wamu. Nga bakulemberwa ssentebe w'ekibiina Omuky. Apollonia Lugemwa, abakyala okuva mu nzikiriza ez'enjawulo ezikkiririza mu Yesu Kristo ne Nabbi Muhamad, baategeezezza nti ekibiina kyaabwe kiruubirira okugatta, okutumbula embeera z'abantu n'ez'ediini mu bakyala okutuukira ddala ne mu maka gaabwe.
Ebigendererwa bya BUREWOA mwe muli:
Baasimye nnyo Nnaabagereka wa Buganda olw'empenda z'atema okutumbula abakyala mu Buganda ne Yuganda okutwalira awamu.
Kamalabyonna wa Buganda, gwe baasisinkanye mu Ofiisi ye mu Bulange e Mmengo nga 30.1.2001, yabasiimye nnyo olw'okwegatta era n'abakubiriza obutaddirira basobole kukolera eggwanga ligende mu maaso. Yasabye n'abakyala bonna batwale eky'okulabirako eky'abakyala ba BUREWOA, nabo beegatte okulwanirira Buganda ne Yuganda okutwalira awamu. Ekibiina kyatandikibwa mu gwakutaano nga 30, omwaka oguwedde, 2000.
Akakiiko akafuzi ak'ekibiina kino ke kano:-
1. Ms. Apollonia N. Lugemwa, Ssentebe
2. Hajati Amina Mawanda - Amyuuka Ssentebe
3. Ms. Joan Mubiru - Omuwandiisi
4. Ms. Justine Eva Nalwoga - Amyuka Omuwandiisi
5. Ms. Mary Tamale - Omuwanika
6. Hajati Yudaya Yiga - Akunga abantu n'okukuba pokopoko.
7. Papadhia Theodora Kabuuka -Alabirira embeera y'abantu.
8. Ms. Peninah Nsiko - Eduation & Training
9. Ms. Gertrude Nabukalu Wataka - Waby'abavubuka.
Omuzanyo "The Victim" ogwa ba Ebonies.
Kamalabyonna wa Buganda agambye nti ebitongole ebinoonyereza ku bumenyi bw'amateeka byandisaanye biweebwe omukisa okukola omulimu gw'abyo nga tebipapa, olwo amazima lwe ganaatuukibwako. Yakubirizza abantu ba bulijjo okwewala okutwalira amateeka mu ngalo nga babonereza abo be baba bateeberezza okuba abamenyi b'amateeka.
Katikkiro yabadde mu National Theatre nga amaze okulaba omuzanyo gwa ba Ebonies oguyitibwa "The Victim", ogw'oleka obulyaake n'obunnanfuusi obuli mu bantu. Mu muzanyo guno, Inspector wa Police "Oyet Otim" oba OO yakozesezza obukujjukujju obw'ekitalo okusobola okuzuula amazima naye nga abalabi obwedda basalira abantu ab'enjawulo omusango ogw'okutta omuwala " Sharon" nga ku bonna aba asingiddwa omusango wa kuwanikibwa ku kalabba. Emirundi mingi, abajulizi baawaddenga obujulizi obulumiriza ku bantu abaabadde ku lusegere lw'omugenzi naye okukkakkana nga "Sharon" tafanga. Wabula enfaaye yali mpangirire asobole okwewonya essango eryali linaatera okumukka mu vvi, ery'okubba obukadde bwa doola za Amerika 20.
Katikkiro era yakubirizza abaabadde bazze okulaba omuzanyo okukola enyo balyoke bafune obugagga sso ssi kulowoolezanga mu kufuna z'amangu ez'obwereere. Kino yagambye kye kisinze okutabangula eggwanga lyaffe. Yakubirizza bannayuganda okuwagira abayiiya n'abazanyi baffe aba wano tusobole okubeenyumirizaamu. Yeebazizza nyo aba Ebonies okuyiiyanga emizanyo egiyigiriza bwe gityo n'asaba abantu okugyettanira kubanga omuntu kyangu okumuyigiriza nga bw'asanyuka.
Ekitongole ky'abavubuka mu Gavumenti ya Ssabasajja kiteekateeka omusomo ogukwata ku nkola eya FEDERO. Omusomo guno ogw' okubeerawo nga 9.2.2001 ku lwokutaano gwakwetabwaamu abavubuka okuva mu masaza ga Buganda gonna 18.
Minisita wa State ow'abavubuka, Owek Kabuuza Mukasa, bwe yabadde ayogera eri abakulembeze b'abavubuka okuva mu masaza ga Buganda, yagambye nti wasaanidde wabeewo okutangaaza naddala eri abavubuka abatamanyi oba abateekakasa ku nkola ya FEDERO n'omugaso gw'erina eri Buganda, baleme kubuzibwabuzibwa.
Omwogezi omukulu mu musomo guno ye Owek. Godfrey Serunkuuma Lule. Gujja kuggulwawo Minisita w'abavubuka Owek. Charles Peter Mayiga guggalwewo Owek. Katikkiro wa Buganda Mulwanyammuli Ssemwogere. Abogezi abalala abajja okugwetabamu mwe muli: Hon. Ken Lukyamuzi - Akiikirira Rubaga South mu lukiiko lw'eggwanga, Owek. Ssewava Serubiri - Minista wa state owa Bulungi Bwansi, Owek. Kamala Kannamwangi - Minista w'a Gavumenti ez'ebitundu, Omw. Mulambuzi Semyalo - Akiikirira abavubuka b'e Bulemeezi mu lukiiko lw'abavubuka abali mu Buganda "Buganda Youth Assembly", olunaatera okutongozebwa.