Agafa e Mmengo, 28 Mugulansigo, 2001.
Gavumenti ya Yuganda eya wakati ewadde Obwakabaka bwa Buganda obukadde bw'ensimbi kikumi (100) zigende kukuddaabiriza Twekobe. Bwe yabadde awaayo ceeke eno eri Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere; President Museveni yagambye nti Gavumenti eya wakati n'obukulembeze obwensikirano birina omugaso munene mu gwanga lyaffe. Yeebazizza nyo abantu ba Buganda olw'obuwagizi bwe baamuwa mu kulonda kw'omukulembeze w'eggwanga okwakaggwa.
President Museveni yasuubizza nti obukadde 900 bugya kuteekebwa mu mbalirira ya 2001/2002 nazo zigende ku kumaliriza okuddaabiriza Twekobe. Yasuubizza okuteeka mu nkola akatundu 246 akali mu Ssemateeka akasobozesa Gavumenti eya wakati okubaako omutemwa gw'ensimbi gw'ewa abafuzi ab'ensikirano. President era yeeyamye okusengula emirimu egikwata kukunoonyereza ku siriimu (HIV/AIDS) mu kaseera kano egiddukanyizibwa mu nnyumba entongole ey'obwa Katikkiro, Butikkiro, esobole okuddizibwa Obwakabaka mu myezi mitono egigya.
Yye Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere yayozaayozezza President olw'okutuuka ku buwanguzi era namwebaza olwa Ceeke eyo n'ebisuubizo ebirala. Yeebazizza President olw'enteesaganya zonna ze babaddemu ku nsonga ezikwata ku buyambi buno ne ku nsonga z'okuddiza Buganda embuga z'amasaza n'ez'amagombolola, ettaka ly'abakulu abasatu:- Katikkiro, Omuwanika n'Omulamuzi, ettaka ly'amasomero n'amalwariro agazimbibwa Buganda n'ettaka lya mailo 9000 erigambibwa okudukanyizibwa zi districts mu linnya lya Kabaka.
Yagambye nti sente eziweereddwa Obwakabaka kabonero akalaga nti Yuganda ne Buganda bitambulira wamu. Yasiimye nyo Omukulembeze w'Eggwanga olw'okuteekawo akakiiko okwekeneenya Ssemateeka okutereeza mu nsonga eziruma abantu nga eya FEDERO n'ettaka. Kamalabyonna yeeyamye ku lulwe ne ku lw'Obwakabaka bwa Buganda okuwa Gavumenti eya wakati obuwagizi obujjuvu.
Ensisinkano eno yabadde mu bizimbe bya Parliament kulw'okusatu nga 28/3/2001. Mu balala abaabaddewo mwe muli ab'ebitiibwa: Alhaji Moses Kigongo, Kintu Musoke, Gerald Sendawula, Prof. Apollo Nsibambi, Mayanja Nkangi, Ruhakana Rugunda, Dr, Kisamba Mugerwa, Basoga Nsadhu ba Minista ba Ssabasajja :- ab'ebitiibwa J.B walusimbi, John Katende ne Bishop eyawummula Yokaana Mukasa, sentebe w'Ebyaffe Board.
Omubaka wa South Africa mu Yuganda Omw. Mpakamisi R. Mhalaba yagenyiwaddeko ewa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Lubiri lwe e Banda, kulw'okutaano nga 23/3/2001. Ssabasajja yabadde ne Nabakyala Nabagereka era ne boogera ku nsonga nyingi ezikwata ku nkulaakulana ya SouthAfrica, Buganda ne Yuganda okutwalira awamu.
Oluvanyuma Ssabasajja yagabudde omugenyi we eky'emisana.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda nga awerekerwako Nabagereka yawuubidde emmotoka z'empaka ezaategekeddwa okukuza amazaalibwa ge ag'omulundi ogwa 46 nga zaafubutukidde mu Lubiri e Mmengo kulw'omukaaga nga 24/3/2001. Empaka zino ezakutuddwaamu ebitundu ebibiri zazzeemu ne ziwuubirwa, Omulangira Nakibinge Kakungulu, ku lwa Ssabasajja, ku Sunday nga 25/3/2001 nga zifubutuka mu Bulange e Mengo.
Bwe yabadde awuubira mmotoka zino, Omulangira Kakungulu abavuzi abaazeetabyeemu abaaweze 13 yabaagalizza obuwanguzi. Omulangira yabadde ne Minista wa Kabaka ow'eby'enjigiriza n'emizanyo Owek. J.C. Muyingo, Minista wa State ow'eby'emizanyo Owek. Semugabi Bakyayita.
Ekitundu ekyasoose eky'empaka zino kyawanguddwa Charlie Lubega, era nga kyasasuliddwa aba Hima Cement. Ate ekitundu eky'okubiri nekiwangulwa Chipper Adams ne Justin Behendeza. Empaka zategekeddwa club ya MOSAC.
Abamu ku bavuzi ba motoka beemulugunyizza olw'amakubo amabi mwe baabadde bayita agabaleetedde okukeerewa n'abalala nebatamalaako. Abavuzi ba motoka abeetabye mu mpaka zino baabadde bayita Kigalama, Kasanda, Kigenda, Kiwummulo, Kalagala, Kawungeera mu Saza ly'e Singo, Mubende district.
Ssabasajja Awadde Abayizi Sikaala.
Abayizi abanywedde mu bannaabwe akendo mu kuzanya omuzanyo ogw'okwoleka obuzibu omuwala afunidde olubuto mu ssomero bwayitamu, Kabaka abawadde sikaala bbiri basomere bwereere mu lusoma olugya. Abayizi bano Zaina Namugenyi ali mu S.4 ne Davis Mubangizi owa S.3 abasomera mu somero lya Excel Millenium High e Nabaziza okumpi ne Kyengera be baweereddwa sikaala oluvanyuma lw'okwolesa obukugu mu kuzanya katemba mu muzanyo oguyitibwa " eng'unjula" ogwawandiikibwa omuyizi Emily Namanya ali mu S.6.
Minista wa Kabaka ow'eby'enjigiriza Owek. J.C.Muyingo oluvanyuma lw'okulaba omuzanyo guno, yategeezezza nti sente ezinaaweeerera abayizi bano zigya kuva mu nsawo ya Ssabasajja ey'eby'enjigiriza eya Kabaka Education Fund (KEF).
Omuzanyo guno gw'oleka engeri abazadde abamu gye balagajjaliramu abaana mu maka n'okubakuza ekyeejo bwe batyo na bava ku by'okusoma ne bagenda n'amasanyu g'ensi nga eyo gye bafunira embuto, ate abazibafunisizza ne bazeegaana. Omuwala bwalaba biri bityo, asalawo kuwatanya kujjamu lubuto ekimuviiramu, okufa oba okufuna obulabe obwengeri ez'enjawulo obufuuka obwenkalakkalira mu bulamu bwe.
Ye Director w'Essomero lino, Dr. Roger Kyamuleku yeeyamye okuduukirira ensawo ya Kabaka ey'eby'enjigiriza nga bayita mu kuweerera abayizi babiri omuwala n'omulenzi okumala emyaka ebiri nga kwe kuli n'okubaliisa.
Ebyo nga biri bityo, Magulunnyondo akubirizza bannansi okwettanira ennyo enyimba ez'ekinnansi basobole okutumbula omutindo gwaazo. Mu bubaka bwe yatisse Minista w'eby'enjigiriza ku mukolo ogw'okutongoza ettendekero ely'enyimba eriri ku YMCA e Wandegeya, Ssabasajja yagambye nti abantu basaanye batumbule ebitone byaabwe babikozese okugoba obwavu era n'okunoonyereza ennyo ku nyimba ennansi abaziyimba basobole okugaziya ku nfuna yaabwe nga bazitunda kuno ne mu mawanga ag'ebweru.
Ssabasajja yasiimye abayimbi olw'engeri gye bayiiya nga bayigiriza abantu na bwe kityo n'akubiriza bannansi okuzettanira basobole okuziganyulwamu. Yagambye nti ettendekero lya Kampala Music School ligya kuyamba abayizi ne bannayuganda okwetonderawo emirimu nga bamaze okubangulwa.
Ku mukolo kwabaddeko eyaliko Ssabalamuzi wa Yuganda Samuel Wako Wambuzi, abakiise mu Parliament ab'ebitiibwa Joyce Mpanga, Athur Bagunywa, n'abamu ku babaka abatuula kuno abava mu mawanga ag'ebweru.
Owek. J.C. Muyingo yeemulugunyizza olw'enkola eyateekebwaawo gavumenti aya wakati, ekwata ku kusomesa ennimi ennansi n'agamba nti esaana kwetegereza. Mu kiwandiiko eri omuwandiisi ow'enkalakkalira mu kitongole ky'eby'enjigiriza, Owek. Muyingo yagambye nti waliwo bingi ebyetaaga okumala okwekeneenya munkola eyo nga ebimu ku byo mwe muli:
Kopi y'ebbaluwa eyo yaweerezedwako Katikkiro wa Buganda, Minista w'eby'enjigiriza mu Gavumenti ya wakati, n'owekitongole kya 'Yuganda Cirricullum Development Centre'.
Ebyo nga biri bityo, Owek. Muyingo asoomozezza abasomesa beesimbewo mu bifo by'obubka bwa Parliament balwanirire eddembe lyaabwe. "Basomesa bannange mbasaba mwesimbewo bangi muwangule ebifo by'ababaka ba Parliament mutulwanirire ku nsonga ezirudde nga zitukosa omuli omusaala omutono n'agamu ku mateeka agatunyigiriza", bw'atyo bwe yategeezezza ku bikujjuko by'empaka z'amazina, enyimba ne katemba ezategekebwa essomero lya primary erya Namugongo Girls ku lw'omukaaga nga 24/3/2001. Akulira essomero lino Muky. Agnes Nakabugo yategeezezza nti eby'emizanyo ne katemba babitaddeko essira kubanga lye limu ku makubo omuyizi mwayita okweyimirizaawo ng'avudde mu ssomero okwetandikirawo emirimu mu kifo ky'okuginoonya.