Olugendo Lwa Ssabasajja e Dallas, USA
Olukung'ana lw'Eby'enkulaakulana n'Obuwangwa
Ennyanjula
Omwezi gwa Muzigo (ogw'okutaano) nga gunaatera okuggwako, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, yava e Buganda, naagenda mu America gye yayitibwa basajja be n'abazaana be Abaganda ababeera mu nsi eyo. Ssabasajja yatuuka mu kibuga Dallas eky'omu Texas, nga 23 Muzigo (May) 2001, wakati w'emizira egyamwaniriza okulaga essanyu ly'abaamukyaza.
Abaawerekera Kabaka
Mu lungendo luno, Magulunnyondo yawerekerwako Kamalabyonna, Baminisita, Abalangira n'Abambejja, Abakungu n'Abazaana be. Amannya gaabwe bonna ge gano:-
Ebigendererwa by'Olugendo
Ensonga enkulu Abaganda abali mu USA kwe baasinziira okuyita Ssabasajja Kabaka okubakyalira zaali bbiri:-
Ensonga esooka, kwe kusobozesa Abaganda abali e Buganda okugenda mu America basisinkane ne bannaabwe ababeera eyo, balabe n'engeri emirimu gye giddukanyizibwamu, bwe batyo basobole okussaawo enkolagana, wakati waabwe, egenderera okutumbula omuntindo gw'eby'enfuna mu Buganda eri mu Uganda.
Ensonga ey'okubiri, yali ya kuwa mukisa abantu ba Ssabasajja Kabaka abali mu USA ogw'okulaba n'okubeera ne Kabaka waabwe, mu Lukiiko lwabwe Ttabamiruka olw'okubiri.
Enteekateeka y'Emikolo
Enteekateeka z'emikolo gy'okukyala kwa Ssabasajja kuno gyali mu Lincolin Centre mu Double Tree Hotel, mu kibuga Dallas, mu Texas. Kyagendererwa ennaku z'okukyala kuno zikwatagane n'ennaku enkulu ez'okuwummula mu nsi ya America yonna ezaaliwo wakati wa 23 ne 28 Muzigo (May) 2001.
Nga Ssabasajja tannagenda Dallas, Ow'ekitiibwa Katikkiro yalonda obukiiko bubiri, akamu nga kali wano e Mmengo; akalala nga kali Dallas. Omulimu gw'obukiiko buno gwali okuteekateeka olugendo lwa Kabaka nga bukolaganira wamu. Obukiiko obwo bwamala omwaka mulamba nga buteekateeka era bwakola omulimu mulungi ddala.
Abeetaba mu Lukung'ana Luno
Ng'ogyeko abantu abaawerekera Ssabasajja Kabaka okuva e Mmengo, e Dallas waaliwo abantu abalala ab'ebiina by'Abaganda eby'enjawulo n'abatalina bibiina ababeera mu US, abajja okwetaba mu kukyala kw'Omutanda. Ebimu ku bibiina ebyo, ye Ggwanga Mujje ekirina amatabi agawerako. Ekibiina ekirala ye Kamukamu ekiri e Dallas.
Ebyaliwo mu Lukyala Luno
Olukyala luno lwalimu ekitundu ekisooka ekikwata ku nkulaakulana ate n'eky'okubiri ekikwata ku by'Obuwangwa n'ennono. Ekitundu ekisooka, kyamala ennaku ssatu, okuva ku Lwokusatu nga 23 okutuusa ku Lwokutaano nga 25 Muzigo (May) 2001.
Ekitundu eky'obuwangwa kyaliwo ku Lwomukaaga nga 26 mu Lukiiko lw'Abaganda Ttabamiruka olw'okubiri. Olukung'ana lwakomekkerezebwa ku Sabiiti nga 27; Ssabasajja kwe yagabulira ekijjulo okwali ennyimba n'amazina eby'ekinnansi.
Sabasajja Aggulawo Olukung'ana Lw'obusuubuzi
Ssabasajja Kabaka yaggulawo mu butongole olukung'ana lw'eby'obusuubuzi mu Lincolin Centre, Double Tree Hotel nga 24 Muzigo (May) 2001.
Beene yeebaza abaaliwo olw'okuwaayo obudde bwabwe ne ssente ne bajja okuteesa ebiyinza okukulaakulanya Buganda mu by'enfuna. Yabeebaza olw'okumwaniriza obulungi ku lunaku lwe yatuuka e Dallas, era ne ku mukolo ogwo gwennyini gwe yali agenda okuggulawo. Yeebaza Meeya w'ekibuga ky'e Dallas n'abakulembeze ba Black Chamber of Commerce olw'okuwagira enteekateeka z'olukung'ana luno.
Ssabasajja yalina essuubi lingi nti ebinaava mu lukung'ana luno binaagasa Obwakabaka bwa Buganda lwa kubanga lwe lwali lusoose okubeera mu USA, ate era nga lwe twafuna emikisa, abali e Buganda ne USA, okutema empenda ez'okukulaakulanya Buganda. Ebisingawo, yasigira Katikkiro okubitegeeza abateesa.
Yeebaza Akakiiko ka USA akaateekateeka emikolo gino, naddala Dr. Kibuule ne Dr. Senkanyi, era ne yeebaza Ow'ek. Makubuya ne banne abaali ku Kakiiko ak'e Mengo.
Abantu Kabaka Beyasisinkana
Ssabasajja Kabaka yasisinkana abantu abakulu ab'omu Dallas Fort Worth, omwo nga mwe muli bannadiini, bannabyabufuzi, abakiise b'olukiiko lwa Texas, Meeya wa Dallas, abakulembeze ba Black Chamber of Commerce, abakulu ba Dallas Museum of African Art, aba Martin Luther King Centre, aba Fort Worth Council of World Affairs, abakulira Arlington Rotary Club, n'abo abatwala Buckner Children's Orphanage.
Ssabasajja yayogera n'abasuubuzi n'abasaba balowooze ku ky'okujja okukolera emirimu gyabwe e Buganda.
Ekitundu Eky'okubiri: Ssabasajja Okuggulawo Olukiiko Ttabamiruka
Mu lukiiko lw'Abaganda Ttabamiruka olw'okubiri, Beene yennyini, yakubiriza Abaganda okukuuma obulombolombo n'empisa zaffe, okuyigiriza abaana baabwe olulimi Oluganda basobole okugunjulwa n'okukuzibwa nga bajjajjaffe bwe baakakolanga, tusobole okukuuma obutiribiri ennono zaffe, n'eggwanga lyaffe liweebwe ekitiibwa kyalyo.
Omutanda yayongera okukubiriza abantu be nti basaanye bakolagane n'abantu bonna: Abaganda, Bannayuganda n'abatali Bannayuganda, basobole okutumbula enkulaakulana mu Buganda. Ng'akkaatiriza, Beene yagamba bonna abaali bamuwuliriza okukolagana n'abakulembeze baabwe bawagire Enteekateeka ya Gavumenti ya Buganda ey'Enkulaakulana ey'emyaka ekkumu (BKDS).
Mu Lukiiko lwa Buganda Ttabamiruka lwe lumu, Omulangira Fred -Kalema Musoke era nga ye Mubaka wa Ssabasajja mu North America, yayanjula abakulembeze b'ebiina by'Abaganda abali mu US ne Canada, era beebano:
Okwogera kwa Katikkiro
Eyali omwogezi omukulu mu Lukung'ana luno ye Ow'ekitiibwa Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere, eyayogerera kumpi essaawa bbiri ku mutwe, BUGANDA NGA BWERI KATI. Okwogera kuno kwali mu biti bisatu, era mu bufunze, bino bye bikulu ebyali mu kwogera kwe:
Ekiti Ekisooka - Ebibaddewo:
Ow'ekitiibwa Katikkiro yagamba nti mu myaka emitono egiyise, wabaddewo okusenvula kw'amaanyi, nga n'emirimu mingi gikoleddwa. Egimu ku gyo gye gino:
Ebika bya Buganda byakunga Bazzukulu baabyo ne bagogola Ennyanja ya Kabaka mu Ntenvu (December) 1992.
Amatikkira g'Omutanda agaaliwo mu 1993, ye yali entandikwa y'okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda obwali bumaze emyaka 27 nga bugyiddwawo.
Luno lubadde lujegere olugumu olutukwatiridde ffenna Abaganda, okuviira ddala ku Kabaka neruyita mu Bakulu b'Ebika okutuukira ddala ku ffe Bazzukulu baabwe.
Ssabasajja yassaawo Akakiiko kano okulondoola n'okukuuma ettaka n'ebizimbe by'Obwakabaka bwa Buganda. Mu kiseera kino, Akakiiko kakung'anyizza ebyapa by'ettaka bingi era kakyagenda mu maaso n'omulimu guno.
Kampuni eno yatondebwawo nga y'efuga ebitongole ebirala ebirina ebigendererwa by'obusuubuzi. Ebimu ku bbyo bye: BUCADEF, CBS, CTS ne Royal Travel Bureau.
Omulimu gw'ekitongole kino kwe kusomesa abantu okuba abayonjo, okulima emmere n'ebirime ebivaamu ensimbi. Abantu bajjumbidde nnyo ekitongole kino, era balabika nga bakiganyuddwamu nnyo.
CBS yaggulwawo mu 1996. Eyambye nnyo okutuusa era n'okufuna eddoboozi ly'abantu baffe, n'okuvaamu ensimbi.
Olupapula luno lwatandidkibwa mu 1997, kyokka nga wayise ebbanga ttono lwafuna ebizibu ne luggalwawo.
Ensawo eno eri mu Kitongole ky'ebyenjigiriza. Eyambye nnyo okuweerera abayizi abasukka mu 3000 mu masomero aga buli mitendera, okuva ku pulayimale okutuuka ku yunivasite. Obwetaavu bukyali bungi.
Enkola eno yatekebwawo okukunga abantu ba Ssabasajja benyigire mu mirimu egikuza eggwanga nga bwekyabanga edda, nga beegattira wamu okukola eng Enkola eno yatongezebwa nga 8 Mukulukusa Bitungotungo (September) 1999.
Katikkiro yalambula Obuganda mu 1998 n'atuuka mu masaza gonna 18 aga Buganda. Okulambula kuno kwayamba abantu okwongera okubaagazisa n'okubakirizisa mu Kabaka waffe n'Obwakabaka.
Oluvannyuma lw'okulambula kwa Katikkiro, Ssabasajja yalonda abaami ab'amasaza 18, ab'amagombolola era n'ab'emiruka.
Ssabasajja alina Abaami ab'amasaza abalala be yalonda abakulembera abantu be abali mu nsi ezimu ez'ebweru. Abaami abo n'ensi mwe bali be bano:
Omuk. Kalema Musoke: United States ne Canada
Omuk. Nsambu Joseph Musisi: Bungereza ne Ireland
Dr. Katumba Abdul: Sweden ne Scandinavia
Omuk. Dr. Lule Godfrey: Kenya
Omuk. Lubega Mulindwa: Southern Africa.
Abakungu abo bakumyekumye bulungi abantu ba Ssabasajja abali mu nsi ezo.
Abaganda baasanyuka Olubiri lw'e Mengo bwe lwatuddizibwa ku mukolo omunene ogwaliwo mu Nteenvu 1997.
Olubiri luno lwaddaabirizibwa abantu era n'embaga ya Bbaffe mwe yali. Kyokka wakyaliwo omulimu munene ogukyasigadde okumaliriza Twekobe n'Olubiri.
Embaga y'Omutanda, eyogerwako ng'embaga y'olwasa (mellenium wedding). Anti nga y'ekyasingidde ddala mu ntegeka, mu kwagalwa n'okuwagirwa abantu aba buli ggwanga mu Uganda n'ebweru, era gwe mukolo ogukyasinze mu byafaayo bya Buganda ne Uganda okubeerako abantu abangi ennyo, ennyo. Gwali gwa kitiibwa ggwe wamma.
Mu kuddukanya emirimu gy'Obwakabaka, Katikkiro ayambibwako Akakiiko ka Baminisita Akafuzi era ye Ssentebe wako.
Baminisita bakoze omulimu munene mu buzibu obungi obw'ebbula ly'ensimbi. Bawaddeyo ebiseera byabwe, amagezi n'amaanyi gaabwe, oluusi n'ensimbi zaabwe okuyimirizaawo ebitongole (Ministries) byabwe.
Owek. Katikkiro yateekawo Akakiiko, akakulemberwa Ow'ek. J.B. Walusimbi - Omuwanika wa Buganda, kakole ku nsonga y'okuddaabiriza Amasiro g'e Kasubi. Omulimu omulungi gugenda mu maaso nga gukolebwa ku musingi gwa Bulungi Bwansi, era abantu bangi mu Buganda bagujjumbidde.
Waliwo essuubi nti ekitongole kya UNESCO, World Heritage, kiyinza okuteeka Amasiro g'e Kasubi ku lukalala lw'ebifo eby'obuwangwa ebisaana okukuumwa mu nsi yonna, bwe galiba nga gawedde okuddaabirizibwa.
Eky'okubiri: Okuteekawo Gavumenti E Mengo
Okusobola okunyweza Namulondo, Omuwanika yatema empenda omunaava ensimbi ezinaayimirizaawo Obwakabaka bwaffe n'okukola emirimu egyetaagibwa. Agamu ku makubo ago ge gano:-
Okulanya kw'Ebika ewa Ssabasajja
Okwewandiisa mu Bika
Okussaawo Kampuni - Buganda Investment Ltd.
Okutunda Certificates.
Mu kiseera ekiyise, Katikkiro yasisinkana abakulembeze ba Gavumenti ya Uganda ne bateesa ku nsonga ezimu ezitugatta awamu. Mw'abo mwe muli:
Okusisinkana President n'okubanja "Ebyaffe". Twaweebwa Shs.100m/= ku Twekobe ate endala Shs.900m/= zaakutuweebwa mu mwaka 2001/02. Ebirala bingi ebyatusuubizibwa bye tukyabanja.
Ekiti Eky'okusatu: Enkulaakulana
Eno y'Enteekateeka egenderera okuggumiza Obwakabaka era en'etambulirwako mu myaka kkumi egijja. Nga tuyita mu BKDS, tusuubira okwegobako ebinafuyizza Buganda, okugeza: Endwadde, endyambi, enjala, obwavu, obukyafu, obugwenyufu, obukumpanya n'okwemalamu ekitiibwa.
Nga Katikkiro anaatera okumaliriza, yeebaza Ssabasajja Kabaka olw'okwogera eri abantu be.
Kamalabyonna yafunza okwogera kwe ng'alanga nga Ssabasajja bwe yaggulawo essuula nnya empya mu kukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda:
Essuula eno yaliwo mu Bungereza mu 1969, Ssabasajja bwe yabikka akabugo ku njole ya Ssekabaka Muteesa II nga yakakisa omukono. Okuva olwo n'afuuka Kabaka newankubadde nga yali tannaba kutikkirwa.
Eno Ssabasajja yagitandika bwe yakomawo e Buganda nga Ssaabataka, n'atandika eddimu eddene ery'okuzzaawo Obwakabaka ng'amatiza abantu nti bujja kugasa ffenna abali mu Buganda ne Uganda.
Mu 1993, Bbaffe yalwana era n'awangula olutalo olw'ebirumbirumbi, n'agenda e Naggalabi, n'atuuzibwa ku Nnamulondo era n'atikkirwa, olwo n'atandika okulamula Obuganda.
Mu ssuula eno esembayo, Ssabasajja yassaawo Enteekateeka Ey'okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda mu myaka 10 egijja (Buganda Kingdom Development Strategy).
Enkola eno y'esuubirwa okutema empenda ezinaakulaakulanya n'okunyweza Obwakabaka bwaffe. Enteeekateeka eno erimu bino ebisuubirwa okukolwa:
Oluvannyuma ng'amaze okwogera, Katikkiro yaweebwa engalo ez'omwanguka (standing ovation) ezaddirirwa okukubaganya ebirowoozo okwali okunyunvu okwamala ebbanga eggwanvu.
Ebiteeso Ebyasembwa
Mu birowoozo ebirungi ate ebingi ebyaleetebwa, bino bye bimu ku byakkiriziganyizibwako:
Akakiiko k'e Buganda, kajja kulondebwa mangu.
Ebisuubirwa Okuva mu Lukyala lw'e Dallas
Waliwo ebisuubirwa okuva mu lugendo lw'e Dallas bya mirundi ebiri: aby'amangu n'eby'ebbanga eggwanvuko. Ebimu ku bbyo bye bino:-
Kampuni endala efaanana bwetyo ejja kussibwawo e Buganda. Ensimbi ezinaakung'anyizibwa ze zinaakola emirimu emirala egy'obusuubuzi egireeta ssente eri abasonze nga Gavumenti ya Buganda y'emu ku bo.