News, June 2001

Constitutional Review

Olw'okubanga ensonga ya Federo ebadde ebobbya nnyo emitwe gy'abantu, n'okusingira ddala aba wano mu Buganda, President wa Yuganda, Owekitiibwa Yoweri Kaguta Museveni, gyebuvuddeko katono, ng'okulonda ba Memba ba Palimenti tekunnabaawo, yassaawo Akakiiko (Contitutional Review) nga kakulemberwa munnamateeka Prof. Frederick Ssempebwa, owa M/s Katende, Ssempebwa & Co Advocates; keekenneenye ensonga ya Federo, kalabe obanga kisoboka okugiyingiza mu Constitution ya Yuganda.

Wano mu Bwakabaka, Katikkiro yataddewo Akakiiko ak'okumuwa amagezi ku ngeri Obuganda gye bunaakwatamu ensonga eno. Bano wammanga be bali ku kakiiko ako:

    1. Owek. J.W. Katende - Ssentebe
    2. Owek. Godfrey Lule
    3. Haji M. Ssemakalu
    4. Owek. Peter Mayiga
    5. Owek. Kamala Kannamuwangi
    6. Owek. Sewava Sserubiri
    7. Omutaka Kayita Makaabugo Musoke.

Omulimu omulala Akakiiko gwe kajja okuvunaanyizibwa, kwe kukunga abantu ba Buganda okutwala ebirowoozo byabwe mu Constitutional Review Commission mu bungi, ku nsonga ya Federo, eby'ettaka, ebyaffe ebikyasigaddeyo era ne ku nsonga endala zonna eziruma Buganda, bwe kinaaba kyetaagisizza.

Okulonda Ababaka Ba Palimenti

Gye buvuddeko katono wabaddewo okulonda Bamemba ba Palimenti wonna mu Yuganda. Olwokaano lw'okupeerereza obululu lwatwalira ddala ebbanga lya myezi ebiri.

Katikkiro wa Buganda Owekitiibwa Mulwanyammuli Ssemwogerere, yakubiriza Obuganda okwenyigira mu nsonga z'okulonda mu bujjuvu. Era yakubiriza abantu okulonda abo abanaasobola okulwanirira ebyo Buganda bye yeetaaga, okugeza nga Federo, ebyaffe ebyasigalayo, ensonga y'ettaka n'ekifo kya Kabaka okulongoosebwa era n'ebirala. Yabakubiriza okuwuliriza ennyo abo abeesimbawo, basobole okumanya oyo anaasobola okuweereza obulungi Abantu b'omu bitundu ebyo, Balonde abo abanaasobola obutatiirira Ssabasajja, Obwakabaka era n'Obuganda bwonna.

Yakubiriza Abaganda okwenyiga mu buli kifo kyonna eky'eby'obufuzi, kakibe eky'obwa President, eky'obukiise mu Palimenti, ne mu bifo byonna ebya LCs wano mu Buganda.

Kamalabyonna era yakubiriza Abaganda nti, era bwe wabaawo omukisa okuyingira ebitongole ebikuuma ddembe, nga amagye, Police, etc. nabyo babiyingire; "olwo tulyoke tusobole okukuuma ebintu byaffe ebya Buganda, tuleme kusuubira nti bwe tunaabifuna, olwo abalala ne balyoka babitukuumira". Yagamba nti Abaganda tebateekeddwa kuzira kulonda, nti sikulwa nga "babaseerera mu katale ne bayombesa ekkubo" era nti "Omuzizi azimba ttwe".

Abantu baawulira eddoboozi lya Kamalabyonna, era ne balondera ddala bulungi, buli omu, nga bwe yeesiimira. Bano wammanga be Babaka era n'ebitundu mwe baalonderwa:

  1. KAYUNGA DISTRICT
  2. Hon.SulaimaniMadadaKyebakoze

    Bbaale

    Hon.NansubugaSarahNnyombi

    NtenjeruNorth

    Hon.SsempangiKefaFrederick

    NtenjeruSouth


  3. MUKONO DISTRICT
  4. Hon.AnthonyMukasaHarris

    BuikweSouth

    Hon.BalemeeziNalubegaLydia

    Mukono(WR)

    Hon.JanatMukwayaBalunzi

    MukonoSouth

    Hon.WilliamNsubuga

    Buvuma

    Hon.PeterBakalubaMukasa

    MukonoNorth

    Hon.JohnWilsonWagodaMuguli

    BuikweNorth

    Hon.NantumeKiwanukaEronJanet

    BuikweWest

    Hon.JosephMugambeKifomusana

    Nakifuma


  5. NAKASONGOLA DISTRICT
  6. Hon.KomuhangiMargret

    Nakasongola(WR)

    Hon.MululiMukasaWilson

    Nakasongola


  7. LUWEERO DISTRICT
  8. Hon.Prof.VictoriaNakibonekaMwaka

    Luweero(WR)

    Hon.EdwardKidduMakubuya

    KatikkamuSouth

    Hon.SydaBbumbaNamirembe

    Nakaseke

    Hon.Lt.JamesKinobeLaubenWilliam

    KatikamuNorth

    Hon.KisambaMugerwaWilberforce

    Bamunanika


  9. MUBENDE DISTRICT
  10. Hon.SsennabulyaNamabiddeSylivia

    Mubende(WR)

    Hon.AssanasioKayizzi

    KassandaNorth

    Hon.AugustineNshimyeSsebutuulo

    MityanaSouth

    Hon.EdwardBwereereKasoleLwanga

    Buweekula

    Hon.JohnP.K.Kabayo

    KassandaSouth

    Hon.GodfreyKiwanda

    MityanaNorth

    Hon.KiwalabyeMusokeDaniel

    KibogaEast

    Hon.EdwardKaweesiNdawula

    KibogaWest

    *Hon.VincentNyanzi

    Busujju*


  11. MPIGI DISTRICT
  12. Hon.EmmanuelKaluleSsengo

    Gomba

    Hon.GeraldineNamirembeBitamazire

    Mpigi(WR)

    Hon.HenryKityoMutebi

    MawokotaSouth

    Hon.PeterCleverMutuluuza

    MawokotaNorth

    Hon.IbrahimKaddunabbiLubega

    Butambala


  13. WAKISO DISTRICT
  14. Hon.GilbertBalibasekaBukenya

    BusiroNorth

    Hon.IsraelKibirigeSsebunnya

    KyaddondoNorth

    Hon.IsaKikungwe

    KyaddondoSouth

    Hon.MikeKennedySsebalu

    BusiroEast

    Hon.RoseNansubugaSseninde

    Wakiso(WR)

    Hon.Dr.DavidMatovuByatike

    EntebbeMunicipality

    Hon.SitendaW.Ssebalu

    KyaddondoEast

    Hon.PatrickMusisi

    BusiroSouth


  15. KALANGALA DISTRICT
  16. Hon.FredBadda

    Bujumba

    Hon.TimLwangaMutekanga

    Kyamuswa

    Hon.RuthKavumaNvumettaLutaaya

    Kalangala(WR)


  17. SSEMBABULE DISTRICT
  18. Hon.HajatiAnifahKawooyaBangirana

    Ssembabule(WR)

    Hon.SsekikuboTheodore

    Lwemiyaga

    Hon.SamKuteesa

    Mawogola


  19. RAKAI DISTRICT
  20. Hon.PiusMujuzu

    Kyotera

    Hon.SarahKiyingiNamusoke

    Rakai(WR)

    Hon.DavidMatovu

    Kooki

    Hon.MathiasKisamba

    Kakuuto

    Hon.JamesKakooza

    Kabula


  21. MASAKA DISTRICT
  22. Hon.EdwardKiwanukaSsekandi

    BukotoCentral

    Hon.AnthonyIga

    KalunguWest

    Hon.SaudaMugerwaNamaggwa

    Masaka(WR)

    Hon.JohnBatumeKawanga

    MasakaMunicipality

    Hon.HajiIdiLubyaayiKisiki

    Bukomansimbi

    Hon.MulindwaBirimumaaso

    BukotoWest

    Hon.JohnC.AlintumaNsambu

    BukotoEast

    Hon.KezimbiraMiyingoLawrence

    BukotoMidWest

    Hon.UmarLuleMawiya

    KalunguEast

    Hon.Dr.HerbertWilsonLwanga

    BukotoSouth


  23. KAMPALA DISTRICT
  24. Hon.SsebulibaMutumbaMuddu-Awulira

    KawempeSouth

    Hon.MargretNantongoZziwa

    KampalaCentral(WR)

    Hon.EdwardFrancisBbabu

    KampalaCentral

    Hon.TomKayongo

    LubagaNorth

    Hon.NsubugaNsambu

    MakindyeWest

    Hon.MichaelMabikke

    MakindyeEast

    Hon.HajiLatifSsebaggala

    KawempeSouth

    Hon.JohnKenLukyamuzi

    RubagaSouth

    Hon.FredRuhindi

    NakawaDivision


  25. UPDF REPRESENTATIVES
  26. Hon.Col.FredBogere

    UPDFRep.

    Hon.Brig.Dr.LukangaNdawula

    UPDFRep.

    Hon.Lt.Col.PheinhasKatirima

    UPDFRep.

    Hon.MajorGeneralDavidTinyefuza

    UPDFRep.

    Hon.Col.EllyKayanja

    UPDFRep.


  27. YOUTH & WORKERS' REPRESENTATIVES

Hon.RoseNamayanja

YouthRep.Central

Hon.CharlesBakkabulindi

Workers'Rep.

Hon.RuthNankabirwaSsentamu

Kiboga

Hon.NaigaFlorenceSsekabira

Rep.ofPersonswithDisabilities

Hon.SsentongoNabunnyaTeopista

Workers'Rep.



Katikkiro Akyaza Ababaka B'olukiiko Lwa Uganda (Palimenti) Abava Mu Buganda

Amangu ddala ng'Ababaka b'Olukiiko lwa Yuganda abava mu Buganda bamaze okulayizibwa, baatondawo "Buganda Parliamentary Caucus". Beerondamu abamu ku bo okukulembera n'okuddukanya ekibiina kyaabwe. Owek. Tim Lwanga, Omubaka w'e Kyamuswa, e Ssese, ye yalondewa ku bwa Ssentebe.

Mu ebyo bye beeyama okukola mwe muli kino nti, newankubadde balina endowooza ez'enjawulo mu by'obufuzi ne mu nzikiriza z'eddiini, era newankubadde abatono mu bbo ensibuko za bajjajjaabwe teziri mu Buganda, naye bonna bassa kimu okusigala nga bali bumu n'okukolera awamu okusobozesa ebyetaago bya Buganda okukolwako.

Kisaana kijjukirwe nti mu kiseera kino, ensonga ya "Federo", ettaka, ekifo ky'Obwakabaka ne Kabaka waffe, embuga zaffe ez'amasaza n'amagombolola, Butikkiro, ebitannatuddizibwa, bye bimu ku bintu ebisula bibobbya Abaganda emitwe.

Mu mwezi gwa Kasambula (ogw'omusanvu), ng'ennaku z'omwezi 20, 2001, Owekitiibwa Katikkiro yakyaza Ababaka b'Olukiiko lwa Yuganda abava mu Buganda era n'abasembeza ku kabaga akaaliko eby'okulya n'okunywa. Akabaga kano kaali mu luggya lwa Bulange. Ku kabaga kano, kwaliko abantu abakulu abalala, okugeza, Sipiika w'Olukiiko lwa Yuganda, Abalamuzi, Abalangira, Bannalinnya, Abambejja, Baminisita ba Ssabasajja Kabaka, Abataka Abakulu b'Obusolya Ba Ssentebe ba Districts z'omu Buganda n'Abakiise mu Lukiiko olukulu olwa Buganda.

Ensonga enkulu Katikkiro kwe yasinziira okuyita Abagenyi be bano, kwe kubakulisa okulondebwa okukiikirira abantu b'ewaabwe, okubamanya nabo okumumanya, n'okussaawo olutindo wakati w'Ababaka ku ludda olumu, ne Mengo ku ludda olulala, omunaayitanga ebirowoozo ebijja era n'ebigenda buli ludda.

Nga Katikkiro ayaniriza abagenyi ku lw'Obwakabaka, bwa Buganda ne ku lwa Ssabasajja Kabaka ne ku lulwe, yabeebaza okujja e Mengo, n'abakulisa okulondebwa kwe baali baakayitamu era n'abagamba begazaanye kubanga baali waabwe eka.

Yabeebaza okutandikawo akabondo kaabwe (Buganda Caucus). Era yabategeeza ng'Obwakabaka bwe bubalinamu essuubi eringi. Yabawa amagezi bakwane bannaabwe abava mu bitundu bya Yuganda ebirala, babaagazise ebyo Buganda by'erwanirira nabo basobole okubalwanirako; ekyo kibasobozese okuyisaamu ensonga zaffe nga bali wamu kitole.

Ng'akabaga kagenda mu maaso, buli mugenyi yaweebwa akazindaalo ne yeeyanjula era n'abaako obugambo obutonotono bw'ayogera. Okusinziira ku bigambo ebyayogerwa, Ababaka baalaga nga baasanyukira nnyo okugenyiwalako Embuga, era baasuubiza okukolagananga n'Obwakabaka bwa Buganda awatali kuwunjawunja.

Ng'amaliriza, Katikkiro yabategeeza era n'abayita ku mikolo gy'amatikkira nga 4/08/2001 mu Ggulu e Mukono.

Nga Katikkiro amaze okwogera, Owek. Tim Lwanga eyakulembera banne neyeebaza Kamalabyonna okubayita n'okubasembeza. Hon. Tim Lwanga ku lwa banne, yeeyama okukolerera Obuganda. Wabula yalabula nti "nga tukola ku nsonga ezitukwatako, kyandibadde kirungi okwewala okukozesanga emikutu gy'amawulire."

Omugenyi omukulu omulala eyasabibwa okwogera, ye Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi, akiikirira Bukoto Central era eyali yakalondebwa ku bwa Sipiika bw'Olukiiko lwa Yuganda. Ono naye yeeyama okuweereza Buganda ne Yuganda mu mazima n'obwenkanya.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |