Okukuza Amatikkira Ga Ssabasajja Kabaka
Ag'omulundi ogw'Omunaana

Amatikkira ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag'omulundi ogw'omunaana, gaabadde ga njawulo nnyo okuva ku malala gonna.

Omulamwa Gw'amatikkira Omukulu

Kyasalibwawo nti emikolo gy'amatikkira ga Kabaka egikwatibwa buli mwaka, tugyeyambise okubaako eky'omugaso nga kya nkalakkalira kye tunaagifunangamu. Ku mulundi guno, omubala guli nti "Okukulaakulanya Obuganda nga Tuyita mu Nnono Zaffe n'Enkola Empya ey'Omulembe". Bino byombi nga byesigamizibwa ku Nteekateeka y'eby'enkulaakulana y'Obwakabaka bwa Buganda ey'emyaka ekkumi (2001 - 20010) - Buganda Kingdom Development Strategy.

Olw'okusobozesa omulamwa ogwo waggulu n'enteekateeka y'enkulaakulana okunnyikira mu bantu, kyasalibwawo okukuza amatikkira g'omwaka guno kumale ennaku ttaano nga buli lunaku kuliko enyingo egobererwa.

  1. Omusomo gw'Eby'enkulaakulana (Buganda Kingdom Development Strategy Workshop)

Nga 31 Kasambula (July) Ow'ekitiibwa Katikkiro yaggulawo omusomo ogw'ebyenkulaakulana ogwetabwamu: Bassentebe ba zi Districts (LC 5 Chairmen), Abaami ab'amasaza n'abamyuka baabwe, abaami ab'amagombolola, ebibiina by'abavubuka, eby'abakyala, ebya Bulungi Bwansi, abakulembeze b'Ebibiina by'Eddiini, Baminisita ba Ssabasajja, Ba Memba ba Palimenti, Ababaka b'Olukiiko Olukulu olwa Buganda, abayigiriza n'abantu abakulu abeebuuzibwako. Bonna awamu baasukka mu bantu 1000.

Owekitiibwa Katikkiro ye yaggulawo omusomo guno era kuno kwe kwali okwogera kwe:

"Ab'ebitiibwa ba Minisita ba Yuganda ne Buganda, Ababaka b'Olukiiko lw'eggwanga ne Buganda, Abataka, Bannalinnya, Abalangira n'Abambejja, Ba Ssentebe ba Gavumenti ez'Ebitundu, Abakulembeze b'Ebibiina by'Eddiini, n'ab'ebitendera egy'enjawulo.

Lwaki Tuli Wano:

Nga mbaaniriza n'essanyu, munzikirize ntandike n'ekibuuzo nti lwaki ffenna mu bungi bwe tuti, tuli wano ate naddala mu kifo ekifaanana nga bwe mukiraba? Ensonga enkulu etukung'anyizza wano eri nti tulina ekizibu kye tulina okusalira amagezi ag'ekikugu okukyejjako ng'Abaganda.

Ekizibu kino, y'embeera Buganda gy'erimu n'obwetaavu obuliwo ku nsonga y'okulwanyisa obwavu n'okukulaakulanya Obuganda. Ssabasajja Kabaka ng'aggulawo Olukiiko lwa Buganda mu 1997 Muzigo (May) yalagira era n'akunga Obuganda buteme empenda n'okukola entegeka ssinziggu ez'okusigukulula obwavu mu Buganda, kino kisobozese okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda ekirabika nti kiserebye nnyo.

Mu 1998, nnalambula Obuganda, ne nneeyongera okumatira nti Buganda eri bubi ddala. Natandika okulowooza eky'okukola era ne baani betunaakikola nabo.

Olw'obunene bwa Buganda, olw'ekifo kya Buganda mu Yuganda, Buganda erina ebbanja okukwatirako Yuganda okujja abantu baayo mu bwavu, naddala obwaavu obukwasa ensonyi ng'obutaba na mmere, obwavu bw'empisa n'ebirala.

Ensonga ezizza Buganda emabega, zoogeddwako kati emirundi egiwerako mu bifo n'enkung'ana ezitali zimu. Okugeza Olukiiko olwategekebwa Owek. Prof. Nsibambi ne Prof. Thomas Babatunde, eyali akulira UNDP mu Yuganda, mu Colline Hotel e Mukono (1997); enkiiko ttabamiruka ezaategekebwa Abaganda mu America (New Jersey, Muzigo 1998), e Bungereza (Buganda 2000 - London, Muwakanya 1998), e Sweden (1999) ne Dallas USA (Muzigo 2001).

Nze nga Kamalabyonna wa Buganda, ensonga y'embeera Buganda gy'erimu enkwatako nnyo; era y'ensonga entumye okubayita wano olwa leero, mbanjulire endowooza yange n'enteekateeka ze tutaddewo.

  1. ENTEEKATEEKA
  2. Omwaka oguwedde, natuula ne Minista wa Ssabasajja akwatibwako ensonga z'enteekateeka z'eby'enkulaakulana, Owek. Leo Kibirango, n'Abakungu ba Ssabasajja abajjumbira ensonga za Buganda, nga Engineer Kibuuka, ne tuteesa ku ky'okukola.

    Mu mwezi gw'omunaana (Muwakanya), nze nga Kamalabyonna nateekawo era ne ntongoza Olukiiko lw'Abaami n'Abakyala ba Buganda enkwatangabo (60) okubaga enteekateeka ey'emyaka ekkumi (2000 - 2010) ey'okubbulula Buganda. Olukiiko olwo lwakulira Dr. Collin Ssentongo, ng'amyukibwa Omukyala Anne Kaboggoza Musoke. Olukiiko olwo, lukoze omulimu gwa ttendo era enteekateeka eyo ey'emyaka ekkumi nnina essanyu okubategeeza nti emaze okubagibwa, era Ssabasajja ajja kugitongoza nga 4/8/2001 mu Ggulu e Mukono.

  3. OBUKULU BW'ENTEEKATEEKA ENO

Bukya Buganda ezzibwawo mu 1993, tukoze byonna bye tukoze nga tetulina ntekateeka ya wamu era nga erengera wala. Obukulu bw'enteekateeka eno gye bagenda okubaanjulira olwa leero mu bimpimpi, bwe buno:-

  1. OMUBALA N'EBIKULU EBIRI MU NTEEKATEEKA

Omubala gw'enteekateeka eno guvuga nti "KYETULI N'ENNONO ZAFFE TUBIKOZESE OKWEKULAAKULANYA" (Blending Culture with contemporary development) (TWEGATTE TWEKEMBE TUKULAAKULANE).

Ebikulu ebiri mu nteekateeka eno, bijja kwanjulwa era byogerweko Abakungu abaatuyamba okukola ebbago. Wabula nze njagala okujjayo ebitonotono bye ndaba nti nnina okubikoonako.

Ekisooka kye kikwata ku kye twegomba Buganda ebe mu biseera eby'enkya ne mu maaso (VISION) na buvunaanyizibwa ki abantu ba Buganda kinnoomu bwe balina okuba nabwo okulaba nti ebiruubirirwa bya Buganda bituukibwako (MISSION).

Nsaba tuve mu musomo guno olwa leero nga tutegedde Buganda by'eruubirira, n'okwetema ki kye tunaakola okubifuna, ate n'okusalawo b'ani be tunaakikola nabo.

Eky'okubiri, by'ebitongole ebipya ebissiddwawo. Era kisaliddwaawo wassibweewo ekitongole ekineetikka obuvunaanyizibwa bw'okukulaakulanya Buganda (THE BUGANDA DEVELOPMENT AGENCY).

Enteekateeka z'okukiwandiisa mu Gavumenti, zikolebwako Owek. J.W. Katende - Attorney General wa Buganda era ajja kuweebwa omukisa ensonga eno agigaziye mu lukung'ana luno.

Eky'okusatu, Buganda Development Agency eno, ejja kuba n'eggwandisizo era nga ly'ekung'anyizo ly'ebifa ku Buganda (BUGANDA DEVELOPENT SECRETARIAT). Eggwandiisizo lino, lijja kubaamu abakozi abakugu abasasulwa omusaala, era nga mulimu n'ebyuma bikalimagezi. Guno gwe gunaaba omutima gw'enkulaakulana ya Buganda.

  1. EBYETAAGISA OKUSSA MU NKOLA ENTEEKATEEKA ENO

Ekyetaagisa era ekikulu mu byonna, kwe kusobozesa buli muntu wa Buganda w'ali okumanya nti Buganda eri bubi era erina ekizibu; ate era n'okwewaayo okussa mu nkola ebiri mu nteekateeka eno. Nsaba mmwe abali wano, muveewo olwa leero nga mufunye ekinyegenyege ate n'abantu bemukiikirira nabo mubakwaase ekinyegenyege ku nsonga y'enteekateeka eno.

Ng'ekinyegenyege kifuniddwa, enteekateeka eno ejja kwetaaga obuyambi obutali bumu, naddala ssente. Mukimanyi bulungi nti Buganda tesolooza musolo era terina makubo ga nkalakkalira mweggya ssente. Okufuna entandikwa eneetusobozesa okussa mu nkola enteekateeka eno, tulina okussaawo kaweefube ow'okunoonya obuyambi. Mmwe, nga mutulaze obumalirivu, tetujja kulemwa.

  1. OKUMALIRIZA

Mmaliriza nga nneebaza okusooka, abo bonna abalina kye bakoze mu kubaga enteekateeka eno. Munzikirize nnokoleyo bano: Owek. Leo Kibirango, Omukungu Dr. C. Ssentongo, Omuky. Kaboggoza Musoke, Ab'ebitiibwa Bbaale Mugera, Joseph Nsereko, Apollo Makubuya, John Muganga, J.C. Muyingo, Eng. H.R. Kibuuka n'Omukungu Dr. A. Ssewaya n'abakulira obukiiko obw'ekikugu. Abo bakoze butaweera okumaliriza omulimu ogutuleese wano olwa leero.

Nneebaza nammwe mwenna abazze wano olwa leero. Mwerekerezza ebirala byonna bye mubadde mulina okukola. Nsaba okujja kwammwe wano olwa leero kuleme kugwa butaka, naye kuviiremu Obuganda ekkula ly'okukulaakulana.

Mu kufundikira byonna mbakubira omulanga: twebaanje ffe ffekka okukomyawo "Ekitiibwa kya Buganda n'ekitiibwa ky'abantu ba Buganda bonna". Twejjukize nti "obwavu nsonyi, obugagga kitiibwa". Ekiruubirirwa kibe okulumirwa abantu baffe okufuna ekitiibwa ky'obuntu, ekitiibwa kya Kabaka waffe, ekitiibwa kya Buganda n'ekitiibwa kya Yuganda.

Omusomo ngugguddewo."

Omusomo ogwo gwamala olunaku lulamba - okuva ku ssaawa 5 ez'okunkya okutuuka ku ssaawa 10 ez'akawuungeezi. Abaagukulembera era abaali abayigiriza, be ba kalimagezi abaawandiika Enteekateeka y'enkulaakulana eri gye twogeddeo waggulu, era beebano: Owek. Leo Kibirango, Dr. Sewaya, Dr. Collin Ssentongo, Omukungu Eng. H.R. Kibuuka, Prof. Joseph Nsereko Dr. Munakukaama Nsereko, Owek. Muganda ne Muky. Anne Kaboggoza Musoke.

Ng'omusomo tegunnaggwa, abaagwetabamu baaweebwa ekiseera okukubaganya ebirowoozo n'okubaako bye babuuza. Ekitundu kino kyanyumira nnyo abantu era kyali kya mugaso nnyo eri abaayigirizibwa n'abaayigiriza.

Omusomo gwaggalibwawo Hon. Tim Lwanga, Omubaka mu Palamenti ya Yuganda akiikirira Kyamuswa mu Ssese District.

    1. Omwoleso gw'Eby'enkulaakulana (Royal Development Show) - 31st July - 4th August 2001.

Nga tulondoola omulamwa omukulu ogw'Ennono n'enkulaakulana, kyasalibwawo okutegeka omwoleso abantu mwe banaasobolera okulaba ebirowoozo byombi nga biteereddwa mu nkola. Omwoleso ogwo gwategekebwa mu mbuga y'omwami ow'essaza Ssekiboobo, e Kyaggwe mu Ggulu - Mukono, era gwaggulibwawo Owekitiibwa Katikkiro nga 01 - 08 - 2001.

Mu bingi ebyayolesebwa mwe mwali:

  1. Amaka g'Omuganda Amatuufu:
  2. Amaka ago galimu bino:

    Enju esulwamu: eri mu kifo ekituufu, erina enzigi, amadirisa, obumooli ebisenge bisiige omusenyu oba olufuufu, eriko eddiiro n'ebisenge eby'abakulu n'abaana mwe basula.

    Ekiyungu: nga kirina ekisenge ky'efumbiro, etterekero ly'emmere, n'ekisenge omuwummulirwa oba omuyinza okusula abako. Kyaliko n'omudumu ogutwala omukka ebweru.

    Kabuyonjo: Nga muwanvu ekimala, ng'aliko omudumu ogutta ensowera, era nga gugigaana okuwunya, ng'erimu ebikookooma, ate ebweru ng'eriyo amazzi ag'okunaaba engalo ng'ovudde mu kabuyonjo eyo. Singa omudumu ogutta ensowera teguliiko, wateekwa okubeerawo ebisaanikira. Waliwo ekisenge ku kabuyonjo eyo ekikozesebwa ng'ekinaabiro.

    Enju y'ebisolo (domestic animals): Ebisolo by'omumaka, enkoko, embuzi, embizzi, endiga n'ente zisaanye okusula mu nnyumba zaazo, so sikusula na bantu.

    Ebyagi: Amaka g'Omuganda gandibadde n'etterekero ly'emmere enkalu.

    Ebweru: Ebweru w'enju esulwamu: Olusuku, emisiri gya lumonde, muwogo, ebijanjaalo, ebinyebwa, emmwanyi, kasooli kawo, endaggu. Mu lusuku nga mulimu katunkuma, ennyaanya, amapaapali, emicungwa, emiyembe, obuyindiyindi, balugu, kyetutumula, ensujju, ebikajjo ebikongo, nandigoya n'ebirala. Mu lujja nga mulimu emiti gy'ebibala egireeta n'ebisikirize, nga fene, ovakedo, enniimu, emiyembe, n'emisaali. Era nga musangibwamu ebimuli ebisanyusa amaaso, n'awaanikibwa emwanyi, ebijanjjaalo, kasooli n'emmere endala.

    Singa buli ssemaka mu Buganda abeera n'ebintu ebyo byonna mu maka ge, kizibu omuntu oyo okukaaba obwavu kubanga alina emmere n'ebisolo, ebimala n'amakaage. Ebifikka, asobola okubitunda n'afunamu ssente n'agula by'atalina. N'olwekyo, ekkubo erisooka okwegobako obwavu mu Buganda bwonna, kwe kuzimba n'okugoberera eky'okulabirako eky'omwoleso gw'Amaka g'Omuganda.

  3. Ebirala Ebyayolesebwa:

Ebintu bingi ebyalagibwa mu mwoleso era ebyasikiriza abantu abangi ddala. Ebimu ku bbyo, byebino:-

Eby'obulamu, Obulimi, Eby'enjigiriza, eby'obukolero obutono, eby'obuwangwa n'ennono.

(Iii) Okutongoza Enkulaakulana Ya Buganda Ey'emyaka Ekkumi

Essaawa okuwera emu ey'okumakya ku lunaku lw'omukaaga nga 4/8/2001, olunaku lwe twakwatirako Amatikkira ga Ssabasajja, akasozi Ggulu konna kaali kabuutikiddwa namungi w'omuntu. Obuganda nga busanyuka era nga bujaganya okukamala, abaana b'amasomero abayonjo okukamala baali bali mu nnyiriri zaabwe nga balindiridde okukumbira mu maaso g'Omutanda, Ab'ebisanyusa ebya buli ngeri nabo tebaalutumirwa mwana.

Ku lunaku olwo, ne Ssabasajja Kabaka, Omugenyi we Omukulu, President Yoweri Kaguta Museveni, Katikkiro wa Buganda, abagenyi abalala ab'ebitiibwa n'Obuganda bwonna, nabo baabukeereza nkokola ne bessa mu ddemeezi yogaayoga nga bali mu Ggulu e Mukono, ku mbuga ya Ssekiboobo. Embuga yonna yali eyooyoteddwa, ennyumba ng'eddaabiriziddwa ng'eringa empya, amasanyalaze n'amazzi byonna nga biyingiziddwa nga toyinza kulowooza nti y'eyo eyali eyonooneddwayonooddwa.

Ssabasajja Kabaka nga y'akatuuka, waaliwo emikolo egimu egy'ennono gye yatuukiriza ng'okukongojjebwa bazzukulu ba Kayiira ab'Embogo, era Ssabasjja yalamusa era n'akuba ne ku Mujaguzo.

Ng'ogyeko omugenyi wa Ssabasajja omukulu, President Yoweri Kaguta Museveni, ab'ebitiibwa abalala bangi nabo baaliyo - Spiika w'Olukiiko lwa Yuganda - Edward Ssekandi, Prime Minisita - Apollo Nsibambi, Ba Minisita ba Gavument eya wakati n'eya Ssabasajja, Ababaka b'Ensi z'ebweru, Ba Namasole ba Bassekabaka, Banalinnya, Abalangira n'Abambejja, Ba Memba ba Palimenti, Ba Ssentebe ba zi Districts, Abataka Abakulu b'Obusolya, Abakungu ba Ssabasajja abatali bamu n'abantu abalala abakulu bangi.

Ssentebe w'Akakiiko k'Amatikkira gano, yali Owek. J.C. Muyingo - Minisita wa Ssabasajja ow'Ebyenjigiriza, ng'amyukibwa Owek. Sewava Sserubiri; era ng'alina ba Co-Chairmen abalala babiri Owek. V.R. Bbaale Mugera - Minister wa Ssabasajja (Special Duties) ne Ssentebe wa Mukono Local Council 5 - Omw. Godfrey Kiwanuka Musisi. Akakiiko k'Amatikkira era kaaliko ba memba abalala bangi okuva mu Bwakabaka, Gavumenti eyawakati era ne mu Local Council ya Mukono District.

Abantu n'amakampuni agawerera ddala gaawaayo amakula olw'okudduukirira entegeka z'amatikkira era n'Omwoleso. Yye, President wa Yuganda ku lulwe, yawaayo Shs.10m/=.

Okwogera Kwa President

Ssabasajja Kabaka, yayita omugenyi omukulu, President Yoweri Kaguta Museveni, abuuze ku bantu.

President yayozaayoza Ssabasajja n'Obuganda bwonna okutuuka ku matikkira ag'omulundi ogw'omunaana. President era yakulisa Ssabasajja n'Obwakabaka okufuna Omumbejja. Yategeeza abaali bamutegedde amatu nga naye bwe yali yafuna Omuzzukulu.

Ku kya Federo, Katikkiro kye yali amaze okwogerako (nga bwebiri mu kwogera kwe wammanga) President yasuubiza nti ensonga eno bajja kugiteesaako. Yakubiriza Abafuzi ab'ennono, baleme kuyingira mu byabufuzi kubanga eby'obufuzi by'abakopi.

Okwogera Kwa Ssabasajja

Ssabasajja ng'amaze okulamusa President yamwebaza okujja ku mukolo guno.

Kabaka yeebaza Katikkiro Ssemwogerere olw'Enteekateeka ennungi bwetyo ey'Eby'enkulaakulana ey'emyaka ekkumu (Buganda Kingdom Development Strategy (BKDS) 2001 - 2010) gye yali yakamwanjulira era, Ssabasajja n'agitongoza ku olwo.

Ssabasajja era yeebaza Owek. J.C. Muyingo ne banne bonna abaali ku kakiiko k'amatikkira, olw'omukolo ogwali ogw'ekitiibwa bwe gutyo. Yeebaza n'abo bonna abaategeka omwoleso ogwali omulungi ennyo. Ssabasajja era yeebaza n'abagenyi be ab'ebitiibwa bonna, n'Obuganda bwonna, olw'okujja mu bungi bwe batyo.

Yeebazaamu abaana b'amasomero ak'ensusso olw'obugumiikiriza bwe baalaga ku olwo ne bulijjo.

Okwogera Kwa Katikkiro (Mu Bujjuvu)

Mukama wange Ssabasajja, essaawa we zaatuukira wano, olutalo lw'ebirumbirumbi, e Naggalabi wali omaze okuluwangula. Era n'Owekitiibwa President ng'ali n'owuwe, yakuli awo ku lusegere, ng'alaga nti tayinza kukwabulira, ng'ate naawe tewamwabulira bwe yali mu lutalo lw'okununula eggwanga lwe yalimu e Luweero.

Abaganda bagamba nti "Abataka abaagalana, balima akambugu".

Makama wange, wano we nkusabira, onzikirize nyanirize mu kitiibwa ekijjuvu, omugenyiwo omukulu, omwagalwa waffe era Pulezidenti wa Yuganda, His Excellency Yoweri Kaguta Museveni.

Ssabasajja era nzikiriza nnyanirize Owekitiibwa Vice President, abakulembeze ab'ensikirano, Omukama wa Bunyoro, Omukama wa Tooro, ne Kyabazinga wa Busoga. Nnyaniriza ne Bakatikkiro baabwe.

Era twanirizza Sipiika w'Olukiiko lwa Yuganda, Vice Chairman wa Movement, Katikkiro wa Yuganda, Baminisita aba Yuganda n'aba Buganda, ba Ambassadors, ba Mmemba ba Palimenti n'ab'Olukiiko lwa Buganda, Abalangira n'Abambejja, abakulembeze b'Ediini, Abataka Abakulu Ab'obusolya, ba Ssentebe ba Districts n'abagenyi baffe mmwenna abali wano. Kifo kifunda, naye Abaagalana tebafunda.

Ekifo kino, Abaganda ab'edda baakituuma Ggulu olw'okubanga baasuubiranga nti mu kifo kino kye nnyini Nnamugereka mwalengejjeza ebigere, n'agonnomola emikisa ku Bantu be, n'abawonya ebibamba, era n'azza abantu obuggya.

Ssabasajja wano Bajjajjaabo we baasinziiranga bwe baabanga n'okukubiriza Obuganda okwekulaakulanya n'okutambulira mu mpisa ez'obwerende balyoke basaanire eggulu.

Mu byafaayo eby'okumpi, luno jjo ly'abalamu, ku mulembe gwa Jjajjaawo Ssekabaka Muteesa I, enjala yagwira Obuganda okufaanana nga bajjajjabe, Ssekabaka okuwonya abantu be enjala, yajja wano mu Ggulu, n'afuna emikisa gyawo, n'alyoka akunga Obuganda okulima emmere. Obuganda bwayanukula okukunga kuno okwali kuva mu Ggulu, ne bulima emmere ne bukunakkuna era ne buwona enjala. Ekyalo ekyasinga binnaabyo okulima emmere, kiri wano Bukoba. Era Ssekabaka yakituuma Nnammere. Nabuli kati bwe kiyitibwa.

Okufaananako nga Bajjajjaabo, bw'osazeewo okuduumira kaweefube w'Obuganda okwewonya obwavu, obutamanya, obuligo, okwegyako endwadde n'okwekulaakulanya, osiimye kukikolera mu kifo kino, mu Ggulu.

Anti Abaganda bagamba nti: "Omuto w'attira egegge......".

Ate ekirala ekikulu, okuva edda n'edda, Buganda ne Busoga nga baagalana nnyo, era nga baayagala dda okwegatta ng'abantu abamu, naye omugga Kiyira (Nile) ne gubalemesa. Kye kyava kisalibwawo nti okulaga omukwano n'okwegatta kuno, ensi zino zombi ziwanyisiganye ettaka lyazo. Ettaka eryasombebwa okuva e Busoga lyayiibwa wano mu Ggulu, era ekifo weryayiibwa nekituumibwa Ttakajjunge. Okuva olwo, ekifo Ttakajjunge ne kitwalibwa ng'akabonero aka Buganda okwegatta n'okulaga omukwano n'ebitundu ebirala ebiri ebweru wa Buganda.

Eno nno y'ensonga ey'okubiri Ssabasajja kye yavudde asiima emikolo gy'olwaleero gikolebwe wano mu Ggulu, e Ttakajjunge. Tusobole okuddamu okwongera okulaga obumu n'omukwano oguli wakati wa Buganda n'ebitundu ebirala byonna ebya Yuganda.

Ssabasajja, tukuyozaayoza nnyo nnyini era tukukulisa olw'okuweza emyaka omunaana bukya otuula ku Nnamulondo ya Bajjajjaabo. Bukya otikkirwa ngule kufuga omubala ogwa Buganda gubadde "Saagala Bati. Njagala Bazira". Abaganda baguwulidde.

Era ku Lw'okubiri lwa wiiki eno, Ssabasajja abakulembeze b'abantubo okuva wonna mu Bwakabaka bwo, bwe baakung'anidde mu Bulange e Mmengo, nebanjulirwa nate enteekateeka yo eno ey'enkulaakulana. Enteekateeka eno, baagyanirizza n'emikono ebiri era kati nze nga Katikkiro wo ekkanzu nagikubye dda akatema-mbidde, neekaaliisa, nninda kimu kyokka, Mukama wange, olwa leero okwate ku mmanduso wano mu Ggulu, ndyoke nkulembere Obuganda, mu kisinde ky'otemye nga tugoberera omumuli gw'okoleezezza.

Ssebo Presidenti waffe, ggwe ng'omulwanyi eyakulembera olutalo olw'okununula eggwanga, okimanyi bulungi nti olutalo teruggwanga. Abantu bakyalina n'okununulwa mu by'enfuna era n'okulongoosa embeera zaabwe ezikyali embi ddala. Olutalo lukyali lunene nnyo Ssebo Owekitiibwa President. Naye tekiba kya bwenkanya wadde ekituufu okulukulera wekka. Kabaka waffe ky'avudde akola enteekateeka eno ssinziggu gy'azze okutongoza olwa leero.

Era nja kumusaba anzikirize nkuwe copy za BKDS ne Kick-OFF Project Profile. Nanyinimu bwatakwata mu kisibo............

Ssabasajja, okukuza amatikkira g'omulundi guno, kwa byafaayo nnyo olw'okubanga ogenda okutongoza n'okunyiga emmanduso ey'okukulaakulanya abantubo n'Obwakabakabwo.

Emmanduso eno, gy'ogenda okunyiga olwa leero, omaze ebbanga lya myaka ena ng'ogitegeka. On'ojjukira Ssabasajja nti emyaka etaano egyasooka ng'otikkiddwa, wali ozzaawo ebintu ebitandikirwako okukola Obwakabaka ebyali byonooneddwa emabega (restoration of various institutional structures which constitute and make the Kabakaship).

Nga tukuza okujjukira amatikkira ag'omwaka oguwedde, nakwanjulira pulogulaamu eno we yali etuuse, n'Akakiiko k'abakugu ke wali olonze, akaakulirwa Dr. Collin Ssentongo okugyekenneenya n'okugikung'unta. Akakiiko kano kaamaliriza omulimu gwako ne kawa alipoota yaako, era Ssabasajja nga bw'ojjukira, waggulawo essomo e Kigo eri ba Minisita bo era n'abakungu abalala okwekenneenya pulogulaamu eno. Mukama wange, mbadde nkwanjulira buli ssa lye tuba tutuuseeko, era nga naawe otulung'amya mu bye tusaanye okutereeza mu pulogulaamu eno. Na bonna abakoze omulimu guno, mbadde mbategeeza, Ssabasajja.

Ssabasajja, nsaba okukutegeeza mu butongole nti Olukiiko lwo pulogulaamu eno ey'emyaka ekkumi gy'ogenda okutongoza, lwagiyisa, era ku Lwokubiri lwa wiiki eno nagyanjudde eri Abakulembeze ba Buganda abalala, naddala ababaka baffe mu Palimenti, ne ba Ssentebe ba Districts, era bonna ne bagisiima. Kaakati Sabasajja pulogulaamu eno eyanjuddwa eri Omukulembeze waffe, President Yoweri Kaguta Museveni, era ogenda kugitongoza mu maaso ge.

Ekinyusi n'ebikulu ebiri mu pulogulamu eno, binnyonnyoddwa bulungi Musajjawo Dr. Munakukaama Nsereko era sigenda kubiddamu. Ssabasajja kati nzikiriza nkyukire omugenyiwo omukulu Pulezidenti wa Yuganda:

Ssebo Ow'ekitiibwa President, nga bw'olabye okuva mu pulogulaamu eno, teriimu kunoonya bitiiwa, teriimu kunoonya bukulu. Eri ku kintu kimu kyokka: okugunjula, okukulaakulanya, n'okulabirira abantu aba bulijjo, abali mu Buganda wonna mu byalo ne mu bibuga. Obwo bwe bubadde, era bwe bukyali, era bwe bugenda okuba obuvunaanyizibwa n'omulimu omukulu ogwa Gavumenti ya Ssabasajja e Mmengo: Okukuza n'okukulaakulanya abantu bonna abali mu Buganda.

Ebimu ku Gavumenti ya Ssabasajja by'egezezzaako okukola mu myaka esatu bye bino:

N'ebirala bingi.

Ssebo Owekitiibwa President, tusobodde okukola ebintu bino awatali kusasulwa, awatali nsimbi zonna, ng'abantu bakola mu ngeri ya nnakyewa, okutona n'okwerekereza. Naye tuwulira ennaku, okuba nti tetusobodde kukola wadde kimu kya kkumi ku ebyo bye twandibadde tusobola okukola, singa tubadde n'obusobozi okubikola. Bagamba nti: "Amawolu galiibwa Mujjukiza"

Eno y'ensonga lwaki Buganda ebbanga lyonna ebadde esaba enkola ya Federo. Buganda esaba Federo si lwakunoonya bitiibwa. Ebitiibwa byonna ebirina era byatuddira okuva Kabaka lwe yatikkirwa e Nnaggalabi. Ate era ebitiibwa tebiva mu Federo. Biva mu Bantu.

Buganda tesaba Federo lwa kwagala bakulembeze baayo kwekkusa. Ssinga e Mengo baali bakimayo ssente, singa baddukayo dda. Anti teziriiyo. Abasinga obungi babadde bakola, okumala kati emyaka egisukka mu 14 nga tebalina ke basasulwa, naye ate bbo ne batoola mu nsawo zaabwe okudduukirira.

Buganda esaba Federo esobole okwongera okukola emirimu ng'egyo gye ndaze waggulu, eginaayamba abantu abali mu Bugana okukulaakulana.

Ssebo Owekitiibwa President, buli lwe tubadde tusaba ekintu kyonna ku lwa Buganda, ebaddeyo abantu (bennandiyise "prophets of doom") ababadde bakutiisa nti k'onokituwa wagenda okubaawo akabi kano ne kali. "Anaakugoba ku nswa ..........."

Ssebo President, onojjukira nti mu 1986, Buganda bwe yali ekusaba okuzza Omulangira Mutebi e Buganda, waaliwo abaakutegeeza nti Omulangira k'anaatuuka e Buganda, agenda kugoba abatali Baganda mu Buganda. Buganda onooba tokyasobola kugifuga, era kigenda kuleeta okusosola mu mawanga, n'ebirala bingi.

Ebintu bye bimu n'okusingawo byaddibwamu n'amaanyi mangi nga tukusaba okutongoza Obwakabaka n'okutikkira.

Ate bwe twakusaba okutuddiza Bulange, Olubiri n'ebirala, baakutegeeza nga bwe tugenda okukijjanya n'okusuula ebintu by'abasirikale ebweru.

Bwe twakusaba Ssabasajja okumuddiza ettaka lye, baakutegeeza bw'agenda okugoba abatali Baganda ku ttaka eryo, n'ebirala.

Naye ssebo ggwe wakimanya era okirabye nti ebyo byonna bya butaliimu. Buganda bwetyo ssi bweri. Buganda ya bantu bonna abagirimu, Abaganda n'abatali Baganda.

Sikaala zenjogeddeko waggulu zetugabye, zigabiddwa abaana Abaganda n'abatali Baganda. Ettaka lya Ssabasajja lirimu Abaganda n'abatali Baganda. Amasomero ga Gavumenti ya Ssabasajja nga mw'otwalidde n'ago agali mu Lubiri, mulimu abaana Abaganda n'abatali Baganda awatali kusosola.

Eno y'enkola yaffe, okuva edda n'edda. Y'enkola yaffe kaakati era y'ejja okuba enkola yaffe bulijjo. Mu myaka gy'enkaaga Olukiiko lwa Buganda lwalonda abantu abatali Baganda okukiikirira Buganda mu Lukiiko olwa wakati - LEGCO. Omwo mwe mwali Dr. Kununka Omunyoro, Daudi Ochieng Omucholi, Muky. Visram Omuyindi ne Mw. Simpson Omuzungu.

Ne mu kulonda kuno okwakaggwa, oyinza okusanga nti Buganda ky'ekitundu kyokka ekiweerezza abantu abatali Baganda, naye nga bali mu Buganda mu Palimenti. Eno y'enkola yaffe era gw'emwoyo gwaffe.

Enteekateeka ey'enkulaakulana Ssabasajja gy'agenda okutongoza, ssi ya kukulaakulanya Baganda bokka, naye yakukulaakulanya abantu bonna abali mu Buganda n'abo ababa bagikyaddemu oluwunguko. N'olwekyo, ejja kuba ng'eyamba okukulaakulanya Yuganda yonna.

Ssebo Owekitiibwa President, tojja kwewuunya bw'onoofuna abakugamba nti Buganda bw'eneefuna Federo olwo kitegeeza nti ejja kuba eyawuddeyawudde mu bantu, nti ejja kuba ng'eyagala kuba ya njawulo, oba kulowooleza mu mawanga. Naye bino kati obimanyidde. Era nze nga bwe nkimanyi, "obissa kasiiso, ow'endali kassa omwekukumi".

Ate ffe tugamba nti Federo terina kuba ya Buganda yokka, n'ebitundu ebirala byonna ebigyaagala tubigyaagaliza. Bajja kuddamu okukugamba nti Federo ejja kuleeta okulowooleza mu mawanga. Kati ffe twebuuza nti kulowooleza ki mu mawanga kweyinza okuleeta kati District kwezitaleetanga? Nziramu, "Anaakugoba ku nswa.............."

Federo ejja kuyamba nnyo mu kukulaakulanya ebitundu bya Yuganda. Naawe Owekitiibwa President wennyini ejja kukuyamba okukukwatirako ku mugugu omunene ogw'okukulaakulanya abantu mu Yuganda gwe weetisse. Gavumenti eyawakati e Kampala terina bw'eyinza kukola buli kimu buli wantu, ate nga District ntono nnyo okusobola okuyimizaawo buli kintu. Ssebo Presieent, "Omweyogereze, takusuuza ........."

Kyenva nziramu okukusaba ssebo, okwongera obutawuliriza abo ba "prophets of doom" abalowooza nti buli ky'ogenda okukola ku lwa Buganda , kiba kigenda kuvaamu kabi.

Nze nga Katikkiro wa Buganda, mu linnya lya Ssabasajja n'Obuganda bwonna, njagala okukakasa nti Buganda kitundu kya Yuganda eky'enkalakkalira, era twaniriza abantu bonna abagirimu. Kye twavudde tuteeka omukolo guno wano e Ttakajjunge. Era enteekateeka ez'enkulaakulana zetukola z'abo abagirimu, n'abo abaligibaamu awatali kusosola.

Ssabasajja nzikiriza ate nnebazeemu President waffe ak'ensusso olw'okuwulira omulanga n'amaziga gaffe ku nsonga ya Federo, n'aba nga ensonga eno agitadde ku zimu ku nsonga enkulu akakiiko ka Professor Ssempebwa ze kagenda okukolako. Webale nnyo Ssebo, President. Newankubadde waliwo ababityebeka nti ako akakiiko "Kiguumaaza, ng'ente eyeebase enkoto.......", Ssebo President, tobawuliriza.

Abantu ba Buganda mwenna eng'oma mugiwulidde ng'egamba nti "Saagala bati, njagala bazira", nti "Ssaagala Agalamidde". Ssabasajja agikubidde wano mu kifo ekikulu ekya Bajjajjabe, mu Ggulu. Okufaanana nga Bajjajjammwe, obuzira obw'okunyweerera kw'ebyo bye mwagala, bye musaba era bye mumanyidde ddala obulungi bye binaabasobozesa okuva mu ddubi ly'obwavu, lye muteeyengeramu, bwe buzira obwetaagibwa olwa leero. Kubanga bwe bunaatusobozesa okuva mu kusabiriza n'okuva mu kwekubagiza, twerwaneko twekulaakulanye.

Nga mmamliriza, nneebaza nnyo abatukwatiddeko n'okutuwa obuyambi mu kutegeka emikolo gino, nga nsookera ku President yennyini. Nneebaza nnyo Owek. J.C. Muyingo akulidde enteekateeka zino ne tiimu ye yonna. Nneebaza nnyo ne Ssentebe Kiwanuka Musisi ne District y'e Mukono; awamu n'Owessaza Ssekiboobo n'Abaami ba Ssabasajja mu Kyaggwe. Era siyinza buteebaza bannamawulire, abatukoledde omulimu ogw'ettendo. "Ow'enkajja .........".

Nga nnyongera okwebaza Ow'ekitiibwa President okubeera naffe wano leero, n'okwebaza abagenyi ba Ssabasajja abalala, n'obuwombeefu, nkusaba Ssabasajja ojje oyogere eri Obuganda; era otongoze enkola eneegobererwa okukulaakulanya Obuganda, mu myaka 10 egiggya.

Ssabasajja Kabala Awangaale.

Abalala abaayogera ku mukolo ogwo be bano:

Owek. J.C. Muyingo - Minisita wa Ssabasajja ow'Ebyenjigiriza era nga ye Ssentebe w'Akakiiko k'Amatikkira 2001, Ssentebe wa Mukono District - Omw. Godfrey Kiwanuka Musisi, Owek. David Ssekindi (Ssekiboobo) ng'ono ye Mwami ow'essaza Kyaggwe, ne Dr. Munakukaama Nsereko, Registrar wa Ndejje University ono nno nga ye yasabibwa okwogera ku mulwamwa gw'amatikkira ag'omulundi ogw'omunaana: "Okugatta Ennono n'eby'Omulembe omupya okukulaakulanya Buganda". Okwogera kwa Dr. Munakukaama kuno, kujja kuweerezebwa omulundi ogujja.

Ssabasajja Ne President Baggulawo Ridar Hotel

Ng'okwogera okwali ku Mbuga ya Ssekiboobo kuwedde, Ssabasajja Kabaka, President Yoweri Museveni, Owekitiibwa Katikkiro, n'abagenyi abalala baagenda e Seeta gye baakyazibwa Omw. John Okware ne banne, abaazimba woteeri empya, Ridar Hotel.

Abakulu bombi awamu, nga beebulunguluddwa Katikkiro wa Buganda ne bannayini woteri eyo, baasala akawuzi ne baggulwawo mu butongole Ridar Hotel.

Oluvannyuma Ssabasajja yagabula Obuganda.

Okuggulawo Olukiiko Lwa Buganda Olw'omulundi Ogw'omwenda - August 13, 2001

Emikolo gy'amatikkira gano ag'omulundi ogw'omunaana, gijja kukomekkerezebwa ku Lwokusooka nga Augusto 13, 2001 nga Ssabasajja Kabaka aggulawo Olukiiko lwa Buganda omulundi ogw'omwenda, ku ssaawa nnya ez'okunkya.

Ababaka b'Olukiiko n'abantu abakulu bangi bamaze okuyitibwa okubaawo ku mukolo guno ogw'ekitiibwa.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |