Enteekateeka Z'amatikkira Ga
Ssabasajja Kabaka Wa Buganda
Enteekateeka z'Amatikkira ga Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ag'omulundi ogw'omusaanvu, zikyayinda. Guno gwe mulundi ogusookedde ddala Beene okukuza amatikkira ge ng'ali ne Nabagereka Sylivia Nagginda.
Omubala gw'amatikkira ag'omulundi guno, gugamba nti "Okuyigiriza Eby'Obuwangwa n'Ennono mu Masomero". Kubanga emiti emito gyegijja okuwanirira Buganda ey'enkya. Nga tugoberera Omubala guno, tuteeseteese Ssabasajja Kabaka agabire abaana b'amasomero abali mu Ssaza ly'e Gomba ebitabo emitwalo kkumi (100,000), nga biriko akabonero k'Obwakabaka bwa Buganda. Kino kibeere ekijjukizo eri abaana bano, okwenyumiririzanga mu Bwakabaka bwabwe.
Wadde ng'omukolo omukulu gwakubeera Mpenja ku Mbuga y'Essaza mu District y'Empigi ku Lwomukaaga nga 5 Muwakanya (August) 2000, ebikujjuko byatandika dda nga 21 Kasambula (July) 2000, n'omuzannyo Ssaagala Agalamidde oguzanyibwa Christopher Mukiibi ne ba Theatrical ogwalagibwa mu National Theatre.
Ku lw'Omukaaga nga 29 Kasambula (July) 2000, Nabagereka yeyali Omugenyi Omukulu ku mpaka z'emizannyo gy'amasomera ga Buganda ezaali e Namboole, era nga abaanywedde mu bannaabwe akendo baaweereddwa ebikopo.
Empaka zino ez'okubeerangawo buli mwaka, zaatandikibwawo omwaka oguwedde nga zikubirizibwa Ekitongole ky'Eby'Emizannyo mu Ministry ya Ssabasajja ey'Eby'Enjigiriza. Omwaka guno, 2000, zaatandika mu mwezi gwa Mukutulansanja (February) nga zeetabiddwamu amasomero 200 aga Primary ne Senior agali mu Buganda.
Mu mpaka zino ebikopo biri bina ebiwakanirwa. Nabagereka Cup - kiweebwa bawala (Netball) aba Primary; Kabaka's Cup - kiweebwa balenzi (Football) aba Primary; Buganda Cup - kiweebwa abawala n'abalenzi (Football ne Netball) aba Senior.
Ekigendererwa mu kino, kwekuyigiriza abaana baffe okwagala Kabaka waabwe n'Obwakabaka.
Bano bebaawangula ebikopo bino:
Nga 30 Kasambula (July) 2000, mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo, waaliyo empaka z'emotoka ezeetaabwamu abavuzi b'emotoka ab'amannya. Empaka zino ezaatuumibwa Coronotion Sprint zaawangulwa Mwami Musa Bedi.
Ku Lwokusooka nga 31 Kasambula 2000, olunaku lw'amatikkira lwennyini, Ssabasajja ng'ali ne Nabagereka, yagabula Obuganda ku katuuso mu luggya lwa Bulange. Abaali ku katuuso kano,okusingira ddala baali abo ababadde badduukirira Obwakabaka mu ngeri ezitali zimu.
Ate nga 4 Muwakanya, wajja kubaawo omupiira wakati wa Gomba ne Butambala n'ekigwo ggumbya e Mpenja. Oluvannyuma wabeewo empaka z'abakawonawo, nga bwakusimbula Mpigi bwolekere Mpenja.
Emikolo emikulu gijja kubaawo nga 5/8/2000 e Mpenja ku mbuga y'e Ssaza. Abagenyi abateeberezebwa okusukka mu 50,000 beebaasuubirwa okubaawo. Nga mwabo abagenyi 2000 ba VIP.
Akakiiko Akateesiteessi kakulemberwa Owek. Kaddu Kiberu, Minisita w'Amazzi n'Amasanyalaze mu Gavumenti ya Ssabasajja. Omumyuka we era nga ye Muwanika ye Mwami Levi Zimbe, Ssentebe wa LC 5 Mpigi District. Kuliko n'abantu abalala abasoba mu makumi abiri (20).
Okwebaza Okw'enjawulo
Okwebaza okwenjawulo kugenda eri amakampuni n'ebibiina ebiwaddeyo okulaba nti amatikkira ga Ssabasajja ag'omulundi ogw'omusanvu gabeera ga kitiibwa. Mu abo abadduukiridde mwe muli bano:
Obuganda bwonna n'emikwano gya Buganda mwanirizibwa.