OBUBAKA BWA KATIKKIRO
KU MATIKKIRA GA SSABASAJJA
AG'OMULUNDI OGW'OMUSANVU; 5th AUGUST, 20000.
Buli mulundi lwetutuuka ku lunaku luno, tubugaana essanyu kubanga okuva edda n'edda bukya Obuganda butandika kulinya Lusozi Naggalabi, Amatikkira tegavanga mu birowoozo bya Baganda era nga bagajjukira buli kiseera, ng'ekintu ekikulu era eky'omuwendo mu Bwakabaka bwaffe.
Ku mulundi guno nate tuzze e Mpenja ku lunaku lwaleero, okutuukiriza empisa n'akalombolombo kano akakulu, ng'Obuganda bukung'anye okwebaza n'okusiima ennyo Ssabasajja Kabaka waffe Ronald Muwenda Mutebi II, olw'engeri ennungi gyabukulenbeddemu okumala emyaka omusanvu bukya alinnya ku Namulondo neegyo egyakulembera kasookedde akomawo mu Bwakabaka bwe awamu n'okumuyozaayooza okutuuka ku lunaku luno nga twongera okuwera okuba abawulize gy'ali.
Omubala gw'omukolo ogw'omwaka guno guli, "okunyweza abaana ab'amasomero mu bika byabwe n'okubayigiriza okumanya ennono zaabwe".
Emikolo gy'omwaka guno girinamu enkizo, era nga banna Gomba bamukisa nnyo kubanga bebalidde empanga okutegeka Amatikkira mu kyaasa kino ekipya ekya abiri mu ekimu.
Ate ekisinga obukulu, be banna Gomba okuba nti bateeseteese emikolo gino nga Ssabasajja ali ne Maama waffe omulundi ogusoose, ku lunaku luno lwetutwala nga lwerusinga obukulu mu Bwakabaka bwaffe. Mbakulisaamu akensuuso banaffe abe Gomba.
Emikolo gy'omwaka guno gyegiddiridde egyali e Nkoni mu 1997, gyetukyajjukira obulungi. Okuva ku mikolo egyo wabaddewo ebintu bingi ebikwata ku Bwakabaka bwaffe.
Ensonga ezimu zibadde nzibu ddala wabula nga Katonda asobodde okuzituvvuunusa. Ensonga endala ng'omwo mwemuli neyokumaliriza Twekobe ya Bbaffe, zikyali mu ddiiro nga zikyalina okukolwako. Wabula mu bumalirivu bwamwe neesiga nti ebyo ebikyasigalidde, bijja kumalirizibwa.
Wabaddewo okusenvulako mu bintu bingi naddala ebikwata kuby'Enjigiriza, eby'Obulamu, eby'Embeera zabantu n'Ebulungi Bwansi, BUCADEF, Omukutu gwaffe ogwa CBS, Ensonga Zenfuga ku musingi ogw'eby'Ennono nga n'Abaami ab'Amassaza nab'Amagombolola baamala okulondebwa nga n'okuyingizibwa mu Bwaami bwabwe kugenda mu maaso.
Enteekateeka z'okuyingiza ejjamba munsawo ye Ggwanika naddala okugula satifiketi zigenda mu maaso.
Tuli bamativu n'enkolagana ennungi eriwo wakati w'Abaami ba Ssabasajja n'abakulembeze ba Gavumenti eyawakati, Gavumenti z'ebitundu, nababaka abakikirira abantu era kino kyeragidde ku mikolo gino ng'enteekateeka zeetabiddwamu Abakulembeze ba District bonna nga begatiddwako ne bammemba ba Palamenti abatwala ekitundu kino.
Njagala okwebaza Akakiiko akateesiteesi k'emikolo gino, Ssentebe Owek. Kaddu Kiberu, Abamyuka ba Ssentebe wa District Omukungu Levi Zimbe, Kitunzi Owek. Medad Kiwanuka, RDC Omw. Serapio Karasani ne bammemba b'Akakiiko akakulembera District bonna, ba Ssentebe ba LCs n'obukiiko bwabwe, Abakuumi b'eddembe, Abaami ba Ssabasajja n'abantu be Gomba mwenna olw'okuteekateeka obulungi omukolo guno.
Mu kiseera kye kimu, ntuusa okusiima kwaffe eri amakampuni agatukwatiddeko okusobola okufuula omukolo gwaffe ogw'ekitiibwa.
Njagala okweyambisa omukisa guno okwebaza ennyo Abakungu ba Ssabasajja bonna abali e Mengo ne mu Buganda bwonna, era awamu nabantu ba Ssabasajja yonna gyebali, olw'emirimu gyebakola egisobozesezza Obuganda okuyimirirawo wakati mu buzibu.
Siyinza kukomekkereza bubaka buno nga ssebazizza mungeri ey'enjawulo Omukulembeze waffe Owekitiibwa Yoweri Kaguta Museveni ne Gavumenti ye olw'obukulembeze obutusobozesezza okwegazanyiza mu byobuwangwa bwaffe. Era tusiima bwongerwa.
Mbagaliza emikolo egy'essanyu n'emirembe.
Ssabasajja Kabaka Awangaale
J. G. MULWANYAMMULI SSEMWOGERERE
KATIKKIRO WA BUGANDA.