Agafa e Mmengo, 10 Muwakanya, 2000
Emikolo Gy'amatikkira Ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Ag'omulundi Ogw'omusanvu
Emikolo gy'amatikkira ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyawedde bulungi e Mpenja, mu Ssaza Ggomba, Mpigi District. Omukolo ogwabadde ogw'ekitiibwa, gwakuluumuludde abantu okuva e bule n'ebweya, ng'abamu baasulirayo ddala ggulolimu, era nga baatandikirawo okukuba eng'oma, enduulu n'okutyabula amazina, nga baaniriza olunaku mulindwa, Ssabasajja kweyatikkirirwa.
Omukolo guno ogwabaddeko abantu abasukka mu 50,000, gwabaddeko abagenyi abatongole nga 10,000; nga mw'abo mwemuli President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, Omumyuka wa Spiika wa Palimenti Hon. Edward Ssekandi, Vice Chairman wa NRM Hon. Alhaji Moses Kigongo, Prime Minisita wa Uganda Hon. Apollo Nsibambi, n'ababaka okuva munsi ez'ebweru. Vice President wa Uganda H.E. Specioza Wandira Kazibwe yakiikiriddwa Omwami we Eng. Kazibwe.
Obukama bwa Bunyoro ne Tooro, n'Obwakyabazinga bw'e Busoga bwakiikiriddwa bulungi. Omulangira George Barigye owa Nkole naye yabaddeyo.
Okwogera Kwa President Museveni
President Museveni, eyabadde Omugenyi Omukulu, yagambye nti, Ennono ye Ssemateeka w'Eby'obuwangwa, n'olwekyo kiba kituufu okuzuukiza Ennono zaffe. Yategeezezza nti y'ensonga lwaki yawagira okuzzaawo obufuzi obw'eby'Obuwangwa.
Yagambye nti Abafuzi ab'ensikirano basobolera ddala okukulaakulanya ensi mu mirembe, ssinga bakolagana n'abafuzi mu Gavumenti yawakati nebeewala okugatikka eby'ennono n'eby'obufuzi. Yakinooganyizza nti mu Uganda Obwakabaka obw'ensikirano bulina eddimu eddene okulaba nga buzzaawo Ennono n'Obuwangwa ebituukana n'enfuga eriwo mu kakyo kano.
Omubala gw'amatikkira ag'omulundi guno gugamba nti, "Okuyigiriza Eby'Obuwangwa n'Ennono mu masomero ng'essira liri ku kunyweza abaana abato mu Bika byabwe awamu n'okumanya Ennono zaabwe, basobole okwekulaakulanyiza omwo. Olw'ensonga eyo, Akakiiko Akateesiteesi, kyekaavudde kateekawo omuntu amanyi obulungi Ennono n'eby'Obuwangwa, Omwami Kalanzi Ssewanyana, Commissioner w'Eby'enjigiriza mu Gavumenti ya Ssabasajja, abeeko kyasomesa abaana abato n'abamu ku bakulu.
Ng'ayogera eri Obuganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, yaganye Abaganda okwesiganga eng'ambo; kino kibasobozese okwewala enjawukana. Yambye nti "Eng'ambo ezitaliko mutwe na magulu zitunafuya n'okutwawulayawula neziremesa enkulaakulana".
Ssabasajja yakuutidde Abaganda okutunuulira gyebavudde, webatuuse ne gyebalaga. Naagamba nti mu myaka omusanvu mubaddemu ekugenda mu maaso, okwenyweza n'okukulaakulana, ebivudde mu bukulembeze obulungi.
Ng'akyukidde Abavubuka, Ssabasajja yabajjukiza okunyiikira okutondawo emirimu, bave mu kulowooza okufuna ssente ez'amangu; ekintu kyeyagambye nti kibalemesa okukola ebigasa Buganda.
Yalagidde Abaganda okulima emmere batangire enjala. Yeebazizza nnyo Gavumenti eyawakati ne ba District Chairmen olw'okukolera awamu okukulaakulanya ebyalo. Yawadde Obuganda essuubi nti byetutanatuukako, nabyo bigya kutuukibwako.
Ye Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere, yagambye nti ensonga ezimu zibadde nzibu ddala; wabula nga Katonda asobodde okuzituvvunnusa. Ensonga endala omuli okumaliriza Twekobe ya Bbaffe zikyali mu ddiiro nga zikyalina okukolwako. Naategeeza nti wabula mu bumalirivu bw'Abaganda, ebikyasigalidde, nabyo bigya kumalirizibwa.
Katikkiro yanyonyodde nti wabaddewo okusenvula mu bintu bingi, naddala ebikwata ku by'enjigiriza, eby'obulamu, eby'embeera z'abantu ne Bulungi Bwansi, BUCADEF, Radio ya CBS, Ensonga z'obukulembeze ku musingi ogw'eby'ennono, nga n'Abaami ab'Amasaza n'ab'amaggombolola, baamala okulondebwa n'okuyingizibwa mu Bwami bwabwe.
Yategeezezza nti enteekateeka ez'okuyingiza ejjamba mu nsawo y'Eggwanika, naddala ez'okugula Certificates, zigenda bulungi. Naagamba nti bamativu n'enkolagana ennungi eriwo wakati w'abaami ba Ssabasajja n'abakulembeze ba Gavumenti eyawakati, nti era kino kyeragidde ku mikolo gino, enteekateeka bwe zeetabiddwamu abakulembeze ba District bonna nga beegattiddwako ne memba wa parliament atwala ekitundu ekyabaddemu emikolo.
Katikkiro yeebazizza mu ngeri ey'enjawulo, omukulembeze wa Uganda Owekitiibwa Yoweri Kaguta Museveni ne Gavumenti ye, olwobukulembeze obulungi obusobozesezza Buganda okukola byonna by'ekoze.
Kamalabyonna yagabye ebikopo eri abaawangudde mu mpaka z'ekigwo n'omupiira. Omupiira gwawanguddwa essaza ly'e Gombo ate Butambala newangula ekigwo.
Mu mpenda ezitemeddwa okutumbula eby'enjigiriza mu Buganda, Gavumenti ya Ssabasajja yadde nga tesolooza misolo, erina mikwano gya Buganda abawaayo kyebasobola, olw'okuyamba okusomesa abaana abatalina busobozi.
Ne ku mukolo gw'amatikkira ag'omulundi guno, amakampuni nga: MTN (Mobile Telephone Network), Gold Star Insurance n'Abaganda abali e Bungereza, baawaayo ssente ezaagulwamu ebitabo ebiwerera ddala 100,000, Ssabasajja byeyasiima biweebwe abaana b'amasomero mu Ssaza ly'e Gomba.
Ebitabo bino Owek. Katikkiro yeyabikwasa Abakulu b'amasomero mu Magombolola eg'enjawulo mu Ssaza ly'e Gomba; naabakuutira babigabe bugabi eri abaana b'amasomero, so ssi kubitunda.
Okuggulawo Olukiiko Lwa Buganda
Ku Lw'okusooka nga 14/08/2000, Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, ajja kulabika eri Obuganda ng'aggulawo Olukiiko lwa Buganda omulundi ogw'omunaana.
Kw'olwo Owek. Katikkiro lwalyanjula ebikulu ebibaddewo, ebikoleddwa n'ebyo ebiteekebwateekebwa okukolebwa mu biseera eby'omumaaso mu Bwakabaka bwa Buganda.