Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II yaguddewo Olukiiko lwa Buganda ku lunaku Lw'okusooka nga 14/8/2000.
Ssabasajja nga tannaba kuggulawo Lukiiko luno, Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere yayanjudde enteekateeka y'enkola eneegobererwa mu Buganda ey'emyaka etaano egijja (The Five Year Strategic Plan).
Owek. Katikkiro yagambye nti oluvannyuma lwa Buganda okuvvuunuka ebintu ebikulu ebizze bibaawo kasookedde Ssabasajja atuula ku Namulondo, kino ky'ekiseera okuteekawo enteekateeka ey'okukwanaganya n'okukulaakulanya emirimu gy'ebitongole eby'enjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda.
Kinajjukirwa nti mu bingi ebibaddewo, mwe muli okukung'anya ebirowoozo n'okukola Ssemateeka, okulonda President, okulonda Ababaka ba Palimenti, okulonda Obukiiko bwa LCs, ensonga z'ettaka, emirerembe gy'e Kasubi n'akalulu k'ekikungo. Ekikulu ennyo ate nga kizzaamu Buganda amaanyi, y'embaga ya Ssabasajja ey'ebyafaayo.
Omubala gw'enteekateeka eno, guli "Kabaka ow'Enkulaakulana" (The Royal Development Drive), nga gujja kuvuga nti "Twegatte, Twekembe, Tube beesiimbu, Tukolagane n'ab'omugaso, Tukulaakulane".
Katikkiro yategeezezza nti obwanga tujja kubwolekeza ebizibu, nga obwavu, endya mbi, enjala, obutamanya n'obuligo, obujama n'ensula mbi, obuseegu n'obugwenyufu, okwonoona obutonde bw'ensi n'endwadde.
Mu nteekateeka eno mulimu empagi kkumi era ze zino:
- Okuyimirizaawo Kabaka n'Obwakabaka.
- Okwongera amaanyi n'amakubo ag'okusoloozaamu ensimbi.
- Okwongerawo n'okulung'amya emirimu egireeta ensimbi mu Ggwanika lya Buganda.
- Okuttukkiza ekyaalo ky'Omuganda eky'edda, nga kirongooseddwamu (The Revival of African Village for Year 2005). Nga kirimu amaka amayooyote, eby'okulya n'ebyettunzi, eby'okweyimirizaawo, nga balina eby'obulamu, nga abantu bakolagana bulungi era bettanira okukola ennyo, n'ebifo ebyawamu nga biri ku musingi mulungi ogwa Bulungibwansi ne Ssaagala Agalamidde.
- Okukuza obusuubuzi, amakolero n'obutale. Ku nsonga eno: Twagala okwongera amaanyi mu kussa essira ku ky'ettunzi ekimu mu kitundu ekimu. Kino kyanguyiza abasuubuzi okuganyulwa mu kutuusa eby'amaguzi ku butale; Twagala okunoonyeza abantu baffe obutale kuno n'ebweru n'okubasomesa engeri ey'omulembe ey'okuddukanyaamu emirimu n'okubaamu omwoyo omutetenkanya.
- Okusitula embeera n'omutindo gw'abakyala, naddala mu by'okweyimirizaawo n'okuyimirizawo ab'omu maka; ate ne mu mpisa n'obuntubulamu; nga bwe kiri nti be beesigamiziddwako obuwangwa bw'eggwanga.
- Okugatta n'okusitula embeera z'abavubuka. Balina amaanyi, balina amagezi, ate balina obuvumu. Kwe tuteekwa okuzimbira eggwanga. N'olwekyo tubayambe era tubeeyambise. Tubategeeze beewale emize egiyinza okubatusaanyizaawo.
- Tukole buli ekisoboka okukuuma n'okutumbula eby'ennono n'ebifo eby'obuwangwa. Ebyo bye bifuula eggwanga okuba eggunjufu, era ery'embala.
- Okwongera amaanyi mu by'enjigiriza ebya saayansi, tekinologiya n'eby'emikono eby'abato n'abakulu. Okukunga n'okumanyisa abantu ba Buganda ku by'enkulaakulana tubisse ku mwanjo. Tuyite ku radio, n'empuliziganya y'amawulire amalala, naddala eri abantu baffe abali mu byaalo. Tusomese, naddala abakulembeze baffe ab'omubyaalo. Mu kaweefube ono, tusobola n'okweyambisa abaana baffe aba Nkobazambo, Baana ba Kintu nga bali mu luwummula, okusomesa abantu abakulu
- Tulina okussaawo enkola y'okutereka n'okwewola ensimbi, okusobola okwongera amaanyi mu mirimu gy'abantu baffe. (Micro Credit).
Kalonda yenna akwata ku buli mpagi ezo waggulu, yaggwa dda okusengeka era alinze akakiiko akateekeddwawo okumwekenneenya n'okumukwanaganya ne alipoota ezinaava mu bitongole.
Olw'obukulu bw'enteekateeka eno, wajja kugunjibwawo eggwandiikiro erinaakwanaganya kalonda yenna akwata ku nsonga eno. Lijja kuba tono ddala, naye nga lya kikugu. Wano Owek. Katikkiro weyasabidde buli asobola yeetabe mu kukola enteekateeka eno, tusobole okweyambisa obukugu n'obuwagizi bwa buli omu, tusobole okugendera ku mbiro, naye ate nga tuli kumulamwa.
Naye okusobola okuteeka buli mpagi eyo waggulu mu nkola, Gavumenti ya Ssabasajja ejja kwetaaga okutuukiriza bino:
- Tulina okuteekawo ebigendererwa eby'enkulaakulana nga bya buli mwaka era nga bya Buganda yonna.
- Tulina okukola nga entegeka zaffe zirondoola era ne zeyambisa entegeka eza gavumenti eyawakati, gavumenti ez'ebitundu, n'ez'ebitongole ebiyambi eza wano n'ez'ebweru. Kino nga tukikola okujjumbiza n'okutuukiriza ebyetaago bya Buganda by'erinamu enkizo.
- Okukkaatiriza obumu mu nkolagana ne gavumenti eyawakati, eza district z'omu Buganda, bammemba ba Palimenti, naddala abava mu Buganda; awamu n'ebibiina by'obwannakyewa, tusobole okukola obulungi ku nsonga za Buganda nga tuggumidde.
- Okuteekawo enfuga n'endabirira y'emirimu entangaavu mu buli ekikolebwa mu Gavumenti ya Ssabasajja (Transparency).
- Okuyigiriza n'okunyweza empisa ey'ekulondoola n'okwekkanya emirimu (monitoring & evaluation) era n'okuwaayo embalirira ya buli nsimbi ezifuniddwa era ezikoleddwamu emirimu (Accountability).
- Okussaawo enkola ennung'amu abakugu abali mu Buganda n'ebweru waayo, mwebayinza okuyita okuweereza Obuganda mu mirimu egitali gimu egy'omu nteekateeka eno ey'okwekulaakulanya mu mwoyo gw'obwannakyewa. Bangi babadde beebuuza nti tusobola tutya okuyingira e Mengo? Tugenda kussaawo amakubo abakugu bwe batyo okusobola okwewandiisa ne ku internet.
- Olw'okukuuma ekitiibwa ky'Obuganda, n'obutaweebuuka mu bannaffe abatuyamba, tulina okwewala okusaba obuyambi okuva ku bantu be bamu ku nsonga ezifanagana, sso ng'ate tweyambisizza abantu ba njawulo. Kijja kuba kirungi ssinga office ya Katikkiro etegeezebwako ku nteekateeka z'okusaba obuyambi buno, nga tekinnakolebwa, wabeerewo okulung'amizibwa.
- Ate twagala buli nsimbi n'obuyambi ebituweereddwa, birondoolebwenga n'enkozesa yaazo biweebweko alipoota.
- Olukiiko lwa Buganda lulimu abakugu eb'emitendera n'ebiwayi eby'enjawulo. Naye olw'eby'enfuna yaffe, tetusobola kutuula biseera bimala. Tutuula omulundi gumu era olunaku lumu omwezi. Bangi nnyo tebasobola kubaako nakyebateesa. Era bangi babadde baweddemu amaanyi, nga n'abamu tebakyajja. Kwe kuteesa nti Olukiiko lwaffe Olukulu olwa Buganda lwekolemu obukiiko (Sectoral Commitees) buteesenga n'okulondoola enkola y'emirimu. Tulowooza nti bwandibadde nga buna (4):
(i) Akakiiko k'Ebyenkulaakulanya y'Embeera z'Abantu (Social Development Committee).
(ii) Akakiiko k'Ebyensimbi n'Okwekulaakulanya mu by'Enfuna (Finance & Economic Development Committee).
(iii) Akakiiko k'eby'Ennono n'Obuwangwa (Culture & Heirtage Committee).
(iv) Akakiiko k'Ebyenfuga n'Emirimu Egitali Gimu (Administration & Special Duties Committee).
Emirimu n'amateeka agafuga Obukiiko buno biteekebwateekebwa.
Ffenna nga bwe tumanyi, Obuganda tebusolooza musolo. Kyokka bwo Obuganda buwa omusolo era buwulize eri Gavumenti. Wabula era Obuganda buganyi era tebusobola kuzingira mikono mu bulago. Obuganda bukoze ekisoboka era bukyagenda mu maaso n'okweyimirizaawo ku nkola y'obwannakyeewa n'obuyambi obutonebwa. Era Obuganda bugezaako okuteekawo, era nga bukyagezaako okuteekawo emirimo egivaamu ensimbi. Wabula bino byonna tebinnamatiza. N'olwekyo, tulowooza nti:
- Gavumenti eyawakati erina okumatizibwa ku miganyulo egiri mu nteekateeka yaffe, era n'okugiwa obuyambi;
- Gavumenti eza Districts za Buganda zirina okwetaba mu bujjuvu mu nteekateeka eno;
- Ebibiina ebiyambi n'eby'obwannakyewa, ebya wano n'eby'ebweru tulina okubisikiriza n'okubiyingiza mu nteekateeka yaffe, n'okubirambika mu bikolebwa.
N'olwekyo tulina okuteekawo Enteekateeka (Plan) eyawamu, gyetusobola okulaga buli ayagala okukolagana ne Buganda, mu nsonga z'okwekulaakulanya.
Oluvannyuma lw'okumwanjulira enteekateeka eno, Ssabasajja yagisiimye era n'alagira egende mu maaso.