Emirimu Egikolebwa Okukulaakulanya Buganda


Egimu Ku Mirimu Egikolebbwa Ssabasajja

Mu Lukiiko lwa Buganda olwatudde ku lunaku Lw'okusooka nga 14/8/2000, Katikkiro yanyonyodde egimu ku mirimu egikolebbwa Ssabasajja okuva lwe yaggulawo Olukiiko lwa Buganda omwaka oguwedde. Kabaka abadde musaale mu kukulembera abantu ng'abakubiriza okukola ennyo basobole okwejja mu bwavu, okutwala abaana mu masomero n'okwongera okulongosa embeera z'obulamu bwabwe.

Okulambula Amasaza:

Ng'emikolo gy'embaga gyakaggwa, Ssabasajja yatandika okulambula Obuganda, nga yasookera mu Busiro, nnazzaako Butambala. Nga kati abaami ab'amasaza, Ssebwana ne Katambala, baasobola okuyingira embuga zaabwe e Ssentema n'e Kabasanda.

Amasinzizo:

Mu kugezaako okutuukiriza ebyo Ssabasajja byakuutira abantu be, naddala abakulembeze okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bubakwasiddwa nga tebeesigama ku ndowooza za diini, Nnyinimu alaze eky'okulabirako bwalambudde era naasabira mu masinzizo ag'enzikiriza zonna ez'abantu be.

Ebweru wa Buganda:

Ssabasajja era afubye okutuuka mu bantu be abali ebweru wa Buganda nga ab'e Mbale, Bungereza, Sweden, America n'awalala, nga ali mu kaweefube ow'okufunira Buganda emikwano egy'ebweru. Ssabasajja olw'okulambula abantu be eyo mu mawanga gye bali, abantu be beeyongedde okuba obumu. Era mu kaweefube ono mwe muvudde amawanga ago okwongera amaanyi mu kitongole ekiyamba abantu ba Buganda, naddala abateesobola, ekya Kabaka Foundation. Ate era waliwo abakugu abasuubirwa okuva e Sweden okulongoosa omutindo gw'amazzi mu Buganda.

Eby'emizannyo:

Emizannyo gikoze kinene okuzzaawo Obuganda. Ssabasajja yaggalawo empaka z'Omupiira gw'Ebika era n'akwasa abawanguzi ebirabo. Nnabagereka naye yaggalawo empaka ez'akamalirizo eza Buganda Cup, Kabaka's Cup ne Nnabagereka's Cup. Ekibiina ky'ebikonde eky'ensi yonna, kyateekawo empaka z'ebikonde ez'amawanga gonna nga zaakuwakanirwa mu Buganda buli mwaka; era nga zaakuyitibwanga Kabaka's Cup.

Emirimu Egikolebbwa Nnabakyala Nnabagereka

Nnabakyala naye asitukiddemu okukwatizaako Ssabasajja mu ddimu eddene ery'okukubiriza Abaganda okwerwanako okukulaakulanya Buganda, ng'asinze kwettanira bya njigiriza. Yasooka kuggumiza nsawo ya Kabaka ey'ebyenjigiriza, (Kabaka's Education Fund) bweyateekawo eky'eggulo ekyasonderwako ensimbi ez'ensawo eyo.

Nnabakyala yasimba ejjinja ery'ekimu ku bizimbe by'ekibiina ekirabirira abaana abanaku e Nkumba - Bayitababiri, n'akyalira Nkumba University gyeyaggulawo ekisulo ky'abawala ekyabbulwamu Nnabagereka Hostel. Ate emabegako, Nnabagereka yasisinkanako abakyala abatutumufu omwali ba minisita mu gavumenti eyawakati, abalamuzi, abakulu b'ebitongole, n'abalala. Era baasiima bwongerwa.

Obukiiko Obw'enjawulo

Mu kukwanaganya ensonga enkulu mu Bwakabaka, waateekebwawo Obukiiko obw'enjawulo nga bwe buno:-

(i) Akakiiko ka Kooti ya Kisekwa

Ssabasajja Kabaka yasiima okuzza obuggya Akakiiko ka Kooti ya Kisekwa. Omukulu George Kalanzi yayongerwayo ekisanja ekirala eky'okukulira Kooti eno. Kooti yatandika okukakkalabya emirimu gyayo.

(ii) Akakiiko k'Ebyaffe

Kinajjukirwa nti mu mwezi gwa February, 2000 Ssabasajja yasiima n'ateekawo akakiiko ka bantu 24 nga kakulirwa Bishop Yokana Mukasa nga ssentebe waako. Akakiiko kaatongozebwa nga 8/02/2000.

Owek. Katikkiro yasisinkanamu ne Sentebe w'Akakiiko ako n'amutegeeza ng'omulimu bwe bagukutte kannabwaala, nti era bingi ebizuuliddwa ebikwata ku:- a) Ettaka lya Buganda b) Ebitongole n'amakampuni c) Ebintu ebikalu nga mwe muli eby'obwakabaka, eby'ennono, eby'obuwangwa n'ebyobugagga ebirala.

Amakubo gakyatemebwa ag'okuyitamu okuzza ebintu ebyo naye nga bingi byetaaga bwegendereza, ate n'obuvumu. Ssentebe yasabye oba nga waliwo abalina kye bamanyi ku by'obagagga bwa Buganda obuli mu mikono emikyamu, oba nga bikisiddwa abantu abamu, okumutuukirira oba mmemba w'akakiiko yenna abamanyise ebintu ebyo bisobole okutunuulibwa ku mulundi guno. Newankubadde "Ebirwa bikyuuka, amalusu ne gafuuka engeregeze", naye ate "Engo tefuuka mmondo!". Ate "Amawolu galiibwa mujjukiza". Tulina n'okujjukira nti "Ssebuguzi bwa nnume tebubulako nteera".

(iii) Akakiiko ku Nkolagana wakati wa District eziri mu Buganda ne Mnengo

Tewali kubuusabuusa ng'enkolagana wakati wa Gavumenti ya Ssabasajja n'abakulembeze ba Districts zonna eziri mu Buganda nuungi. Wabula olw'okwongera okunyweza enkolagana eno, Ssabasajja yasiima wateekebwewo akakiiko akakulirwa Omukulu Alhaji Abdul Nadduli, Ssentebe wa District y'e Luweero, kanoonyereze ku biki byetusaanidde okukolaganamu nga Buganda eyawamu. Mu biseera bino waliwo okweyanza kw'abaami ab'amasaza; naye no enteekateeka z'emikolo zikolebwa wamu ne Districts, ku mbuga z'amasaza.

(iv) Akakiiko ku Nsonga z'Amazzi e Nakasongola

Aba Uganda Breweries baasalawo okudduukirira Obwakabaka bwa Buganda mu bwetaavu bw'enzizi ezivaamu amazzi agasaanira okukozesebwa abantu baffe. Ssabasajja yasiima omulimu guno gukolebwe mu kitundu ekinaaba kirondeddwa mu ssaza ly'e Bululi, ebbula ly'amazzi gye lisinga. Waatekebwawo akakiiko okukola ku nsonga eno era nga ssentebe w'akakiiko kano ye Owek. Kaddu Kiberu, Minista w'Ebyamazzi n'Amasanyalaze; abalala nga beba Owek. Ssenyonga Ssalongo Kimbugwe, omukulu w'ekitongole kya Water Development e Nakasongola, anakiikirira ekitongole kya Water Development e Kampala, n'Omubaka okuva mu Uganda Breweries. Omulimu guno gunaatera okutandika.

Ensimbi ez'okuddukanya Obwakabaka:

Owek. Katikkiro yeyongedde naategeeza nti enzirukanya y'emirimu gy'Obwakabaka ekyali nzibu olw'ebbula ly'ensimbi. Nti bwo Obuganda bukoze ekisoboka mu kweyimirizaawo ku nkola y'Obwannakyewa n'obuyambi obutuweebwa.

Yagambye nti mu kutetenkanya okusobola okufuna ensimbi ezinaayimirizaawo emirimu gy'Obwakabaka, Omuwanika wa Buganda yayanjula enteekateeka n'amakubo aganaayitibwamu okukola ku nsonga eno. Amakubo gano omuli okugula certificates, okulanya kw'ebika ewa Ssabasajja, okwewandiisa mu bika byaffe, ne Buganda Investment, gamaze okutandikibwawo. Okugula/okutunda certificates, gwe gumu ku mirimu egyakwasibwa abaami ab'amasaza n'abamagombolola era nga gumaze okweraga nti gujja kutuukiriza ekigendererwa.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |