Emikolo Gy'okujjukira Bweguweze Omwaka Kasookedde Obuganda Bufuna Nnabagereka

 

Olw'okujjukira nga bwe guweze omwaka omulamba bukya embaga ya Ssabasajja ne Nnabagereka ebaawo, waabaddewo empaka z'emizannyo mu kisaawe e Namboole ku Sande nga 27/8/2000.

Kinajjukirwa nti embaga eno, eyali ey'ebyafaayo, yaliwo ku nnaku z'omwezi ezo zennyini (27/8/99) era nga yakuluumulula abantu okuva ebule n'ebweya. Bangi baali tebalabanga ku mbaga ya Kabaka. Bangi baatona amakula mayitirivu okufuula embaga eno ey'ekitiibwa.

Egimu ku mizannyo egyabadde e Namboole gwe Mupiira wakati wa tiimu y'Obwakabaka bwa Buganda n'ey'obwa Swaziland ogwabadde omunyuvu ennyo era effirimbi envannyuma okugenda okuvuga nga Buganda ettimpudde Swaziland goolo bbiri ku bwereere.

Ng'omupiira guno tegunnatandika, wasooseewo ekigwo ggumbya wakati wa Butambala ne Kyaggwe. Ekigwo kino kyawanguddwa Butambala.

Oluvannyuma waabaddewo omupiira ogwaggye abantu ekifu ku maaso, wakati wa ba Minisita ba Ssabasajja ne ba Nnamawulire (Uganda Sports Press Association). Ba Nnamawulire beebaawangudde ne goolo bbiri ku bwereere.

Ssabasajja ng'ali ne Nnabagereka, yayambazza abazanyi bonna aba Swaziland emiddaali era naakwasa Captain wa tiimu ya Buganda, Majidu Musisi ekikopo. Ekikopo kino kyatonnwa Abalangira n'Abambejja gye buvuddeko.

Obuganda ne mikwano gya Buganda, mu ssanyu eppitirivu bajjumbidde nnyo emizannyo gino wadde nga enkuba yabataataganyizza nnyo.

Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere ne mukyalawe be baawerekedde ku Ssabasajja. Prime Minister wa Uganda Hon. Apollo Nsibambi naye teyalutumidde mwana. Abalangira n'Abambejja, Abataka, ba Minisita n'Abakungu ba Ssabasajja, n'abantu abalala bangi bajaganyirizza wamu ne Kabaka waabwe.

Ng'olunaku lwennyini terunatuuka, wasookawo emikolo gy'abakyala egyategekebwa ekitongole ky'abakyala nga 24/8/2000 mu Lubiri e Mmengo. Ku mikolo gino abakyala baayolesa emizannyo, ennyimba, ebitontome n'emirimu egy'enjawulo egikolebwa abakyala. Mu bino byonna essira lyateekebwa ku kibuuzo nti, "Obuwangwa, Ennono n'Obulombolombo Abakyala ba Buganda, bibazza mabega oba bibatwala mu maaso?"

Omukolo guno gwakulirwa Nnabakyala Nnabagereka era nga Owek. Syda Bbumba Minisita w'Eby'amasanyalaze mu Gavumenti yawakati ye yali Kalabalaba w'emikolo. Emikolo gino gyetabibwamu abakyala okuva mu Masaza gonna aga Buganda. Emikolo gy'agenda bulungi yadde nga enkuba yagitaataganya.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |