Ekibiina ky'Olulimi Oluganda Kijaguza Okuweza Emyaka 50!
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere, yatenderezza nnyo omulimu amakula ab'Ekibiina ky'Olulimi Oluganda gwe bakoze emyaka ataano emabega. Bino Kamalabyonna yabyogeredde Kakeeka, Mmengo mu Buganda Royal Institute ku bijaguzo by'ekibiina kino okuweza emyaka 50 bukya kitandikibwawo.
Katikkiro yagambye nti Olulimi ky'ekimu ku bintu ebikulu ebitumbula eggwanga, naakubiriza abazadde n'amasomero bulijjo okulaba nga abaana basomesebwa ennimi ennansi olw'okukuuma eby'Obuwangwa n'ennono. Yategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nga buyamba ekibiina kino kisobole okutuukiriza ebigendererwa byakyo.
Okusooka Katikkiro yalambuziddwa emidaala gy'eddagala ery'ekinnansi, ebintu bajjajjaffe bye baakozesanga okukomaga embugo, emikalabanda, ebitabo by'Abaganda, n'ebipya ebivumbuddwa eby'obukugu (technology) mu lulimi Oluganda.
Mu bye yalambudde ebivumbuddwa mwe muli ekyuma ekiyinza okukozesebwa okwerinda omulabe, kyebaatumye "Maguja". Ekyuuma kino kiwulira bbugumu ly'amuntu olwo nekiweereza eddoboozi eri nnyinikyo naasobola okwetegekera kyonna ekijja, anti "ekijja omanyi......." Abavubuka be bamu nga bakulemberwa Mwami Nsumba, buli kuuma kebakozesezza bakayiiyirizza erinnya mu lulimi Oluganda.
Katikkiro yayaniriziddwa Omukenkufu Livingstone Walusimbi eyamuyitidde mu byafaayo by'ekibiina emyaka etaano emabega, era n'ebyo bye kikoze. Omukenkufu Walusimbi yakkaatirizza nti omuntu bw'amanya obulungi olulimi lwe kiba kyangu okuvumbula eby'omugaso.
Omukolo guno era gwabaddeko ba Minisita b'e Mmengo, omuli Mustafa Mutyaba, Omutaka Kayita, n'abalala.