Agafa e Mmengo, 22 Mutunda, 2000

 

Abaami Ab'amasaza

Abaami ab'amasaza ekkumi n'omunaana, baasisinkanye Kamalabyonna wa Buganda Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere, okumuwa ebirowoozo byabwe ku nkola empya eya Minisitule y'Ebyettaka, n'Ebizimbe bya Buganda.

Enkola eno yayanjulwa gyebuvuddeko, Omumyuka Asooka owa Ssentebe w'Akakiiko Akafuzi era nga ye Minisita ow'Ebyettaka n'Ebizimbe bya Buganda, Owek. Godfrey Kaaya Kavuma, mu musomo gweyategeka okulungamya abaami ab'amasaza ku ngeri gye banaalondoolamu ettaka n'ebifo bya Buganda eby'ennono.

Ab'amasaza tebakkiriziganya bulungi n'ensonga ezimu ezaali mu nkola eyo, kwekusaba balabe Katikkiro bamuwe ebirowoozo byabwe nga bagamba nti bbo nga bwe bali mu bantu wansi, bayinza okuba n'amagezi aganaayanguya okukola ku nsonga ezo.

Nga bakulemberwa Ssebwana P.K. Sengendo ow'essaza Busiro, era nga ye wa LC III Wakiso, baasabye Katikkiro abafunire yo olunaku basobole okusisinkana Ssabasajja, bbo ng'Abamasaza ate n'olunaku olulala abamyuka b'abaami ab'amasaza n'ab'amagombolola balayizibwe. Mu nkola eyogerwako, mulimu ensonga zino wammanga, ezibobbya ab'amasaza emitwe:

(i) Buganda Land Board yakuteekawo ofiisi mu bitundu naddala ebyo omusinga "Ebyaffe" ebingi. Ofiisi zino zijja kuddukanyizibwa ba Assistant Land Officers nga mu buli kitundu mujja kubaamu omu ng'ayambibwako ba Land Assitant babiri; nga be bantu abasatu mu buli ofiisi ya Buganda Land Board mu kitundu. Offiisi zijja kubeera taano, nga bbiri kuzo zezisuubirwa okutandikirawo n'endala zitandike oluvannyuma lw'emyaka ebiri. Ofiisi zijja kubeera bweziti:

Ekitebe kya Ofiisi

Amasaza g'ekolamu

1. Mukono

Kyaggwe, Buvuma, Bugerere

2. Masaka

Buddu, Kooki, Mawogola, Kabula, Ssese.

3. Mpigi

Kyaddondo, Busiro, Mawokota, Gomba, Butambala.

4. Mityana

Ssingo, Busujju, Buweekula.

5. Bukalasa

Bulemeezi, Buluuli.

Mukono ne Mpigi ze ofiisi ebbiri ezinaasooka okuggulawo.

Ensonga eyo waggulu ab'amasaza bagyogeddeko nti ejja kusoobya enkola yonna. Baagambye nti kyandibadde kirungi ofiisi zonna neziggulawo lumu, tufune enkola efaanagana mu Buganda yonna. Baategeezezza Katikkiro nti kyandisaanye abantu abagenda okukola nga ba Land Assistant balondebwe kuva mu bitundu ofiisi eyo byekolamu so ssi kuva mu Kampala, kubanga abo bebanaaba bamanyi ebitundu ebyo obulungi.

(ii) Ex-Officio

Mu nkola eyo empya, kyalambikibwa nti wajja kubaawo akakiiko ka Buganda Land Board ku buli ssaza, nga omulimu gwako omukulu gwe gwokuwa Buganda Land Board amagezi ku "Byaffe" byonna ebiri mu Ssaza eryo. Ku Kakiiko ako, Omwami ow'Essaza eryo awamu n'omukozi wa Buganda Land Board avunaanyizibwa ku Ssaza eryo (Assistant Land Officer), bajja kubeera "Ex-officio Members". Kino ab'amasaza baakyemulugunyizzaamu; nebagamba nti bandibadde beenyigira butereevu mu kuddukanya emirimu gy'akakiiko ako, so ssi kubeera ba "Ex-officio Members".

(iii) Obutale bwa Buganda

Mu nkola empya, enzirukanya ya tenda eziba zitwaaliddwa ku butale bwa Kabaka n'engeri y'okusoloozaamu obusuulu mu butale obwo, bijja kulongoosebwa. Abaami ab'Amasaza baagambye nti Buganda Land Board teyinza kuddukanya bulungi butale obwo, kusinga bbo ababeera mu bitundu obutale gye buli. Baasabye engeri Tenda gyezigabwaamu erambikibwe, buli muntu agitegeere.

(iv) Ettaka lya Buganda

Abaami baategeezezza nti ettaka litwaalibwa, obutonde bwensi bwonoonebwa abantu, naddala abatema ebibira okwookya amanda, naye tebalina buyinza buziyiza bantu abo. Wadde bafuba okuwa alipoota eri minisitule y'Ebyettaka, tebafuna buyambi. Ab'amasaza baateesezza nti engabanya y'emirimu gy'Obwakabaka yandiyambye ku nsonga ng'ezo, kubanga ssinga bbo balina obuyinza bandibadde tebakkiriza bintu ng'ebyo kukolebwa ku ttaka lya Buganda. Banyonyodde Katikkiro nti Buganda Land Board yetuumyeeko emirimu mingi egireeta akasoobo akasibye ensimbi, entono eziri mu ttaka lya Kabaka, ezandibadde zivaayo.

Ow'Essaza Kyaggwe (Ssekiboobo) David Sekindi yategeezezza nti Kyaggwe mwe mufungamye ettaka ly'Obwakabaka erisinga obungi naye terimanyiddwa weriyita. Naasaba wafunibweeyo ba Surveyor beerure empenda z'ettaka eryo tumanye weriyita era kye kiba kikolebwa ne ku myaalo gya Buganda. Baategeezezza Katikkiro nti abantu bangi bandyaagadde okuwa obusuulu n'okwetwaalira liizi ku ttaka lya Kabaka naye engeri y'okukikola terambikiddwa eri Abamasaza.

Mukuddamu, Owek. Kaaya Kavuma, minisita akwatibwaako ensonga ezo, yagambye nti kirabika waliwo omutabuzi era naasaba ab'amasaza baleme kuteekawo bukwakkulizo kubanga enkola gyeyabanjulira yamala ebiseera ng'eteekateekebwa era yateesebwaako abantu ab'enjawulo abawerako. Katikkiro bonna yabeebazizza okwewaayo okukolerera Obuganda awatali kusasulwa n'abakuutira okutambulira awamu mu kukkaanya, kubanga abatuleetera ebizibu bali ludda lumu, naffe bwetuneeyawula tetujja kusobola kutuuka kukigendererwa, ekyokutebenkeza n'okukulakulanya Buganda.

Yagambye nti buvunaanyizibwa bw'abaami ab'Amasaza okunoonya n'okulondoola ebintu bya Buganda, n'asaba aba Buganda Land Board baleme kukitwaala bubi wabula balondoole ebintu ebyo ebiba bizuuliddwa.

Katikkiro yanyonyodde nti ab'amasaza ba ddembe okuleeta ebirowoozo byaabwe ku nsonga yonna eya Buganda. "Mmwe musinga okumanya ebitundu byammwe nsaba Buganda Land Board ebeesigameko nnyo. Okutuula awamu y'engeri yokka mwe tulina okuyita okuvvuunuka ebizibu byaffe, mu ngeri eyo byonna tujja kubiyinza", y'entanda Katikkiro gye yabasibiridde.

Mu lukiiko luno mwetabiddwaamu abaddukanya Buganda Land Board, ne Minisita wa Gavumenti ez'ebitundu, Owek. Kamala Kannamwangi.

Okuyingiza Abaami Ab'amasaza mu Mbuga Zaabwe.

Okuyingiza abaami ab'amasaza mu mbuga zaabwe kukyagenda mu maaso era nga kati ku baami ekkumi n'omunaana, kkumi n'omu bamaze okuyingizibwa. Okuyingiza abaami bano kukolebwa abalangira, abambejja, abataka ab'obusolya, Sipiika w'olukiiko lwa Buganda oba omumyuuka we, ba minisita ba Ssabasajja, bonna nga omukolo guno bagukola mu linya lya Ssabasajja ne Katikkiro waabwe. Mu bamaze okuyingizibwa mwe muli:

Erinnya

Essaza

Omwami

1. T. Malokweza Kivumbi

Kyadondo

Kaggo

2. Gideon Kisitu

Bulemeezi

Kangawo

3. Y. Ssenyonga Ssalongo

Buluuli

Kimbugwe

4. David Sekindi

Kyaggwe

Sekiboobo

5. Fred Walukejje Mulindwa

Buddu

Pokino

6. Omulangira Kabumbuli Kitayimbwa

Mawogola

Muteesa

7. Haji Sulaiman Lubega Kaddunabbi

Butambala

Katambala

8. Stanley Kijjambu

Ssingo

Mukwenda

9. Misuseera Lubwama

Bugerere

Mugerere

10. Peter Kiggundu

Kabula

Lumaama

11. Gregory Katende

Buvuma

Mbuubi

 

Kooti Etawulula Enkaayana z'Ebika By'Abaganda (Kooti Ya Katikkiro Ey'eddiiro).

Omusango gw'obukulu bw'ekika ky'Envubu gwaludde daaki negutyeemulwa kooti etawulula enkaayana z'ebika by'Abaganda, eyitibwa kooti ya Katikkiro ey'e ddiiro, nga ekulirwa Kisekwa G.A. Kalanzi era ng'etuula mu Bulange e Mmengo.

Omusango gwawaabwa Omutaka George W. Nsikoteyomba ng'avunaana Omutaka Emmanuel Musoke Makabugo (Kayita) okweyita omukulu w'Ekika ky'Envubu (Kayita) nga agenderera okulya obukulu obwo ensowole. Nga 29/4/97, omusango namba KD 11/97, gwawaabwa, negubuulirizibwako akakiiko ka Polycap Kakooza, ne gutandika okuwulirwa nga 9/7/97era ne gusalwa nga 6/9/2000.

Ensala yatuukiddwaako oluvanyuma lwa kooti okumatizibwa nti obujulizi okuva ku njuyi zombi buweddeyo. Bwetyo kooti neesalawo bweti:

"Ebbanga eryo lyonna kooti ly'emaze nga yeekeneennya ensonga/obujulizi bwa buli ludda (oluwaabi n'oluwawaabirwa), Kooti esazeewo nti omuwawaabirwa obuzaale bwe tebulina webukwataganira na lunyiriri lw'abo abalya obwa Kayita - Obukulu bw'Ekika ky'Envubu, era nga yabulya nsowole; era omusango gumusinze." Kooti ng'ekubirizibwa Kisekwa yalagidde:

(1) Omuwawaabirwa (Omutaka Kayita Musoke Makabugo), akomye okweyita Kayita n'okukola emirimu gy'obwa Kayita.

(2) Addize omukulu w'ekika omutuufu, Omutaka Nsikoteyomba George, ebintu byonna byabadde akozesa nga omukulu w'ekika ky'envubu.

Kooti y'emu yategeezezza nti ssinga omuwawaabirwa anaaba takkiriziganyizza na nsala eyo, waddembe okujulira ewa Ssabasajja.

Kooti ya Katikkiro ey'Eddiiro, etuulako ba Memba abasoba mu 15.

Minisitule Y'eby'obulamu

Minisitule ya Ssabasajja ey'eby'obulamu enaafulumya akatabo akagenda okukozesebwa mu masomero, mu bika, mu magombolola ne mu masaza, okuyigiriza ensonga ya Ssenga. "Abaana baffe bangi tebalina ba Ssenga ate nga ne ba Ssenga abaliwo tebalina kye bamanyi ku bya buwangwa; tusaanye okubayamba," bwatyo minisita w'eby'obulamu Owek. Robert Sebunnya, bwe yategeezezza.

Mu nteekateeka eno, minisitule ekoze emisomo mingi nga gyetabwaamu abakulu b'ebika, abakulembeze b'abakyala, abasomesa, ba matron mu masomero, ba warden, n'abasomesa abavunaanyizibwa ku kukwasisa abaana empisa mu masomero (senior teachers). Emisomo gino gigendererwa okufuna endowooza okuva ku bantu ab'enjawulo naye nga balina obumanyirivu ku baana, ku kiki ekisaanidde okukolebwa okuzzaawo empisa ez'obuntubulamu mu baana ba leero; nga essira balisimbye ku mugaso n'obuvunaanyizibwa bwa Ssenga mu Buganda. Yagambye nti minisitule ye egezaako okutunuulira n'okugaziya ensonga ya Ssenga nga bwemanyiddwa - okubuulirira abawala n'abalenzi ku nsonga z'amaka. Kizuuliddwa nti Ssenga alina ebintu bingi byayina okukola, kyokka byatatuukiriza mu kiseera kino.

Ssenga ateekwa okuba omukugu ku nsonga z'eby'obuwangwa n'ennono, obulamu bw'abaana, eby'obuyonjo, okwewala n'okugema endwadde, naddala ez'obukaba nga siliimu oba AIDS, n'ezo eziva mu bukyafu n'endiisa, enkuza y'abaana mu mpisa ez'obuntu bulamu, okusomesa abaana ku by'okwegatta, eby'okuzaala, okweteekerateekera obufumbo, n'okwewala empisa embi naddala ezo ezikyase ennyo ensangi zino nga: okutunuza abaana abakyali abato mu mbuga ya sitani, okukaka abakazi emikwano, n'ebiringa ebyo.

Sheik Islam Ali Kulumba

Spiika w'Olukiiko lwa Buganda, Sheik Islam Ali Kulumba yajaguzza olw'okuweza emyaka 86 egy'obukulu n'okumala emyaka 53 ng'aweereza Obusilaamu mu biti eby'enjawulo. Omukolo gwabadde Kibuli ku muzigiti ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere eyabadde omugenyi omukulu, yatenderezza emirimu emirungi Sheik gy'akoledde eggwanga lye naakubiriza Obuganda okumuyigirako n'okweyambisa ebyo byawandiise, okuzimba Buganda. Katikkiro yagambye nti Sheik Kulumba y'omu ku bakungu ba Ssabasajja abamanyiddwa nga empagi luwaga ez'Obwakabaka bwa Buganda.

Omukolo guno gwetabiddwamu abakulembeze b'amadiini ag'enjawulo, baminisita n'abakungu aba Gavumenti eyawakati ne ey'e Mmengo, abalangira n'abambejja n'abantu abalala bangi.

Buganda Golf Association

"Omukwano gw'emusingi gwokka omugumu buli alina ekirowoozo okukulaakulanya Buganda ne Uganda, mwalina okuyita."

Bino byayogeddwa Kamalabyonna wa Buganda Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere, bweyabadde ayozaayoza tiimu ya Buganda Golf Association (BGA) olw'okuwangula empaka za Inter-Regional Tournament, ezaakaggwa. Tiimu eno empanguzi, yakiikiriddwa abamu ku ba Memba b'akakiiko akafuzi bwebaalese ekikopo eky'obuwanguzi wano mu Bulange, okukiraga Owek. Katikkiro wa Buganda. Abaakiise embuga be bano: Omw. Lutwama Robinson - Captain wa Team, Dr. Rose Musoke, Ambassador Swaibu Musoke - Omukwanaganya wa Team n'Omw. Patrick Mugumbule eyabakulembeddemu. Minisita wa Ssabasajja owa State for Sports, Owek. Semugabi Bakyayita.

Empaka zino ezibeerawo buli mwaka, zeetabwamu ba kafulu mu kuzannya golf okuva mu bitundu bya Uganda ebina; East, West, North ne Buganda Region. Katikkiro yategeezezza akakiiko ka BGA nti okusobola okukulaakulanya Buganda, ejjudde amawanga agatali gamu, tuyina kuyita mu mukwano. Yagambye nti emizannyo gye gisinga okufunyisa emikwano. N'olwekyo tusaanye tugijjumbire nnyo era tugikulaakulanye. Yabasiimye olw'obuteerabira Buganda oluvannyuma lw'obuwanguzi bwabwe. Naagamba nti bangi bwebava ewaabwe nebafuna obuwanguzi mu ngeri ezitali zimu, tebaddayo waabwe. Olwo ebibala by'obuwanguzi bwaabwe nebiba nga bigasa balala.

Katikkiro era yabakakasizza nti okuyita mu minisitule y'ebyenjigiriza n'emizannyo, Obwakabaka bwa Buganda bujja kukola kyonna ekisoboka okulaba ng'emizannyo gikulaakulana. Yanyonyodde nti ensonga ey'emizannyo mu Buganda, etandikira wansi mu masomero, nga kati waliwo ebikopo ebiwakanirwa buli mwaka: Nabagereka Cup, Kabaka's Cup ne Buganda Cup. Empaka zino ziyamba abaana okwongera okumanya n'okwagala eggwanga ne Kabaka waabwe. Era empaka zino zisobozesa abalina ebitone okubizuula. Ne mu Bika by'Abaganda waliyo empaka z'emizannyo egitali gimu eziyambye abantu okwongera okwegatta n'okwagalana mu bika byabwe.

Omw. Patrick Luwaga Mugumbule, yagambye nti omuzannyo gwa golf gubayamba okuba obumu wadde nga bava mu bitundu bya njawulo, nebasobola okukwana emikwano. Abazannyi baalaze Owek. Katikkiro ekitabo omuli amateeka agafuga omuzannyo gwa golf era nebamutonera T-shirt n'enkufiira ebiriko akabonero k'Obwakabaka bwa Buganda.

Ekibiina Ky'Abaganda Tuli Mu Kulya

Ab'ekibiina ky'Abaganda Tuli Mu Kulya Katonga Ajjula, nga bakulemberwamu ssentebe waabwe, Rev. Can. Polycarp Kakooza, baagenze mu Lubiri e Banda okulanya ewa Ssabasajja wiiki ewedde. Mu bingi bye baategeezezza Ssabasajja, ab'ekibiina kino baakaatirizza ensonga ya Federo ne bwe buliba ddi erigonjooka - "Ssesolye bwatafa, atuuka ku lyengedde". Baajulizza Alipoota ya Odoki (Ebyava mu kunoonyereza nfuga ki bannayuganda gye bandyagadde). Mu suula 9 mu kitundu eky'e 88 eraga nti, mu Buganda abantu 97 ku buli 100, ate 65 ku buli 100 mu Uganda yonna, baasaba Federo.

Rev. Can. Polycarp Kakooza yeebazizza Gavumenti ya Ssabasajja, n'okusingira ddala Kamalabyonna J.G.Mulwanyammuli Ssemwogerere, olw'obukulembeze bwe obulungi ennyo mu kiseera kino ekizibu ng'Obwakabaka tebulina buyinza. Yeebazizza Katonda eyamulisiza Ssabasajja naamulengeza musajjawe oyo, Mulwanyammuli gwe yakwasa Ddamula, omukwata mpola era anywerera ku ky'amanyi nti kye kituufu.

Nabakyala Nnaabagereka

Nabakyala Nnaabagereka Sylivia Nagginda asiimye abakyala b'ekibiina ky'Abataka Nyendo/Ssenyange olw'okulwanyisa obwavu kubanga bye bakola biyamba bannakibiina n'abantu abalala okuyiga okwekolerera. Yabeebazizza era olw'okugunjula abaana. Nnaabagereka yabadde mu Bulange nga asisinkana abakyala b'ekibiina ekyo ku lwokusatu oluyise.

Abakyala abaakulembeddwa omuwandiisi w'ekibiina, Aunt Rose Musaazi, baategeezezza ebimu ebikoleddwa ekibiina kyabwe, nga:-

- Okusomesa abavubuka empisa ez'obuwangwa, naddala abawala.

- Okuteekawo Ekibiina ky'abavubuka abalondalonda obuveera ekiyitibwa SEJJEMA nga bagenderera okukuuma obutonde bw'ensi.

- Okulima olusuku n'emmere ey'enjawulo ebya Nabagereka.

Mu bye basuubira okukola, mwemuli:

- Okugulira abaana abato ebitabo ebisomwa, naddala ebiraga eby'obuwangwa bwaffe n'okubategekeranga emisomo egy'enjawulo.

- Okugunjawo ebibiina by'abavubuka n'abantu abalala abaagala nga bigenderera okulongoosa eby'enfuna.

- Okwenyigira ennyo mu mirimu gya Ssabasajja.

- Okwongera okutegeeza abantu ebigendererwa by'ekibiina mu ngeri ey'okukigaziya.

Abakyala baategeezezza Nabagereka nti wadde nga ekibiina kyatandika n'abantu 18, kati kirimu abantu 58 nga kubo, 30 bakulu, 20 bavubuka, 8 bato.

Banyonyodde nti ng'Obwakabaka bumaze okutuddizibwa, ekibiina ky'abataka kyatondebwawo, nga kigenderera:

1. Okwegattira awamu naddala mu kukola emirimu gya Ssabasajja

2. Okunoonyereza n'okuteteenkanya engeri y'okunyweza Obuganda.

3. Okubeera eky'okulabirako ku bikwata ku bwakabaka n'eby'obuwangwa n'ennono zaffe, eri abaana, abavubuka n'abantu abalala.

Abakyala b'Ekibiina Bataka Nyendo Ssenyange, baaweze okukolerera Obwakabaka bwa Buganda, obulamu bwabwe bwonna.

Eby'enjigiriza

Ensawo ya Kabaka ey'eby'Enjigiriza "Kabaka's Education Fund" efunye ebyuma bikalimagezi (Computer) 60, ezigenda okugabibwa mu matendekero ag'enjawulo mu Buganda olw'okutumbula eby'enjigiriza. Ebyuma bino byaweereddwayo Ekibiina ekirwanirira enkulaakulana ku lukalu lwa Africa ekya Austria Development Organisation for Africa (ADOA) nga kiri wamu n'ettabi ly'ensawo ya Kabaka ey'Ebyenjigiriza ery'omu Bungereza.

Commissioner w'Eby'enjigiriza mu Gavumenti y'e Mmengo, Omw. John Bugembe, yagambye nti mu Bungereza, waavuddeyo computer 30, ne mu ADOA 30. Computer zino zigenda kugabibwa mu matendekero agagaba sikaala n'okuyamba abayizi mu ngeri ezitali zimu. "Kino kigenda kukola ng'emu ku ngeri y'okubeebaza olw'obuyambi bwe bawa abayizi abo" - bwatyo bwe yategeezezza.

Ekitongole Ky'eby'obulimi

Minisita wa State ow'eby'obulimi mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Lutaaya Mukomazi agambye nti ekinaasobozesa eby'ennyanja okuddamu okwala mu nnyanja Nnalubaale kwe kugisalamu ebitundu. Kino nga kitegeeza nti wabeewo ebitundu ebivubibwaamu era n'ebitundu ebyenyanja mwebizaalira era nga ebyo bye bitundu ebitakirizibwa kuvubibwaamu. Bino Owekitiibwa yabyogeredde Ntebe bweyakyalidde Commissioner w'Ebyenyanja (Central Government) Omw. Dick Nyeko, gye buvuddeko.

Owekitiibwa Mukomazi yategeezezza nti ebyenyanja okukeendeera mu Nnalubaale, kivudde ku bavubi abakozesa obutiimba obukyamu, n'abavubisa ebyenyanja obutwa. Yagambye nti ensonga endala, abavubi abasinga batambuze nga n'abamu ssi bannayuganda, ekireeta obuzibu mu kubakwasisa amateeka. N'olwekyo kisaanidde emyaalo emitongole egimanyiddwa gye giba giweebwa olukusa olw'okuvuba mu Nyanja Nnalubaale. Era n'obukuumi ku nyanja Nnalubaale bwongerwemu amaanyi.

Mu nsonga endala ezaateesebbwako mwe muli ensonga ey'okulunda eby'enyanja n'obuyambi obuyinza okuweebwa abalunzi baabyo, gamba nga emisomo n'ensigo ez'embala.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |