Agafa e Mmengo, 6 Mukulukusa, 2000.

Ssabasajja Akubirizza Obuganda Okujjumbira Okusoma

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, akubirizza Obuganda ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu, okujjumbira ennyo okusoma kubanga mu kusoma, mwe tuyita okufuna amagezi ag'okukola emirimu egikulaakulanya eggwanga. Ssabasajja era yagambye nti kisaanidde abo bonna abatamanyi kusoma nakuwandiika beekubirize okubiyiga.

Okwogera ebyo, Ssabasajja yabadde atongoza weema abaana mwe banaasomeranga ebitabo (Children's Reading Tent), n'okulambula omwoleso gw'ebitabo (8th International Bookfare) ogwategekeddwa National Book Trust of Uganda (NABOTU). Yakubirizza era abawandiisi n'abakubi b'ebitabo okwongera amaanyi mu mulimu gwabwe, kubanga eggwanga bwerinaaba n'ebitabo eby'enjawulo ate nga bingi lwerijja okugenda ennyo mu maaso.

Mu mwoleso guno, abaana baavuganyizza mu kusoma engero, okuwandiika ebitontome, okukuba n'okusiiga ebifaananyi, okuyimba, n'amazina. Abaana abaanyweddemu bannaabwe akendo, Ssabasajja yabagabidde ebirabo.

Ye Ssentebe wa NABOTU, Omw. James Tumusiime, yeebazizza nnyo Ssabasajja olw'okuba omusaale mu kutumbula eby'enjigiriza mu ggwanga. Omw. James Tumusiime yasabye Ssabasajja asiime okuwandiikayo ekitabo ekinaalaga abantu engeri Obwakabaka bwe gyebwazzibwawo, (The Restoration of His Kingdom) nga kyongereza kw'ekyo Ssekabaka Muteesa II kyeyawandiika ekiraga okusanyizibwawo kw'Obwakabaka bwe "The Discretion of My Kingdom".

Katikkiro Yakyaddeko e Bungereza n'e Sweden

(i) Ensisinkano ne Ssabalabirizi w'e Canterbury:

Kamalabyonna wa Buganda Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere mu lugendo lwabaddeko mu Bungereza ne Sweden, yatwaalidde Ssabalabirizi we Canterbury obubaka okuva ewa Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II.

Ssabalabirizi His Grace The Most Revd. Dr.George Carey, yasiimye nnyo obubaka okuva ewa Ssabasajja. Yatenderezza lwe yakyaalira Ssabasajja, n'enyaniriza amatendo yye n'abaamuwerekerako gye baayaniribwaamu, era naatendereza omukwaano n'enkolagana ennungi ebaddewo okumala ebbanga eddene wakati w'Ekkanisa ya Bungereza n'Obwakabaka bwa Buganda. Bwe yabadde awayaamu n'omugenyiwe, eyamusisinkanye mu Lubiri lwe e Lamberth, Ssabalabirizi yatenderezza nnyo abakulembeze ba Uganda ne Ssabasajja Kabaka olw'omulimu omunene gwe bakoze okumanyisa abantu ebizibu ebiri mu bulwadde bwa Siliimu (AIDS). Engeri y'okubulwanyisa n'okubwetangira. Yagambye nti wadde nga balafuubana batyo, abantu tebayambiddwa kubanga ebbeeyi y'eddagala eriyinza okuweweezaako eri waggulu nnyo abantu ab'amawanga agakyakula gyebatasobola.

Wano Katikkiro weyasabidde Ssabalabirizi akozese obukulu bwe okulaba nga amawanga agavuddeyo okutangaaza ku nsonga y'obulwadde buno gayambibwako .

Mukuddamu, Ssabalabirizi yasuubizza okusaba omuwandiisi omukulu ow'Amawanga Amagatte Dr.Kofi Anaan, asale amagezi agasobola okukendeeza ku miwendo gy'eddagala ely'obulwadde buno.

Ssabalabirizi yatonedde Katikkiro ekitabo, ekisookedde ddala okufulumizibwa, ekikwaata ku ba Ssabalabirizi b'e Canterbury bonna nga bwebazze baddiring'ana. Yaggumizza obukulu bw'okusiga mu bavubuka omwoyo gw'okwagala n'okutya Katonda , empisa ez'obuntubulamu, kibasobozese okuyita mu bikemo by'ensi eno.

Katikkiro yawerekeddwako Omulangira Rev. Dan Kajumba, omukungu wa Ssabasajja akulira Protocol, Media ne Public Relations mu Ireland ne Bungereza.

(ii) Okusisinkana Abaganda Abali e Sweden

Kamalabyonna wa Buganda, Owek. J.G. Mulwanyammuli Ssemwogerere asabye Abaganda abali ebweru okwagalana, okkolaganira awamu n'okwegatta basobole okukulaakulanya n'okuweesa Buganda ekitiibwa.

Katikkiro yabadde asisinkana abakulembeze b'Abaganda abali e Sweden, luno jjuuzi lwakyaddeyo. Ensisinkano yabadde mu Ofiisi y'Ebika by'Abaganda mu Stockholm, Sweden, nga 1/10/2000. Nga bakulemberwamu Omubaka wa Ssabasajja Dr.Abdul Katumba, abakungu omuli: Ssentebe w'eEbika bya Baganda Mw.Mulonzi Ssentongo, Omukulembeze w'akakiiko k'e Nnono Haji Ssemakula, Omukungu wa Ssabasajja avunaanyizibwa ku nsonga za Bakyala Muky. Flavia Nsubuga, Omumbejja Mpologoma Nnabanakulya, Executive Director wa Kabaka Foundation Mw. Maximian Muwuluzi, n'abalala baayanjulidde Katikkiro enteekateeka z'emirimu gyabwe.

Nga amaze okubatuusaako obubaka bwa Ssabasajja, yabanjulidde enkola, eri mu kuteekebwateekebwa, oy'okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda ey'Emyaka 5 (The 5 Year Strategic Development Plan for Buganda Kingdom) era naakubaganya nabo ebirowoozo ku ngeri enkola eno gyeneetuukirizibwamu amangu.

Abaganda ab'e Sweden baatonedde Katikkiro ekikopo nga bamwebaza emirimu gy'akoledde Obuganda n'okubukulaakulanya. Kyamukwasiddwa Omw. Kitonsa kulwa banne.

Kulw'omukaaga oluyise, nga 30/9/2000 Abakungu/Abakulembeze bonna abaalondebwa Ssabasajja baayanjuddwa bwe bati:

  1. Dr. Abdu Katumba ye Mubaka wa Ssabasajja mu Sweden ne Scandinavia.
  2. Omukyala Flavia Nsubuga - Omukungu wa Ssabasajja avunaanyizibwa ku nsonga z'Abakyala.
  3. Omw. Kenneth Magoye - Omukungu wa Ssabasajja akola ku "Protocol and Pulic Relations".
  4. Omw. Hamza Ssozi Ntambi - Omukungu wa Ssabasajja avunaanyizibwa okukunga abantu n'okwekulaakulanya.
  5. Omw. Maximian Muwuluzi - Executive Director wa Kabaka Foundation.

Katikkiro teyasobodde kwetaba mu mukolo guno olw'emirimu emirala gyeyabaddeko. Omukolo guno gwabadde Ragsved mu Sweden. Omumbejja Mpologoma yeyayanjudde abakungu abo eri abantu. Oluvanyuma, Abaganda bonna abaabadde ku mukolo, Omumbejja yabagabudde ekijjulo makeke ekyakeeseza obudde. Abakungu bano bonna beeyamye okukolera awamu era ne basiima nnyo Ssabasajja olw'obwesige bwaabalinamu.

(iii) Okusisinkana Abakungu ba Ssabasajja mu Bungereza ne Ireland

Katikkiro wa Buganda era yasisinkanye Abakungu ba Ssabasajja abakulira ebitongole ebitali bimu mu Bungereza ne Ireland, nga bakulemberwa Omubaka wa Ssabasajja Musisi Nsambu. Nga amaze okubatuusaako obubaka bwa Ssabasajja n'ebifa e Buganda, Kamalabyonna yabanjulidde Enkola eri mu kuteekebwateekebwa ey'okukulaakulanya Obwakabaka eneegobererwa mu myaka etaano egigya (The 5 Year Strategic Development Plan for Buganda Kingdom).

Omukungu Nsambu, ku lwa banne yategeezezza Katikkiro enteekateeka eyabwe, n'engeri gye bakuttemu emirimu egyabaweebwa.Yagambye nti abantu b'omu Bungereza bajjumbidde nnyo ensonga y'okugula Certificate ez'okukulaakulanya Buganda. Beebazizza Ssabasajja olw'okusiima okubateekamu obwesige.

Abantu Beewaddeyo Okuyamba Eggwanika lya Buganda

Nga bwe kiri nti Obuganda tebukkirizibwa kusolooza musolo, abantu ba Buganda baasaba Katikkiro wateekebweewo omusolo ogwa kyeyagalire abantu mwebasobola okuyita okuduukirira Gavumenti ya Ssabasajja. Mu kaweefube Buganda gweriko ow'okwekulaakulanya, amakubo n'enteekateeka nyingi ezikoleddwa okuyingiza ejjamba mu ggwanika lya Buganda.

Gyebuvuddeko, Omuwanika wa Buganda, Owek. J.B.Walusimbi yayanjula enkola ey'okutunda Certificates, nga y'emu ku makubo agajja okuyimirizaawo emirimu gy'Obwakabaka. Sente ezinaavaamu zigenda kuteekebwa mu "fixed investments" endala zikolebweemu ebintu ebinene ebisobola okuleeta ssente. Amagoba aganaava mu "fixed investments" ne mu birala ebisuubirwa okukolebwa nga bireeta sente, gajja kuyamba okukola emirimu gya Buganda nga egimu ku gyo gye gino:

Mikwano gya Buganda era n'abo abaagaliza Buganda okugenda mu maaso, basobola okuwagira Obwakabaka, nga bagula Certificate mu ngeri eya kyeyagalire ng'obusobozi bwaabwe bwe buli. Owek. Walusimbi yagambye nti e Bungereza yaweerezaayo Certificates. Kaakati akola enteekateeka okuweereza Certificates endala mu America. Certificates zino zikubibwa mu miwendo egy'enjawulo okuva ku $20, $50, $100 ne $200. Oyo yenna ayagaliza Buganda okukulaakulana waddembe okugulako nga bwaaba ayagadde. Yategezezza nti, Ababaka ba Ssabasajja mu Bungereza ne America beebajja okuvunaanyizibwa okuzituusa ku mikwaano gya Buganda abali emitala w'amayanja.

Mu Buganda, Certificates zino zitundibwa wonna okuviira ddala ku Miruka okutuuka ku Masaza, ne ku kitebe ekikulu, mu Bulange e Mmengo. Waliwo ezigula Shs 3000, 5000, 10,000, 20,000, 30,000, 50,000, 100,000, 500,000, 1m, 2.5m, 5m, 7.5m, n' okutuuka ku 10m. Okusooka zaali zikoma ku 1m abantu abawerako ne batuukirira Katikkiro nga bbo baagala kugula Certificate za bukadde 2.5 n'okweyongerayo.

Abazzukulu ba Buganda Bawakanyizza ekya Mmengo Disitulikiti

Abazzukulu ba Buganda baavumiridde eky'okufuula Mmengo disitulikiti eyeetongodde, kubanga tewali kalungi Buganda k'ejja kufunamu. Baagambye nti ekigendererwa mu kyo kubuzaabuza Buganda ereme kutunuulira bunene bwaayo, edde mu kutunuulira disitulikiti; yerabire Munisipaali gyeyasooka okusaba. "Ensalo za Mengo disitulikiti bweziba nga zizingiramu amasaza ga Buganda gonna, disitulikiti bagituwe n'obuyinza bwaayo obujjuvu. Oba ssi ekyo, mu kifo ky'okutuwa disitulikiti bakkirize buli Muganda awe Mmengo omusolo ogw'omutwe era awe omusolo ne ku birimibwa byonna", abazzukulu bwe baateesezza.

Nga bakubirizibwa ssentebe waabwe, Omw. Jjunju Kaamulali, baagambye nti ensonga ya disitulikiti y'e Mmengo tetegeerekeka bulungi era kyangu omuntu owa bulijjo okulowooza nti munisipaali, disitulikiti oba federo byonna bitegeeza kimu - Federo.

Ensonga eno ereeteddwa nga akalulu k'obwa President kasembedde, tuligenda okumanya nti kyebaatuwa tetulina wetukifuniramu nga bbo bamaze okufuna kye beetaaga. Baayongedde ne bagamba nti bwe tukkiriza Mmengo efuulibwe disitulikiti, tuba tufiirwa ebisiinga obungi. Tujja kuba nga emmese efiirwa obulamu bwaayo ng'eruubirira akafi k'enyama.

Nga bakyukidde ababaka ba Parliament abava mu Buganda, abali kati mu kaweefube ow'okufuula Mmengo disitulikiti mu kifo kya munisipaali, Abazzukulu baagambye nti ekintu kye beesibyeeko kizibu. nyo era nga tekinnateesebwaako, Ababaka bandisoose kufuna ndowooza ya Buganda. "Ba MPs tebaatumibwa Buganda era beenoonyeza byaabwe. Bazze bakyuusakyuusa ebyeetaago by'abantu ku nsonga ezizze zibaawo nga eya Federo n'ettaka. Abantu baagala kilala nabo bakola kilala," Abazzukulu bwe batyo bwe baagambye.

Abazzukulu baagambye nti emitawaana gyonna gyatandikira ku Constitution ezizze zikolebwa. Abaganda tebafaayo kumanya ngeri gyezibakwaatako wadde nga beebazikola. Abaganda ne bannayuganda baabula dda nti kati webatuuse tebakyaasobola kulengera gyebaava, ekintu ekyandibayambye okwegendereza obutabeera ba ssengavuddemungazzeemu. Baasazeewo okutuusa ensonga ze bamanyi eri abantu ba Buganda bategeere ekigenda mu maaso balyooke basalewo ekisinga okugasa Buganda, ku nsonga ya Mmengo district. Mu makubo gebagenda okuyitamu mwe muli:

Abazzukulu baalonze akakiiko akanaakola ku nsonga ezo, nga k'abantu bana: 1. Omw. Jjunju Kaamulira (Ssentebe) 2. Omw. Buyego A. 3. Omw. Ddungu Musisi 4. Omw. Kiwanuka Christopher

Ensonga endala gye baayogeddeko, ye y'okugema abaana okugenda mu maaso mu kaseera kano. Baagambye nti eddagala erikozesebwa terikakasiddwa oba nga teriituuse bulabe ku bagemeddwa nga bwe kyaali emabegako. "Singa abagemebwa batuukibwaako obulabe bwonna, ani ayimirirawo okuvunaanyizibwa? Oba nga ddala eddagala teririna bulabe bwonna, twagala wabeewo endagaano ekolebwa nga singa eddagala erigema likola obulabe bwonna, waliwo insurance era nga waliwo n'ekitongole ekyesowoddeyo okuvunaanyizibwa".

Abazzukulu baagambye nti oba ddala tewali kibi kigendererwa lwaki abantu mu bitundu nga e Wakiso babakwasa kifuba nebatuuka n'okubasiba mu makomera? Yye lwaki bebaba bayise okwetaba mu misomo egibayigiriza omugaso gw'okugemesa abaana babagulirira nga babawa emmere ne sente ez'entambula, ng'ate bebagenda okuganyulwa? Bulijjo omuzadde w'omuntu y'asinga okwagaliza omwana we ekisinga obulungi, baleke abazadde basalewo bokka sso ssi kubakwaasa kifuba. Abazzukulu bwe batyo bwe baagambye.

Ku nsonga ey'okugema abaana, Abazzukulu baagambye era nti Minisita w'Eby'Obulamu mu gavumenti ya Ssabasajja, Owek.Robert Ssebunnya, yandibadde asooka kutuuza abo abalina obwerarikirivu ku ddagala erikozesebwa, naamanya ensonga zaabwe mu kifo ky'okukolagana ne Gavumenti eya wakati, okubasiba.

Abakiikirira Abavubuka Bagenda Kulondebwa

Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z'Abavubuka mu gavumenti ya Ssabasajja, eri mu kaweefube w'okulonda abanaakiikirira abavubuka. Mu buli ssaza lya Buganda, wajja kulondebwayo abakiise babiri; omuwala n'omulenzi. Bano bajja kukolagana butereevu n'ekitongole kino okutema empenda ez'okukulaakulanya abavubuka ba Buganda.

Abakiise abanaalondebwa ku masaza beebagenda okutegeka okulonda kw'Akakiiko Akafuzi ak'Abavubuka (Youth Executive Committee) ku magombolola nga kaakubeerako; Ssentebe, Omuwandiisi, Omuwanika, ow'Eby'Obuwangwa n'Ennono, n'Owenkulaakulana. Ne ku Miruka wajja kubeerayo abakiise kisobozese empuliziganya ennyangu.

Minisita w'Ensonga z'Abavubuka, Owek.Charles Peter Mayiga, eyasangiddwa mu wofiisi ye mu Bulange e Mmengo, yagambye nti minisutule gy'atwala omulimu gwayo omukulu kukunga bavubuka okwegatta basobole okwekulaakulanya. Yagambye nti Enkolagana y'Abavubuka (Youth Network) ejja kuyamba okwongera amaanyi mu kukululaakulanya embeera zaabwe eza bulijjo, okwetaba mu mirimu egiyingiza ssente, emirimu gy'okweyamba, embeera y'obulamu, okuzzaawo empisa, n'okunoonya emirimu.

Owek.Mayiga yategeezezza nti okusobola okutuukiriza ebyo byonna, wateekwa okubaawo olutindo lw'empuliziganya wakati w'ekitongole n'Abavubuka mu byaalo. Minisitule y'emu eteekateeka olukung'ana (Buganda Youth Convention) nga lujja kwetabwamu abavubuka bonna aba Buganda. Olukungaana lugendereddwa okufuna endowooza y'abavubuka abali mu biti eby'enjawulo. "Abavubuka lwe lujegere wakati w'omulembe oguliwo n'ogujja. Buli muvubuka, mu kiti kye, alina ekkubo ly'alowooza eriyinza okuyitwaamu okukulaakulanya Buganda. Singa tufuna endowooza zaabwe netuzigatta, tujja kufuna enkola gyetunaagoberera ffenna Abavubuka okukuza Buganda". Bwatyo Owek. Mayiga bwe yategeezezza.

Olukungaana luno olusuubirwa okubeerawo mu bbanga eritali lya wala, lujja kwetabwamu abavubuka: abafumbo, abakozesebwa, baneekolela gyange, abali mu masomero, bakakensa mu biti eby'enjawulo, n'abakugu abagenda okukubaganya ebirowoozo ku ngeri omuvubuka gyayinza okukulaakulanya eggwanga lye.

Abalimisa mu Buganda Baabadde ku Musomo

Minisita wa State ow'eby'Obulimi, Owek. Lutaaya Mukomazi asabye gavumenti eya wakati ekendeeze ku misolo egiwoozebwa ku bintu ebikozesebwa mu kulima kisobozese buli mulimi okubyetuusaako. Yagambye nti ebikozesebwa nga; tractor, ensigo ez'embala, eddagala ly'ebirime, n'ebigimusa bigula buwanana era abalimi bangi tebayinza kubigula, ekiviiriddeko omutindo gw'ebirime okusereba. "Yuganda nsi nnimi, okugikulaakulanya, gavumenti esaanye yeesigamye entegeka yaayo ku bulimi ng'essira erissa ku makolero ageesigamye ku by'obulimi nga n'ebikozesebwa biva wano."

Minisita okwogera bino yabadde aggulawo omusomo gw'Abalimisa okuva mu masaza ga Buganda, ogwabadde mu Bulange, e Mmengo ssabiiti ewedde. Omusomo guno gwategekeddwa ekitongole ky'eby'Obulimi mu gavumenti ya Ssabasajja ng'ekigendererwa kwe kumanya ebyandikoleddwa okuzzaawo ekitooke kyaffe eky'edda, n'enkyukakyuka empya abakugu gye bazudde evuddeko ekitooke kyaffe okuggwaawo n'engeri gye tunaakizzaawo. Owek. Mukomazi yategeezezza nti, "essira liteekeddwa ku kitooke kubanga y'emmere ya Buganda enkulu. N'olwekyo twagala tukifunemu ensigo tusobole okuzzaawo ebitooke byaffe".

Abakugu okuva mu National Argriculture Research Organisation (NARO) ne International Institute of Tropical Agriculture beebaabaddewo okusomesa abalimisa. Abalimisa baasabye Gavumenti eyawakati esale ku miwendo gy'ebintu ebikozesebwa mu kulima, etunule ne mu nsonga ey'okusobozesa abalimisa okutuuka ku balimi, mu kiseera webabeetaagira. Baasabye emisomo gy'enkula eno gikke wansi mu bantu b'omubyaalo. Era baasabye wategekebwewo n'emisomo emirala ng'egya muwogo, lumonde n'emmere endala ey'omuttaka.

Mu musomo gwe gumu, abalimisa baalagiddwa ekitooke ekiyitibwa "Fhia 17" ne "Fhia 23" ekyazuulibwa aba National Banana Research Programme e Kawanda. Ekitooke kino, tekirumbibwa biwuka wadde endwadde. Kigumira n'embeera y'obudde embi. Emmere yaakyo ssi ng'onvu ng'amatooke ga bulijjo, wabula eyamba nnyo mu biseera eby'enjala.

Ennyanja ya Kabaka Eneerongosebwa

Abakugu mu bye nnyanja bali mu kunoonyereza okumanya ekiri mu Nnyanja ya Kabaka, n'engeri gy'eneerongoosebwamu etuuke ku mutindo ogw'okulundirwamu ebyennyanja eby'embala.

Abakugu bano abamaze esabiiti ennamba ku mulimu guno, baavudde mu Fisheries Research Institute (FIRI) e Jjinja. Okunoonyereza ku Nnyanja ya Kabaka kwasalibwaawo Ekitongole ky'Ebyennyanja mu Minisitule ya Ssabasajja ey'Eby'Obulimi, Obulunzi n'Ebyennyanja nga kikolaganira wamu ne Gavument eya wakati. Ekigendererwa kwe kutuusa ennyanja eyo ku mutindo nga Ssabasajja ajjamu eby'ennyanja byalyaako n'ebireeta ejjamba.

Minisita wa Kabaka, ow'Eby'Obulimi, Obulunzi n'Ebyennyanja, Owek. Lutaaya Mukomazi, yagambye nti ebyennyanja ebibuze mu Buganda nga, enningu, engege, endiibwabaganzi, ssemutundu, enzeere, enjunguli, ebisinja n'ebirala bye bigenda okulundirwa mu nnyanja eyo. Owek. Lutaaya yagambye nti abakugu bakizudde nti: empuuta yesiinga obungi mu nnyanja eno; obugege obulimu buva mu Nnyanja Wamala ate nga butono obutayinza kugimukira mu mbeera ya nnyanja eno nga bweeri; amazzi amakyafu gayiika butereevu mu nnyanja; ate waliwo ebikyaafu bingi ng'obuveera n'ebisasiro ebisuulibwamu.

N'olwekyo okusitula omutindo gw'ennyanja eno, okusookera ddala, weetagisa okusimba omuddo okwetoloola ennyanja gukole ng'akasengejja, n'olukomera olutangira abantu okutuuka ku nnyanja. Olwo emitendera emirala nagyo gitandike. Abakugu abali kukunoonyereza kuno, bawerera ddala 17 nga bakulemberwa Omw. J. Kamanyi .

Etterekero lya Bulungi Bwansi Linaweza Omwaka

Olw'okujjukira nga bwe guweze omwaka omulamba bukya Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, atongoza tterekero lya Bulungi Bwansi, wategekeddwaawo omukolo ku lunaku etterekero lino lwe lyatongozebwa, mu ssaza ly'e Bulemeezi nga 8/10.

Nnazzikuno ng'Obuganda bwenyigira mu mirimu gya Bulungi Bwansi; olwo ensi ya boobwe neetemagana. Kaakati Obwakabaka bwaddawo, kye kiseera tuzze Buganda ku mutindo. Obuganda bwonna bukungiddwa okuwaayo, buli omu nga bwaasobola, ebikozesebwa mu tterekero lino.

Owek. Ssewava Sserubiri, Minisita wa State avunaanyizibwa ku Bulungi Bwansi, agambye nti abantu okuva mu bitundu bya Buganda eby'enjawulo bajjumbidde okuleeta ebikozesebwa, naddala abali ku njegoyego z'ekibuga Kampala; sso nga ate n'abali mu byaalo ebyaabwe babikungaanyirizza wa Mukubiriza wa Bulungi Bwansi mu kitundu kyaabwe. Yeebazizza nnyo abo bonna abawaddeyo kye basobola nga mwe muli n'abatali Baganda naasaba omutima n'omukwano gwe balina eri Buganda guleme kuddirira.

Ssabasajja y'asuubirwa okukulira emikolo gino. Abagenyi abalala abasoba mu 7000 bayitiddwa, era n'Obuganda bwonna bukoowoddwa okubaawo ku lunaku olwo, mu maaso g'Olubiri lw'e Mmengo.

Bwe yabadde asisinkana abakubiriza ba Bulungi Bwansi mu Buganda, Owek. Sserubiri yategeezeddwa nti abantu b'e Buluuli bali bubi mu by'emmere, ensigo ez'embala awamu n'amazzi. Ssentebe wa Bulungi Bwansi mu Ssaza ly'e Buluuli, Omw. Ezekiel Kyakwambaza, yagambye nti abantu b'e Buluuli beetaaga okusomesebwa ku ngeri y'okwekulaakulanya basobole okwejja mu bwaavu obubazimbyeeko akayumba.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |