Agafa e Mmengo, 16 Mukulukusa, 2000.

Bulungi Bwansi

1. Okwogera kwa Ssaabasajja ku Mukolo gwa Bulungi Bwansi

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, akubirizza abantu ba Buganda obutalindanga Gavumenti kubakolerera buli kimu, wabula babeere n'omutima ogw'okwekolerera n'okweyimirizaawo.

Yagambye nti enkola ya Bulungi Bwansi etulaga omutima ogw'okwagala okwekolerera nga tuyita mu kuzimba enzizi, okulima enguudo mu byaalo byaffe, okweyonja, okukuuma ebifo eby'Obuwangwa n'ebirala ebiringa ebyo bingi.

Ssaabasajja yabadde ne Nabakyala Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ku mukolo ogw'okukuza olunaku lwa Bulungi Bwansi olubeerawo buli mwaka ku lunaku olw'omunaana mu mwezi gw'ekkumi (8/10/2000). Guno gwe gwabadde omwaka ogwokusatu bukya Ssaabasajja azzaawo enkola ya Bulungi Bwansi mu Buganda. Omukolo gwabadde mu kibangirizi wabweeru w'Olubiri e Mmengo.

Beene yategeezezza nti Mmengo ekungaanya bu sente butono nyo obutasobola kuzimba masomero, wadde amalwaliro, n'olwekyo abantu balina kwefaako mu bitundu byaabwe nga batandikira mu maka gaabwe kubanga obwaavu butandikira mu maka, buubwo mu byaalo nebulyoka butuuka buli wamu.

"Munyiikirire byonna bye mukola musobole okulongoosa embeera y'obulamu bwammwe, embeera ya Buganda n'eya Uganda okutwalira awamu." Ssaabasajja bw'atyo bwe yakubirizza Obuganda.

Yagambye nti Bulungi Bwansi ye nkola eyesigamye ku nnono n'empisa za bajjajjaffe era mwe tuyita okuddaabiriza Buganda. Abantu bangi n'ebitongole eby'enjawulo bidduukiridde mu kaweefube ono, kizzaamu amaanyi nti enkola eno ejjumbiddwa mu bitundu bya Buganda eby'enjawulo.

Yasiimyennyo bonna abawagidde etterekero lya Bulungi Bwansi, bukya litongozebwa omwaka oguwedde e Zirobwe, nga batona ebisinga okwetaagibwa.

2. Okwogera kwa Katikkiro.

"Mukutuukiriza ebigendererwa byaffe mu nkola eya Bulungi Bwansi, mwetujja okuyita okumanyisa n'okusomesa abantu baffe okudduukirira Gavumenti yaabwe tusobole okuyimirizaawo emirimu gy'Obwakabaka." Bino byayogeddwa Katikkiro wa Buganda Owek. Mulwanyammuli Ssemwogere.

Mu nkola ya Bulungi Bwansi, Obuganda mwe buyita okuwagira emirimu gy'Obwakabaka okuyita mu kugula Certificates, okugula emigabo egya Buganda Investment Ltd. nga tuli mu bika byaffe, n'okwewandiisa mu bika byaffe nga tuwagira ebika n'Obuganda.

Katikkiro yategeezezza nti mu bigendererwa bya Bulungi Bwansi ebimanyiddwa obulungi waliwo ebituukiddwako ebiyinza okwenyumiririzibwaamu nga bino:

Katikkiro yagambye nti buli Obuganda lwe bukungaana, kibusobozesa okugeraageranya we buvudde, we butuuse, we bulaga era ne we twetaaga okwongera amaanyi mu bigendererwa byaffe ebya Buganda n'ebya Bulungi Bwansi.

Kamalabyonna yakkatirizza nti okuva Ssaabasajja lwe yakkiriza okuzzaawo enkola ya Bulungi Bwansi, emirimu mingi egitandikiddwawo n'egiwedde. Yeebazizza Ssaabasajja olw'okukulembera Obuganda mu lutalo olw'okuzzaawo enkola ya Bulungi Bwansi, gye yagambye nti y'emu ku nkola Obuganda mwe buyinza okuyita okweddaabulula. Yeebazizza era bonna abadduukiridde nga baleeta ebikozesebwa .

3.Okwogera kwa Minister avunaanyizibwa ku Bulungi Bwansi.

Minister omubeezi avunaanyizibwa ku Bulungi Bwansi mu Gavumenti ya Ssaabasajja, Owek.Ssewava Sserubiri, yategeezezza Ssaabasajja nti emisomo mingi egitandikiddwaawo mu nkola eya Bulungi Bwansi nga essira liteekeddwa ku bumu n'okukolera awamu awatali kutunuulira madiini na ndowooza za bufuzi. Yagambye nti emisomo gino giruubirira okubangula abantu mu kwetandikirawo Projects ezinaleeta sente n'enkulakulana eya nnamaddala mu bwangu.

Omuwanika wa Buganda Owek. J.B.Walusimbi mu kusooka yanyonyodde Obuganda enteekateeka ey'okudduukirira emirimu gy'Obwakabaka okuyita mu kugula Certificates. Abantu bangi abaabadde ku mukolo guno bajjumbidde nnyo okuzigula era ne beeyama enteekateka eno, okugyagazisa n'abalala.

Ng'okwogera tekunnatandika, abantu okuva mu magombolola ag'enjawulo baasoose kuyisa kivvulu ng'akabonero akalaga nti Abazaana n'Abasajja ba Kabaka beewaddeyo okukola emirimu gy'Obwakabaka egya Bulungi Bwansi.

Ku mukolo guno abantu bangi baaleese ebikozesebwa mu tterekero lya Bulungi Bwansi. Mu bangi abawaaddeyo mwe muli:

Owek.Ssewava yagambye nti etterekero lijjumbiddwa nyo n'ebikozesebwa ebya buli ngeri. Yeebazizza nyo bonna abawaddeyo n'asaba bagende mu maaso n'omutima ogwo.

Nnabakyala Nnaabagereka

Nnabakyala Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza programme ku Radio Buganda (CBS) n'asaba abantu bonna okukwasiza awamu naye okulwanyisa omuze ogw'okutulugunya amabujje mu ngeri ezitali zimu omuli okubatunuza mu mbuga ya sitani, okubalyaako emmere, okubookya, okubasaddaaka, n'ebirala ebiringa ebyo.

Bweyabadde atongoza Programme etuumiddwa "Ebiva ewa Nnaabagereka" ey'okubangawo buli Lwamukaaga okuva ku saawa mwenda n'ekitundu okutuuka ku saawa kkumi ez'emisana; Nnaabagereka yagambye nti ekimu ku bizibu ebyolekedde Buganda n'eggwanga lyonna, ky'eky'okutulugunya amabujje okweyongera kwe yagambye nti kusaana kulwanyisibwa nga tuli wamu.

"Nkakasa nti nga tuyita mu programme yaffe eno, abantu bajja kuwaayo ebirowoozo ebinaayamba eggwanga okumalawo omuze guno." Bwatyo bwe yakubirizza.

Ssaabasajja Agabye Kompyuta

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awadde essomero lya St.Joseph's S.S. Naggalama, kompyuta 2 ziyambe mu kutumbula eby'enjigiriza mu ssomero eryo. Kompyuta zino zayanjuddwa Minister wa Ssaabasajja ow'Eby'Enjigiriza Owek. J. C. Muyingo ku mukolo gw'okuggulawo etterekero ly'ebitabo ku lw'omukaaga.

Minister Muyingo yabuuliridde abakulu b'amasomero okuyigiriza abaana enkozesa y'ebyuuma bino n'agamba nti mukiseera kino omulembe gukula nnyo ekyetaagisa n'eby'enjigiriza okutambula nagwo.

Omusumba w'Essaza ly'e Lugazi Dr.Mathias Ssekweyama eyayimbye Misa eyakulembedde omukolo guno yabuuliridde abasomesa n'abazadde okukuza abaana mu mpisa ez'obuntubulamu.

Okukyala Kw'Abavubuka Ewa Ssaabasajja Kabaka

Abavubuka 15 abaateekateeka emikolo gy'okukuza amazaalibwa g'Omutanda Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, baakiise Embuga mu Lubiri lw'e Kireka.

Abavubuka bano abaakulembeddwa Omw. Mike Kyompitira Ssebalu, bategeezezza Ssaabasajja nti bateeseteese ekijjulo makeke kye banaasonderako ensimbi ez'okuduukirira Kabaka Foundation, nga kya kubeera mu Sheraton Hotel nga 9/12/2000. Mw. Kyompitira yagambye nti ekijjulo kino kisuubirwa okuvaamu obukadde bw'ensimbi ataano (50m/=) nga zonna z'akuyamba ekibiina kya Kabaka eky'okuyamba abanaku, ekya Kabaka Foundation. Abavubuka beebazizza Kabaka olw'okubassaamu obwesige n'abakkiriza okumutegekera amazaalibwa ge.

Ssaabasajja yasiimye nnyo ekikolwa ky'abavubuka kino naakubiriza n'abalala bonna mu Buganda okukola kye basobola okubbulula n'okuzzaawo Obuganda. Ssaabasajja ng'ali wamu ne Nnabakyala Nnaabagereka, yagabudde emiti emito gino ekijjulo.

Okuyingiza Kweeba Mu Mbuga Y'essaza Ssese

Kyabadde kijjobi e Ssese ku lw'omukaaga oluwedde nga Kamalabyonna wa Buganda Mulwanyammuli Ssemwogerere, ayingiza Kweeba (ow'essaza Ssese) Prof. Muyanda Mutebi, mu Mbuga ye ey'obwaami obw'Essaza.

Katikkiro bwe yabadde ayingiza Kweeba, yamukuutidde abeere eky'okulabirako, aleme kujuliriza bantu b'e Ssese wabula abanyige ebiwundu byonna ebyabatuukako ng'Obwakabaka tebunnaddizibwawo, akolagane n'Abataka b'e Ssese, abakiikirira President (RDCs) mu bitundu ebitali bimu, abakiise mu Parliament (MPs), Chief Administrative Officers, ba Ssentebe ba zi Districts n'Ababaka ba Ssaabasajja.

Katikkiro yagambye nti e Ssaza ly'e Ssese lye limu ku makulu ennyo mu Bwakabaka bwa Buganda olw'ebyafaayo ebiririmu era lisaana kukuumibwa butiribiri. Yasabye Abasese obutakozesa bubi Nnyanja yaabwe, obutonde bw'ensi, obugagga obukusike amakula ga Ssese gasigale nga bwe gaali okuva edda. Yagambye nti abavuba obubi mu nnyanja eyo nga bavuba n'obwennyanja obutatuuse be baleetedde embeera y'okubizinga okwonooneka, ebyennyanja okuggwa mu nnyanja n'obwavu. Era yabasabye bakolaganire wamu ne Kweeba kimuyambe okutuukiriza emirimu n'obuvunaanyizibwa bwe.

Ow'essaza omugole, Prof. Muyanda Mutebi yeeyamye okuweereza Obwakabaka mu bwesimbu, obwesigwa, mu mazima, obwenkanya n'obuwulize. Yeebazizza Ssaabasajja olw'okusiima okumuteekamu obwesige n'amulonda ku bukulu obwo.

Yategeezezza nti ekizibu ekisinga obukulu ku kizinga bwebutabeera na mpuliziganya nnyangu. Wabula yagambye nti enteekateeka ewedde ey'okuleeta obusimu bwa buli wendi nkufuna (mobile telephones) okuva mu MTN kyanguyize Abasese mu by'empuliziganya.

Yye Omukiise mu Parliament owa Kyamuswa, Omwaami Tim Lwanga, yagambye nti mu lukiiko olukulu olw'eggwanga mutuulamu Abaganda 72. Mulimu abatono aboonoona bwe kituuka mu kuteesa ku nsonga za Buganda, naye era nga tebayinza kuwangula bano abangi. Yagumizza abantu ba Buganda nti nabyonna ebitannatuukibwaako bijja kutuuka, kamukamu gwe muganda, ani yali amanyi nti ne wetuli tulituukawo? Yasiimye nnyo Katikkiro wa Buganda olw'okugatta Obuganda nti ne mu lukiiko lw'eggwanga mu kwegatta kati Abaganda bali ku 99 naye nga kivudde mu kukulafuubana kwa Katikkiro Mulwanyammuli.

Omubaka wa President (RDC) e Ssese omwaami Zubayiri Bakali, yategeezezza Katikkiro nti enkolagana nnungi wakati w'Abaami ab'ennono n'abaami aba Gavumenti eya wakati. N'agamba nti e Ssese kiri mulaala buli ayagala okusenga ayanirizibwa. Ssentebe wa LC 5, Kalangala District, Omwaami Dan Kikoola yagambye nti olukiiko lwa District eyo nga luwagira Obwakabaka lwayisa embalirira nga obukadde obw'esimbi bubiri bujja kukola ku bintu by'Obwakabaka era olukiiko lwe lumu ne lutoola obukadde munaana (8m/=) okuddaabiriza enyumba ya Kweeba.

Mw. Kikoola yasabye abantu bonna okuba abeetowaze okulabira ku Katikkiro wa Buganda gwe yagambye nti wadde nga ye Kamalabyonna wa Buganda buli muntu amuwa ekitiibwa.

Yye akiikirira Bujumba County mu Parliament, Omwaami Herman Kakooza yeeyamye okukolaganira awamu ne Kweeba okukulaakulanya Ssese. Yeebazizza Katikkiro Mulwanyammuli olw'obutaswaaza Basese bwe yakwaasibwa Ddamula ayambe ku Ssaabasajja okufuga Obuganda wabula n'akola ekyo ekiwuniikiriza buli omu mu kugatta n'okuzzaawo ettutumu n'ekitiibwa kya Buganda ebyaali mu nfumo. Mw.Kakooza yagambye nti wadde nga Buganda erina by'ekyabanja okuva mu gavumenti eya wakati, waliwo bye tufunyeeko, n'ebisigadde tujja kugenda tubifuna anti nnyama ntono.........

Omwaami ow'e Ggombolola Mumyuuka, George William Buwamya yategeezezza nti abantu b'eBujumba bakozi nnyo era baagala nnyo Obuganda nti era ebyafaayo by'Obwakabaka bwa Buganda bingi mu Gombolola eyo. Ebimu ku byafaayo ebyo kye kifo Luggo- ekitemwaamu Ddamula, Ssekabaka Nnakibinge, O'womunaana okuva ku Ssekabaka Kintu, omuzira eyamulwaanira olutalo yamujja Ssese era yayitibwanga Kibuuka Omumbaale. Yayongedde n'ategeeza nti ne Kamalabyonna wa Buganda naye ava mu Ggombolola y'emu eyo. Ku mukolo gwe gumu Abasese baaguze Certificates ezaawezezza 798,000/=. Minisita omubeezi ow'eby'ebyenjigiriza, Owek. Christopher Bwanika, yatonye Kompyuta eri essomera lya Ssese Farm Institute n'awa ne sikaala 2 eri abayizi mu ssomero eryo abanaaba basinze mu bigezo bya P.7 eby'omaka guno.

Omukolo guno gwabadde ku kizinga ky'e Buggala era nga gwetabiddwaako abantu bangi abeebitiibwa okuva mu Gavumenti ya Ssaabasajja n'eya wakati, abaami n'abakyala, abato n'abakulu.

BUCADEF

Ekibinja ky'Abangereza okuva mu kibiina ekya Water Aid International ng'ekitebe ky'akyo ekikulu kiri mu London, baakyadde mu kitongole kya Buganda Cultural and Development Foundation (BUCADEF) okwekeneenya obuzibu bw'eby'amazzi obusangibwa mu zi Projects zebasasulira. Abangereza bano era baabadde baagala okumanya omuwendo gw'Abakyala abali mu Project eyo, eby'enjigiriza ya baana ey'obwereere n'engeri y'okutumbula embeera mu byalo kisobozese abantu okwagala okubibeeramu. Mu Bangereza abazze mwe muli Karen Morgan Robin, Rosemary Gorey, Amsalem Nagsie, Andrew Morgan ne Christine Crafts.

Ssentebe wa BUCADEF, Eng. H. I. Kibuuka yabayitidde mu nteekateeka ey'okutumbula embeera z'abantu mu by'Obulamu okuyita mu kusitula omutindo gw'eby'obuyonjo, obutonde bw'ensi, obungi bw'emmere, n'ennyingiza mu maka. Yagambye nti mu nteekateeka eno ey'okumala emyaka ekkumi, BUCADEF y'akuddukanya ebitundu 40 ku buli 100, ate ebitundu enkaaga biddukanyizibwe ebitongole eky'eby'enjigiriza, eky'eby'obulamu, eky'eby'amakolero n'eky'eby'obusuubuzi mu Government ya Ssaabasajja.

Mw. Kyewaalabye Male, Chief Executive Officer wa BUCADEF, yagambye nti Project y'amazzi n'obuyonjo eyasasulibwa aba Water Aid International y'atandika wadde nga tebalina nsimbi zimala na bakozi bakugu.

Water Aid International kirina ebitongole bingi bye kiyamba okutuusa amazzi n'eby'obuyonjo (water and sanitation) ku bantu, nga BUCADEF kye kimu ku bitongole ebyo. Projects zitandikiddwaawo mu district ye Mpigi, mu Masaza n'amagombolola agatali gamu, mu gombolola y'e Kasanje ne mu muluka gw'e Jungo.

Ebyo nga bikyaali bityo, abantu ba Buganda bakubiriziddwa okutwala okulima ng'omulimu ogw'eby'enfuna sso ssi nga eky'okwekwasa, okusobola okufunayo kebazza eri omumwa.

Bino byayogeddwa Omwami Kyewalabye Male, akola nga Chief Executive Officer wa BUCADEF bwe yabadde agaba emiti gya muwogo ew'embala eri abantu b'e Buyikwe ne Nnajjembe mu Ssaza ly'e Kyaggwe, Mukono District. Emiti gino egibalirirwamu 4,500,000 gyaweereddwayo ekitongole kya BUCADEF kati ekiri mu kaweefube w'okulwanyisa enjala n'obwavu wonna mu Buganda.

Omumyuka wa Ssekiboobo (omwami ow'essaza Kyaggwe), Haji Mubiru, amanyiddwa ennyo nga Kabaka Yekka, yeebazizza nnyo Obwakabaka bwa Buganda olw'okulowooleza abantu ba Buganda engeri gye bayinza okweyimirizaawo obulungi. Ye Ssentebe w'eggombolola y'e Buikwe Omulongo Wasswa Frederick, ku lw'abatuuze banne, yeeyamye okukozesa obulungi ensigo ezo n'okutuukiriza ebigendererwa ebizibaweesezza.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |