Agafa e Mmengo, 6 Museenene, 2000.

Ssaabasajja Yasisinkanye Abaami Ab'amasaza

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, yasisinkanye abaami ab'amasaza ga Buganda okukubaganya ebirowoozo ku mirimu gye yabakwasa n'okumanya bwe gitambula. Ensisinkano eno yabaddewo ku lwokusatu nga 19/10/2000 mu Lubiri e Bbanda.

Ssaabasajja nga ali wamu ne Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere, yeebazizza basajja be emirimu gye bakola newankubadde nga bakolera mu buzibu bungi era n'abakulisa emikolo gy'okubayingiza mu mbuga zaabwe. Yabakuutidde okwongera amaanyi mu kunoonya eby'obugagga bwa Buganda, okunyweeza enkolagana wakati waabwe n'abakulembeze ba gavumenti eya wakati, okujjumbira okulongoosa embeera z'abantu ez'omumaka, okukuuma ebifo eby'obuwangwa n'ennono, n'okukubiriza abantu okubissaamu ekitiibwa wonna we biri nga bakwasiza wamu n'abo abavunaanyizibwa okubikuuma, okukubiriza abazadde basomese abaana, n'okwongera amaanyi mu nkola ya Bulungi Bwansi.

Yye Kamalabyonna yeebazizza nnyo Ssaabasajja okusiima n'asisinkana basajja be, beyayise amaaso era amatu ga Kabaka eyo mu masaza, ate n'abawa ekyanya okumutegeeza ebirowoozo byonna bye balina ku nsonga za Buganda. Yalaze essanyu okulaba nti ab'amasaza omulimu gwabwe bagutandise na maanyi naasaba babeere nga eky'okulabirako eri abantu mu buli kye bakola kubanga obukulembeze obuwa eky'okulabirako bwe businga okuvaamu omugaso.

Yabagumizza nti ebizibu byonna bye boogeddeko bitunuuliddwa nyo mu nteekateeka gye yatongoza nga 11/10/2000 eya Buganda Development Strategy 2000-2010 ey'okukulaakulanya Buganda. "Obuganda bujja kukutulwamu buweebwe essira ery'enjawulo mu mirimu egy'enjawulo (zoning). Enteekateeka eno ejja kukola nnyo ku butale n'ensuubuza n'enkuuma y'eby'amaguzi", bwatyo Katikkiro bwe yategeezezza.

Abaami Ab'amasaza nga bakulembeddwaamu Minisita mu ofiisi ya Katikkiro akulira gavumenti ez'ebitudu, Owek. Kamala Kannamwangi, baakwasizza Ssaabasajja ekiwandiiko eky'endowooza yaabwe ku nsonga za Buganda. Mukiwandiiko kino mwabaddemu:

1. "Okwebaza:-

Ka tusooke okukwebaza olw'obukulembeze bwo Ssaabasajja, obujudde okulengera ewala n'okukulaakulana, enkolagana ennungi, okusonyiwagana, obumu n'obuntubulamu. Tukirabira ddala nga obutabeerawo bwa Kabaka okuva mu 1967 okutuusa luno juuzi mu 1993, kwazza nnyo abantu emabega, ne kubafuulafuula mu nneeyisa n'okunafuya endowooza zaffe, ne kutufuula abantu abatali Baganda bali bannakabala. Tumatidde nti ddala obutabaawo bwa Nnamunswa bukosa Uganda yonna.

- Tukwebaza olwa Nnyaffe NNnaabagereka wa Buganda. Bbaffe, Obuganda bwali bulina ekibubulako.

- Tukwebaza olw'okutulondera Katikkiro atatujuza. Mukama waffe katukuloopere nti abantu bo abasingira ddala obungi mu bwakabaka bwo bamativu nnyo n'enkola ya Kamalabyonna gwe watuwa. Musajja mukakkamu, awuliriza ensonga, yeebuuza, teyeekubirako ludda lwonna, mwesimbu ate munyiikivu nnyo mu bwagazi bwe eri Obuganda.

Tetuwaaniriza, wabula tukuloopera bye tuwulira okuva mu bantu bo eyo gye tubeera. Obutetenkanya bwa Katikkiro ng'ateekawo ebitongole eby'enjawulo, bijunye nnyo Obuganda era naye alafuubaanye nnyo okuzuukusa Obuganda mu kukola n'okwagazisa Abaganda ebyaffe, naawe Bbaffe okukwagazisa naddala abavubuka. Ekitiibwa kya Buganda akirwaniridde nnyo.

- Tukwebaza olw'emikwano gy'okwanidde Obuganda , okumpi n'ewala munda n'ebweru w'Obwakabaka bwo. Tukkiriza nti, "Ssesorye bwatafa, eryengedde alituukako".

- Twebaza mu maaso go abakulembeze baffe aba Gavumenti ya Uganda nga tusookera ku President okutuukira ddala wansi ku bakulembeze b'ebyalo.

2. Obuzibu Bwe Tusaanze

Ssaabasajja siima tutandike okukuwoleza olutabaalo lwe watutumako bwe tulusaanze. Twasooka okuyisibwamu emimwa, abantu ab'obuvunaanyizibwa. Obuzibu bwali ku bakulembeze bokka naye oluvannyuma olw'omwaka, endowooza ekyukidde ddala mu bitundu ebisinga obungi. Abantu bo eyo mu byalo, baavu nnyo ddala ekyeraliikiriza. Ensonga zetuzudde ezireese obwavu buno obutaabeeranga butyo edda, ze zino:-

1. Obwakabaka bwesigamye ku bulimi, naye eby'obulimi bigaanyi. Anti ensuku z'abantu zaagwaamu nawookeera w'obulwadde bw'ebitooke, era nnyingi zifudde. Pamba eyali alimwa mu Buganda, yakoma eyo mu gy'enkaaga. Emwanyi ze zibadde zikwatiridde ennyo Obuganda naye nazo ziguddemu nawookera w'akawuka akazikazizza. Enkuba nayo mu bitundu bingi, eruddewo nnyo okutonnya; ate gy'etonnye eyonoonye nnyo ebirime. Ebijanjaalo n'ebinyeebwa nabyo kati bifunye obulwadde. Muwogo, emmere y'enjala, naye yalumbwa akawuka akamugengewaza n'atabala.

2. Ssaabasajja abantu bo bangi bayimbye obwavu n'enjala. Ku nsonga eno tukusaba olabeyo olunaku odduumire Obuganda nga naawe wenyigiddemu wonna wonooba olonze, oggulewo bupya kaweefube w'okulwanyisa enjala n'obwavu mu Buganda.

3. Ebitongole bya Gavumenti yo:

Tusaba busabi ayi Ssaabasajja ebitongole bino byongere amaanyi mu mirimu, naffe kitwanguyize egyaffe:

Ekitongole eky'Ettaka n'Ebizimbe

Entegeka ey'okugoberera eyatwanjulirwa, tusaba essibwe mangu mu nkola kubanga tulowooza nti eggwanika lyandibadde lifuna ensimbi, singa ettaka lyonna erisengeddwako abantu livaamu ejjamba era n'emyalo gyo nga Katosi n'emirala gikulaakulanyizibwa okusingako awo. Tulowooza nti ssinga ettaka ly'e Jjeza mu Mawokota litwalibwa Ekitongole ky'Obulimi, ne kissaako ebirime ebimala ekiseera ekitono okukula (Horticultural), eggwanika lyalibadde wadde wadde. Oba ssi ekyo Gavumenti yo efuneyo abanywanyi (partners) beegatte; ettaka liveemu eky'omugaso.

BUCADEF

Mu butuufu BUCADEF ekoze nnyo. Naye bbwo obwetaavu bukyaliwo. Tusaba BUCADEF efune Ministry mwegwa olw'okwongera okulung'amya emirimu gyayo.

Bulungi Bwansi

Tukwebaza olw'okussaawo Ekitongole kya Bulungi Bwansi. Lino lye lyali ekkubo Buganda mwe yayitanga okukulaakulanya emirimu egigasa abantu awamu. Tusaba wabeewo enkola ennambulukufu wakati waffe mu masaza n'abakulu abo abakulira ekitongole ekyo nga ssinga wabaawo emirimu egikolebwa mu masaza naffe tussibwe mu ntegeka tusobole okukunga abantu okujjumbira emirimu egyo.

Ekitongole ky'Abavubuka

Enkola egobererwa abavubuka nga balonda abakulembeze baabwe nnungi nnyo kubanga baatuutukiirira netukolera wamu naffe tubatadde ku nkiiko zaffe ez'amasaza era tubasanze nga bajjumbize nnyo. Ekikyabulamu bwe buyambi n'okuweebwa amagezi ag'okweyimirizaawo okuva mu bakulu ab'ekitongole ekyo.

Olukiiko Olukulu olwa Buganda

Nga bwe luli Olukiiko olw'Ennono n'Okwekulaakulanya, tusaba Kamalabyonna enkiiko ezinaddirira zibeere nnyo ku makubo ag'okwekulaakulanya okusinga ekintu ekirala.

Eby'enjigiriza

Twebaza nnyo ekitongole kino olwa kaweefube gwe kikoze mu kutumbula eby'enjigiriza mu Buganda. Kituufu obwetaavu bungi ddala era nga buno tubulabira ku baana abatutuukirira nga basaba okuyambibwa n'ebisale by'amasomero, nga buva mu nsawo yo ey'ebyenjigiriza. Ensimbi eziriwo ntono ddala okusinziira ku bwetaavu obuliwo. Tusaba ekitongole kyo kino kitandikewo enkola ey'okuwagira amasomero, naddala aga siniya; bagakole nga gasomesa eby'amagezi (academics) n'eby'emikono (Vocational). Kino kye kijja okubbulula Obuganda ng'abaana bo bafuluma balina kye bamanyi ekiyinza okubayimirizaawo mu bulamu.

Ekitongole ky'Obulamu

Kino kikoze bulungi nnyo ddala, wabula twandyagadde, ssinga ensimbi zirabika, ekitongole kisseewo obulwaliro obutonotono mu buli ssaza olw'okutuukirwamu abantu bo ababa balwadde.

Ekitongole ky'Ebyenfuna

Kino kibadde tekinavaayo na nkola etegeerekeka, naye nga kikyetereeza. Tusaba ggwe Magulunnyondo okubirize abantu bo mu Buganda, bazzeewo enkola ey'obweggassi eyali etandise okujja abantu mu bwavu. Kati abantu mu byalo abalima, banyagibwa abasuubuzi nga bwe baagala."

3. Amateeka aganaayamba okuzzaawo Obuganda

Ab'amasaza baasiimye Ssaabasajja olwa kaweefube gw'aliko ow'okuzza empisa ez'ekintukiramu mu bantu, ezaafuula ba jjajaffe ab'etuttumu wonna. Naye nebamuloopera nti empisa ziddiridde nnyo mu baana abaazaalibwa oluvannyuma lwa 1966 n'okutuuka kaakati. Abaana bafuuse bayaga bennyini mu byalo, naddala abalenzi. Omuzanyo gw'amatatu gusigudde nnyo abavubuka nebatafaayo kukola, ssonga obusente bwebazanyira mpa webwaga. Abavubuka tebaagala kugambwako wadde okulaalikibwa okukola emirimu egy'awamu; n'okubagamba okulima emmere gye balya, olwo nalwo lutalo.

Baawadde ekirowoozo nti bassentebe b'ebitundu (districts) nga bye birina obuyinza mu ssemateeka okussaawo obuteeka (by-laws) obukola mu bitundu, babage obuteeka obufaanagana wonna enkiiko zaabwe zibuyise era bukole wonna mu bitundu bya Buganda ku nsonga zino wammanga:

  1. Okukolanga emirimu gya Bulungi Bwansi
  2. Okulima emmere mu buli maka nga mwe muli n'emisiri gya Ssaabasajja egitakwatiibwako okujjako ng'omusiri omupya guteekeddwawo.
  3. Obutalima njaga, mayirungi n'ebiragalalagala ebyo mu nnimiro zaffe mu Buganda.
  4. Essaawa ez'okukola zissibwewo nga tewaba birabo bya mmwenge oba okukung'ana okuzzanya mu ssaawa ezo.
  5. Ebibanda bya firimu ezoonoonye ennyo abaana, biggalwewo wonna mu byalo.
  6. Okulaba ng'abaana bonna abato batwalibwa mu masomero, wakiri aga UPE.
  7. Buli muzadde okusitukirangamu okugemesa endwadde zinnamutta.
  8. Okukuuma Obutonde bw'ensi, n'ensonga endala bbo zebalaba, zissibweko obuteeka nga bulina n'ebibonerezo.

5. Ebizibu mu Masaza

Ab'amasaza baategeezezza nti baasiima obuvunaanyizibwa Ssaabasajja bwe yabawa. N'Omuwanika wa Buganda eyabakwasa ogw'okutunda obweyamo bw'abantu obwa buli mwaka.

- Obwetaavu obuli mu masaza ku mirimu gyabwe, busuffu. Beesanze nga balina kwekwatakwata buli mulundi okukola ku nsonga ezigwawo; nebasaba nti bwewaba wafuniseeyo akantu, Omuwanika wa Buganda akaweerezenga ku masaza, wakiri basobole okusasulira ebyo byokka ebikwata ku mbuga zaabwe; gamba nga kalaani, amasanyalaze n'entambula ensaamusaamu.

- Ekizibu ekirala, embuga ezimu nga eya Kamuswaga n'endala ab'ebitundu bakyazigaaniddemu. Ab'amasaza baagambye nti Ssaabasajja bweyatandika okulambula, Obuganda bwabuguumirira era ne bamusaba alambuleko n'awalala awaasigalira, nti abantu be bangi balina amaddu okumulabako awamu ne NNnaabagereka asobole okulaba embeera gye balimu era abawe amagezi ku ky'okukola. Baasabye omwaka ogujja entegeka ekolebwe Ssaabasajja asisinkane buli mwami w'essaza kinnoomu amutegeeze byonna ebiri mu ssaza lye yamukwasa. Era baasabye okulanya kuzzibwewo kubanga kwayamba nga nnyo Bassekabaka okumanya abantu baabwe bye baakolanga n'ebyo bye baalowoozanga.

Ssaabasajja ab'amasaza yabagabudde ekijjulo, ate nabo ne bamutonera amakula mangi ddala.

Nnaabagereka Yasimbye Olusuku

Nabakyala Nnaabagereka akubirizza buli maka mu Buganda okusimba olusuku n'emmere endala abantu basobole okubeera n'emmere emala mu maka. Yagambye nti, "Tulina ettaka lingi nyo, tewali nsonga lwaki tetusobola kusimba mmere etumala obulungi wano mu Buganda". Nnaabagereka bwe yabadde atema evvuunike n'okutongoza olusuku lwe e Baamunanika, yasabye kye yakoze kibeere akabonero buli maka okusimba olusuku. Yakubirizza obuyonjo mu maka, empisa ennungi ez'ennono, n'okulabirira abali mu maka.

Yabeebazizza okunyiikira okusomesa abaana n'agamba nti tukyafuba okulaba nga buli mwana atuukako mu ssomero oba alina ssente oba talina. Yasabye Obuganda okukwasiza awamu ku nsonga eyo. Yasisinkanye abakyala b'e Bulemeezi.

Bwe yabadde ayaniriza Nnabakyala, Minisita akola ku nsonga z'abakyala mu gavumenti ya Ssaabasajja, Owek. Victoria Sserunjogi, yamwebazizza olwa byonna by'akola okuyamba ku Kabaka ne gavumenti ye mu mirimu n'enteekateeka z'okukulaakulanya n'okusitula embeera z'Abaganda n'okunyweeza Obwakabaka.

Yakakasizza Nnaabagereka nti abakyala bajja kulabirira bulungi olusuku lwe kubanga bali ku musingi ogw'obumu era bamalirivu okukola kye basobola okuyimirizaawo n'okunyweeza Obwakabaka.

Abantu bangi okuva okumpi n'ewala baayanirizza Nnaabagereka mu ssanyu eringi n'emizira n'eng'oma. Mu bangi abaabaddewo mwe muli: abakulembeze b'ebitundu, omumyuka w'omubaka wa President (RDC), Muky. Leontina Nannyange; abakiise mu lukiiko lw'eggwanga (MPs), ow'essaza Bulemeezi, Kangaawo Gideon Kisitu; bassentebe ba LCs, abakulembeze b'amadiini, abakulembeze b'abakyala bangi okuva mu Bulemeezi, abaami n'abakyala n'abaana b'amasomero.

Katikkiro Yajjukizza Pulezidenti

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere ajjukizza President Museveni ensonga y'obuyambi bw'ensimbi ze yasuubiza Mmengo nga zaakumaliriza Twekobe. Katikkiro ng'asinziira mu ofiisi ye gye buvuddeko, yategeezezza nti obweyamo bwa President ku nsonga eno yabukola mu 1998 ku mukolo kwe yakwasiza Kabaka ebyapa by'ettaka okuli Olubiri lw'e Mmengo.

"Nsaba Omukulu President atuukirize obweyamo bwe yakola ku nsonga eno, tumalirize Twekobe n'okuddaabiriza Olubiri luno, Kabaka asobole okulubeeramu." Katikkiro bwe yagambye.

Yakikkaatirizza nti Obuganda bukoze kye busobola okuzzaawo Twekobe, so nga omulimu guno guteekeddwa kukolebwa Gavumenti eyawakati kubanga Olubiri lwayonoonebwa bajaasi. Katikkiro era yategeezezza nti yawandiikira President Museveni omwaka oguwedde, n'amusaba Gavumenti ye eddize Mmengo ekizimbe kya Butikkiro mu kiseera kino ekirimu abajaasi. Nti kyokka n'okutuusa kati tafunanga kuddibwamu.

Wabula Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'obwa President, Dr. Ruhakana Rugunda yagambye nti President mwetegefu okutuukiriza obweyamo bwe yakola ku nsonga ya Twekobe amangu ddala ng'afunye ssente.

"President ajjukira bulungi obuyambi bwe yasuubiza Mmengo era ajja kubuwaayo amangu ddala ng'ensimbi zifunise", Dr. Ruhakana Rugunda bwe yategeezezza ku simu naye eby'ekizimbe kya Butikkiro teyakikoonyeeko.

BUCADEF Ewadde Alipoota ku Mirimu Gyayo

Ekitongole kya BUCADEF mu gavumenti ya Ssaabasajja, kiwadde Kamalabyonna alipoota ekwata ku mirimu gy'akyo egy'omwezi ogw'okutaano n'ogw'omukaaga omwaka guno (2000).

Omulamwa omukulu ogwa BUCADEF gwesigamiziddwa ku kweyambisa enkola ey'ekinnansi ezimba ng'eyungibwa ku nteekateeka ez'omulembe olwo walyoke wabeewo enkulakulana eya nnamaddala mu Buganda. Ekigendererwa kya BUCADEF kwe kuwagira n'okuzzaamu amaanyi mu by'obuwangwa, embeera z'abantu wamu n'okukulaakulanya abantu ba Buganda nga kigunjawo enteekateeka ez'omugundu mu by'obulamu, ebyenjigiriza, ebyobuwangwa, ebyobulunzi, ebyobulimi n'okukuuma obutonde bw'ensi.

BUCADEF esobodde okukola ku bino wammanga:

1. Okusomesa n'okukunga abantu: Okusomesa n'okukunga abantu ba Buganda okukola emirimu gy'okweyimirizaawo wamu n'okufuna emmere mu bitundu bino: Masaka, Mubende, Kiboga, Mukono, Luweero, Mpigi, Kalangala ne Ssembabule.

2. Enteekateeka y'okwekuuma enjala: Enteekateeka eno egenderera okumalawo enjala mu maka n'okulwanyisa obwavu nga eyita mu kuyigiriza abantu ennima ey'omulembe, n'okubawa ebikozesebwa mu nnimiro. Enteekateeka esuubira okufuula obulimi omulimu ogw'ettunzi. Abalimi bafunirwa ensigo ez'embala nga ebijanjaalo, kasooli, ebinyeebwa, wamu n'emiti gya muwogo ataliibwa biwuka. Mulimu okukozesa ku bijimusa ebitali bya bulabe eri obutonde bw'ensi nga UREA & DAP. Abalimisa bayambibwa okutuuka ku buli mulimi olw'okulongoosa enkola. Enteekateeka eno eri mu bitundu nga: Mpigi, Mukono, Mubende, Luweero ne Kiboga.

3. Amazzi amayonjo n'ebyobulamu: Enteekateeka eno egenderera okufunira abantu amazzi agakulukuta nga era mayonjo, wamu n'embeera y'obulamu ennungi mu Buganda. Enkola eno yettanira okuzimba enzizi wamu n'okokubiriza abatuuze okuzimba kabuyonjo, amaka amayonjo, nga kati amakanda gasimbiddwa Kasanje nga ensimbi ez'okukola omulimu guno zaaweebwaayo Water Aid Uganda.

4. Enteekateeka y'endiisa y'abaana: Enteekateeka eno egenderera okutumbula eby'endya mu baana abali wansi w'emyaka omukaaga basobole okukula obulungi mu mubiri ne mu ndowooza. Enkola eno, aba World Bank be bagiwomyeemu omutwe era nga kati egenda bulungi mu Mpigi District.

5.Okuwola ensimbi: Abantu b'omu byaalo bayambibwa nga bawolebwa ensimbi ensaamusaamu. Abawolebwa basobodde bulungi okugaziya emirimu gyabwe oluvanyuma lw'okutendekebwa mu nzirukanya y'emirimu ey'omulembe. Ekitongole kya BUCADEF kyekiwola sente zino nga ku ssiringi obukadde 15 ezaawolebwa; 4,184,050/= ze zaakakomezebwaawo. Alipoota eyongera n'enyonyola nti ebibinja by'abantu mu ggombolola y'e Najjembe balaze obwetaavu mu kino era bagenda kuyigirizibwa ku nkola eno.

6.Ekyaalo ky'Omuganda: Enkola eno yettanira okusitula embeera mu maka g'abantu b'omu Buganda nga tuyita mu bino: Okuzimba amaka amayonjo awamu n'okussaawo ennimiro ezigudde akaleka nga kw'otadde amakubo amayoyoote obulungi, okukuuma omutindo omulungi mu by'endya awamu n'okwongera amaanyi mu by'enfuna y'omumaka.

7.Okufunira abalimi obutale: Enteekateeka eno etuusa ku bantu amawulire agafa ku butale nga eyita mu mpuliziganya ezitali zimu naddala programme "Ssaagalaagalamidde" ku CBS buli lwa Ssande. Mu ngeri y'emu, BUCADEF eri ku mukutu gwa INTERNET nga kw'efunira amawulire agakwata ku birime ki eby'ettunzi mu butale g'etuusa ku balimi. Ensimbi eziddukanya omulimu guno ziweebwayo USAID PL-480. BUCADEF ewagiddwa nyo abantu ba Buganda n'ab'ebweeru.

Ekitongole ky'Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n'Obutonde bw'Ensi.

Minisita omuyambi avunaanyizibwa ku kitongole ekyo waggulu, Owek. Lutaaya Mukomazi gye buvuddeko yakyaaza minisita bwe bafaananya emirimu, owa gavumenti eya wakati Dr. Kisamba Mugerwa era n'amwanjulira ensonga ezitali zimu omuli:

Mu kumaliriza, Owek. Dr. Mugerwa yasiimye nnyo entegeka za Buganda ezamwanjuliddwa. Wano yawadde amagezi nti minisita gwe kikwatako asaanidde awandiike Project eno nti yye mwetegefu okugiwagira mu buli ngeri.

Abaami mu Kyaddondo Batongozeddwa

Omumyuuka wa Kaggo (Ow'essaza Kyaddondo), Haji Badru Bunkeddeko, akubirizza ab'emiruka n'abatongole okujjumbira era n'okwagazisa abantu enkola eya Bulungi Bwansi kubanga kino kye kijja okusobozesa obulungi okuzimba omusingi gwa Buganda n'okwagazisa abantu bonna enkola eya wamu n'okulaba nga emirimu egiyamba bonna bagikolera wamu.

Abawadde amagezi baleme kuleeta njawukana za diini n'ebibiina eby'obufuzi. "Ekyo kye kyavaako Buganda okuyulikayulika mu biro ebyayita nga era terina kalungi keyatuukako mu biseera ebyo n'olwekyo kati nga Buganda ezzeewo, eby'enjawukana tebisaana kuddamu kuttukizibwa", bwatyo bweyakubirizza.

Okwogera bino, Haji Bunkeddeko yabadde atongoza abaami Abemiluka n'Abatongole mu ggombolola y'e Rubaga ku mikolo egyabadde ku mbuga ye ggombolola eyo nga 16/10/2000. Ow'omuluka e Najjanankumbi ye Muky. Mary Kayondo, ow'omuluka gw'e Nnaakulabye ye Muky. Sherry Sengendo, ow'e Rubaga ye Mw. Kibuuka Mugobansonga.

Abadde Akuuma Amasiro Yagobeddwa

Ensimbi enkalu n'ebintu ebiwerako byatokomokedde mu muliro ogwakutte amasiro g'Omulangira Ndawula e Ssentema mu Busiro.

Omukongozzi w'omulangira Ndawula akuuma amasiro gano, Mw. John Musoke, yategeezeza nti tewali amanyidde ddala kyavuddeko muliro guno wabula baagenze okulaba nga gwaka ne bayita abazikiriza omuliro era webaatuukidde ng'ebisinga bisirisse. Yagambye nti mu bintu ebyatokomokedde mu muliro mwe muli enyumba 12, ebyuuma bya kopyuta, ettaala z'omukono 10, amatundubaali 30, essowaani, n'eby'amasanyalaze wabula enyumba ezimu zzo zaatasiddwa. Bino byaliwo nga 17/10/2000.

Minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku by'obuwangwa eyasangiddwa mu ofiisi ye mu Bulange, yagambye nti kirabika waliwo abantu abamu abalabika nti beebaakoze ekikolwa kino. Yagambye nti "waliwo enkaayana ku by'obukongozzi era nga nnabasabye bazigonjoole, ntaddewo n'akakiiko ka bantu 5 kalondoole ensonga ezavaako omulilo guno". Yakuutidde abavunaanyizibwa ku kifo kino okwegendereza abantu abajja mu kifo kino kubanga buli omu alina ebigendererwa byanjawulo nga ebimu bisobola okuviirako okwonoona omulimu gwe balafuubanidde ebbanga eddene.

Ebyo nga bikyali bityo, abadde akuuma amasiro ga Ssekabaka Mawanda e Sserinnya mu Busiro agobeddwa. Olukiiko lw'abalangira olwatudde mu Kigango ky'Abalangira e Bukesa - Namirembe, gye buvuddeko, lwagobye Haji Yusufu Ggolooba abadde akuuma amasiro ago, kubanga ssi mulangira. Abalangira mu kiwandiiko kye baafulumizza, nga kiriko emikono 26, baagambye nti Ggolooba yabuza ebintu ebipya byonna bye baali bataddemu lwe bassaako Nalinnya w'amasiro gano. Abalangira bagamba nti Bisibo azaala Idi Kayiribwa taata wa Golooba, yasindikibwa Omulangira Nuhu Mbogo mu Masiro gano kukuuma bukuumi Nalinnya waago eyali akyali omuto. Era nti Ggolooba akyalemeddwa okunnyonyola olukiiko lw'abalangira obuzaale bwe.

Haji Golooba yawakanyizza eky'okumugoba kubanga ettaka ly'amasiro gano eriweza yika 30 abadde alikuumye bulungi. Era ne mwanyina wa Ggolooba, Mariam Nabateregga, eyabadde mu lukiiko luno, yagambye nti kiba kikyamu okumugoba mu masiro gano gaakuumidde ebbanga eddene nga tebamuwaddeeyo kasiimo konna.


Retun To: | Main News Page | Buganda Home Page |