Agafa e Mmengo, 6 Museenene, 2000.
Ssaabasajja Yasisinkanye Abataka b'Obusolya
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II asisinkanye abataka b'obusolya mu Lubiri e Banda. Mu nsisinkano eno, abataka baalonze akakiiko kaabwe akafuzi akapya nga bakubirizibwa Kamalabyonna wa Buganda Mulwanyammuli Ssemwogerere nga ayambibwaako Ssabawolereza wa Buganda Owek. John Katende . Abaalondeddwa be bano:
Ssaabasajja yayozaayozezza abalonde era n'abalagira batandikirewo okukola emirimu gyabwe. Yasabye batandike na kukola nteekateeka za lukiiko, yye nga Ssabataka lwagenda okutuuza omwezi ogujja (Ntenvu).
Okulonda akakiiko akafuzi ak'olukiiko lw'abataka kwaddiridde Kamalabyonna, bweyabadde ayanjula abataka, okukakasa Kabaka ng'Omutaka Kayita Musoke Makaabugo bwe yasaba awummule emirimu gy'abadde akola okumala ebbanga nga ssentebe w'Abataka ba Buganda era ng'emirimu egyo agikoze bulungi. Katikkiro yategezeezza Kabaka nti Omutaka Kayita akoze omulimu munene nyo mu mbeera enzibu ennyo nga agezaako nga bwasobola okukulembera banne. "Yantuma okukusiima okumussaamu obwesige ate ng'akusaba awummuleko omulala akwaate ku nkasi."
Ssaabasajja yasiima Kayita awummule emirimu gy'obukulu bw'Abataka b'Obusolya era naamwebaza olw'emirimu gy'akoze mu kifo ekyo. Akoledde mu kiseera kizibu n'asobola okukwatirira Abakulu b'Ebika n'okutuusa obulungi ensonga zaabwe.
Abayima ba Kabaka Foundation Babadde mu Kuteesa
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda akubirizza olutuula lw'olukiiko lw'abayima b'ekibiina kya Kabaka Foundation, kyaliko nga sentebe. Kinajjukirwa nti mu mwezi gw'omunaana omwaka guno 2000, ab'ekibiina kya Ford Foundation beeyama okuwa Kabaka foundation obuyambi. Obuyambi buno bugenda kwongera mu kitongole ekyo amaanyi kikisobozese okukola ebintu ebiyinza okuvaamu ensimbi ez'okuddukanya emirimu gyakyo n'okuteeka ebyo ebiteekeddwa okukolebwa mu nkola.
Ssaabasajja yasisinkana Dr. Tady Ayna, Omumyuka w'akikiirira ekitongole kya Ford Foundation mu buvanjuba bwa Africa, nga abeera mu Nairobi. Dr. Ayna yannyonnyodde ebikwata ku buyambi ekitongole ky'akiikirira bwe kigenda okuwa Kabaka Foundation, enkozesa yaabwo n'engeri gye bunayamba. Yagambye nti obuyambi obwo bujja kukola kukunoonyereza amagezi aganayamba Kabaka Foundation okwekulaakulanya ate oluvanyuma lw'omwaka gumu, ebyo ebinaaba bizuuliddwa biteekebwe mu nkola, wateekebwewo n'enkolagana ey'enkalakkalira wakati wa Kabaka Foundation ne Ford Foundation. Dr. Ayna yasabye Kabaka n'abayima abalala okumukyalirako e Nairobi beetegereze ebibiina ebifaanana nga Kabaka Foundation engeri gye bitambuzaamu emirimu gyabyo.
Kabaka yasiimye nnyo Dr. Ayna olw'okwerekereza emirimu emingi egyali gimuleese mu Uganda n'abeerawo mu lutuula lwa Kabaka Foundation. Olutuula luno lwabadde mu Lubiri e Banda nga 30/10/2000 nga mu baabaddewo mwe muli Bishop Michael Ssenyimba, Dr. Rebecca Nyonyintono, Omw. Andrew Kasirye, Omw. Hope Mukasa n'akulira emirimu gy'ekitongole kya Kabaka Foundation Omw. Matiya Lubega.
Ebyo nga bikyali awo, Ssaabasajja yakyazizza abakulu abava ku bujjajaabwe e Mbalwa abaamwanjulidde Omusika wa Jjajaawe Omugenzi Ndiwulira. Omusika Twase Amos yayanjudde Omutaka Bisase Kituuka ng'ali ne bakulu banne bano abaami Bisaso William, Guyidde ne Lule n'abakyala Namwandu wa Ndiwulira, Nantongo Zawedde ne Nakabugo. Abakulu abo, muzzukulu waabwe baamutonedde amakula mangi ddala.
Olukiiko Lwateesezza ku Federo, Ettaka n'Amasiro
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere, attukizza buto ensonga za Federo gye yambye nti yasobozesa Buganda okufuna ebirungi bingi, naasaba abantu ba Buganda okunywerera ku nsonga eyo. Bwe yabadde ayogera mu Lukiiko lwa Buganda, olwatudde nga 6/11/2000, Katikkiro yagambye nti: "Enfuga eya Federo gye tusaba, kubanga tutunuulira gye tuvudde nga twakolanga eby'omugaso eby'okwekulaakulanya bingi, ebitakyasoboka kukolebwa mu nfuga eno eriwo kati; "Okuddinganwako, ssi kwagalana - essanja libabula endagala". Yakuutidde Abaganda okunywerera ku nsonga, naagamba nti "Bwekatarigirya ........".
Mu kiseera kino ensonga nnyingi eziri mu Konstitusoni ezaali zigambibwa nti teziyinza kukyusibwamu, ezijjuluddwa. Kino nno kitegeeza nti Konstitusoni kati esobola okunyenyezebwamu naffe aba Federo netwenyigawo.
Katikkiro yategeezezza nti, gyebuvuddeko, yasisinkana ne President Museveni n'amwanjulira obwennyamivu obuli mu bantu ba Buganda ku nsonga z'ettaka. Ku nsonga eyo, President Museveni yasaba Katikkiro wamu ne Gavumenti y'e Mmengo, bakole ekiwandiiko nga balaga enkola eyinza okugobererwa ku nsonga y'ettaka nga teriimu kyekubiira.
Kamalabyonna yannyonnyodde nti mu nkola eyaliwo edda, obusuulu n'envujjo byasasulwanga okusinziira ku nfuna y'omuntu na biki byakolera ku ttaka era ng'enkola eno yamatizanga bulungi bannanyini ttaka era n'ab'ebibanja. So ssi nga kati nannyini ttaka bwasasulwa Shs.1,000/- buli mwaka nga tebatunuulidde bunene bwa ttaka wadde ebikolerwako na wa gye liri.
Nga Katikkiro amaze okwanjulira President Enteekateeka Ey'Okukulaakulanya Buganda (Buganda Kingdom Development Strategy 2000 - 2010), President yagisanyukira nnyo era ne yeeyama okugiwagira, era n'asuubiza nti Gavumenti ejja kuwa Mmengo abukalu eri abagabi b'obuyambi abanaaba bakkirizza okuyamba mu kutuukiriza enteekateeka eno nga batuwola ensimbi, bwe kinaabanga kyetaagisizza okwewola. Katikkiro era yategeezezza nti enteekateeka eno bwenaaba ewedde, wajja kukolebwawo entegeka ey'okugabibwa eri bonna abaneetaba mu nteekateeka eno n'abawozi oba abayambi bamanye biki Buganda by'eyagala okukola, n'ensimbi ezeetaagisa. Buli mwaka wajja kuteekebwaawo Ensengeka okulaga buli kimu engeri gye kinaakolebwaamu.
Abakiise bonna baasembye eky'okunywerera ku Federo. Kino kyaddiridde Minista omubeezi ow'ebyenjigiriza mu gavumenti ya Ssaabasajja, Owek. Christopher Bwanika, okwanjula ekiteeso ekyokuddamu okusaba gavumenti eya wakati, okuwa Buganda Federo.
Omutaka Ndugwa Ssemakula yakalaatidde abo abayiiyiza Buganda Mmengo efuuke disitulikiti babiveeko bayiiye kya Federo kyokka kubanga disitulikiti gye basuubira okuwa Mmengo biswambazzi byennyini. "Tunywerere ku nsonga ya Federo, bwe bigaana leero tomanya bya nkya. Bwe tunakkiriza batuwe disitulikiti y'e Mmengo nga tutaddemu ebyaffe byonna, tuba twongedde gavumenti yawakati amaanyi okutufuga ku buwangwa bwaffe okusingawo. Mu konstitusoni obuyinza obusembayo mu nkola eya zi disitulikiti, buli wa Minista wa Gavumenti ez'ebitundu. Era y'abeera alina okusalawo ekisembayo ku nsonga za Mmengo nga efuuse disitulikiti ". Yagambye abeekwasa nti Buganda ejja kusoolooba singa enkola ya Federo ekkirizibwa, basaanye bekaanye nti n'enkola eriwo erina besooloobezza.
Omukungu Absolom Bwanika Bbaale, akiikirira Bulemeezi mu lukiiko lwa Buganda era nga ali ku kakiiko k'ettaka ku disitulikiti, yagambye nti etteeka ly'ettaka linyiga abantu bonna naddala baakikiirira olwensonga zino wammanga:-
Mu lukiiko lwe lumu, Owek. Peter Muliira, minisita wa Ssaabasajja ow'eby'Amakolero, Obusuubuzi n'Obulambuzi yayanjudde ensonga ez'okudaabiriza Amasiro we zituuse. Yagambye nti obukadde 100 bwe bwetaagisa okumaliriza omulimu gwonna naye nga kubwo 25 obunaakola omutendera ogusooka bumaze okufunika. Ab'ekitongole kya UNESCO n'akakiiko Katikkiro keyalonda okuddaabiriza Amasiro bakolaganira wamu nti era kati Amasiro gamaze okuteekebwa ku World Heritage List okulowoozebwaako okuweebwa obuyambi obw'okugakuumira ku mutindo gwaago n'okugaddaabirizanga. Abali ku kakiiko Katikkiro keyalonda okukola ku nsonga z'okuddaabiriza Amasiro be bano:
Owek. Muliira yategeezezza nti ab'ekitongole kya UNESCO baaweereza omukugu eyabasomesa engeri y'okukuuma ebifo eby'obuwangwa. Abazungu era b'akakasa nti Kasubi y'enyumba esinga okulaga obukujjukujju bw'omuddugavu ku lukalu lwa Africa. Ku nsonga y'Amasiro, Ssabalangira Kanaakulya yabasabye begendereze emiti, abantu n'obulombolombo ebyetaaga okukolebwa mu kuzimba enyumba ezo; bafune omwogezi anaategezanga Obuganda ekigenda mu maaso ku mirimu gy'okudaabiriza Amasiro; buli alina ensonga gy'amanyi ku bulombolombo bw'Amasiro agibuulire Katikkiro nga bukyaali.
Yye ow'Essaza Ssekiboobo ow'e Kyaggwe, David Ssekindi yasabye aba akakiiko akakola ku kuddaabiriza Amasiro, bekkaanye nnyo obuyambi obubaweebwa Abazungu anti "ssekawuka kaali kakulumye....". Bulijjo bagaba obuyambi nga batunuulidde muganyulo gwabwe.
Bweyabadde aggulawo olutuula luno, Omukubiriza w'Olukiiko Sheik Kkulumba yeebazizza nnyo Katikkiro ne gavumenti ye olw'okussanga mu nkola ebyo byonna ebiba biteeseddwa mu Lukiiko.
Ku lunaku lwe lumu, ow'Essaza Kasujju ow'e Busujju, Yusuf Wamala Gaganga lwe yalayiziddwa okufuuka omukiise omujjuvu ow'olukiiko lwa Buganda. Olukiiko lwetabidwaamu Mmeeya wa Kampala, Owek. Ssebaana Kizito, ba Minisita ba Ssaabasajja, Abataka b'Obusolya, abakungu ba Kabaka n'abantu abalala bangi.
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere atongozza kaweefube w'okumanyisa abantu ebika byaabwe "Know Your Clan" eteekeddwateekeddwa aba Uganda Wildlife Education Centre e Ntebe edda eyayitibwanga "Zoo". Buli kika ku bika bya Buganda 52, kijja kuweebwa wiiki nnamba okugenda okwetegereza omuziro gwakyo. Olwo essira liteekebwe ku muziro gw'ekika ekyo mu wiiki eyo.
"Obwakabaka bwa Buganda buwagira enkola eno. Emiziro Buganda kweyimiridde, ebika birina omulimu gwa maanyi mu bulamu bw'Omuganda, okuva mu kuzaalibwa, mu kufa, erinnya ly'atuumibwa, by'alya ne by'atalya, gw'awasa ne gwatawasa. Ebyo bye bitufuula kyetuli era ne bituyunga ku Ssaabasajja Kabaka," bwatyo Katikkiro bwe yannyonnyodde.
Yagambye nti emiziro mingi gya bisolo na binyonyi naye kati emiziro mingi tegikyalabika okugeza engonge n'olwekyo Obwakabaka bwaniriza nyo ekirowoozo kya UWEC eky'okutunoonyeza emiziro gyaffe. Kaweefube ono tasaanye kukoma ku miziro gya Buganda gyokka wabula asanye yeyongere ku bisolo n'ebinyonyi ebirala mu Uganda kubanga byonna bya mugaso.
Kamalabyonna yategeezezza nti kaweefube ono agenda kuggulibwawo Kabaka nga 3 Ntenvu 2000, era nga kw'olwo, olutambi lw'embaga ya Kabaka lwe lulitongozebwa. Lujja kulagibwa eri abantu era n'oyo anaaba alwetaaga ajja kulugula. Olutambi luno, lulimu okwogera kwa Ssaabasajja, okwa Nabagereka, Katikkiro ne Dr. Mulwana eyali omumyuka wa Ssentebe w'Akakiiko akaateekateeka embaga y'Omutanda. Ne Minisita wa Buganda ow'Eby'empuliziganya naye ajja kwogera. Omukolo gulibeera Ntebe mu kifo awakuumirwa ebisolo ekyayitibwanga "Zoo" kati ekiyitibwa UWEC.
Aba UWEC baakulembeddwa amyuka ssentebe w'abayima b'ekibiina ekyo, Omw. Yona Kanyomozi ne Executive Director w'ekibiina kino, Omuky. Beti Kamya. Abalala abaabaddewo be Bataka b'Obusolya ne ba Minisita ab'e Mmengo. Omukolo gwabadde mu Bulange, Mmengo nga 3/11/2000.
Buli kika ku bika bya Buganda 52, kijja kuweebwa wiiki nnamba okugenda okwetegereza omuziro gwakyo. Olwo essira liteekebwe ku muziro gw'ekika ekyo mu wiiki eyo.
Aba UYD Baayogeddeko ne Katikkiro ku Federo n'Ettaka.
Abavubuka abeegattira mu kibiina kya Uganda Young Democrats (UYD), baakiise embuga okuwa Kamalabyonna ebirowoozo byabwe ku ngeri y'okukulaakulanya Buganda. Nga bakulemberwa Dr. Bayiga Michael Lulume, omwogezi ow'okuntikko era nga ye mumyuuka wa Ssentebe wa DP mu Mukono disitulikiti, abavubuka baategeezezza nti ku nsonga ya Federo, abantu 65 ku buli kikumi mu Uganda be baasemba enkola eyo nga ssemateeka wa 1995 tannakolebwa wadde nga enkola eyo yagobwa awatali nsonga ematiza.
Baasabye Katikkiro asseewo akakiiko kanoonyereze era kabage ekiwandiiko ku ngeri Federo gy'enassibwa mu nkola mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu. Bbo beetegefu okwenyigira mu bukulembeze bw'eggwanga omwaka ogujja ne mu Palamenti mwe basuubira oyita okussa mu nkola enteekateeka abantu ze basinga okwettanira. Baagambye nti enkola ya Federo bannayuganda bangi bagiwagira n'okusinga bwegwali mu biseera biri kubanga bakirabye nti Gavumenti eyawakati eremeddwa okukola ku bintu ebisinga okubaluma; gamba ng'okuzimba amalwaliro, amasomero, okukola enguudo, eby'obulimi, kko n'okulwanyisa obwavu; sso ng'ate obubbi n'obulyake bususse mu bakungu ba Gavumenti ensangi zino.
Ku nsonga y'ettaka, Abavubuka baagambye nti etteeka lisaana kujjululwa, libagibwe buto, tutuuke ku kukkaanya okwannamaddala mu mwoyo gw'obwa Sseruganda. Ensonga eno yetooloolera ku kufuna bifo bingi mu Palamenti nga bifunibwa abasajja n'abazaana ba Kabaka abalina omutima gwa Buganda ne Uganda, okusobola okuzza embeera mu nteeko.
Beebazizza Katikkiro olw'obutapapira Caata gye baayise Ssemusota guli mu ntamu, kubanga omutima Caata mwe yaleetebwa tegwali mulungi nti era abalwanyisa Federo be baagireeta. Banyonyodde nti kyalisobose okukola ebbago ly'enkolagana wakati wa zi disitulikiti ne Mmengo, naye emiwaatwa mingi mu nnyingo za Caata mu Ssemateeka ne mu disitulikiti. Emiwaatwa gino abatayagala Federo mwe bayinza okuyita okutulwanyisa oba ffe okulwanagana ffekka na ffekka, kabe kasinge n'okusaanyawo Obwakabaka bwaffe. Ku nsonga za Mmengo Disitulikiti, Mmengo Munisipaali ne Kampala, Abavubuka baagambye nti birina we byegattira. Gavumenti eyawakati okugamba nti Kampala teri mu Buganda, okwo kuwemula kwennyini, bbo kwe balowooza nti ebirowoozo bya Mmengo disitulikiti oba munisipaali kwe biva.
Baasabye Katikkiro abatuusize okusiima kwabwe eri Ssaabasajja olw'okuzikiriza oluyiira olw'enjawukana mu ddiini olubadde luyindira mu Gavumenti ye. Baagambye nti ekisinga obukulu kwe kuba Omuganda; so ssi Mukatoliki, Mupolotesitante, Musiraamu oba Musodookisi. Tusooka kubeera Baganda ne tufuuka ekirala kyonna.
Katikkiro mu kubaanukula, yagambye nti Federo y'enkola eyinza okumalawo enjala, endwadde n'obwavu, ebikudde ejjembe mu nsangi zino olw'okwagala ssente n'obululu. Nazzikuno, ng'omwami wa Kabaka, teyeeguya bululu oba ssente era nga takkiriza mutuuze atalina kabuyonjo, mulimu mwajja ensimbi ezimuyimirizaawo, oba ennimiro mwajja emmere. "Federo tetugyeyagaliza ffekka, wabula Ggwanga lyonna. Buganda teyinza kuba mu mirembe nga abalala bali bubi. Tusaba tuddizibwe ebyaffe, omuli ne ssente kuba tuwa omusolo. Ndowooza twali twakuuma nnyo obuntubulamu, naye bulijjo bwe werwanako n'onywerera ku nsonga yo, otuuka ku buwanguzi". Katikkiro bwatyo bwe yagambye.
Yasiimye Abavubuka olw'okulwaniriranga ensonga za Buganda. Obumalirivu bwe balina okubeera abakulembeze, babukozese okuyingira ebitongole ebikuumaddembe byonna kubanga abatuddiza ebintu byaffe beebo era ababitujjako. Era betuba tusaba okubitukuumira?
Ku nsonga y'ettaka, Katikkiro yagambye nti sikyabwenkanya ow'ekibanja okusasula ow'ettaka siringi 1,000/= nga tafuddeeyo ku bunene bwa kibanja na biki ebikolerwa ku ttaka eryo. Yasuubizza okuteekawo akakiiko akanaakola ku nsonga ya Federo nga bbo aba UYD bwe baateesezza era naabasaba nabo bamuwe ku mannya g'abantu abasaanidde okubeera ku kakiiko ako.
Ensisinkano eno yabaddewo nga 7/11/2000 mu Bulange e Mmengo. Bbo abavubuka aba Uganda Young Movementists (UYM) Katikkiro ajja kubasisnkana nga 16/11/2000.
Baawaddeyo Mitwalo Okuyamba Okumaliriza Twekobe
Ab'enyumba ya Kaganda n'eya James Lutaaya e Bukasa bawaddeyo 500,000/= nga za kumaliriza Twekobe. Amakula gano Muky. Ruth Kavuma, omukulu w'essomero lya Gayaza High School ne Lt. Col. Andrew Lutaaya ku lw'abaana b'enju eyo be bagakwasizza Katikkiro gwe baasisinkanye mu ofiisi ye mu Bulange e Mmengo nga 6.11.2000.
Mukwogerakwe, Lt. Col. Lutaaya yagambye nti, "Obwakabaka ssi kintu kya kuzanyisa. Tewali yabutuwa buwi, twabulwanirira, ffe tulina okubuyimirizaawo so ssi kunoonyaamu bya nfuna. Singa buli muganda awaayo ekitono enyo siringi emu buli wiiki, kyandikoze kinene nyo okuwagira enteekateeka z'okukulaakulanya Obwakabaka"
Yasabye Katikkiro wabeewo enteekateeka abavubuka bakunganenga bayigirizibwe ki Kabaka kyali kibongere amaanyi mu kuwagira ensonga z'Obwakabaka.Yakuutidde Abaganda okwewala enjawukana gamba nga ez'ediini, ebibiina by'obufuzi wabula ne bwebaba nga basoowaganye beegattenga kulwa Kabaka.
Yye Muky. Kavuma nga kati aluubira okubeera omu ku bakiise mu lukiiko lw'eggwanga olukulu omwaka ogujja, yeeyamye okuweereza Obuganda mu kifo mwaali ng'asinziira e Ssese.