Agafa e Mmengo, 15 Ntenvu, 2000.
Ssabasajja Yagabudde Abavubuka
Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, yagabudde abavubuka ekijjulo makeke ku Twekobe mu Lubiri lwe e Mmengo ku lw'omukaaga nga 9/12/2000. Ekijjulo kino kyagendereddwa okwebaza abavubuka abakoledde Obuganda ebirungi omwaka guno n'okwongera okubazzaamu amaanyi okukola ennyo mu mwaka ogujja. Ekijjulo kino kyetabiddwaako abantu abaasobye mu 400, buli muntu yasasude 100,000/= okusobola okubaayo nga zino zigenda kuyamba Obwakabaka mu ngeri ezitali zimu.
Omu ku bateesiteesi b'omukolo guno, Omw. Michael Ssebalu yagambye nti ebijjulo by'ekika kino bijja kukolebwanga buli mwaka mu Buganda. Eby'okulya n'ebyokunywa byabadde bingi ddala era abantu abaabaddeyo baabadde basanyufu olw'okugabulwa obulungi. Aba Grand Imperial Hotel eya Karim Hirji bebaafumbye n'okuweereza abantu.
Ssabasajja ne Nnaabagereka baasanyusizza abagenyi baabwe bwe baasaze endongo nga baggulawo amazina.
Okuddaabiriza Amasiro g'e Kasubi
Ku lwokusatu nga 13 Ntenvu, 2000; Namasole Juliana Ndibalekera ow'e Kanyanya yatutte loole y'emiti egy'ensambya e Kasubi, olw'okuddaabiriza amasiro. Namasole okutwaala emiti gino, yabadde ayanukula okukubiriza kw'Owekitiibwa Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogeere kwe yakola nga 6 Ntenvu, 2000; lwe yaggulawo kaweefube w'okukung'anya ebinaakozesebwa mu kuddaabiriza Amasiro.
Ku lunaku lwe lumu, ne kampuni ekola ku by'okuzimba emanyiddwa nga Zzimwe Enterprises, yawaddeyo 300,000/= ku nsonga y'emu eyo. Bw'abadde awaayo ettu eryo ewa Kamalabyonna gwe yasisinkanye mu wofiisi ye mu Bulange e Mmengo, Omw. James Kyeyune ku lwa Mwami Kasagga Andrew akulira kampuni eyo ne ku lw'abakozi bonna, yategeezezza nti kampuni eyo neetegefu okuyamba mu buli nsonga yonna nti era abakozi bbo beeteefuteefu okukola buli mulimu ogunabaawo.
Katikkiro yeebazizza nnyo Namasole olw'okumwanukula amangu ate n'amaanyi amangi bwe gatyo. Era ne yeebaza nnyo n'aba Zzimwe Enterprises olw'obutalekereranga Bwakabaka mu buli nsonga yonna ebeera yeetaagisa okukolwaako. Yasabye n'abantu ba Buganda abalala batwale eky'okulabirako ekyo. Kamalabyonna yayongedde okukubiriza Obuganda okwongeramu amaanyi nga buleeta ebintu nga: essubi, ebinsambwe, emmuli, emiti, n'ebirala; olunaku olw'okutandikirako omulimu olwa 23/12/2000 lutuuke ng'ebikozesebwa byonna webiri.
Owekitiibwa Katikkiro yaggulawo kaweefube w'okutandika okuddaabiriza amasiro g'e Kasubi, ku musingi gwa Bulungi Bwansi nga 6/12/2000. Yakubiriza Obuganda okuleeta ebyetaagisa olw'okukola omulimu guno. Mu kaweefube ono, yateekawo olunaku lwa 23/12/2000, ng'omulimu ogwo ogw'okuddaabiriza amasiro lwe gulitandikibwa. Katikkiro yakubiriza Abakulu b'Ebika okukozesa akaseera kano ng'olwa 23/12/2000 terunnatuuka, okuwabula ku nsonga z'ebyobuwangwa n'ennono kubanga ku musingi guno, amasiro kwe gateekwa okuzimbirwa. Kamalabyonna era yakubiriza ab'Engeye okujja mu bungi e Kasubi kubanga be bakwatibwako ensonga y'okusereka nga bakulemberwa Wabulakayole.
Namasole wa Buganda, Zirimbuga, Namasole wa Ssekabaka Muteesa II, Namasole w'e Kagoma, Namasole w'e Masanafu, Ssabalangira John Kanakulya, Nalinnya Namikka ow'e Kasubi, abalangira n'abambejja, abataka abakulu b'obusolya, ab'amasaza, n'abakungu abalala bangi baaliyo. Bano wammanga baatandikirawo okudduukirira omulimu bwe bati:
Prof. Semakula Kiwanuka, Omubaka wa Yuganda mu Kibiina ky'Amawanga Amagatte yawaayo Shs.150,000/=
Hon. Edward Ssekandi, Deputy Speaker wa Yuganda Shs.250,000/=
Bulungi Bwansi, Ssabagabo Makindye Shs.50,000/=.
Omw. Sitenda Ssebalu, Omubaka wa Bulungi Bwansi mu Kyaddondo Shs.100.000/=.
Omw. Ddamulira , Omukubiriza wa Bulungi Bwansi e Nakisunga Shs.50,00/=.
Omw. David Lubega, Omumyuka wa Pokino atwala ekitundu ky'e Rakai, yawaayo embugo eza kimote 15.
Akulira Abanyarwanda n'Abalundi nga yava Ssingo naye yawaayo Shs.50,000/=.
Katikkiro yawerekerwaako ba Minisita, Owek. J.B. Walusimbi Omuwanika wa Buganda, Owek. Peter Mayiga, Owek. Tucker Lwanga n'Owek. Sewava Sserubiri owa Bulungi Bwansi. Omutaka Kayiira Kasibante, Minisita w'Ebyobuwangwa n'Ennono n'Owek. Kamala Kannamuwangi n'abakungu abalala bangi nabo baabaddeyo.
Abataka Basomesebwa Ebyobuwangwa
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere, akubirizza Abataka ab'Obusolya okusala amagezi okulaba nga okusoowagana mu bika kuggwaawo, Buganda esobole okuba n'omusingi gw'ebika omugumu okusimbibwa amakanda g'ebika bireme kulagaya; bwe butyo n'Obwakabaka obuviira ddala ku bika era kwe bweesigamye, bunyweerere ddala awatali kusagaasagana.
Katikkiro yabadde aggalawo omusomo gw'ebyobuwangwa ogwabadde mu Bulange e Mmengo, nga 5/12/2000. Omusomo gwetabidwaamu Abataka ab'Obusolya, ba Katikkiro b'Ebika, n'Abamasiga. Kamalabyonna yagambye nti bingi ebyetaagisa, ebitannaba kukolebwa mu bika. Buli kika kirina omulimu oba emirimu gye kikola ku Ssabataka era Kabaka waffe. Wabula mu kiseera kino olw'ebizibu bye tukyalina, okugeza nga embiri za Ssabasajja ezitali mu mbeera nungi, obulombolombo bungi omuli n'okuwaayo abasiige n'okubalabirira basobole okuweereza obulungi Bbaffe, tetunnaba kubutuukiriza.
Yategeezezza nti mu nkungaana nga ezo mwe muba okwejjukanya nti buli kika kirina ekitebe kyaakyo ekiyitibwa Ekiggwa/Obutaka. Ekiggwa kino nga buli kika we kiyima okulondoola bazzukulu bakyo era nga n'omutaka omukulu wayima okulamula ekika kye. Kisaaliza okulaba nga embuga zino ezimu zizise, nga n'endala zaatundibwa! Yeebazizza abo abataka abasobodde okukuuma embuga z'ebiggwa byabwe nga zikyaweesa ebika ebyo ekitiibwa. "Obuwangwa bwaffe bulina enkizo gye buleeta okukulaakulanya Buganda. Tulina okubuwagira mu ngeri ey'enjawulo. Sooka oyagale ewammwe gy'ova n'abantu abalala bajja kukutwala ng'oli wa kitalo ofune emirembe", bwatyo Katikkiro bwe yategeezezza.
Yanyonyodde nti bangi ku bajjajjaffe bakyaali bato n'abakulu abaliwo bangi ensonga baazeerabira ne tuba nga tusigazizzaawo abantu batono ddala abakyasobola okutulungamya n'okutereeza mu ebyo ebyasoba emyaka 30 Obwakabaka bwa Buganda gye bumaze nga tebuliiwo. Ebyasoba ebyo bireese okusoowagana mu bimu ku bika bya Buganda ekiwa ekifaananyi ekitali kirungi eri abazzukulu abakyaali abampi mu myaka. N'olwekyo emisomo egy'obuwangwa gisaanye gijjumbirwe okusobola okugolola ebyasoba, tulyoke tutambulire mu bwakabaka obugolokofu. Omusomo gwannyonnyodde ku bino: essabo, omusiige, ekiggwa, n'eby'ennono.
Essabo kye kifo kyonna abantu abamanyi Obutonzi mu ngeri yaabwe n'omugaso gwaabwo nabyonna ebibwetoolodde, mwe basinziira okusaba n'okuteeka ekitiibwa mu Mutonzi olw'ebyo byonna (Essinzizo). Amasabo amatuufu tegakolerwamu sadaaka za musaayi munda mugo wabula wabweeru waago, era sadaaka zino tezibeera za bantu wabula ebisolo n'ebinyonyi. Omukyala ali ebusoke tayingira.
Ekiggwa ky'ekyo ekitegekebwa abantu nga beeyambisa ebintu eby'enjawulo mu bye balina omubeera ebiramu n'ebitali biramu, ebisolo, ebimera n'ebinyonyi n'ebirala. Ekiggwa kitegekebwa abantu abawerako okuva mu nju, mu mpya okutuukira ddala mu bika byabwe nga ba luse lumu. Mu b'olulyo olwo, mubaamu omu akkirwaako amaanyi ag'enjawulo (empewo) n'avunaanyizibwa okutuukiriza byonna ebikwata ku kifo ekyo. Enkozeza y'Ekiggwa esinziira ku bwetaavu bwa bannanyinikyo. Basabiramu buli omu kyaba ayagala aba okwebalizaaamu ebibaweereddwa. Mukolerwaamu ebijjulo eby'enjawulo okusinziira ku babaka ba liisoddene bano: Mukasa, Kawumpuli, Ddungu, Kiwanuka oba Abalongo baffe kuba be babaka betuyisaamu okusaba kwaffe. Waliwo ebiggwa eby'enjawulo mu Buganda n'ensi yonna okutwalira awamu. Mu by'obuwangwa bwa buli kitundu, tusangamu ebintu eby'enjawulo gamba nga ensozi, enjazi, empuku, ebibira, emiti, emayinja n'ebirala.
Ennono y'enkuluze y'ebintu byonna mu buwangwa bwaffe. Ennono y'eyawula eggwanga erimu ku ddala. Era ab'eggwanga eryo mwe bafugira olulimi, empisa, n'obulombolombo. Wano mu Buganda omufuzi w'ebyennono ye Kabaka. Obuwangwa bwa Buganda butambulizibwa mu bika byaffe 52, ebifugibwa emiziro gyaffe nga bino bituyamba okwekuuma obulungi nga tukozesa ennono.
Omusiige kitegeeza omuntu gwe baawaayo olw'okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwandikoleddwa oyo amuwaayo okutuukiriza ebyetaagisa okukolebwa mu kiseera kyabyo, mu bulungi era mu mirembe eri gwe basiigira omuntu oyo. Obusiige bulimu engeri nga zino:
1. Obusiige obw'abazaana eri Kabaka mu lubiri oba mu mbiri za Bassekabaka.
2. Obusiige obw'emirimu mu Lubiri, mu bitongole ebitali bimu okuva mu buli kika.
3. Obusiige obw'okutabaala entalo.
4. Obusiige mu kugunjula mu mpisa, ez'ekikungu ne mu mirimu mu bisaakaate by'embuga, mu bigo bya bannaddiini, ne mu Lubiri.
Omutaka Kayita Musoke Makaabugo yasabye Abataka b'Obusolya bafube okulaba nga erinya ly'Omukulu w'Ekika libeera lirye yekka nga tewali muzzukulu akkirizibwa kulituuma.
Eky'omwana omuwala okusikira kitaawe kireme kuwagirwa kubanga bwaba ddala nga asise abaana abalala baasikidde baba tebasobola kumuyita Taata nga bwe kibeera singa omwana omulenzi y'abeera asikidde kitaawe.
Yannyonnyodde abaabadde babuuza enjawulo wakati w'ennono, obuwangwa, n'obulombolombo, nti ennono etwalira wamu obuwangwa n'obulombolombo. Obuwangwa z'empisa ezigobererwa ate obulombolombo g'emateeka agafuga empisa ezo mu kwetangira ebitali bituufu.
Yye Owek. Ssewava Sserubiri, yakuutidde Abaganda okwekenneenya empasa era batangire abaana okumala gawasa na gafumbirwa. Omwami n'omukyala bwe baba nga ba ggwanga limu kibayamba okutuukiriza amangu ennono zaabwe. "Bwe tukuuma obuwangwa bwaffe mu kuwasa ne mu kufumbirwa, tujja kwewonya okuyeekerwa mu byama byaffe naddala ebikwata ku ggwanga lyaffe. Oyinza otya okubeera mu makaago nga toyinza kwogera ku kifa ku bwakabaka?" Bwatyo Owek. Sserubiri bwe yategeezezza.
Obwakabaka bwa Buganda bwakuzizza olunaku lw'okwaaza emmere emala buli muntu (food for all) n'omulanga eri abantu ba Buganda okukubisa mu mmere gye babadde balima okusobola okulwanyisa obwavu n'okusitula omutindo gw'obulamu bwaabwe. Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula, eyakiikiridde Kamalabyonna ku mukolo ogwo, yagambye nti obwavu obukudde ejjembe mu Buganda ensangi zino buvudde ku butasolooza misolo n'ebbula ly'obutale bw'ebyo abalimi bye baba balimye. Yakkaatirizza nti enkola ya Federo ye yandiyinzizza okukulaakulanya embeera z'abantu n'eggwanga. Omukolo gwetabiddwaamu ab'ebibiina by'ensi yonna nga FAO, World Vision ne World Food Programme.
Ye "Deputy Country Director" owa World Food Programme (WFP), Key Noah Davies yagambye nti ekitongole ekyo kijja kugenda mu maaso okuyamba bannamwandu n'ebibiina by'abantu abali nga abo okukulaakulanya eby'obulimi. Yagambye nti WFP eyambye abantu abasoba mu 700,000 ababundabunda n'abanoonyi b'obubudamo mu Yuganda ne Rwanda.
Ate yye minisita w'obulimi obulunzi n'obuvubi mu gavumenti ya Ssabasajja, Owek. Lutaaya Mukomazi yakubirizza abalimi bulijjo okukozesanga ensigo ez'embala basobole okwongera obungi bw'ebirime byabwe bafuneko ejjamba n'emmere ebamala. Yatonye enkumbi, enso, n'obugaali eri abalimi abanywedde mu bannaabwe akendo. Omukolo gwabadde ku Ggombolola e Wakiso nga 30 Museenene 2000.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, akubirizza Obuganda okuwagira kaweefube w'okukuuma ebisolo, ebimera n'ebiwuka ebiriko enkwaso y'ebika bya Buganda. Ssabasajja ng'ali ne Nnaabagereka bwe yabadde atongoza kaweefube wa 'Manya Ekika Kyo' mu Yuganda Wild Life Education Centre (UWEC), Entebbe, yakubirizza abazadde okufuba okumanyisa abaana baabwe, amanya n'ebikulu ebikwata ku bika byabwe. Yakuutidde Abataka b'Obusolya okukwasiza awamu okuyamba abaana abateeyamba okufuna okuyigirizibwa okubeetaagisa basobole okufuna obulamu obweyagaza nga bannaabwe abalala.
Yye Kamalabyonna Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere yakkaatirizza nti okumanya emiziro gy'ebika bya Baganda kijja kutumbula kaweefube w'okukuuma obutonde bw'ensi.
Ssentebe wa UWEC Muky. Winnie Lawoko yategeezezza nti yye ne banne baasalawo kaweefube w'okukuuma ebitonde eby'omu nsiko n'obutonde bw'ensi okumwesigamya ku bika bya Buganda kubanga y'erina obukulembeze obulungi era obunyweevu.
Omw. John Kalanda ey'eddira Engabi ye yawangudde emitwaalo ataano (500,000/=) egyateekebwaawo aba UWEC mu kalulu akayitibwa "manya ekika kyo". Mu mpaka zino buli muntu ayagala, yali ateekeddwa okuwandiika ebigambo ebitasukka 20 nga awaana ekika kye.
Ku mukolo gwe gumu, olutambi olutongole olw'embaga ya Ssabasajja, lwe lwatongozeddwa. Omukolo gwetabiddwaamu abakiise mu lukiiko lw'eggwanga olukulu, Meeya w'ekibuga ky'Entebbe Owek. Steven Kabuye, ba minisita ba Ssabasajja, abalangira, abambejja, abataka, abakulembeze b'amadiini, n'abakungu ba Ssabasajja bangi.
Akabaga k'Abaana Abalina Obulemu.
Nnaabagereka yagabudde akabaga eri abaana abalina obulemu n'akuba n'omulanga eri abantu ba bulijjo, abagabi b'obuyambi n'abo ababaga amateeka eggwanga kwe litambulira, okutunula mu bizibu by'abaana abo. Nnaabagereka yagambye nti wadde nga waliwo enkola eya Bonna Basome, kitono nnyo ekikoleddwa okuyamba abaana bano balina obulemu.
"Abasomesa baabwe bakyaali batono ddala ate nga n'ebizimbe ebiriwo si byangu kuyingiramu na butebe bwe batambuliramu. Tukyalina olusozi lunene okukyuusa endowooza y'abazadde n'abantu ba bulijjo, bakimanye nti obuteesobola ssi butasobola", bwatyo Nnaabagereka bwe yategeezezza.
Yagambye nti ofiisi ye eggya kukolera wamu na bonna abeewaddeyo okwogerera obumu mu baana bonna nti era ku nsonga eyo, abaana abalina obulemu be banaasooka ku bigenda okuteesebwaako.
Yasiimye nnyo abaana abo olw'obubaka obwabadde mu buyimba n'abajjukiza okukozesanga buli kaseera ke baba bafunye ku ssomero okutumbula ebitone byaabwe. Nga akyuukidde abaana ba Buganda bonna, Nnaabagereka yabakuutidde okukozesa ekiseera kino eky'oluwummula n'okukungaana okwa Ssekukkulu kwe balimu, okuyiga n'okuvumbula eby'obugagga ebiri mu buwangwa bwaabwe, bayige okuva ku bakulu, olulimi n'obugagga obululimu, n'ebyafaayo by'Obwakabaka, olwo essanyu ery'okubeera ekyo kye bali liggya kubatuusa ku madaala aga waggulu.
Mukwogera kwe, Owek. J.C. Muyingo Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda, yagambye nti abaana kya bugagga kyennyini nga totunuulidde mbeera yaabwe ya bulijjo wadde obulemu obubaliko era nga bwe kityo beetaaga omukwano, okulabirirwa, okujjanjabwa n'okuyigirizibwa. Yagambye nti Buganda nga tennataagulwa, abaana bonna nga batwaalibwa kyenkanyi, abalina obulemu n'abatalina awatali kusosola. Okusosola, obutali bwenkanya n'okulagajjalira abaana abawala, abaavu n'abalina obulemu, ebyatandika nga Obwakabaka bugyiddwaawo bye bivuddeko obwaavu, obusiiwuufu bw'empisa, obuseegu n'obugweenyufu ebikudde ejjembe ensangi zino. Kino nno kye kivuddeko Ssabasajja ne Nnaabagereka wamu ne gavumenti y'e Mmengo okussa essira mu kusomesa abaana ba Buganda abatalina busobozi.
Owek. J.C. Muyingo, yayongedde n'ategeeza nti emyaka etaano egijja ekitongole ky'akulembera essira kigenda kulissa ku kusomesa baana abalina obulemu. Yennyamidde nnyo olw'omuwendo gw'abaana abo ogugenda nga gweyongera buli lukya. Yagambye nti ekiruubirirwa mu kusomesa abaana abo kwe kubafuula ab'omugaso mu ggwanga nga era abaana abalala bwe bali. N'olwekyo ekitongole kye kigenda kusooka na kwogerera baana bano baleme kusosolwa kubanga nabo bammemba abajjuvu wonna we baba bali. Yasabye enkolagana ey'awamu n'ebitongole ebikola ku nsonga z'abaana abo abalina obulemu.
Omukolo guno ogwabadde mu Didi's Amusement park e Kansanga, nga 6/12/2000, gwabaddeko Nnaabagereka okugabira abaana abo ebirabo n'okubagabula keeki. Ba minisita n'abakungu b'e Mmengo ne mu gavumenti eya wakati beetabye ku mukolo guno. Abaana abakunuukiriza 100 okuva mu Kampala n'emiraano baabaddewo.
Okukyaala kwa President wa Rockefeller Foundation
President wa Rockefeller Foundation, ekirina ekitebe kyaakyo mu New York, Omw. Gordon Conway, asisinkanye Kamalabyonna wa Buganda ne Nnaabagereka n'abanjulira enteeketeeka, ekibiina ky'akulembera, ze kirina mu kukulaakulanya Buganda ne Yuganda okutwalira awamu. Mu nsisinkano eno eyabadde yeetabiddwaamu ne ba Minisita ba Ssabasajja abawerako, mwabaddemu okukubaganga ebirowoozo ku mirimu egy'okwekulaakulanya egiyinza okutandikibwa mu Buganda.
Omw. Conway nga guno gwe mulundi gwe ogw'okubiri okukyaala mu Yuganda, yategeezezza nti Rockefeller Foundation kyatandikibwa olw'okutumbula embeera z'omuntu nga tekikoma ku kuwa buwi sente wabula kigenda mu maaso ne kitunuulira kko n'okuwagira abantu abeeyamba okweyimirizaawo okufuna obulamu obweyagaza. Yagambye nti ekibiina kikkiririza mu kuwa amagezi nti kubanga omuntu bwaba ayagala okukola enkyuukakyuuka yonna mu nsi alina kumala kumanya biki ebikola n'ebitakola na ngeri ki ey'okubikozesaamu. Essira n'olwekyo lisimbiddwa ku by'enjigiriza, okwemalirira mu by'emmere, nga mu kino bagenda kufuba okutumbula omutindo gw'ettaka; okutumbula eby'obulamu n'okugema endwadde, "working Communities", "Creativity and Culture."
Mw. Conway yagambye nti ekibiina kati kiri mu kaweefube ow'okufuna eddagala erigema akawuka ka siriimu n'eryo erigema omusujja malaria ze yayise endwadde ezikyasinze okumalawo abantu naddala ku lukalu lwa Afirika. Yasiimye nnyo engeri Buganda ne Yuganda gy'evuddeyo ku nsonga za siriimu n'agamba nti okwogera akaati ye nsonga lwaki kati omuwendo gw'abakwatibwa obulwadde obwo mu Yuganda gugenda gukendeera.
Kamalabyonna yategeezeza abagenyi be nti Obwakabaka bulina entegeka ez'okutumbula eby'enjigiriza ebireetera abayizi amagezi ag'okwetandikirawo emirimu. Yabayitiddeyitiddemu mu bufunze ku biwata ku Bwakabaka, bwe bwaalinga edda, we buyimiridde, obukulu bwabwo eri Omuganda, ebitegekeddwa okukola n'ebikoleddwa okutumbula embeera z'abantu ba Buganda ne Yuganda okutwalira awamu.
Nnaabagereka yasiimye nnyo Rockefeller Foundation olw'okudduukirira Nnaabagereka Development Trust Fund ekyatandikibwaawo olw'enkulaakulana nga kikwasizaako Ssabasajja ne Gavumenti ye. Ekibiina kino kyetoloolera ku nnono n'obuwangwa bwa Buganda. Yategeezezza nti ebimu ku bigendererwa by'ekibiinakye, mwe muli okusitula omutindo gw'eby'enjigiriza, okwetonderawo emirimu, okukulaakulanya abakyala, okukuuma obutonde bw'ensi, obulimi n'obuluzi, n'okwegobako enjala.
Dr. Gordon Conway yawerekeddwako mukyala we Susan Conway, Joyce Moock ne Cheikh Mbacle director mu Afirika owa Rockefeller foundation. Baakulembeddwa Dr. Musinguzi Jotham. Ba Minisita ba Ssabasajja bangi baabaddewo okwaniriza abagenyi abo.
Abavubuka Ba Nkobazambogo Okusisinkana Katikkiro
Abayizi Abaganda mu Makerere University abeegattira mu kibiina ekya 'Abaana ba Kintu Nkobazambogo Students Association' baakiise embuga okuleeta ekikopo kye baawangula mu mpaka z'ebyobuwangwa. Baasabye Katikkiro ayongere okukunga abantu ba Buganda okulwanirira Federo, ettaka n'okumanya ekifo kya Kabaka mu Buganda ne Yuganda yonna. Empaka zino ezibeerawo buli mwaka, nga guno gwe mulundi ogw'okusatu, ziyitibwa Millenium Cultural Galla 2000, zaategekeddwa ekitongole ky'ebyobuwangwa mu Makerere. Baavuganyizza mu mazina, katemba, okuyimba, ebitontome, okufumba emmere n'okwolesa ennono. Empaka z'atandikibwa aba Nkobazambogo benyini oluvanyuma ne zeetabwamu abayizi bonna mu University. Aba Nkobazambogo baawangudde n'obubonero 460, so nga ate abaabadde n'ekikopo kino Abacholi baakutte kya kubiriri n'obubonero 390, Bunyororo Kitara 386.
Nga bakulemberwa Ssentebe w'ekibiina ekyo mu Makerere University Omw. Medat Sseggona Lubega, baategeezezza Katikkiro, nti bawagira Buganda ku nsonga z'ettaka wabula ne basaba ba nnyini ttaka obutagobaganya basenze. Beebazizza Katikkiro olw'okunywerera ku Federo, olw'okubawa obuyambi ne basaba obuyambi ng'obwo bweyongere basobole okuwangula ekikopo ekyo buli mwaka. Beebazizza nnyo ekitongole ky'obwa Ssenga ekikoze eddimu eddene mu kuyigiriza abawala empisa ez'obuntubulamu, ennono n'obuwangwa. Abavubuka era baategeezezza nti bateekateeka okugenda e Kasubi bateekeyo olumuli.
Mukuddamu, Owek. Katikkiro yabeebazizza olw'obuteemotya, obuvumu n'okumalirira, obutakwatirwa Buganda nsonyi n'abakuutira beewale okweweebuula, bagende n'omulembe naye baleme kukkiriza kutwalibwa mulembe. Yabasiimye nnyo olw'obuteerabira gye basibuka. Yabakubirizza okuyingira mu by'obufuzi, babiwangule babifuge ate bakuume eby'obuwangwa byabwe.
Yye Minisita w'Abavubuka mu gavumenti ya Ssabasajja, Owek. Charles Peter Mayiga, yayozaayozezza bannakibiina olw'okutuuka ku buwanguzi obwo. Yanyonyodde nti abantu bangi bwe baba bakuba ekifaananyi ky'Omuganda balaba mussajja mukadde nga talina ngatto nga n'ekkanzu eyulise. Kizzaamu amaanyi okuba nti kati abavubuka abayivu beenyigira butereevu mu nsonga za Buganda. Yeebazizza Katikkiro olw'okuwagira ensonga z'abavubuka wonna we bali. Yategeezezza nti waliwo ebivvulu ebitegekebwa nga bya buwangwa (Inter Institutional Cultural Festivals) era nga bisuubirwa okwetabwaamu abavubuka wonna mu Buganda okuva mu matendekero gonna agalimu ebibiina bya "Abaana ba Kintu Nkobazambogo". Amatendekero gajja kwegatta gakole omwoleso omuli okuyimba, okuzanya emizanyo, ebitontome, amazina n'emirimu egikolebwa Abaganda. Gusuubirwa kubeera Kisubi Technical mu mwezi ogw'okusatu omwaka ogujja 2001.
Ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo nga 22/11/2000. Katikkiro okubasisinkana yabadde ne ba Minisita ba Ssabasajja abeebitiibwa: Kamala Kannamwangi, minisita owa Gavumenti ez'ebitundu, Charles Peter Mayiga, minisita w'abavubuka n'ensonga za Cabinet, John Katende, omuwi w'amagezi w'Obwakabaka, Kabuuza Mukasa, minisita omuto ow'abavubuka, n'Omutaka Kayiira Gajuule minisita w'ebyobuwangwa.
Ebyo nga bikyali bityo, Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere, yasisinkanye abavubuka abeegattira mu kibiina ekya Uganda Young Movementists (UYM) bwe baabadde baleese obweyamo bwabwe okuwagira emirimu gy'Obwakabaka nga bagula Cerfiticates. Nga bakulemberwa Omw. Nyombi Ttembo, Ssentebe wa Muvumenti mu Kampala District, abavubuka beeyamye okukunga abantu ku nsonga za Buganda nga batandika na kugula Cerfiticates. Baaguze eziweza shs. 355,000. Nyombi Tembo yasiimye Buganda olw'okukwatirako Muvumenti mu byonna by'eyiseemu okutuuka w'eri kati.
Yye Sentebe wa UYM, Mw. Matovu Lawrence, yaweze ku lwabanne nti bajja kukolerera Buganda era bajja kugirwanirira. "Tetujja kukkiriza beenoonyeza byabwe kusinziira mu Buganda kutabula mirembe gyaffe" bwatyo bwe yategeezezza.
Yye Omw. Katenda Luutu, yagambye nti mu muvumenti y'asomesa ebikwata ku Ssabasajja nti era bonna bali mabega wa Kabaka.
Katikkiro yabasiimye nnyo olw'omutima ogwo n'abajjukiza nti bonna ba ddembe okwegazaanyiza mu Buganda. "Tetulina kusosola mu ddiini, mawanga, byabufuzi kasita oli akulembeza Kabaka n'okukuza Buganda".
Nnaabagereka wa Buganda akubirizza abazadde okwewa ekitiibwa nga bali mu baana baabwe kiwe eky'okulabirako abaana bakule nga bantubalamu, eggwanga lwe linasobola okutangira obuseegu obuli mu mpisa z'abaana ensangi zino. Bino byayogeddwa Owek. Christopher Bwanika, Minisita wa Ssabasajja owa state ow'ebyenjigiriza, eyatutte obubaka bwa Nnaabagereka ku mukolo ogw'okutongoza ekizimbe ekyabbuddwaamu Christian Aliddeki. Omukolo gwabadde ku Kireka SDA Primary School Nga 19/11/2000. Yagambye nti abazadde bakoze kinene okusiiwuula empisa z'abaana "anti Nyonyinto...". Yabasabye bayigirize abaana abawala nga bwe bayigiriza abalenzi eggwanga lisobole okugenda mu maaso n'okukulaakulana.
Yye Nalongo Luutu yavumiridde nnyo abazadde abalekera abasomesa obuvunaanyizibwa obw'okusomesa abaana buli kimu omuli n'empisa ez'obuntubulamu n'agamba nti abasomesa tebalina budde bumala kusomesa baana magezi ga mu mutwe na mpisa. Yakubirizza abazadde okukwasizanga awamu n'abasomesa okugunjula abaana ba Buganda.
Omukulu w'essomero eryo yategeezezza nti essomero liteekateeka okuzimba kalina okunabeera wofiisi, ebibiina, "Laboratory", n'etterekero ly'ebitabo. Yannyonnyodde nti kati abaana 4 basomera bwereere bali ku mwoyo gwa Kabaka's Education Fund. Ekizimbe ekyatongozeddwa kigenda kusulwangamu basomesa.
Ebyo nga biri bityo, abakyala b'eggombolola y'e Lubaga batongozza olusuku lwa Nnaabagereka nga lwe lugenda okukozesebwa okuyigiriza abakyala ennima ey'omulembe n'enkozesa y'ebigimusa ebya nakivundira mu nimiro zaabwe. Olusuku lwasimbibwa awaalinga eggombolola y'e Lubaga. Avunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu mu Kampala City Council, Omuky. Winnie Makumbi yagambye nti kino kikoleddwa mu kaweefube w'okulwanyisa obwaavu mu bakyala n'okuddamu okusimba ensuku nga bwe kali akalombolombo ka Buganda. Yakubirizza abakyala okulunda ente basobole okwongera ku nfuna yaabwe ate nga bwe bazifunamu n'ebigimusa.
Abakyala okuva mu miruka 13 mu Lubaga omuli abakiise n'abakulembeze ba Bulungi Bwansi baabaddewo. Abakyala bajja kuyigirizibwanga buli lwa mukaaga nga bayigira mu lusuku olwo lwennyini. Omukolo gwabaddewo nga 25/11/2000.
Omutaka Kayiira Gajuule, minisita w'ebyobuwangwa mu gavumentin ya Ssabasajja akubirizza abavubuka obutanyooma mirimu, bettanire nnyo okuvumbula ebipya n'okwetandikirawo emirimu tusobole okuwona okubeera abaddu. Yabakuutidde okukola ebyo ennyo nga baakafuluma amatendekero nga bakyayokya ebinaabagasa mu biseera eby'omumaaso "entamu ewulira muliro mubereberye......" ebya kati byebisalawo ebijja. Omutaka yabadde ayogera ku mukolo ogw'Ekyooto ogwabadde e Kakeeka ku ssomero lya Buganda Royal Institute nga gwategekeddwa abavubuka Abaganda abeegattira mu kibiina ekya Baganda Nkobazambogo.
Nazzi kuno, nga ku Kyooto abato kwe bayigira okuva eri abakulu ebikulu ebikwata ku ggwanga lyabwe omuli olulimi, empisa ez'obuntubulamu, ennono obulombolombo n'obuwangwa. Ne kumulundi guno, bwe kityo abavubuka bejjukanya eby'edda ebyafuula Buganda ey'ettutumu n'ebiriwo kati, omugaso gw'omuvubuka mu Buganda ey'enkya, obulamu bw'omuvubuka ensangi zino, n'ensonga za Ssenga. Omutaka yabakuutidde obutatiiririra Kabaka na ggwanga lyaabwe.
Amatendekero ageetabye mu mukolo guno mwe muli, Nkumba, Makerere, Masaka, Nakawa, Kyambogo, Bukalasa n'amalala.
Ekitongole ky'Obulimi mu gavumenti ya Ssabasajja, kyakommekkerezza omusomo ogw'okubangula abantu mu kusitula omutindo gw'ennima y'ebitooke ogwabadde e Mugulu mu ggombolola ya Ssekanyonyi gye buvudeko. Omutaka Kayiira ye yakiikiridde Minisita avunaanyizibwa ku bulimi obulunzi n'obuvubi, Owek. Lutaaya Mukomazi, yakubirizza abantu okwerabira enjawukana zaabwe wabula bettanire okwekulaakulanya. Yalaze obwennyamivu olw'abatuuze abamu abaagaanyi okwetaba mu musomo nga beekwasa amawanga n'endowooza zaabwe mu by'obufuzi.
Omutaka yagambye nti Kabaka bonna abantu be abatwaala kyenkanyi awatali kusosola mu ddiini, ndowooza za bufuzi yadde amawanga. Yabajjukizza nti omusomo bonna gubakwatirako wamu n'abasaba okujjumbira emisomo egy'ekikula ekyo n'emirimu gy'Obwakabaka anti Obwakabaka buliwo kukulaakulanya bantu ba Buganda bonna okutwalira awamu. "Kabaka talina ssente zayinza kuwa bantube bonna okusobola okubaggya mu bwavu wabula abawadde emisomo bafune amagezi ge baneeyambisa okwekulaakulanya bave mu bwaavu", bwatyo Omutaka bwe yategeezezza.
Omusomo gwategekeddwa ekitongole ky'obulimi mu Bwakabaka bwa Buganda. Abasomesa abaakulembeddwa Mw. David Mukasa, baavudde Namulonge. Baayigirizza abatuuze:- Endwadde ezirumba ebitooke, ensimba yaabyo n'endabirira. Omusomo gw'amaze ennaku 2.
Mw. Kasibante ku lw'abatuuze banne, yasiimye nnyo Obwakabaka bwa Buganda naddala ekitongole ky'eby'obulimi olw'okutegeka emisomo egy'okubabangula mu ngeri ezitali zimu. Yasabye wabeewo amagezi agasalibwa ku nsonga ya muwogo n'emmwaanyi ebiwemmenteddwa obuwuka.
Ebyo nga biri bityo, Omutaka Kayiira akubirizza abantu bonna abali mu biggwa okwongera okukuuma ebifo ebyo bireme kwonoonebwa bannakigwanyizi. Nga ali mu wofiisi ye mu Bulange e Mmengo, Omutaka yalabudde abantu abakolera emikolo gyaabwe emikyaamu mu bifo by'obuwangwa bakikomye mbagirawo, okugeza nga okusadaaka ebisolo n'okuggya ku bantu sente nti babalagula. Yasabye Abaganda bakolagane okunyweza obumu nga bayita mu by'obuwangwa n'ennono olwo lwe banaasobola okwewala abeeyingiza mu buwangwa bwa Buganda okubwonoona. Yategeezeza nti waliwo enteekateeka okunyweza obukuumi ku mbuga ezo.
Ekitongole ky'ebyebyenjigiriza mu gavumenti ya Ssabasajja kigabye ebyuuma bi kalimagezi (kompyuta) 22 mu masomero 19 agali mu Buganda. Omw. John Biraze Bugembe, 'commissioner' w'ebyenjigiriza yategeezezza nti ebyuuma bino byaweereddwa amasomero agawagidde ennyo nga gawaayo sikaala mu nsawo ya Ssabasajja ey'ebyenjigiriza (Kabaka's Education Fund -KEF).
Yagambye nti ebyuuma ebyo Austria ye yabiwa ekitongole ekyo. Ekitongole kye kimu kisuubira okukungaanya siringi obukadde 14, mu bitabo 50,000 ebiwandiikibwaamu by'ekikubye, olwokwongera ejjamba mu KEF.