March - April 4th 2002
1.
Ssabasajja
Akeendeezezza Omuwendo Gwa Ba Minisita Be
2.
Ssabasajja
Yeetaba Mu Mukolo Gw’okutukuza Omusumba wa Mityana Diocese
3.
Akakiiko
Ka Ssabasajja Ak’ekiseera Ak’eby’ensimbi
4.
Prof.
Lule Nsereko Omubaka Wa Ssabasajja Mu Kenya Akyalira Katikkiro
5.
Katikkiro
Mulwanyammuli Yagguddewo Omwoleso Gw’ebifaananyi
6.
Ab’ekibiina
Kya Nkoba Za Mbogo Mu Mbale Islamic University
7.
Bishop
Yokana Mukasa Eyawummula Aweza Emyaka 60 Mu Bufumbo Obutukuvu
8.
Aba
Covic Bakiika Ewa Katikkiro
9.
Bassentebe
Beeyanjulira Katikkiro Wa Buganda
10. Ssentebe Omuggya Owa Mpigi District Ayanjulibwa
Ewa Kamalabyonna
11. Okufa Kwa Jjajja Wa Ssabasajja
Ssabasajja Akeendeezezza Omuwendo Gwa Ba Minisita Be
Ku
Lw’okusooka nga 25/04/2002, Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere yalangiririra
nga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwakendeezezza ku muwendo gwa ba
Minisita be. Akyusizzakyusizza abamu, nawummuza abalala ate naalonda n’abapya.
Ba Minisita abatuula mu Cabinet bavudde ku 22 nebafuuka 13 ate abatatuula mu
Cabinet bavudde ku 23 nebafuuka 8.
Bano
be ba Minisita Ssabasajja beyasiimye okuweereza mu Gavumenti ye:
Cabinet List Okuva Nga 25/03/2002
A. Katikkiro Wa Buganda
1.
Kamalayabyonna, Katikkiro Wa Buganda Era Ssentebe W’akakiiko Akafuzi Owek. J.G.
Mulwanyammuli Ssemwogerere
2.
Omumyuka Wa Katikkiro Era Minisita W’ettaka N’ebizimbe Bya Gavumenti Owek.
Godfrey Kaaya Kavuma
B. Abakubiriza Olukiiko
3.
Sipiika Owek. Haji M. Semakalu
4.
Omumyuka Wa Sipiika (Ajja Kulangirirwa Luvannyuma)
C. Ba Minisita Abatuula Mu Cabinet (13)
5.
Omulamuzi Era Minisita W’amateeka (Attorney General), Okuwa Amagezi N’okwerinda
Ebiri Mu Maaso. Owek. John W. Katende
6.
Omuwanika Era Minisita W’eby’enkulaakulana Mu By’ensimbi (Economic Planning) N’okuddaabiriza
Embiri. Owek. Eng. J.B. Walusimbi
7.
Minisita W’ensonga Z’olukiiko, Eza Cabinet N’eby’abavubuka Era Ajja Okugira
Ng’akola Nga Minisita W’eby’amawulire Owek. Charles Peter Mayiga
8.
Minisita W’eby’enjigiriza, Emizannyo, N’okukunga Abantu Owek. John C. Muyingo
9.
Minisita W’ensonga Z’ebweru N’emikolo (Protocol) Owek. Peter Mulira
10.
Minisita W’ey’obulimi, Obulunzi Obuvubi, N’obutonede Bw’ensi Owek. Dr. Samuel
Lukulwase Nsamba
11.
Minisita W’amakolero, Obusuubuzi N’eby’obw’egassi Owek. Haji Kaddu Kiberu
12.
Minisita Wa Heritage, Amasiro, Lemirimu, Ebya Tekinologiya N’obulambuzi Owek.
Eng. Herbert H. Kibuuka
13.
Minisita W’eby’obulamu Owek. Nelson Kawalya
14.
Minisita W’eby’amazzi, Amawannyalaze, N’obugagga Bw’ensi Owek. Dr. Hajati
Maimuna Nalubega
15.
Minisita Ow’okukulaakulanya N’okutema Empenda Ezireeta Ensimbi Mu Nkuluze Owek.
Apollo Makubuya
16.
Minisita W’ensonga Z’abakyala, Okwekulaakulanya Ne Bulungi Bwansi Owek.
Apolonia Lugemwa
17.
Minisita W’ensonga Z’ebitundu Owek. Arthur Bagumywa.
D. Ba Minisita Ababeezi (Ministers Of State) (8)
18.
Minisita Omubeezi Ow’eby’ensimbi Owek. Jaji Twaha Kaawaase
19.
Minisita Omubeezi Ow’eby’emizannyo Owek. Herbert Ssemakula
20.
Minisita Omubeezi Ow’abakyala Owek. Florence Bagunywa Nkalubo
21.
Minisita Omubeezi Ow’emikolo Owek. Teopista Lubega
22.
Minisita Omubeezi Ow’eby’obuwangwa Owek. Phoebe Mukasa
23.
Minisita Omubeezi Ow’okulanya N’okulambula Kwa Ssabasajja. Owek. Haji Mustafa
Mutyaba
24.
Minisita Omubeezi Ow’eby’amateeka Owek. Christopher Bwanika
25.
Minisita Omubeezi Ow’eby’abavubuka Owek. Kabuuza Mukasa.
Baminisita
abaggya, abatabadde mu Lukiiko, okulondebwa kwabwe kuno kubafuula Abakiise
abajjuvu mu Lukiiko Olukulu olwa Buganda.
Era
Ssabasajja yasiimye bano wammanga abaawummuziddwa bongere okubeera ba Memba
b’Olukiiko:
(a)
Sheik Ali Kulumba (b) Omutaka Ndugwa Grace Semakula Ndugwa (c) Owek. Prof.
Josephine Nambooze Kiggundu (d) Owek. David Semugabi Bakyayita (e) Owek.
Victoria Serunjogi.
Ssabasajja
yasiimye nti Abataka Abakulu b’Obusolya tebaalondebwenga kuba Baminisita.
Ssabasajja
yasiimye basajjabe n’abazaana be olw’obuweereza bwabwe obw’obwannakyewa. Era
yabagambye nti newankubadde nga bawummudde, asuubira nti bwanaabayita
okuweereza nate Eggwanga lyabwe mu ngeri ng’eno oba endala yonna bajja kuba beetegefu
okuliweereza nga bwebabadde bakola.
Owekitiibwa
Katikkiro amaze okuwandiikira ba Minisita amabaluwa agabalonda ku buweereza.
Abayozaayozezza olw’okulondebwa era abayise ku Lwokuna nga 4 April 2002, awamu
naabo abaawumuziddwa, ku mukolo ogubasiibula era n’okwanjula ba Minisita abagya
awamu n’enteekateeka eyakoleddwa,
Owekitiibwa
Katikkiro naye,yeebazizza nnyo abasajja n’abazaana ba Kabaka abawumudde emirimu
gya Ssabasajja olw’obuweereza bwaabwe obw’ettendo bwebakoze mu ngeri
ey’obwannakyewa ate mu buzibu obungi, nebasobola okutuusa Obwakabaka bwaffe
wano webutuuse nga butandise n’okutwesiimisa.
Ku
kabaga akaategekeddwa okusiibula Baminisita bano, ku Lwokuna nga 4th April
2002, Katikkiro yategeezezza nti Baminisita bano tebaagobeddwa bugobwa. Nti mu kusooka
Baminisita baalina okuba abangi kubanga tewaali ba masaza, tewaali ba
magombolola, tewaali ba miruka etc. Naye kati ng’obwami obw’engeri eno weebuli,
Ssabasajja yasiimye amagezi agaamuweebwa okukeendeeza ku Cabinet ye era
n’obutawa Bataka bwa Minisita..
Wabula
Katikkiro yagambye nti Baminisita abawummudde basaana okwebazibwa ennyo kubanga
e Mengo tebaasangayo kantu. Naye kati buli muntu amanyi nti e Mengo eriyo
Gavumenti era ng’ekola nnyo. Yayongeddeko nti Ssabasajja ajja kwongera okusaba
basajja be n’abazaana be bano okuweereza Obuganda mu ngeri endala nga
bwekinaaba kyetaagisizza.
Kamalabyonna
yagenze mu maaso naagamba nti Mengo ejja kuba nzigule eri abo abandyagadde
okuweereza Kabaka waabwe. Yasabaye Baminisita abapya beebuuze nga ku bano
abawummudde kubanga bamanyi bingi.
Katikkiro
yassambazze ebyalabikidde mu mpapula z’amawulire nti Baminisita abaawumudde,
baagenze n’ebintu by’Obwakabaka ebyababadde mu ofiisi zaabwe. Yagambye nti
tetusaanye kukonjera bannaffe bintu bitali bituufu. Kya kabi nnyo okuweebuula
abo abakoze ebirungi ebingi ffenna byetulabyeko. Bwetukola tutyo kituswaza era
tuba twezza ffekka emabega.
Ssabasajja Yeetaba Mu Mukolo Gw’okutukuza Omusumba Zziwa Joseph
Owa Mityana Diocese
Ku
Lwomukaaga nga 16 March, 2002, Ssabasajja Kabaka yeetaaba mu mukolo
ogw’okutukuza Omusumba Omubeezi owa Kiyinda Mityana Diocese, Zziwa Joseph
Anthony. Ssabasajja yawerekerwako Owekitiibwa Katikkiro Mulwanyammuli
Ssemwogerere.
Abaategeka
omukolo ogwo ogwali ogw’ekitiibwa ennyo, baayaniriza era nebeebaza Kabaka
okusiima okugwetabamu era n’olw’okwogerako gyebali n’eri Obuganda.
Akakiiko Ka Ssabasajja Ak’ekiseera Ak’eby’ensimbi
Nga
January 28, 2002, Ssabasajja yasiimye okuteekawo Akakiiko akeetongodde
ak’ekiseera okulabirira ennyingiza n’ensaasaanya y’ensimbi z’Obwakabaka bwa
Buganda.
Ba
Memba abaalondeddwa ku Kakiiko kano be bano:
Omw. A.B.K. Ntate Ssentebe Omw. E.L.
Sendawula Mmemba Omuky. Eva Mukasa Mmemba.
Gyebuvuddeko
Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere yasisinkana abakungu bano bonsatule mu
ofiisi ye mu Bulange; era kuno kwe kwogera kwe gyebali:
“Okussaawo
Akakiiko si kibi, kubanga ebyagendererwa bisuubirwa okugasa Obuganda. Bwewaba
nga waaliwo ebitaagenda bulungi, ng’Akakiiko kano kassibwawo, ebyo bireme
kutuziba maaso na kutugaana kulaba birungi ebiyinza okuva mu Kakiiko kano.
Olw’ensonga
eyo, njagala okubakakasa nti nze, ne bannange bonna benkola nabo mu Gavumenti
ya Ssabasajja, tuli beetegefu okukolagana n’Akakiiko nga bwemunaabanga
mutusabye. Ofiisi ya Katikkiro, nzigule gyemuli, era mugende mutandikirewo
emirimu egyabaweebwa.”
Abakungu
n’Omuzaana abali ku Kakiiko, buli omu yabaako byayogera ku bigambo Ow’ekitiibwa
Katikkiro byeyali yaakogera. Ebigambo byabwe bikwanagana bulungi n’ebya
Ssentebe waabwe, Omuk. Ntaate, ebifunziddwa bwe biti:
“Tusanyuse
nnyo, nnyo okubeera wano. Kituufu ddala, ebyaddiririra okulondebwa kwaffe ku
Kakiiko, byatweraliikiriza ne tutya nti n’omulamwa gwako guyinza okubula.
Bwetwafuna
ebbaluwa ya Katikkiro etuyita, twawulira obuwewufu mu mitima gyaffe.
Omulimu
ogwatuweebwa, ogukwata ku nsimbi, muzibu era awatali buwagizi bwa Katikkiro ne
Gavumenti gyakulembera, kyanditubeeredde kizibu okugutuukiriza obulungi.
Kasookanga
tulondebwa, emyezi 2 egiyise, tetutandikanga mulimu. Bulijjo twebuuza nti
tunaatandikira wa, era tutya?
Tumanyi
nti Katikkiro alwana bwezingirire okugaziya enfuna ya Buganda, Federo, era
n’amakubo amalala ag’omugaso eri Obwakabaka.
Era
tumanyi nti buli Muganda yenna akola mu Gavumenti ya Ssabasajja, alina kuyita
mu Kamalabyonna so ssi mu mulala yenna. Kaakati nga Kamalabyonna
bwatukwatiddeko, omulimu gwaffe gujja kuba mwangu. Ka tugende tutandike.”
Nga
tannabasiibula, Katikkiro yagamba abali ku Kakiiko nti:
«
Eno ntandikwa, oluggi luggule. Tulina esuubi mu Kakiiko. Waliwo amakubo amalala
getuyinza okuyitamu okuweereza Obuganda obulungi. Ago nago tujja gatunulamu.
Newankubadde
kyenkoze tekyategekebwa bwekityo, ndowoozezza nti kibadde kisaana okukolebwa,
kubanga bwetubeera awamu, kituyamba okutuuka ku buwanguzi. Nalowooza nti ssinga
ensonga eno tugireka n’erambulukuka, Abaganda bandiyongobedde ne baggwamu
amaanyi.
Nga
mmaliriza, mbakulisa okulondebwa, mbeebaza okukkiriza n’okugumiikiriza, era
mbaagaliza obuweereza obulungi”
Prof. Lule Nsereko Omubaka Wa Ssabasajja Mu Kenya Akyalira
Katikkiro
Omubaka
wa Ssabasajja mu Ssaza ly’e Kenya, Prof. Lule Nsereko Godfrey, yakyaddeko ewa
Katikkiro gweyasanze omu Ofiisi ye mu Bulange, e Mengo, ku Lwokuna nga
21/04/2002. Yawerekeddwako Omumyuka we, Omuk. Mbowa Daudi, Omw. Kiyenje Edward
ne Dr. Mayanja George naye nga yabeeranga Kenya, kyokka nga kati abeera kuno.
Prof.
Lule mu alipoota ye, yategeezezza nti Abaganda abali e Nariobi bakendedde,
abasinga baakomawo ku butaka. Naye abo abatono bakyaliyo, baagala nnyo Obuganda
n’Obwakabaka, era babuwagira. Okukakasa kino, yakwasizza Owek. Katikkiro cheque
ya Shs.3,200,000/= nga gwe mugatte ogwava mu satifiketi ezaatundibwa mu mwaka
ogwa 2001. Prof. Lule Nsereko, yagambye nti ssente ezo zaaweebwayo ssi Baganda
bokka wabula n’abamu ku Bannayuganda abalala abatali Baganda abali e Kenya.
Prof.
Lule yeebazizza nnyo Katikkiro okukulembera obulungi Obuganda, okubugatta awamu
n’okubutemera empenda ez’okubukulaakulanya nga tuyita mu BKDS. Ku lwa banne,
yeeyamye okubeeranga omuwulize eri Obuganda ne Namulondo.
Katikkiro
nga yeebaza ettu, Prof. Lule lyeyeetikka, yategeezezza nga bwetulina obwesige
mu bantu ba Ssabasajja abali kuno n’ebweru olw’okulumirwa Obuganda.
Yannyonnyodde nti enteeseganya zigenda mu maaso ne Pulezidenti Museveni
okutuddiza ebintu byaffe n’okusasula Shs.900,000,000/= ezaasigala ku kawumbi
keyatusuubiza okumaliriza Olubiri lw’e Mengo. Katikkiro yakubirizza Abaganda
n’abantu abalala abali mu Buganda n’ebweru okwongera obuwagizi bwabwe.
Yasabye
Prof. Lule atuuse okwebaza kwe eri banne ab’e Kenya, era naamusuubiza nti
alipoota eno ajja kugituusa eri Ssabasajja.
Katikkiro Mulwanyammuli Yagguddewo Omwoleso Gw’ebifaananyi:
Katikkiro
yagguddewo omwoleso gw’ebifaananyi ebisiige ogwakolebbwa Omw. Mutebi Fred, mu
Uganda Museum, nga 28/02/2002
Mwami
Mutebi, yannyonyodde Katikkiro nti bweyalaba ng’Abazungu bayaayanira
ebifaananyi bye, naye naakenga nti biteekwa okuba nga birina ekirungi ekitali
kya bulijjo ekiyinza okugasa Bannayuganda. Kyeyava agaana okubibaguza. Mutebi
yeebazizza nnyo Kabaka okwagala ebisiige bye n’okubigulanga.
Katikkiro
yeebazizza Mwami Mutebi olw’okulumirwa abavubuka ba Uganda n’okubasomesa
okusiiga ebifaananyi, n’olw’okutonera Sabasajja Kabaka, Obuganda ne Katikkiro
ebimu ku bifaananyi ebisiinga obulungi byeyasiiga.
Omukolo
guno gwaliko ba Ambassador babiri: owa France n’owa Germany.
Katikkiro
yawerekerwako Ow’ek. Mubiru Lwanga Tucker n’omu ku bawandiisi be.
Ab’ekibiina Kya Nkoba Za Mbogo Mu Mbale Islamic University
Ow’ek.
J.C. Muyingo n’Owek. Kabuuza Mukasa, baakiikiridde Katikkiro ku mukolo gwa
Bankoba za Mbogo ab’e Mbale Islamic University In Uganda, n’abamatendekero
amakulu mu Buvanjuba bwa Uganda, lwe baakyusiza obukulembeze bw’Ekibiina
kyabwe, era kwebaayaniririzaako bannakibiina abajja.
Ku
mukolo gwe gumu, baayanjudde Akakiiko Akafuzi akapya era nga Ssentebe waako
yajja okubakiikirira mu Lukiiko Olukulu olwa Buganda, nga Ssabasajja
bweyabasuubiza.
Abayizi
bonna baawera nga bwebajja okubeera bulijjo abawulize eri Obuganda ne
Namulondo.
Bishop Yokana Mukasa Eyawummula Aweza Emyaka 60 Mu Bufumbo
Obutukuvu:
Ku
Lwomukaaga nga March 3, 2002, Katikkiro yeetabye mu kijjaguzo eky’emyaka 60,
Omulabirizi eyawummula, Yokana Mukasa ne Mukyala we ab’e Mityana, gyebaakamala
mu bufumbo obutukuvu.
Okusaba
kwabadde mu Kanisa Lutikko e Namukozi, ate okugabula ne kubeera mu maka gabwe e
Kijungute. Katikkiro yeyali omugenyi omukulu. Yeetikka n’obubaka bwa Ssabasajja
obwalimu n’ente. Obubaka buno bwasanyukirwa nnyo.
Aba Covic Bakiika Ewa Katikkiro
Nga
06 March 2002, Ow’ek. Lutaaya Mukomazi, Minisita w’Eby’obulimi n’Obulunzi mu
Gavumeti ya Ssabasajja yayanjulidde Katikkiro abagenyi ab’Ekibiina ekimanyiddwa
nga COVIC abajja okwetaba mu lukung’ana lw’Ekibiina ekyo olwabadde mu Bulange.
Bannakibiina,
bava mu nsi za njawulo: Sweden, Kenya, Tanzania ne Uganda. Ekibiina ekyo
kigenderera okulongoosa n’okuddaabiriza Ennyanja Nalubaale, n’okulaba ng’eddamu
okubeeramu ebyennyanja ebingi ebya buli kika, nga bwegwabanga edda.
Bassentebe Beeyanjulira Katikkiro Wa Buganda:
Ku
lunaku Lwokutaano nga 15 March 2002, Katikkiro yakyazizza Bassentebe
abaakalondebwa mu gamu ku magombolola agali mu Kampala City Council.
Abagole
abajja mu Ofiisi ya Katikkiro okukiika be: Omw. Sserunjogi Charles, Ssentebe
w’Eggombolola y’Omukulu w’e Kibuga, ne Mw. Kijjambu Deo, Ssentebe w’Eggombolola
y’e Makindye.
Katikkiro
yabakulisa olw’okulondebwa ku bukulembeze era naabeebaza olw’okwewaayo
okuweereza Obuganda ne Uganda, ate nga bakyali bavubuka.
Katikkiro
era yabawa amagezi okubeera abavumu, ate abamalirivu, abalina okulowooza ku
bulungi n’okukulaakulana kw’abantu bebakiikirira. Yabagambye nti basaana okussa
ennyo omulaka ku byetaago by’abantu abaabassaamu obwesige ne babawa obuwagizi
bwaabwe. Yabakubiriza bulijjo okubeera abawulize eri Ssabasajja Kabaka wa
Buganda.
Abagenyi
beebazizza Katikkiro olw’ebirungi ebingi byakoledde Buganda ng’ali wamu
n’abalala baakola nabo. Baamutegeeza nti bawagira nnyo ekiwandiiko kyeyafulumya
ku Ssemateeka wa Uganda, n’ekirala ekigenderera okukulaakulanya Obwakabaka bwa
Buganda, mu myaka kkumi egijja (BKDS). Baamusaba abalabire Ssabasajja Kabaka ,
era ne beeyama okubeeranga abawulize eri Obwakabaka ne Namulondo ne Uganda.
Katikkiro
yabasibiridde entanda bweti: Basaana okubeera n’ebigendererwa, okulengera ewala
ate n’okussa mu nkola ebyo byebaba bategese. Yabagambye nti newankubadde
bavubuka, tebakyali bakulembeze ab’enkya wabula bakulembeze aba leero, nti
n’olwekyo kibagwanidde okufaayo ennyo ku kuyigirizibwa kw’abaana n’abantu
abalala mu bitundu byebakulembera.
Yabasuubiza
okukolaganira awamu nabo era yabaagaliza obukulembeze obulambulukufu.
Ssentebe Omuggya Owa Mpigi District Ayanjulibwa Ewa Kamalabyonna:
Omw.
Levi Zimbe yakyaddeko mu ofiisi ya Katikkiro e Bulange Mengo ku Lwokusatu nga
03 April 2002, ng’ekimuleese kwekwanjulira Kamalabyonna Ssentebe wa Mpigi
District omugya Omw. Badru Kabega. Omw. Badru Kabega yeyadidde Levi Zimbe mu
bigere ku bukulu buno.
Katikkiro
yasanyukidde nnyo abagenyi be bano era naabategeeza nti bbo Bassentebe ba zi
Districts, balina omulimu munene nnyo okuyamba okuteeka mu nkola Enteekateeka
ya Buganda ey’ebyenkulaakulana ey’emyaka ekkumi egiggya (BKDS) mu bitundu
byabwe.
Kamalabyonna
yeebazizza Omw. Levi Zimbe olw’omulimu omulungi gwakoze naddala mu kudduukirira
okwekulaakulanya kwa Buganda. Yasabye Ssentebe omugya okukolaganira awamu ne
Zimbe okumaliriza ebyo Zimbe byabadde atandiseewo.okutwala mu maaso ebyo
ebibadde tebinnaba kuggwa.
Mu
kwogera kwe Ssentebe omugya, yeeyamye okukolaganira awamu n’Obwakabaka bwa
Buganda era n’okutuukiriza ebyo byateekeddwa okukolera ekitundu kye nga
Ssentebe wa Mpigi District.
Okufa Kwa Jjajja Wa Ssabasajja :
Jajja
wa Ssabasajja Kabaka, Naalima Nakabugo Grace yafa nga 18 March 2002 Omugenzi
yafiira mu Dwaliro e Mulago gyeyali yaakamala ennaku entono. Olumbe lwali
lumulumidde ebbanga gwanvuko. Katikkiro yeetaba mu kumusaba, okwategekebwa mu
Kanisa Lutikko e Namirembe.
Ku lwa Buganda ne ku
lulwe, Katikkiro, yayogera eri abakungubazi n’asaasira nnyo Ssabasajja Kabaka.
Katikkiro era yasaasira n’ab’enju ya Kisosonkole n’eya Kkulubya, Ekanisa y’e
Namirembe, abaana, ab’oluganda n’ab’emikwano olwokufiirwa Mukyala Naalima mu
kaseera akatono ennyo nga ne bba, Omw. Nalima, yakamala okufa. Yasabira
omugenzi awummule mirembe ate n’abaana Mukama abagumye.
Return to: | Top of this page | Main News Page | Buganda Home Page |