Okutongoza Akakiiko Akanasengeka Enkola Eneegobererwa ey'Emyaka Ekkumi

(Buganda Kingdom Development Strategy Committee (2000 -2010))

Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere atongozza akakiiko akagenda okukola enteekateeka emirimu gya Buganda kwe gigenda okutambulira emyaka 10 egigya. Akakiiko ke kamu kagenda kulung'amya era kajjemu enteekateeka eneetwaala Buganda mu maaso mu myaka 10 egijja. Akakiiko akaatongozeddwa nga 11/10/2000, kaliko abakugu aba buli kika, abaami n'abakyala, abasoba mu makumi ana (40). Kuno kwe kwogera kwa Katikkiro ku mukolo ogwo:-

I Lwaki Tuli Wano?

Ssaabasajja ng'aggulawo Olukiiko nga 14 August 2000, namwanjulira ebizibu ebiri mu Buganda era naantuma okukola omulimu ogwekitiibwa ate ogw'amaanyi ennyo. Ebigambo bye yasoma bigamba bwebiti:

"Obuganda bwavu n'ekitiibwa kya Buganda kiri mu lusuubo. N'olwekyo: Tukole ebintu eby'ettanirwa era ebiweesa Buganda ekitiibwa. Buli Muganda waali yeteme eky'okukola, ekinaalinnyisa waggulu embeera ye ney'Obuganda mu kyasa ekipya. Obuganda busseewo ekkung'anyizo (data bank) ku bigambo by'Ekika, Ennono n'Eby'Enkulaakulana. Tulwanyise obwavu mu ngeri ey'enjawulo nga tuzimba: Amasomero, Amalwaliro, Enguudo, Enzizi, Amakolero, Ebifo by'Obuwangwa, okusitula ennima n'enkola y'emirimu. Tunoonye obuyambi yonna gye buli, tuzimbe Buganda nga tumanyi nti awatali ntegeka na bikola (Plan & Resources), tewali kinene Buganda ky'eyinza kukola okukomyawo ekitiibwa kyayo ekirabika nti kiva mu ngalo."

Tuli wano olwa leero, nga mbayise twanukule n'obuvumu, omulanga gwa Bbaffe Ssaabasajja. Ndowoozezza nti kikulu nnyo okugaziya ensonga eno, okugituusa ebweru w'amawanga kisobozese abasajja n'abazaana ba Kabaka abali ebweru wa Mmengo okutuwa ebirowoozo.

II Enteekateeka

Buganda bukya ezzibwawo mu 1993, ekoze ebintu bingi, naye nga terina nteekateeka eya wamu erengeza Abaganda wa gye tugenda (Vision), tugendayo tutya (Strategy), na kiki ky'eruubirira mu kiseera ekigere. Okumala ebbanga Gavumenti ya Buganda ebadde erowooza ku kulongoosa mu nkola y'emirimu gya Ssaabasajja, okusobola okugikwanaganya. Eky'okukola emirimu egitaliiko nteekateeka ya wamu, tulabye nga kiteekwa okukoma. Okukola entegeka eya wamu, eraga obulungi gye tugenda n'engeri gye tunaatuukayo, y'ensonga enkulu ebayisizza wano olwaleero. Era mbasaba kinnoomu mu ngeri ey'enjawulo mukkirize okwetikkirako Ssaabasajja omugugu gw'omulimu guno. Nga sinnagenda mu maaso, nsaba mpulire "YEE" oba "NEDDA".

Bonna Abasajja n'Abazaana ba Ssaabasajja baamwanukudde mu ddoboozi erya wamu nti "Yee".

Awo Katikkiro yagenze mu maaso n'okwogerakwe bwati:-

III "Ebirungi Ebiri Mu Nteekateeka"

Enteekateeka ennung'amu yetaagibwa nnyo, olw'ensonga zino:

Buli ntegeka zonna ezivaamu omuganyulwo, zeetaaga okwesigamizibwa ku bifa n'ebikwata ku bitundu bya Buganda era nga byesigamiziddwa ku biriwo ate nga bituufu (Statistics, Facts and Figures). Enteekateeka ennung'amu ewaliriza abo abagikola okukung'anya n'okwetegereza kalonda yenna akwata ku Buganda.

IV Omubala gw'Enteekateeka

Omubala gw'enteekateeka eno guli "Omubala gwa Kabaka ow'Enkulaakulana" (The Royal Development Drive). Era twagala guvuge bweguti: "Twegatte, Twekembe, Tube beesimbu, Tukolagane n'ab'omugaso, Tukulaakulane."

V Ebizibu

Obwanga twagala kubwolekeza, obwavu, endyambi, enjala, obutamanya, n'obuligo, obujama n'ensula mbi, obuseegu n'obugwenyufu, okwonoona obutonde bw'ensi n'endwadde.

VI Empagi Mu Nteekateeka Eno

Tulowooza ku mpagi nga kkumi mu nteekateeka eno:

  1. Okuyimirizaawo Kabaka n'Obwakabaka
  2. Okwongera amaanyi n'amakubo ag'okusoloozaamu ensimbi
  3. Okwongerawo n'okulung'amya emirimu egireeta ensimbi mu Ggwanika lya Buganda.
  4. Okutukkiza ekyalo ky'Omuganda eky'edda nga kirongooseddwamu (The Revival of African Village for 2005). Nga kirimu amaka amayooyoote, eby'okulya n'eby'ettunzi, eby'okweyimirizaawo ng'abantu balina eby'obulamu, era nga bakolagana bulungi era bettanira okukola ennyo n'ebifo ebyawamu nga biri ku musingi mulungi ogwa Bulungi Bwansi ne Ssaagalagalamidde.
  5. Okukuza Obusuubuzi, Amakolero, Obutale n'Obulimi. Twagala okwongera amaanyi mu kussa essira ku ky'ettunzi ekimu mu kitundu ekimu. Kino kyanguyiza Abasuubuzi okuganyulwa mukutuusa eby'amaguzi mu butale. Twagala okunoonyeza abantu baffe obutale n'okubasomesa engeri ey'omulembe ey'okuddukanyaamu emirimu n'okubaamu omwoyo omutetenkanya (Entrepreneurship).
  6. Okusitula embeera n'omutindo gw'abakyala, naddala mu by'okweyimirizaawo n'okuyimirizaawo ab'omu maka; ate ne mu mpisa ez'obuntubulamu; nga bwe kiri nti be beesigamiziddwako obuwangwa bw'eggwanga.
  7. Okugatta n'okusitula embeera z'Abavubuka. Balina amaanyi, balina amagezi ate balina obuvumu kwe tuteekwa okuzimbira eggwanga. N'olwekyo tubayambe, era tubeeyambise, tubategeeze emize egiyinza okubatusaanyizaawo.
  8. Tukole buli ekisoboka okukuuma n'okutambuza eby'ennono n'eby'obuwangwa. Ebyo bye bifuula eggwanga okuba eggunjufu era ery'embala.
  9. Okukunga n'Okumanyisa abantu ba Buganda ku by'enkulaakulana tubisse ku mwanjo. Tuyite ku Radio n'empuliziganya y'amawulire amalala naddala eri abantu baffe abali mu byalo. Tusomese naddala abakulembeze baffe ab'omubyalo era babeere eky'okulabirako.
  10. Tulina okussaawo enkola ey'okutereka n'okwewola ensimbi, okusobola okwongera amaanyi mu mirimu gy'abantu baffe (Micro-finance Credit).

Kalonda akwata ku buli mpagi ezo waggulu abagiddwa akakiiko (Task Force) nze kennyini keenkulira. Olukiiko luno lwentongozza leero, omulimu gwalwo ogusooka, lugya kwekenneenya ebbago ly'Akakiiko kange kalirung'amye era kalijjemu enteekateeka eneetwala Buganda mu maaso mu myaka 10 egijja.

VII Engeri y'Okutuukiriza Enkola Eno

Naye okusobola okuteeka mu nkola buli mpagi eyo waggulu, Gavumenti ya Ssaabasajja ejja kwetaaga okutuukiriza bino:

  1. Tulina okuteekawo ebigendererwa eby'enkulaakulana nga bya buli mwaka era nga bya Buganda yonna, nga bino biva mu pulaani y'emyaka etaano.
  2. Tulina okukola ng'entegeka zaffe zirondoola era n'ezeeyambisa entegeka eza Gavumenti eyawakati, Gavumenti ez'ebitundu, n'ez'ebitongole ebiyambi ebya wano n'eby'ebweru. Kino nga tukikola okujjumbiza n'okutuukiriza ebyetaago bya Buganda byerinamu enkizo.
  3. Okukkaatiriza obumu mu nkolagana ne Gavumenti eyawakati, eza District z'omu Buganda, ba Memba ba Palimenti, naddala abava mu Buganda, awamu n'ebibiina by'obwannakyewa, tusobole okukola obulungi ku nsonga za Buganda nga tuggumidde.
  4. Okuteekawo enfuga n'endabirira y'emirimu entangaavu mu buli ekikolebwa mu Gavumenti ya Ssaabasajja (Transparency).
  5. Okuyigiriza n'okunyweza empisa ey'okulondoola n'okwekkanya emirimu (monitoring & evaluation) era n'okuwaayo embalirira ya buli nsimbi ezifuniddwa era ezikoleddwamu emirimu (Accountability).
  6. Okussaawo enkola ennung'amu abakugu abali mu Buganda n'ebweru waayo, mwe bayinza okuyita okuweereza Obuganda mu mirimu egitali gimu egy'omu nteekateeka eno ey'okwekulaakulanya mu mwoyo gw'obwannakyewa.

VIII Obukiiko n'Emirimu Gyabwo

Okukola omulimu gw'enteekateeka, wateereddwawo obukiiko mukaaga nga bwonna abukulira ye Dr. Collin Ssentongo (Overall Chairman) ng'Omumyuka we ye Mukyala Annie Kaboggoza-Musoke. Gano wammanga g'emannya gonna ag'abantu abaalondeddwa okuweereza ku kakiiko ka Buganda Kingdom Development Strategy Committee:-

Overall Chairperson:

Dr. Collin Ssentongo, Economic Consultant

Overall Vice Chairperson:

Ms. Annie Kaboggoza Musoke, Development Assistance Specialist (USAID)

Committee Members:

Name

Affiliation

1. Mr. Kanyerezi Masembe

Advocate - Kampala

2. Hajati Nassimbwa

Lukiiko Member - Kabula

3. Dr. A.D. Kisawuzi

DFID-Regional Director

4. Mr. Umar Kaggwa

USAID/IDEA

5. Mrs. Kabugo Christine

Health Service Commission

6. Mrs. Sarah Kiyingi

Former Commissioner of Agriculture

7. Dr. Nsamba Samuel Lukulwase

C/o Mengo Nursing Home

8. Dr. Badru Kiggundu

Faculty of Technology, Makerere University

9. Mr. Kitaka George

UNDP

10. Mr. Daudi M. Lubega

Deputy Pokino, Buddu.

11. Dr. Ssemwanga

Ssemwanga Centre

14. Prof. Kitungulu-Zaake

Makarere University.

15. Owek. Robert Sebunnya

Minister of Health, Mengo.

16. Hajati Sarah Baagalaliwo

Minister of State, Attorney General's Office

17. Owek. Kaddu Kiberu

Minister of Water and Energy

18. Mr. Chris Bagonza

Chairman, LC 5, Nakasongola

19. Mr. Mulindwa Mukasa

Chairman, LC 5, Rakai

20. Pastor Sserwadda

Victory Church, Ndeeba.

21. Owek. Kanakulya W.Bbanga

Minister of State for Small Scale Industries

22. Dr. Higiro Semajege

Lukiiko Member, Lwemiyaga.

23. Owek. Ffeffekka Sserubogo

Lukiiko Member for Youth

24. Dr. William Kalema

Uganda Investment Authority

25. Owek. C.P. Mayiga

Minister for Youth & Cabinet

26. Mr. Mulindwa Muwonge

CBS - Senior Presenter.

27. Mr. Michael Kawooya

General Manager CBS

28. Dr. Ali Serunjogi

Governor's Office Bank of Uganda

29. Dr. T. Sengooba (Mrs.)

Director, Namulonge Research Centre.

30. Dr. Margret Kigozi

E.D. Uganda Investment Authority

31. Owek. J.C. Muyingo

Minister of Education & Sports (Mengo)

32. Mr. Lawrence Mukiibi

Director, St. Lawrence S.S.S.

33. Hon. Joyce Mpanga

MP for Women, Mityana

34. Prof. Kasozi Abdu

Deputy Vice Chancellor, Mbale University

35. Owek. Godfrey Lule

Sebalu & Lule Advocates

36. Owek. John Muganga

Minister of State for Environment

37. Haji Yunusu Mpagi

Chief Manager, UEB Dam Project

38. Dr. Deo Kimera

Chairman, Ssuubi lya Buganda.

39. Mr. Nsamba Gayiya

Chief Government Valuer

40. Mrs. Rose Mary Sennabulya

E.D, Uganda Employers Association

41. Omutaka Kayiira Ggajuule

Minister of State for Culture

42. Mrs. Isha Lubega

Head Mistress Nabisunsa Girls S.S.S.

43. Hajati A. Sebyala

Actuarist,Greenland Insurance Co. Ltd.

44. Hon. Tim Lwanga

MP for Kyamuswa, Ssese.

45. Omw. Abiyasaali Buyego

Makerere University.

46. Omw. Mulagwe

General Manager, Uganda Grain Milling Co.

 

Committee Advisors:

1. Hon. Hajati Syda Bbumba

Minister of Energy (Uganda Government)

2. Owek. J.W. Katende

Attorney General (Mmengo)

3. Owek. J.B. Walusimbi

Minister of Finance (Mmengo)

Committee Co-Ordinators:

1. Owek. Leo Kibirango

Minister of Planning & Economic Dev.

2. Owek. Apollo Makubuya

Minister of State for Finance

3. Eng. H.R. Kibuuka

Chairman, BICUL

4. Owek. V.R. Bbaale Mugera

Minister - Special Duties

Sub-Committee Leaders:

Chairperson and

Vice-Chairperson

Affiliation

Sub-Committee

1. Dr. Maimuna Nalubega

Owek. John Kawanga

Makerere University

Minister of State for Lands

Land, Environment & Natural Resources

2. Nnaalinnya Sarah Kagere

Owek. Seruwagi Namukadde

Nnaalinnya

Minister for Traditional Offices

Culture and Heritage

3. Dr. Andrew Kasirye

Mr. C.C. Muyingo

Advocate

Management Systems.

Administration, Legal & Advisory Service

4. Dr. J. Nsereko Munakukaama

Dr. Mary Bawubya

Makerere University

UNICEF

Education, Literacy & Advocacy

5. Prof. Muyanda Mutebi (Kweba)

Dr. William Ssali

Curriculum Development Centre

NARO

Community Development

6. Professor J. Nsereko

Haji A. Kaawaase

Minister of State for Planning & Economic Development

Greenland Insurance.

Finance, Planning & Economic Development

 

Okumanya biki buli kakiiko bye kalina okukola n'engeri gye kanaakolamu emirimu gy'ako, bino biri mu bbago eribaweereddwa nga lirimu bino:-

  1. The Buganda Kingdom Status Report
  2. The Buganda Kingdom Proposed Development Strategy
  3. The Royal Development Drive Key Issues (RDD).
  4. The Terms of References for the Development Strategy.
  5. The Proposed Strategy Working Sub-committee.
  6. The Buganda Kingdom Development Strategy Action Plan (August - December 2000).

Enteekateeka eno ey'emyaka ekkumi (10) esuubirwa okwanjulirwa Obuganda era n'okussibwa mu nkola ku ntandikwa y'omwaka ogujja (January 1, 2001). N'olwensonga eyo, nsaba tweweeyo tukole butaweera omulimu tugumale mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri (December 2000) nga enteekateeka bw'eraga.

IX Okumaliriza

Mu nteekateeka eno eruubirirwa, ekigendereddwa ennyo, kwe kwongera okunyweeza emirimu gya Buganda era tulyoke tusobole okuddukanya Obuganda n'Obwakabaka bwaffe mu ngeri eweesa ekitiibwa ffenna kye twettanira. Tukimanyoi bulungi nti buli muntu kyali kye kitiibwa kye. Ffe nga bwe tuli Abaganda, Obuganda ne Kabaka kye kitiibwa kyaffe. Nsaba tulwane bwezizingirire tufuule Obuganda ekitiibwa kyaffe.

Nga mmaliriza, nsaba twekolemu omulimu ogusooka. Mu busobozi bwaffe, kinnoomu, twegatte ku kakiiko akamu kw'obwo omukaaga obuteereddwawo. Era nja kusaba Engineer Kibuuka omulimu gw'okukola obukiiko buno agukulembere.

Mbeebaza nnyo obujjumbize bwe mulaze awamu n'omwoyo ogw'okulumirwa Obuganda.

SSAABASAJJA KABAKA AWANGAALE.

- Bwatyo Kamalabyonna bwe yamaliriza.


Retun To: | Main News Page | Window on Mmengo | Buganda Home Page |